Olugendo lw'Omutamuze

Ku mulundi guno tubaleetedde Olugendo lw'Omutambuze. Akatabo kano koogera ku Mukristaayo nga bwe yava mu Kibuga eky'Okuzikirira, nga kibannyonyola, eranga kibalaga bye yasisinkana mu lugendo lwe okutuuka lwe yatuuka ku Mulyango gw'Ensi ey'omu Ggulu.Tambula ne Mukristaayo mu lugendo lwe........ Akatabo kano kaawandiikibwa okusobola okuyamba buli Mukristaayo mu lugendo lwe mu bulamu obw'omu nsi eno, otambule ng'omanyi era ng'olina essuubi mu nsi Eyo egenda okujja.

Omutambuze Atuuka ku Musaalaba

WANO NE NDABA MU KIROOTO kyange ng'Ekkubo Mukristaayo lye yali alina okukwata nga liriko olukomera ku buli ludda n'ekisenge, era ekisenge ekyo nga kiyitibwa Obulokozi. Is. 26:1. Mukristaayo n'agenda ng'adduka. Naye era n'asisinkana ebizibu bingi olw'omugugu ogwamuli ku mugongo gwe. N'adduka okutuusa lwe yatuuka mu kifo awaali akasozi. Mu kifo ekyo nga waliwo Omusaalaba, nga wansi waagwo nga waliwo Entaana. Ne ndaba mu kirooto kyange amangu ddala nga Mukristaayo atuuse ku Musaalaba, omugugu gwe ne gusumulukuka okuva ku bibegabegaabye, ne gumuva ku mugongo gwe. Ne gugenda nga gweyiringisa okutuusa lwe gwatuuka ku mumwa gw'Entaana. Ne gugwa mu Ntaana era saddayo kugulaba. Bal. 6:4, Bag. 2:19-20, 2 Tim. 2:11, Bag. 3:13.

Mukristaayo n'asanyuka era ne yeeyongera ku lugendo lwe nga muwewufu, n'ayogera nga musanyufu nti, " Ampadde okuwummula olw'ennaku Ze, n'obulamu olw'Okufa Kwe." Zab. 30:1-4, Bal. 5:10, Beb. 4:9-11. Nayimirira okumala akaseera n'atunula nga yeewunya, kubanga kyamwewunyisa okulaba, ng'okutunula obutunuzi ku Musaalaba kyasobola okumujjako omugugu mu ngeri ennyangu bw'etyo. Ne yeeyongera okutunula, okutuusa ensulo z'omu mutwe gwe lwe zavaamu amaziga agakulukuta ku matamage. Zak. 12:10. (Kino kitera okubaawo omuntu okukaaba olw'essanyu, nga Mukama amujeeko ebizibu bye, ng'obuzibu Mukristaayo bwe yalina.)

Mukristaayo n'ayimira n'atunula nga bw'akaaba, abantu basatu Abamasamasa, Beb. 1:14 ne bagenda waali ne bamulamusa ne boogera nti, "Emirembe gibe naawe!" Eyasooka n'amugamba nti, "Ebibi byo bikusonyiyiddwa." Mak. 2:5; Bak. 2:13-15. Owokubiri n'amwambula enziina zeyali ayambadde n'amwambaza ekyambalo ekirungi. Zak. 3:1-5. Owokusatu n'amussaako akabonero mu kyênyi kye, era n'amuwa Ebbaluwa ng'eriko akabonero, Beb. 1:13-14. N'alagira Mukristaayo okugisoma mu lugendo lwe, n'okugiwaayo ku Mulyango gw'omu Ggulu. Bwe baamala ne bagenda, Mukristaayo ne yeebuza nti, 'bano bebaani?' N'abuuka emirundi esatu olw'essanyu. (Katonda bw'atujjako ebibi byaffe n'emigugu gyaffe, tufaanana n'abo ababuuka olw'essanyu). Mukristaayo n'agenda ku lugendo lwe ng'ayimba nti:


Olugendo luno lwonna ndutambudde nga ndi n'Ebibi
Nga sisobola na kwejjako obuzibu bwe nalimu,
Okutuusa bwe ntuuse wano. Kino kifo ki!
Wano wewali entandikwa y'emikisa gyange?
Wano omugugu gwange gunvuddeko ku mabega?
Wano n'emiguwa egyagusiba wegikutukidde?
Guweebwe omukisa Omusaalaba!
Entaana eweebwe omukisa!


Naye aweebwe omukisa Omuntu Oyo eyaweebwãyo okuswãzibwa ku lwange. (Mukristaayo asobola okuyimba ne bw'aba omu, Katonda bw'amuwa essanyu mu mutima gwe). Ne ndaba mu kirooto kyange ng'atambula bw'ati, okutuuka bwe yatuuka wansi w'olusozi. Awo n'alaba abantu basatu nga balina enjegere ku magulu gaabwe. Baali beebase awo ku mabbali g'ekkubo, era nga bali mu tulo tungi. Erinnya ly'omu nga ye Mwangu, omulala Mugayaavu, n'omulala Kwemanya.

Bwe yabalaba nga beebase mu ngeri eyo, Mukristaayo n'agenda webali ng'asuubira okubazuukusa n'abagamba nti, "Mulinga abo abeebaka waggulu, ng'Ennyanja Emmyufu esiikuse wansi wammwe." Eng. 23:24-35. Muzuukuke era muve wano! Bwe muba mwagala, nja ku bayamba okubajjako enjegere zammwe." Era n'abagamba nti, "Oyo atambula okwetoloola ng'empologoma ewuluguma, bw'anajja ajja ku balya mmwe." 1 Pet. 5:8. Bwe baawulira ekyo, ne bamutunuulira era ne batandika okumuddamu mu ngeri eno.

Mwangu: "Nze siraba mutawaana."
Mugayaavu: "Ndeka neebakemu katono." Nge. 6:9-11.
Kwemanya: "Buli kibya kirina kutuula ku ntobo yaakyo."
Olwo bonna ne baddawo okwebaka nate, ne Mukristaayo ne yeeyongera ku lugendo lwe. (Tewali akkiriza ku lulwe, wabula nga Mukama azibudde amaaso ge). Mukristaayo n'asoberwa okulaba ng'abantu abali mu mutawaana bwe gutyo, nga tebafaayo ku kisa ekibalagiddwa, era nga tebakitutte ng'ekikulu, okubazuukusa ku bweerere, n'amagezi g'abawadde n'abasuubiza n'okubayamba okubasumulula enjegere ezibali ku magulu gaabwe! Yali aky'atawaana mu birowoozo ebyo, n'alengera abantu babiri nga badduka bagenda gy'ali, ne babuuka ekisenge ku ludda olwa kkono olw'Ekkubo Effuunda, era mangu ago ne batuuka weyali. Erinnya ly'omu yali Nnamanyira, n'omulala Munnanfuusi. Bwe bamusemberera, Mukristaayo n'ayogera nabo. Yatandika bw'ati:

Mukristaayo: "Bassebo, muva wa, era mugenda wa?"
Namanyira ne Munnanfuusi ne bamuddamu nti: "Twazaalibwa mu nsi eyitibwa Kwewaana, era tugenda ku Lusozi Sayuni kusinza.
Mukristaayo: "Lwaki temuyise mu Mulyango oguli ku ntandikwa y'Olugendo? Temumanyi nga kyawandiikibwa nti, 'Omuntu atayingirira mu Mulyango, naye n'ayita mu kkubo eddala aba mubbi oba munyazi?" Yok. 10:1.
Namanyira ne Munnanfuusi ne bamugamba nti, "Okugenda okuyita mu mulyango, abatuuze b'ensi yaffe bakizuula nga kiba kwekoloobya, era eryo ekkubo, lye kkubo lyaffe mwe tuyita bulijjo. Kale kyazuulibwa nga waba kumpi okubuuka ekisenge, nga ffe bwe tukoze."
Mukristaayo: "Naye Omukulu w'Ekibuga gye tugenda takibabalire ng'ekibi, okunyooma etteeka lye mu ngeri eno?"

Bombi ne bamugamba nti, "Ensonga eyo tesaanye ku mweraliikiriza, kuba ekyo ekyatandikibwawo kye bamanyira, kuba nabo kye bakoze." Ne boongera ne bamugamba nti, "Bwe kiba kyetaagisa basobola okumulaga obukakafu obulaga nga kibadde kikolebwa bwe kityo emyaka nga lukumi n'okusingawo." (Oba era waliwo obujulirwa bwonna, Mukama atulagira nga waliwo Ekkubo limu lyokka okutuuka mu nsi entukuvu), Yok. 14:6.
Mukristaayo: "Naye ekikolwa kyammwe tekiribasinza omusango mu mateeka?"
Ne bamugamba nti, "Empisa eyo yadda nnyo, era yatandikibwawo emyaka egisuka mu lukumi, kale tewali mulamuzi kimugaana ku gikkiriza ng'entuufu." Era ne bamugamba nti, "Kasita tuba mu kkubo, ate waliwo mutawaana ki, ekkubo mwetuyise okuyingira? Kasita tuyingira tuba tuyingidde. Gw'oli mu Kkubo nga naffe bwe tukiraba, olw'okuyita mu Mulyango, naffe tuli mu Kkubo olw'okubuuka Ekisenge. Kale otusiinza ki ffe?"

Mukristaayo: "Nze ntambula nga ngoberera Etteeka lya Mukama wange. Naye mmwe mutambula nga bwe mwãgala nga mugoberera endowooza zammwe, nnanyini Kkubo abayita babbi. Kale mbuusabuusa nga mulikkirizibwa ku nkomerero. Mwazze mwekka nga temulina ndagiriro ye, era mulifuluma mwekka awatali kusaasira kwe."
Tebaalina bingi byakumuddamu, wabula okumwagaliza okubeera obulungi.
Ne ndaba nga buli omu akutte kkubo lye, nga tebalina bya kwogerako wakati waabwe, okujjako baagamba Mukristaayo nti, "Ng'amateeka n'ebiragiro bwe biri, baali bakikakasa nga bagoberera amateeka n'ebiragiro nga ye." Ne boongera ne bamugamba nti, "N'olwekyo, tetulaba ngeri gy'oli wanjawulo nnyo kuffe okujjako ekyambalo ky'oyambadde, ate weesanga kyakuweebwa mikwano gyo, okubikka ku nsonyizo olw'okuba wali bwereere."

Mukristaayo: "Temugenda kulokolewa lwa mateeka n'ebiragiro nga bwe biri, okuva lwe mutaayingirira mu Mulyango. Beb. 2:15-16. Ate ebikwata ku kyambalo kino ekindi ku mabega, kyampeebwa Nnannyini kifo gye ngenda. Era nga bwe mwogedde, ky'ampeebwa kubikka ku nsonyi zange. N'ekirala, nkitwala ng'ekirabo ekyampeebwa olw'ekisa Kye gyendi, kuba nali sirina kyenyambadde mu kusooka, wabula enziina. Naye kati ngenda nsanyuka olw'esuubi nga bwe ndituuka ku Mulyango gw'Ekibuga, Nnanyini kibuga alintegeera mangu nze, kuba nina ekyambalo kino kye nyambadde, ekyambalo Kye, kyeyampeera obwereere nze, ku lunaku lwe yannyambula enziina zange."

"Ate era nina akabonero mu kyenyi kyange, kemuyinza okuba nga temunakalaba. Omu ku mukwano gwa Mukama wange yeeyakanteekako ku lunaku omugugu gwange lwe gwaagwa okuva ku bibegabega byange. Era, kambabuulire, nnaweebewa n'Ebbaluwa eno eriko akabonero okunsanyusanga buli lwe nkisoma mu Lugendo lwange. Era nalagirwa okugiwaayo mu Mulyango ogwo mu Ggulu, ekiraga nga nakkirizibwa okuyingira. Mbuusasabuusa nga bino byonna mu birina, okuva lwe mutaayingirira mu Mulyango."
Ebyo tebabiddamu wabula okutunuliganako bokka na bokka ne baseka. Era ne ndaba nga batambula, naye nga Mukrisataayo abakulembeddeko katono. Kyokka nga tayogera nabo, mpozzi okwogera yekka nga bwe yeewunya, n'okuwulira ennaku n'okwekubagiza. Era ng'agira n'asoma mu Baluwa ye eyamuweebwa Omu Kubamasamasa, eyamuzaamu amaanyi.

**** Ekitabo kino kya ddiba lya lupapula oluweweevu obulungi,era nga lugoonvu.****

ORDER FORM - Print out this .txt file for convenience if ordering by mail.

E-MAIL US -For comments, critics questions about these Books, or whatever you need to know about Luganda Christian Services, please feel free to drop us a line. Send them to us at ministry@lugandaministry.org


This entire site, including all pages, Copyright 2000-2008 Luganda Christian Services Inc. All rights reserved. Send mail to:Luganda Christian Services Inc. P.O. Box 5213, Glendale, Arizona, USA 85312.

Back
Next