Yeremiya  

Essuula 11

1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama nti
2 Muwulire ebigambo eby'endagaano eno, era mugambe abasajja ba Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi;
3 obagambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Omusajja akolimirwe atawulira bigambo bya ndagaano eno,
4 gye nnalagirira. bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri, mu kikoomi eky'ekyuma, nga njogera nti Mugonderenga eddoboozi lyange mubikolenga nga byonna bwe biri bye mbalagira: bwe mutyo bwe munaabanga abantu bange, nange naabanga Katonda wammwe:
5 ndyoke nnywezenga ekirayiro kye nnalayirira bajjajjaammwe, okubawa ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki nga leero. Awo ne ndyoka nziramu ne njogera nti Amiina, ai Mukama.
6 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Langirira ebigambo bino byonna mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ng'oyogera ntil Muwulire ebigambo eby'endagaano eno mubikole.
7 Kubanga nategeereza ddala bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri ne leero, nga ngolokoka mu makya era nga ntegeeza, nga njogera nti Mugondere eddoboozi lyange.
8 Naye ne batagonda so tebaatega kutu kwabwe, naye ne batambulira buli muntu mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe omubi: kyennava mbaleetako ebigambo byonna eby'endagaano eno, gye nnabalagira okukolanga, naye ne batabikola.
9 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Okwekobaana kulabise mu basajja ba Yuda ne mu abo abali mu Yerusaalemi.
10 Bakyuse okudda mu butali butuukirivu bwa bajjajjaabwe abaagaana okuwulira ebigambo byange; era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga: ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda bamenye endagaano yange gye nnalagaana ne bajjajjaabwe.
11 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibaleetako obubi bwe bataliyinza kuwona; era balinkaabirira, naye siribawuliriza.
12 Awo ebibuga bya Yuda n'abo abali mu Yerusaalemi baligenda ne bakaabirira bakatonda be bootereza obubaane: naye tebalibalokolera n'akamu mu biro mwe balabira ennaku.
13 Kubanga ebibuga byammwe bwe byenkana obungi, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, ai Yuda; era ng'enguudo ez'e Yerusaalemi bwe zenkana obungi, bwe musimbidde bwe mutyo ebyoto ekintu ekikwasa ensonyi, ebyoto eby'okwoterezangako obubaane eri Baali.
14 Kale ggwe tosabiranga bantu bano, so tobayimusizanga kukaaba newakubadde okusaba: kubanga siribawulirira mu biro mwe balinkaabirira olw'ennaku ze balabye.
15 Muganzi wange afaayo ki mu nnyumba yange, kubanga akoze eby'obukaba n'abangi, n'omubiri omutukuvu gukuvuddeko? bw'okola obubi lw'osanyuka.
16 Mukama yakutuuma erinnya nti Omuzeyituuni ogwera, omulungi nga guliko ebibala ebirungi: n'eddoboozi ery'oluyoogaano olunene agukumyeko omuliro, n'amatabi gaagwo gamenyese.
17 Kubanga Mukama w'eggye eyakusimba akwogeddeko obubi, olw'obubi obw'ennyumba ya Isiraeri n'obw'ennyumba ya Yuda bwe beekolera nga bansunguwaza olw'okwotereza Baali obubaane.
18 Awo Mukama n'akimmanyisa ne nkimanya: kale n'olyoka ondaga ebikolwa byabwe.
19 Naye nali ng'omwana gw'endiga omuwombeefu ogutwalibwa okuttibwa; so saamanya nga bansalidde enkwe, nga boogera nti Tuzikirize omuti wamu n'ebibala byagwo, tumuzikirize mu nsi ey'abalamu, erinnya lye baleme okulijjukira nate.
20 Naye, ai Mukama w'eggye, asala emisango egy'ensonga, akema emmeeme n'omutima ndabe eggwanga ly'oliwalana ku bo: kubanga ggwe ntegeezezza ensonga yange.
21 Mukama kyava ayogera bw'ati eby'abasajja aba Anasosi abanoonya obulamu bwo nga boogera nti Tolaguliranga mu linnya lya Mukama, omukono gwaffe guleme okukutta:
22 Mukama w'eggye kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndibabonereza: abavubuka balifa kitala; batabani baabwe ne bawala baabwe balifa njala;
23 so tebaliba na balifikkawo: kubanga ndireeta obubi ku basajja aba Anasosi, gwe mwaka mwe balijjirirwa.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
1 Oli mutuukirivu, ai Mukama, bwe mpoza naawe: naye era nandibadde ne kye nkunnyonnyolayoko: ekkubo ery'ababi lirabira ki omukisa? batereerera ki abo bonna abalimbalimba ennyo?
2 Wabasimba, weewaawo, basimbye emmizi; bamera, weewaawo, babala ebibala: oli kumpi mu kamwa kaabwe, oli wala n'emmeeme yaabwe.
3 Wabasimba, weewaawo, basimbye emmizi; bamera, weewaawo, babala ebibala: oli kumpi mu kamwa kaabwe, oli wala n'emmeeme yaabwe.
4 Ensi erituusa wa okuwuubaala, n'emiddo egy'omu nsi yonna ne giwotoka? olw'obubi bw'abo abagirimu ensolo kyeziva zimalibwawo, n'ennyonyi; kubanga bayogera nti Taliraba nkomerero yaffe ya luvannyuma.
5 Oba ng'oddukidde wamu n'abatambula n'ebigere ne bakukooyesa, kale oyinza otya okuwakana n'embalaasi? era newakubadde nga weegolodde mu nsi ey'emirembe, naye olikola otya mu malala ga Yoludaani?
6 Kubanga era ne baganda bo n'ennyumba ya kitaawo, era nabo bakulimbyelimbye; era nabo balangirizza ennyuma wo: tobakkirizanga ne bwe bakugamba ebigambo ebirungi.
7 Ndese ennyumba yange, nsudde obusika bwange; mpaddeyo oyo emmeeme yange gw'eyagala ennyo nnyini mu mukono gw'abalabe be.
8 Obusika bwange bufuuse gye ndi ng'empologoma mu kibira: ayimusizza eddoboozi lye ku nze; kyenvudde mmukyawa.
9 Obusika bwange buli gye ndi ng'ennyonyi eyigga ey'amabala? ennyonyi eziyigga zimulumbye enjuyi zonna? mugende mukuŋŋaanye ensolo zonna ez'omu nsiko, muzireete zirye.
10 Abasumba bangi boonoonye olusuku lwange olw'emizabbibu, balinnyiridde omugabo gwange n'ebigere, omugabo gwange ogusanyusa bagufudde ddungu omutali muntu.
11 Bagufudde matongo; guwuubaala gye ndi nga gulekeddwayo; ensi yonna efuuse matongo, kubanga tewali muntu agissaako mwoyo.
12 Abanyazi batuuse ku nsozi zonna ez'obweru mu ddungu: kubanga ekitala kya Mukama kirya okuva ku nkomerero y'ensi okutuuka ku nkomerero y'ensi: tewali kintu ekirina omubiri ekirina emirembe.
13 Basiga eŋŋaano, bakungudde amaggwa; beerumya bo bennyini, so tebaliiko kye bagasizza: era mulikwatibwa ensonyi olw'ebibala byammwe olw'ekiruyi kya Mukama.
14 Bw'ati bw'ayogera Mukama eri baliraanwa bange bonna ababi abakoma ku busika bwe nnasisa abantu bange Isiraeri nti Laba, ndibasimbula mu nsi yaabwe, era ndisimbula ennyumba ya Yuda wakati mu bo.
15 Awo olulituuka bwe ndiba nga mmaze okubasimbula, ndikomawo ne mbakwatirwa ekisa; era ndibakomyawo buli muntu mu busika bwe na buli muntu mu nsi y'ewaabwe.
16 Awo olulituuka bwe balinyiikira okuyiga amakubo g'abantu bange, okulayira erinnya lyange nti Nga Mukama bw'ali omulamu; era nga bwe baayigirizanga abantu bange okulayira Baali; kale balizimbibwa wakati mu bantu bange.
17 Naye bwe batalikkiriza kuwulira, awo ndisimbula eggwanga eryo, nga nsimbula era nga ndizikiriza, bw'ayogera Mukama.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 Awo ne nneegulira olukoba, ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama; ne ndwesiba mu kiwato kyange.
2 Awo ne nneegulira olukoba, ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama; ne ndwesiba mu kiwato kyange.
3 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira omulundi ogw'okubiri nga kyogera nti
4 Ddira olukoba lwe wagula oluli mu kiwato kyo, ogolokoke ogende ku Fulaati, olukisize eyo mu bunnya obw'omu lwazi.
5 Awo ne ŋŋenda ne ndukwekera ku Fulaati, nga Mukama bwe yandagira.
6 Awo olwatuuka ennaku nnyingi nga ziyiseewo Mukama n'aŋŋamba nti Golokoka ogende ku Fulaati oggyeyo olukoba lwe nnakulagira okulukisiza eyo.
7 Awo ne ŋŋenda ku Fulaati ne nsima ne nziya olukoba mu kifo mwe nnali ndukisirizza: kale, laba, olukoba nga lwonoonese, nga teruliiko kye lugasa.
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe ntyo bwe ndyonoona amalala ga Yuda n'amalala amangi aga Yerusaalemi.
10 Abantu bano ababi abagaana okuwulira ebigambo byange, abatambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe, era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, balibeerera ddala ng'olukoba luno olutaliiko kye lugasa.
11 Kuba olukoba nga bwe lwegatta n'ekiwato ky'omuntu, bwe ntyo bwe nneegasse nange ennyumba yonna eya Isiraeri n'ennyumba yonna eya Yuda, bw'ayogera Mukama; balyoke babeerenga gye nd eggwanga era erinnya era ettendo era ekitiibwa: naye ne batayagala kuwulira.
12 Kyoliva obagamba ekigambo kino nti Bw'ati bw'ayo gera Mukama, Katonda wa Isiraeri nti Buli kita kirijjula omwenge nabo balikugamba nti Tetumanyi nga buli kita kirijjula omwenge
13 Awo n'olyoka obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndijjuza obutamiivu bonn abali mu nsi eno, bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi, ne bakabona ne bannabbi, ne bonna abali mi Yerusaalemi.
14 Era ndibatandagira omuntu ne munne, bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, bw'ayogera Mukama: sirisaasira so siri sonyiwa so sirikwatibwa kisa, nneme okubazikiriza.
15 Muwulire, mutege amatu; temuba na malala: kubanga Mukama yogedde.
16 Mumuwe Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga annaleeta kizikiza era ng'ebigere byammwe tebinnaba kwesittalira ku nsozi ez'ekizikiza; era nga bwe musuubira omusana, n'agufuula ekisiikirize eky'okufa n'aguddugaza okuba ekizikiza ekikutte.
17 Naye me mutalikkiriza kuwulira emmeene yange erikaaba amaziga kyama olw'amalala gammwe; n'amaaso gange galikaaba nnyo amaziga, ne gakulukuta amaziga, kubanga ekisibo kya Mukama kikwatiddwa.
18 Gamba kabaka ne nnamasole nti Mwetoowaze mutuule wansi; kubanga ebiremba byammwe bikkakkaye, engule ey'ekitiibwa kyammwe:
19 Ebibuga eby'obuluika obwa ddyo biggaddwawo, so tewali wa kubiggulawo: Yuda atwaliddwa yenna nga musibe; yenna atwaliddwa ddala nga musibe.
20 Muyimuse amaaso gammwe mulabe abo abava obukiika obwa kkono: ekisibo kye waweebwa kiri ludda wa, ekisibo kyo ekirungi?
21 Olyogera otya, bw'alikuteekako mikwano gyo okuba omutwe, kubanga ggwe kennyini ggwe wabayigiriza okukukola obubi? obuyinike tebulikukwata ng'omukazi alumwa okuzaala?
22 Era bw'onooyogerera mu mutima gwo nti Ebigambo bino binjijiridde lwaki? olw'obutali butuukirivu bwo kubanga bungi, ebirenge byo kyebivudde bibikkulwako, n'ebisinziiro byo bigirirwa ekyejo.
23 Omuwesiyopya ayinza okuwaanyisa omubiri gwe, oba ngo amabala gaayo? kale nammwe muyinza okukola obulungi abaamanyiira okukola obubi.
24 Kyendiva mbasaasaanya ng'ebisasiro ebivaawo olw'embuyaga ez'omu ddungu.
25 Kano ke kalulu ko, omugabo gwe nnakugerera, bw'ayogera Mukama; kubanga wanneerabira ne weesiga obulimba.
26 Nange kyendiva mbikkula ku birenge byo ku maaso go, n'ensonyi zo zirirabika.
27 Nalaba emizizo gyo, obwenzi bwo n'okubebera kwo, obukaba obw'okwenda kwo, ku nsozi ez'omu ttale. Zikusanze, ai Yerusaalemi toyagala kulongoosebwa; ebyo birituusa wa okubaawo nate?
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
1 Ekigambo kya Mukama ekyajjira Yeremiya ekyayogera ku kyanda bwe kiri.
2 Yuda awuubaala, n'enzigi zaayo ziyongobera, batuula ku ttaka nga bambadde ebiddugala; n'okukaaba kwa Yerusaalemi kulinnye.
3 N'abakungu baabwe batuma abaaaa baabwe abato emugga: batuuka ku bianya, ne batasangamu mazzi; baddayo ensuwa zaabwe nga njereere: ensonyi zibakwata, baswala, babikka ku mitwe gyabwe.
4 Olw'ettaka eryatise, kubanga enkuba tetonnyanga mu nsi, abalimi kyebava bakwatibwa ensonyi, babikka ku mitwe gyabwe.
5 Weewaawo, n'empeewo eri ku ttale ezaala, n'ereka omwaaa gwayo olw'obutabaa wo muddo.
6 N'entulege ziyimirira ku nsozi ez'obweru, ziwejjerawejjera empewo ng'ebibe; amaaso gaazo gaziba olw'obutabaawo bimera.
7 Obutali butuukirivu bwaffe newakubadde nga butulumiriza, kola omulimu olw'erinnya lyo, si Mukama: kubanga okudda kwaffe ennyuma kungi; twakwonoona.
8 Ai, ggwe essuubi lya Isiraeri, amulokolera mu biro eby'okulabiramu ennaku, wandibeeredde ki ng'omuyise mu nsi, era ng'omutambuze akyama okukeesa obudde?
9 Wandibeeredde ki ng'omuntu asamaaliridde, ng'omusajja ow'amaanyi atayinza kulokola? era naye ggwe, ai Mukama, oli wakati muffe, naffe tutuumiddwa erinnya lyo; totuleka.
10 Bw'ati Mukama bw'agamba abantu bano nti Bwe batyo bwe baayagalanga okuwaba; tebaziyizanga bigere byabwe: Mukama kyava alema okubakldriza; kaakano anajjukira obutali butuukirivu bwabwe, era anaabonereza ebibi byabwe.
11 Awo Mukama n'aŋŋamba nti Tosabira bantu bano baweebwe ebirungi.
12 Bwe banaasiibanga, siiwulirenga kukaaba kwabwe; era bwe banaawangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebitone, siibakkirizenga: naye ndibazikiriza n'ekitala n'enjala ne kawumpuli.
13 Awo ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, bannabbi babagamba nti Temuliraba kitala so temuliba na njala; naye ndibawa emirembe egy'enkalakkalira mu kifo kino.
14 Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti Bannabi balagulira eby’obulimba mu linnya lyange: saabalagira so saayogera nabo: babalagula okwolesebwa okw'obulimba n'obulaguzi n'ekigambo ekitaliimu n'obukuusa obw'omu mutima gwabwe bo.
15 Mukama kyava ayogera bw'ati ebya bannabbi abalagulira mu linnya lyange so saabatuma, naye ne boogera nti Ekitala n'enjala tebiriba mu nsi eno: nti Ekitala n'enjala bye birizikiza bannabbi abo.
16 N'abantu be balagula balisuulibwa mu aguudo ez'e Yerusaslemi olw'enjala n'elatala; so tebaliba na balibaziika, bo ne bakazi baabwe newakubadde batabani baabwe newakubadde bawala baabwe: kubanga ndifuka ku bo obubi bwabwe.
17 Era olibagamba ekigambo kino nti Amaaso gange gakulukute amaziga emisana n'ekiro so galeme okulekayo; kubanga omuwala w'abantu bange atamanyi musajja awaguddwamu ekituli kinene, ekiwundu kibi nnyo nnyini.
18 Bwe nnaafuluma mu ttale, kale, laba, abattiddwa n'ekitala era bwe nnaayingira mu kibuga, kale, laba, abo abalwadde olw'enjala kubanga nnabbi era ne kabona batambulira mu nsi so tebalina kumanya.
19 Ogaanidde ddala Yuda? emmeeme yo etamiddwa Sayuuni? otufumitidde ki, so tewali ddagala lya kutuwonya? Twasuubiranga omirembe, naye ne wataba birungi ebyajjanga; n'ebiro eby'okuwonyezebwamu, kale, laba, okukennentererwa.
20 Ai Mukama, tuukiriza obubi bwaffe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe: kubanga twakwonoona.
21 Totutamwa olw'erinnya lyo; tovumisa ntebe ya kitiibwa kyo: jjukira, tomenya ndagaano gye walagaana naffe.
22 Mu birerya by'ab'amawanga mulimu ebiyinza okutonnyesa enkuba? oba eggulu liyinza okuleeta empandaggirize? si ggwe wuuyo, ai Mukama Katonda waffe? kyetunaavanga tukulindirira ggwe; kubanga ggwe wabikola ebyo byonna.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]
1 Awo Mukama n'alyoka annamba nti Musa ne Samwiri newakubadde nga bayimiridde mu maaso gange, era emmeeme yange teyandiyinzizza kutunuulira bantu bano: bagobe mu maaso gange, baveewo.
2 Awo olulituuka bwe balikugamba nti Tunadda wa nga tuvuddewo? kale n'obagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ab'okuttibwa bagende eri okuttibwa; n'ab'ekitala eri ekitala; n'ab'enjala eri enjala; n'ab'okusibibwa eri okusibibwa.
3 Era ndibateekerawo engeri nnya, bw'ayogera Mukama: ekitala okutta, n'embwa okutaagula, n'ennyonyi ez'omu bbanga, n'ensolo ez'omu nsi, okulya n'okuzikiriza.
4 Era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu bwakabaka bwonna obw'ensi, olwa Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda olw'ekyo kye yakolera mu Yerusaalemi.
5 Kubanga ani alikusaasira, ggwe Yerusaalemi? oba ani alikukungubagira? oba ani alikyama okubuuza ebifa gy'oli?
6 Oŋŋaanyi, bw'ayogera Mukama, ozze ennyuma; kyenvudde nkugololerako omukono gwange ne nkuzikiriza; nkooye okwejjusa.
7 Era n'abawujjira n'ekiwujjo mu miryango egy'ensi: mbaggyeeko abaana, nzikirizza abantu bange; tebaddanga okuva mu makubo gaabwe.
8 Bannamwandu baabwe beeyongedde gye ndi okusinga omusenyu ogw'ennyanja: ndeese ku bo ku nnyina w'abalenzi omunyazi mu ttuntu: mmugwisizzaako obubalagaze n'ebitiisa nga tamanyiridde.
9 Eyazaala omusanvu ayongobera; atadde obulamu; enjuba ye egudde nga bukyali bwa misana; akwatiddwa ensonyi, aswadde: n'abalifikkawo ku bo ndibagabula eri ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, bw'ayogera Mukama.
10 Zinsanze, nnyabo, kubanga wanzaala nga ndi musajja wa nnyombo era ow'empaka eri ensi zonna siwolanga lwa magoba, so n'abantu tebampolanga lwa magoba; naye buli muntu ku bo ankolimira,
11 Mukama yayogera nti Mazima ndikuwa amaanyi olw'obulungi; mazima ndikwegayiriza omulabe mu biro eby'okulabiramu ennaku ne mu biro eby'okubonyaabonyezebwamu.
12 Omuntu ayinza okumenya ekyuma, ekyuma ekiva obukiika obwa kkono, n'ekikomo?
13 Ebintu byo n'obugagga bwo ndibiwaayo okuba omunyago awatali muwendo, olw'ebibi byo byonna, mu nsalo zo zonna.
14 Era ndibiyisa wamu n'abalabe bo okugenda mu nsi gy'otomanyi: kubanga omuliro gukutte olw'obusungu bwange ogulibaakirako.
15 Ai Mukama, ggwe omanyi: njijukira onjijire, ompalanire eggwanga ku abo abanjigganya; tonzigirawo ddala olw'okugumiikiriza kwo: manya nga nvumiddwa okunnanga ggwe.
16 Ebigambo byo byalabika ne mbirya; n'ebigambo byo byali gye ndi ssanyu n'okusanyuka kw'omutima gwange: kubanga ntuumiddwa erinnya lyo, ai Mukama Katonda ow'eggye.
17 Saatuula mu kkuŋŋaaniro ly'abo ab'ebinyumu, so saasanyuka: natuula nzekka olw'omukono gwo; kubanga onjijuzizza okunyiiga.
18 Obulumi bwange bubeerera ki obw'olubeerera, n'ekiwundu kyange kibeerera ki ekitawonyezeka, ekigaana okulogebwa? kazzi oliba gye ndi ng'akagga akalimba, ng'amazzi agaggwaawo?
19 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Bw'olikomawo, kale ndikuzza olyoke oyimirire mu maaso gange; era bw'olyawula eby'omuwendo omungi okubiggya mu ebyo ebitagasa, oliba ng'akamwa kange: balidda gy'oli naye ggwe toddanga gye bali.
20 Era ndikufuula eri abantu bano bbugwe ow'ekikomo aliko enkomera; era balirwana naawe, naye tebalikuwangula: kubanga nze ndi wamu naawe okukulokola n'okukuwonya, bw'ayogera Mukama.
21 Era ndikuwonya mu mukono gw'ababi, era ndikununula okukuggya mu mukono gw'ab'entiisa.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]
1 Era ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera
2 Towasanga mukazi, so tozaalira baana ba bulenzi newakubadde ab'obuwala mu kifo kino.
3 Kubanga Mukama bw'ayogera bw'ati eby'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala abazaalirwa mu kifo kino n'ebya bannyaabwe ababazaala n'ebya bakitaabwe ababazaalira mu nsi muno, nti
4 Balifa bubi; tebalikungubagirwa so tebaliziikibwa; baliba ng'obusa ku maaso g'ettaka: era balimalibwawo n'ekitala n'enjala n'emirambo gyabwe giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga era ya nsolo ez'omu nsi.
5 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Toyingira mu nnyumba mwe bakungubagira, so togenda kukuba biwoobe, so tobakaabira: kubanga nziye emirembe gyange ku banti bano, bw'ayogera Mukama, mbaggyeeko ekisa n'okusaasira okulungi.
6 Abakulu era n'abato balifiira mu nsi eno: tebaliziikibwa so n'abantu tebalibakungubagira, so tebalyesala so tebalibeemwerera:
7 so abantu tebalibabegera mmere nga babakaabira, okubakubagiza olw'abafu; so abantu tebalibawa kikompe kya kusanyusa okunywa olwa kitaabwe oba olwa nnyaabwe.
8 So toliyingira mu nnyumba mwe baliirs embaga, okutuula nabo, okulys n'okunywa.
9 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndiko mya mu kifo kino mu maaso gammwe nammwe nga mukyal balamu, eddoboozi ery'ebinyumi n'eddoboozi ery'okusanyuka, eddoboozi eryawasa omugole n'eddoboozi ly'omugole.
10 Awo oluli tuuka bw'olitegeeza abantu bano ebigambo bino byonna, bo ne bakugamba nti Kiki ekyogezezza Mukama obubi buno bwonna obunene eri ffe? oba atulanga ki? oba kyonoono ki kye twonoonye Mukama Katonda waffe?
11 kale n'olyoka obagamba nti Kubanga bajjajja mmwe banvaako, bw'ayogera Mukama, ne batambula okugoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza ne bava ku nze, so tebaakwata mateeka gange;
12 nammwe mwakola bubi okusinga bajjajjammwe; kubanga, laba, mutambula buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli n'okuwulira ne mutampulira
13 kyendiva mbagoba mu nsi eno okugenda mu nsi gye mutamanya nga, mmwe newakubadde bajjajja mmwe; era munaaweererezang eyo bakatonda abalala emisana n'ekiro; kubanga siribalaga kisa n'akatono.
14 Kale, laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe batakyayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi y'e Misiri;
15 naye nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'obukiika obwa kkono ne mu matwale gonna yye yali abagobedde: era ndibakomyawo mu nsi y'ewaabwe gye nnawa bajjajjaabwe.
16 Laba, nditumya abavubi bangi, bw'ayogera Mukama, era balibavuba; oluvannyuma nditumya abayizzi bangi, era balibayigga okubaggya ku buli lusozi ne ku buli kasozi, ne mu bunnya obw'omu mayinja.
17 Kubanga amaaso gange gatunuulira amakubo gaabwe gonna: tegakisibwa bwenyi bwange, so n'obutali butuukirivu bwabwe tebukwekebwa maaso gange.
18 Era okusooka ndisasula obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe emirundi ebiri; kubanga bayonoona ensi yange n'emirambo egy'ebintu byabwe eby'ebivve, era bajjuzizza obusika mange emizizo gyabwe.
19 Ai Mukama, amaanyi gange era ekigo yange, era obuddukiro bwange ku znaku olw'okulabiramu ennaku, eri gwe amawanga gye galijja nga bava ku nkomerero z'ensi, era balyogera nti Bajjajjaffe baasikira bulimba wereere, birerya n'ebigambo ebitaiko kye bigasa.
20 Omuntu alyeolera bakatonda, era abatali bakatonda?
21 Kale, laba, ndibamayisa, omulundi guno gwokka ndiamanyisa omukono gwange n'amaanyi gange; era balimanya ng'erinnya lyange Yakuwa.
   

Essuula 17

[Ddayo waggulu]
1 Ekibi kya Yuda kyawandiikibwa n'ekkalaamu ey'ekyuma ejjinja erya alimasi essongovu: kyayolebwa ku kipande eky'omutima gwabwe, ne ku mayembe g'ebyoto byammwe;
2 abaana baabwe nga bwe bajjukira ebyoto byabwe ne Baasera baabwe awali emiti egimera ku nsozi empanvu.
3 Ai olusozi lange oluli mu nnimiro, ndigabula ebintu byo n'obugagga bwo bwonna okuba omunyago, n'ebifo byo ebigulumivu olw'okwonoona, mu nsalo zo zonna.
4 Naawe olivaamu ku bubwo wekka mu busika bwo bwe nnakuwa; era ndikuweerezesa abalabe bo mu nsi gy'otomanyi: kubanga mukumye omuliro mu busungu bwange obunaabuubuukanga emirembe gyonna.
5 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Akolimiddwa omusajja oyo eyeesiga abantu, n'afuula omubiri okuba omukono gwe, n'omutima gwe guva ku Mukama.
6 Kubanga alifaanana omwoloola oguli mu ddungu, so taliraba ebirungi bwe birijja; naye alibeera mu biwalakate mu ddungu, ensi ey'omuunyo so eteriimu bantu.
7 Alina omukisa omusajja oyo eyeesiga Mukama, era Mukama lye ssuubi lye.
8 Kubanga aliba ng'omuti ogwasimbibwa awali amazzi, ne gulanda emmizi gyagwo awali omugga, so tegulitya musana bwe gwaka ennyo, naye amalagala gaagwo galiyera; so tegulyeraliikiririra mu mwaka ogw'ekyeya, so tegulirekayo kubala bibala.
9 Omutima mulimba okusinga ebintu byonna, era gulwadde endwadde etewonyezeka: ani ayinza okugumaaya?
10 Nze Mukama nkebera omutima, nkema emmeeme, okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali, ng'ebibala bwe biri eby'ebikolwa bye.
11 Ng'enkwale bw'ekuŋŋaanya obwana bw'etezaalanga, bw'atyo bw'abeera oyo afuna obugagga so si lwa mazima; ennaku ze nga zikyali za kitundu bulimuvaako, ne ku nkomerero ye aliba musirusiru.
12 Ekifo eky'awatukuvu waffe ye ntebe ey'ekitiibwa eyagulumizibwa okuva ku lubereberye.
13 Ai Mukama, essuubi lya Isiraeri, bonna abakuvaako balikwatibwa ensonyi; abansenguka baliwandiikibwa ku ttaka, kubanga bavudde ku Mukama, oluzzi olw'amazzi amalamu.
14 Mponya, ai Mukama, kale lwe nnaawona; ndokola, kale lwe nnaalokoka: kubanga ggwe oli ttendo lyange.
15 Laba, bannamba nti Ekigambo kya Mukama kiri ludda wa? kijje nno.
16 Nze ku bwange seeyuna obutaba musumba ennyuma wo; so seegombanga olunaku olw'okulabiramu ennaku; ggwe omanyi: ekyava mu mimwa gyange kyabanga mu maaso go.
17 Tobeera atiisa gye ndi: ggwe oli buddukiro bwange ku lunaku olw'okulabiramu obubi.
18 Bakwatibwe ensonyi abo abanjigganya, naye nze nneme okukwatibwa ensonyi; bo baketinentererwe, naye nze nneme okukeŋŋentererwa: baleeteko olunaku olw'okulabiramu obubi, obazikirize okuzikirira okw'emirundi ebiri.
19 Bw'ati Mukama bwe yannamba nti Genda oyimirire mu mulyango ogw'abaana b'abantu, bakabaka ba Yuda. mwe bayingirira era mwe bafulumira ne mu miryango gyonna egy'e Yerusaalemi;
20 obagambe nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bakabaka ba Yuda, ne Yuda yenna ne bonna abali mu Yerusaalemi, abayingirira mu miryango gino:
21 bw'ati bw'ayogera Mukama nti Mwekuume muleme okusituliranga ku lunakulwassabbiiti omugugu gwonna, so temuguyingirizanga mu miryango egy'e Yerusaalemi;
22 so temuggyanga mugugu mu nnyumba zammwe ku lunaku olwa ssabbiiti, so temukolanga mulimu gwonna : naye mutukuzanga olunaku olwa ssabbiiti nga bwe nnalagira bajjajjammwe;
23 naye ne batawulira so tebaatega kutu kwabwe, naye ne bakakanyaza ensingo yaabwe baleme okuwuIira era baleme okukkiriza okuyigirizibwa.
24 Awo olulituuka, bwe munaanyiikiranga okumpulira, bw'ayogera Mukama, obutaleetanga mugugu gwonna okuguyisa mu miryango gy'ekibuga kino ku lunaku olwa ssabbiiti, naye bwe munaatukuzanga olunaku olwa ssabbiiti obutalukolerangako mulimu gwonna;
25 kale mu miryango gy'ekibuga kino munaayingirangamu bakabaka n'abalangira abatudde ku ntebe ya Dawudi, nga bali ku magaali era nga beebagadde embalaasi, bo n'abakungu baabwe, abasajja ba Yuda n'abaliba mu Yerusaalemi: n'ekibuga kino kinaabanga kya lubeerera.
26 Era balijja nga bavudde mu bibuga bya Yuda ne mu bifo ebyetoolodde Yerusaalemi ne mu nsi ya Benyamini ne mu nsi ey'ensenyi ne ku nsozi ne mu bukiika obwa ddyo, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka n'ebitone n'omugavu, era nga baleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama.
27 Naye bwe mutampulirenga okutukuza olunaku olwa ssabbiiti, obutatwalanga mugugu newakubadde okuyingiriranga mu miryango gy'e Yerusaalemi ku lunaku olwa sabbiiti; kale ndikumira omuliro mu miryango gyakyo, era gulyokya amayumba ag'e Yerusaalemi, so tegulizikizibwa.
   

Essuula 18

[Ddayo waggulu]
1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama nti
2 Golokoka oserengete eri ennyumba ey'omubumbi, era eyo gye nnaakuwuliriza ebigambo byange.
3 Awo ne nserengeta eri ennyumba ey'o mubumbi, kale, laba, ng'akolera omulimu gwe ku bannamuziga.
4 Awo ekintu kye yali akola n'ebbumba bwe kyayonoonekera mu mukono gw'omubumbi, n'akibumba nate okuba ekintu ekirala ng'omubumbi bwe yasiima okukibumba.
5 Awo ekigambo kya Mukama ne kinjijira nga kyogera nti
6 Ai ennyumba ya Isiraeri, nze siyinza kubakola ng'omubumbi ono? bw'ayogera Mukama. Laba, ebbumba nga bwe liri mu mukono gw'omubumbi, nammwe bwe muli bwe mutyo mu mukono gwange, ai ennyumba ya Isiraeri.
7 Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, okusimbula n'okumenya n'okuzikiriza;
8 eggwanga eryo lye njogeddeko bwe lirikyuka okuleka obubi bwabwe, ndyejjusa obubi bwe nnali ndowooza okubakola.
9 Bwe ndiba nga njogedde ku ggwanga ne ku bwakabaka, okulizimba n'okulisimba;
10 bwe lirikola obubi mu maaso gange, obutawulira ddoboozi lyange, kale ndyejjusa obulungi bwe nnayogera okukola okubagasa.
11 Kale nno gamba abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, mbateesezzaako obubi era mbasalira amagezi: mukomeewo nno buli muntu ng'ava mu kkubo lye ebbi, mulongoose amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe.
12 Naye ne boogera nti Tewali ssuubi: kubanga tunaatambulanga okugoberera ebyo bye twagunja ffe, era tunaakolanga buli muntu ng'obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bwe buli.
13 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Mubuuze nno mu mawanga eyali awulidde ebigambo ebyenkana awo; omuwala wa Isiraeri akoze ekigambo eky'ekiwe ennyo.
14 Omuzira oguli ku Lebanooni guliggweerawo ku lwazi olw'oku ttale? amazzi amannyogovu agakulukuta agava ewala galikalira?
15 Kubanga abantu bange banneerabidde, bookerezza obubaane ebitaliimu; era babeesittazizza mu makubo gaabwe, mu makubo ag'edda, okutambulira mu mpenda, mu kkubo eritali ssende;
16 okufuula ensi yaabwe ekyewuunyo n'okusoozebwanga ennaku zonna; buli muntu anaayitangawo aneewuunyanga n'anyeenya omutwe gwe.
17 Ndibasaasaanya nga n'embuyaga eziva ebuvanjuba mu maaso g'omulabe; nditunuulira amabega gaabwe so si maaso gaabwe ku lunaku mwe balirabira obuyinike.
18 Awo ne balyoka boogera nti Mujje tumusalire Yeremiya amagezi; kubanga amateeka tegalibula awali kabona, newakubadde okuteesa awali ow'amagezi, newakubadde ekigambo awali nnabbi: Mujje tumukube n'olulimi, tuleme okussaayo omwoyo eri ebigambo bye n'ekimu.
19 Ssaayo omwoyo eri nze, ai Mukama, owulire eddoboozi ly'abo abampakanya.
20 Obubi bulisasulwa olw'obulungi? kubanga basimidde emmeeme yange obunnya. Jjukira bwe nnayimirira mu maaso go okuboogerera bo ebirungi okukyusa ekiruyi kyo kibaveeko.
21 Kale waayo abaana baabwe eri enjala, obagabule eri obuyinza obw'ekitala; bakazi baabwe bafiirwe abaana baabwe era babe bannamwandu; n'abasajja baabwe battibwe, n'abalenzi baabwe bafumitibwe n'ekitala mu lutalo.
22 Okukaaba kuwulirwe okuva mu nnyumba zaabwe, bw'olibaleetako ekibiina nga tebamanyiridde: kubanga basimye obunnya okunkwata, era bakwekedde ebigere byange ebyambika.
23 Era naye, Mukama, ggwe omanyi byonna bye bateesa okunzita; tosonyiwa bubi bwabwe, so tosangula kwonoona kwabwe mu maaso go: naye basuulibwe mi maaso go; obabonereze mu kiseen eky'obusungu bwo.
   

Essuula 19

[Ddayo waggulu]
1 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Genda ogule ensumbi ey'ebbumba ey'omubumbi, otwali ku bakadde b'abantu ne ku bakaddi ba bakabona;
2 ofulume okugenda mu kiwonvu kya mutabani wa Kino mu ekiri awayingirirwa mu mulyango Kalusiisi, olangirire eyo ebigambo bye nnaakugamba:
3 oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bassekabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi; bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino, obulyamiriza amatu ga buli muntu alibuwulira.
4 Kubanga bandekawo ne bakaafuwaza ekifo kino, ne bootereza omwo bakatond abalala obubaane, be batamanyanga bo ne bajjajjaabwe ne bassekaba ka ba Yuda; era bajjuza ekifo kino omusaayi ogutaliiko musango;
5 eri baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali okwokya batabani baabwe mu muliro okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Baali; kye ssiragira nga so saakyogera so tekyayingira mu mwoyo gwange:
6 kale, laba ennaku zijja, bw'ayogera Mukama ekifo kino lwe kitakyayitibwa nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvi kya mutabani wa Kinomu, naye nt Kiwonvu eky'okuttirwamu.
7 Era nditta okuteesa kwa Yuda ne Yerusaalemi mu kifo kino; era ndibagwisa n'ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, era n'omukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: n'emirambo gyabwe ndigigabula okubi eby'okulya eri ennyonyi ez'omi bbanga n'eri ensolo ez'omu nsi.
8 Era ndifuula ekibuga kino ekye wuunyo era okusoozebwanga; buli aliyitawo alyewuunya n'asooza olw'e bibonoobono byakyo byonna
9 Era ndibaliisa omubiri gwa batabani baabwe, n'omubiri gw'abawala baabwe, era balirya buli muntu omubiri gwa mukwano gwe mu kuzingizibwa ne mu kunyigirizibwa abalabe baabwe, n'abo abanoonya obulamu bwabwe kwe bali banyigiriza.
10 Awo n'olyoka omenya ensumbi eyo, abasajja abagenda taawe nga balaba,
11 n'obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Era bwe ntyo bwe ndimenya abantu bano n'ekibuga kino ng'omuntu bw'amenya ekintu ky'omubumbi ekitayinzika kuyungibwa nate: era baliziikira mu Tofesi okutuusa lwe watalibaawo bbanga lya kuziikamu.
12 Bwe ntyo bwe ndikola ekifo kino, bw'ayogera Mukama, n'abakituulamu, nga nfuula ekibuga kino okuba nga Tofesi:
13 n'ennyumba ez'e Yerusaalemi n'ennyumba za bassekabaka ba Yuda ezoonoonese ziriba ng'ekifo Tofesi, ennyumba zonna ze baayotererezangako waggulu obubaane eggye lyonna ery'eggulu, ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo ebyokunywa.
14 Awo Yeremiya n'ajja ng'ava: Tofesi Mukama gye yali amutumye okulagula; n'ayimirira mu uggya olw'ennyumba ya Mukama, n'agamba abantu bonna nti
15 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta ku kibuga kino ne ku mbuga zaakyo zonna obubi bwonna bwe nnakyogerako; kubanga bakakanyasizza ensingo yaabwe baleme okuwulira ebigambo byange.
   

Essuula 20

[Ddayo waggulu]
1 Awo Pasukuli mutabani wa Immeri kabona, eyali omwami omukulu ow'omu nnyumba ya Mukama, n’awulira Yeremiya ng'alagula ebyo.
2 Awo Pasukuli n'akuba Yeremiya nnabbi n'amusiba mu nvuba eyali mu mulyango ogw'engulu ogwa Benyamini ogwali mu nnyumba ya Mukama.
3 Awo olwatuuka enkya Pasukuli n'aggya Yeremiya mu nvuba. Awo Yeremiya n'amugamba nti Mukama takutuumye linnya lyo Pasukuli wabula Magolumissabibu.
4 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndikufuula eky'entiisa eri ggwe kennyini n'eri mikwano gyo bonna: era baligwa n'ekitala eky'abalabe baabwe, n'amaaso go galikiraba: era ndiwa Yuda yenna mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, naye alibatwala e Babulooni nga basibe, era alibatta n'ekitala
5 Era nate ndiwa obugagga bwonna obw'omu kibuga kino n'amagoba gaamu gonna n'ebintu byamu byonna eby'omuwendo omungi, weewaawo, ebintu byonna ebya bassekabaka ba Yuda ndibiwa mu mukono gw'abalabe baabwe, abalibanyaga ne babakwata ne babatwala e Babulooni.
6 Naawe, Pasukuli, n'abo bonna abali mu nnyumba yo baligenda mu busibe: era olituuka e Babulooni, era olifiira eyo, era oliziikirwa eyo, ggwe ne mikwano gyo bonna be walagula eby'obulimba.
7 Ai Mukama, wannimba nze ne nnimbibwa: onsinga nze amaanyi era owangudde: nfuuse ekisekererwa okuzibya obudde, buli muntu ankudaalira.
8 Kubanga buli lwe njogera, njogerera waggulu; njogerera waggulu nti Ekyejo n'okunyaga: kubanga ekigambo kya Mukama bakifuula ekivume gye ndi n'eky'okusekererwa okuzibya obudde.
9 Era bwe njogera nti Siimwogereko so sikyayogerera mu linnya lye, kale mu mutima gwange muba ng'omuliro ogubuubuuka ogusibibwa mu magumba gange, era nga nkooye okuzibiikiriza so siyinza kubeerera awo.
10 Kubanga mpulidde okulyolyoma kw'abangi, entiisa enjuyi zonna. Muloope, naffe tunaamuloopa bwe boogera mikwano gyange ennyo bonna, bo abalabirira okuwenyera kwange; mpozzi anaasendebwasendebwa, naffe tunaamuwangula, era tulimuwalanako eggwanga:
11 Naye Mukama ali nange ng'ow'amaanyi ow'entiisa: abanjigganya kyebaliva beesittala so tebaliwangula: baliswala nnyo, kubanga tebakoze bya magezi, balikwatibwa easonyi ezitaliggwaawo eziteerabirwenga ennaku zonna.
12 Naye, ai Mukama w'eggye, akema omutuukirivu, alaba emmeeme ey'omunda, ndabe eggwanga lyo ly'oliwalana ku bo; kubanga nkubikkulidde ensonga yange.
13 Muyimbire Mukama, mutendereze Mukama: kubanga awonyezza emmeeme y'oyo eyeetaaga mu mukono gw'abo abakola obubi.
14 Olunaku kwe nnazaalirwa lukolimirwe: olunaku mmange kwe yanzaalira luleme okuweebwa omukisa.
15 Akolimirwe oyo eyamuleetera kitange ebigambo nti Ozaaliddwa mwana wa bulenzi; ng'amusanyusa nnyo.
16 Era omusajja oyo abeere ng'ebibuga Mukama bye yasuula n'ateenenya: awulire okukaaba enkya, n'okwogerera wa ggulu mu ttuntu;
17 kubanga teyanzita bwe nnava mu lubuto; bw'atyo mmange yandibadde entaana yange, n'olubuto lwe lwandibadde lukulu ennaku zonna.
18 Naviira ki mu lubuto okulaba okutegana n'obuyinike, ennaku zange zimalibwewo olw'ensonyi?
   

Next
Back