Yeremiya  

Essuula 31

1 Mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, ndiba Katonda w'enda zonna eza Isiraeri, nabo baliba bantu bange.
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Abantu abafikkawo ku kitala balilaba ekisa mu ddungu; Isiraeri, bwe nnagenda okumuwummuza
3 Mukama yandabikira dda ng'ayogera nti Weewaawo, nkwagadde n'okwagala okutali; gwaawo: kyenvudde nkuwalula n'ekisa.
4 Ndikuzimba nate, naawe olizimbibwa, ggwe omuwala wa Isiraeri: oliyonjebwa nate n'ebitaasa byo, era olifuluma mu kuzina ku abo abasanyuka.
5 Olisimba nate nsuku ez'emizabbibu ku nsozi ez'e Samaliya: abasimbi balisimba ne balya ebibala byamu.
6 Kubanga olunaku lulituuka abo abakuumira ku nsozi za Efulayimu lwe balikaaba nti Mugolokoke, twambuke e Sayuuni eri Mukama Katonda waffe.
7 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Muyimbe olwa Yakobo n'essanyu, mwogerere waggulu olw'omukulu w'amawanga: mulange, mutendereze, mwogere nti Ai Mukama, lokola abantu bo abafisseewo ku Isiraeri.
8 Laba, ndibaggya mu nsi ey'obukiika obwa kkono, ne mbakuŋŋaanya okuva mu njuyi z'ensi ezikomererayo, era wamu nabo omuzibe w'amaaso n'awenyera, omukazi ali olubuto n'oyo alumwa okuzaala wamu: balikomawo wano ekibiina kinene.
9 Balijja nga bakaaba amaziga, era ndibaleeta nga beegayirira: ndibatambuza ku mabbali g'emigga egirimu amazzi, mu kkubo eggolokofu mwe batalyesittala: kubanga ndi kitaawe eri Isiraeri, ne Efulayimu ye mubereberye wange.
10 Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe amawanga, mukibuulirire ku bizinga ebiri ewala; mwogere nti Oyo eyasaasaanya Isiraeri ye alimukuŋŋaanya, era anaamukuumanga ng'omusumba bw'akuuma ekisobo kye
11 Kubanga Mukama anunudde Yakobo, era amuguze okumuggya mu mukono gw'oyo eyamusinga amaanyi.
12 Kale balijja ne bayimbira ku ntikko ya Sayuuni, era balikulukutira wamu awali obulungi bwa Mukama, awali eŋŋaano n'awali omwenge n'awali amafuta n'awali abaana b'embuzi n'ab'ente: n'emmeeme yaabwe eriba ng'olusuku olufukirirwa amazzi, so tebalibaako buyinike nate n'akatono.
13 Awo omuwala lw'alisanyukira amazina, n'abalenzi n'abakadde wamu: kubanga okukungubaga kwabwe ndikufuula essanyu, era ndibakubagiza ne mbasanyusa okuva mu buyinike bwabwe.
14 Era ndinyiya amasavu, emmeeme ya bakabona, n'abantu bange balinyiwa obulungi bwange, bw'ayogera Mukama.
15 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eddoboozi liwuliddwa mu Laama, okukungubaga n'okukaaba amaziga mangi, Laakeeri ng'akaabira abaana be; agaana okukubagizibwa olw'abaana be, kubanga tewakyali.
16 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Zibiikiriza eddoboozi lyo lireme okukaaba, n’amaaso go galeme okuleeta amaziga: kubanga omulimu gwo guliweebwa empeera, bw'ayogera Mukama; era balidda nate okuva mu nsi y'omulabe.
17 Era waliwo essuubi ery'enkomerero yo, bw'ayogera Mukama; n'abaana bo balijja nate mu nsalo yaabwe bo.
18 Mazima mpulidde Efulayimu nga yeekaabirako bw'ati nti Onkaagavvudde ne nkagavvulwa ng'ennyana etemanyidde kikoligo; nkyusa ggwe nange naakyusibwa; kubanga ggwe Mukama Katonda wange.
19 Mazima bwe nnamala okukyusibwa ne nneenenya; era bwe nnamala okuyigirizibwa ne nkuba ku kisambi kyange: nakwatibwa ensonyi, weewaawo, naswala kubanga nasitula ekivume eky'omu buto bwange.
20 Efulayimu mwaaa wange omwagalwa? mwana ansanyusa? kubanga buli lwe mmwogerako obubi nkyamujjukira nnyo nnyini: omwoyo gwange kyeguvudde gunnuma ku lulwe; sirirema kumukwatirwa lusa, bw'ayogera Mukama.
21 Weesimbire obubonero ku kkubo, weekolere empagi ezitegeeza: teeka omutima gwo awali oluguudo, lye kkubo lye wafulumamu: komawo, ai omuwala wa Isiraeri, komawo mu bibuga byo bino.
22 Olituusa wa okutambula ng'odda eno n'eri, ai ggwe omuwala adda ennyuma? kubanga Mukama atonze ekigambo ekiggya mu nsi, omukazi alyetooloola omusajja.
23 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Oliboolyawo ne boogera nate eki.gambo kino mu nsi ya Yuda ne mu bibuga byayo, bwe ndikomyawo obusibe bwabwe, nti Mukama akuwe omukisa, ggwe ekifo omubeera obutuukirivu, ggwe olusozi olw'obutukuvu.
24 Awo Yuda n'ebibuga byayo byonna balituula omwo wamu; abalimi n'abo abatambula nga balina ebisibo.
25 Kubanga nzikusizza emmeeme ekooye, na buli mmeeme eriko obuyinike ngijjuzizza.
26 Awo ne ndyoka nzuukuka ne ndaba; otulo twange ne tumpoomera.
27 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndisiga ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda n'ensigo ey'abantu n'ensigo ey'ensolo.
28 Awo olulituuka nga bwe nnabalabiriranga okusimbula n'okumenyaamenya n'okusuula n'okuzikiriza n'okubonyaabonya; bwe ntyo bwe ndibalabirira okuzimba n'okusimba, bw'ayogera Mukama.
29 Mu nnaku ezo nga tebakyayogera nate nti Bakitaabwe balidde ezabbibu ezinyuunyuntula, n'amannyo g'abaana ganyenyeera.
30 Naye buli muntu alifa olw'obutali butuukirivti bwe ye: buli muntu alya ezabbibu ezinyuunyuntula, atttannyo ge ge galinyenyeera.
31 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndiragaana endagaano empya n'ennyumba ya Isiraeri n'ennyumba ya Yuda:
32 si ng'endagaano bwe yali gye nnalagaana ne bajjajjaabwe ku lunaku lwe nnabakwata ku mukono okubaggya mu nsi y'e Misiri; endagaano yange eyo ne bagimenya newakubadde nga nnali mbawasizza, bw'ayogera Mukama.
33 Naye eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw'ennaku ezo, bw'ayogera Mukama; nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby'omunda, era mu mutima gwabwe mwe ndigawandiikira; nange naabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange:
34 nga olwo omuntu tokyayigiriza munne na buli muntu muganda we nga boogera nti Manya Mukama: kubanga bonna balimmanya, okuva ku muto ku bo okutuuka ku mukulu ku bo, bw'ayogera Mukama: kubanga ndisonyiwa obutali butuukiri; vu bwabwe, n'ekibi kyabwe sirikijjukira nate.
35 Bw'atyo bw'ayogera Mukama awa enjuba okwakanga emisana n'okulagira. okw'omwezi n'emmunyeenye okwakanga ekiro, afukula ennyanja amayengo gaayo ne gawuuma; Mukama w'eggye lye linnya lye, nti
36 Ebiragiro bino bwe biriva mu maaso gange, bw'ayogera Mukama, kale n'ezzadde lya Isiraeri lirireka okuba eggwanga mu maaso gange ennaku zonna.
37 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Eggulu eriri waggulu oba nga liyinzika okugerebwa, n'emisingi gy'ensi oba nga giyinzika okukeberwa wansi, kale nange ndisuula ezzadde lyonna erya Isiraeri olwa byonna bye bakola, bw'ayogera Mukama.
38 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, ekibuga lwe kirizimbirwa Mukama okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku mulyango ogw'oku nsonda.
39 Oliboolyawo omugwa ogugera ne gufuluma nga guttulukuse okutuuka ku lusozi Galebu, era gulikyuka ne gutuuka ku Gowa.
40 N'ekiwonvu kyonna eky'emirambo n'eky'evvu n'ennimiro zonna okutuuka ku kagga Kidulooni, okutuuka ku nsonda ey'omulyango ogw'embalaasi okwolekera ebuvanjuba, kiriba kitukuvu eri Mukama: so tekirisimbulwa so tekirisuulibwa nate emirembe gyonna.
   

Essuula 32

[Ddayo waggulu]
1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama mu mwaka ogw'ekkumi ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda, gwe gwali omwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogwa Nebukadduneeza.
2 Awo mu biro ebyo eggye lya kabaka w'e Babulooni lyali lizingizizza Yerusaalemi: ne Yeremiya nnabbi yali asibiddwa mu luggya olw'abambowa, olwali mu nnyumba ya kabaka wa Yuda.
3 Kubanga Zeddekiya kabaka wa Yuda yali amusibye ng'ayogera nti Kiki ekikulaguza n'oyogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w'e Babulooni, naye alikimenya;
4 ne Zeddekiya kabaka wa Yuda taliwona mu mukono gw'Abakaludaaya, naye talirema kuweebwayo mu mukono gwa kabaka We Babulooni, era alyogera naye akamwa n'akamwa, n'amaaso ge galiraba amaaso g'oyo;
5 era alitwala Zeddekiya e Babulooni, era alibeera eyo okutuusa lwe ndimujjira, bw'ayogera Mukama: newakubadde nga mulwana n'Abakaludaaya, temuliraba kisa.
6 Awo Yeremiya n'ayogera nti Ekigambo kya Mukama kyajja gye ndi nga kyogera nti
7 Laba, Kanameri mutabani wa Sallumu kojja wo alijja gy'oli ng'ayogera nti Weegulire ennimiro yange eri mu Anasosi: kubanga okuginunula kukwo.
8 Awo Kanameri omwana wa kojja wange n'ajja gye ndi mu luggya olw'abambowa, ng'ekigambo bwe kyali ekya Mukama, n'annamba nti Nkwegayiridde, gula ennimiro yange eri mu Anasosi ekiri mu nsi ya Benyamini: kubanga obusika bubwo, n'okuginunula kukwo; weegulire wekka. Kale ne ndyoka ntegeera ng'ekyo kye kigambo kya Mukama. Ne ngola ennimiro eyali mu Anasosi eri Kanameri omwana wa kojja wange, ne mmupimira effeeza, sekeri eza ffeeza kkumi na musanvu.
9 Ne ngola ennimiro eyali mu Anasosi eri Kanameri omwana wa kojja wange, ne mmupimira effeeza, sekeri eza ffeeza kkumi na musanvu.
10 Ne mpandiika erinnya lyange ku kiwandiike ne nkissaako akabonero, ne mpita abajulirwa ne mmupimira effeeza mu minzaani.
11 Awo ne ntoola ekiwanduke eky'okugula, ekyo ekiteekeddwako akabonero ng'etteeka n'empisa bwe biri, era n'ekyo ekitaali kisibe:
12 ne mpaayo ekiwandiike eky'okugula eri Baluki mutabani wa Neriya mutabani wa Maseya, Kanameri omwana wa kojja wange nga waali n'abajulirwa nga weebali abaawandiika amannya gaabwe ku kiwandiike eky'okugula mu maaso g'Abayudaaya bonna abaatuulanga mu luggya olw'abambowa.
13 Ne nkuutira Baluki mu maaso gaabwe nga njogera nti
14 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Ddira ebiwandiike bino, ekiwandiiko kino eky'okugula, ekyo ekiteeke ddwako akabonero era n'ekiwandii ke kino ekitali kisibe, obitereke mi kintu eky'ebbumba; bimale ennaki nnyingi
15 Kubanga bw’ati bw'ayogera Mukama w'eggye Katonda wa Isiraeri nti Oliboolyawo ennyumba n'ennimiro n’ensuku ez'emizabbibu ne bigulirwa nate mu nsi eno.
16 Awo nga mmaze okuwaayo ekiwandiike eky'okugula eri Baluki mutabani wa Neriya, ne nsaba Mu kamanga njogera nti
17 Ai Mukama Katonda! laba, wafonda egguli n'ensi n'obuyinza bwo obungi n'omukoao gwo ogwagololwa; tewal kigambo kikulema:
18 akola enkumi n'enkumi eby'ekisa, n'osasula obutali butuukirivu bwa bakitaabwe mu kifuba ky'abaana baabwe abaddawo Katonda omukulu ow'amaanyi, Mukama w'eggye lye linnya lye
19 omukalu mu kuteesa: era ow'amaanyi mu kukola emirimu: amaaso go gatunuulira amakubo gonna ag'abaana b'abantu; okuwa buli muntu ng'amakubo ge bwe gali era ng'ebibala by'ebikolwa bye bwe biri:
20 eyassaawo obubonero n'eby'amagero mu nsi y'e Misiri ne leero, mu Isiraeri era ne mu bantu abalala; ne weefunira erinnya nga leero:
21 n'oggya abantu bo Isiraeri mu nsi y'e Misiri n'obubonero n'eby'amagero n'engalo ez'a maanyi n'omukono ogwagololwa We ntiisa nnyingi;
22 n'obawa ensi eno gye walayirira bajjajjaabwe okubawa, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki;
23 ne bayingira ne bagirya; naye ne batagondera ddoboozi lyo, so tebaatambulira mu mateeka go; tebaakolanga kigambo kyonna ku ebyo byonna bye wabalagira okukola: kyewava obaleetako obubi buno bwonna
24 laba entuumo, zituuse mu kibuga okukimenya; ekibuga n'ekiweebwayo mu mukono gw'Abakalu daaya abalwana nakyo olw'ekitala n’enjala ne kawumpuli: era ebyo by wayogera bituukiridde; era, laba obitunuulidde.
25 Era oŋŋambye si Mukama Katonda, nti Weegulire ennimiro n'ebintu oyite abajulirwa era naye ekibuga kiweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.
26 Awo ekigambo kya Mukama e kijjira Yeremiya nga kyogere nti
27 Laba, nze ndi Mukama Katonda w'abo bonna abalina omubiri: waliwo ekigambo kyonna ekinnema?
28 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndiwaayo ekibuga kino mu mukono gw'Abakaludaaya mu mukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni, era alikimenya:
29 n'Abakaludaaya abawanyisa ekibuga kino balijja balikoleeza ekibuga kino ne bakyokya n’ennyumba ze baayotererezangako waggulu obubaane Baali, ne bafukira bakatonda abalala ebiweebwayo ebyokunywa okunsunguwaza.
30 Kubanga abaana ba Isiraeri n'abaana ba Yuda baakakola ebyali ebibi mu maaso gange ebyereere okuva mu buto bwabwe kubanga abaana ba Isiraeri bansunguwaza busunguwaza n'omulimi ogw'engalo zaabwe, bw'ayogera Mukama.
31 Kubanga ekibuga kino kyaleetanga obusungu bwange n’ekiruyi kyange okuva ku lunaku lwe baakizimba ne leero; nkijjulule kukiggya mu maaso gange:
32 olw'obubi bwonna obw'abaana Isiraeri n'obw'abaana ba Yuda bwe baakola okunsunguwaza, bo ne kakabaka baabwe, abakungu baabwe, bakabona baabwe ne bannabbi baabwe, n'abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi.
33 Era bankubye nkoona so si maaso: era newakubadde nga nabayigiriza, nga ngolooka mu makya ne mbayigiriza; aye tebaawulirizanga okukkiriza kuyiga.
34 Naye ne bateeka emizizo gyabwe mu nnyumba eyitibwa erinnya lyange okugyonoona.
35 Era baazimba ebifo ebigulumivu bya Baali ebiri mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, okuyisa bataani baabwe n'abawala baabwe mu muliro eri Moleki; kye sibalagiranga so tekijjanga mu mwoyo gwange, bakole omuzizo ogwo; okwonooyesa Yuda.
36 Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri eby'ekibuga kino kye mwogerako nti Kiweereddwayo mu mukono gwa abaka w’e Babulooni, olw'ekitala n'enjala ne kawumpuli, nti
37 Laba, ndibakunijaanya okubaggya mu nsi zonna gye nnabagobera mu busungu bwange ne mu kiruyi kyange ne mu bukambwe obungi: era ndibakomyawo mu kifo kiao, era ndibatuuza mirembe:
38 era banaabanga bantu bange, nange naabanga Katonda waabwe:
39 era ndibawa omutima gumu n'ekkubo limu bantyenga ennaku zonna; balyoke babenga bulungi bo n'abaana baabwe abaliddawo:
40 era ndiragaana nabo endagaano eteriggwaawo, obutakyuka okubaleka okubakola obulungi; era nditeeka entiisa yange mu mitima gyabwe baleme okunvaako.
41 Weewaawo, ndibasanyukira okubakolanga obulungi, era sirirema kubasimba mu nsi eno n'omutima gwange gwonna n'emmeeme yange yonna.
42 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Nga bwe ndeese obubi buno bwonna obunene ku bantu bano, bwe ntyo bwe ndibaleetako obulungi bwonna bwe nnabasuubizza.
43 Kale ennimiro zirigulirwa mu nsi eno gye mwogerako nti Ezise, temuli muntu newakubadde ensolo; eweereddwayo mu mukono gw'Abakaludaaya.
44 Abantu baligula ennimiro n'ebintu, ne bawandiika amannya gaabwe ku biwandiike ne babiteekako obubonero ne bayita abajulirwa mu nsi ya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Yerusaalemi ne mu bibuga bya Yuda ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi ne mu bibuga eby'omu nsenyi ne mu bibuga eby'obukiika obwa ddyo: kubanga ndikomyawo obusibe bwabwe, bw'ayogera Mukama.
   

Essuula 33

[Ddayo waggulu]
1 Era nate ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya omulundi ogw'okubiri, bwe yali ng'akyasibibwa mu luggya olw'abambowa, nga kyogera nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama akikola, Mukama akibumba okukinyweza Mukama lye linnya lye; nti
3 Mpita, nange naakuyitaba ne nkwolesa ebikulu n'ebizibu by'otomanyi.
4 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri eby'ennyumba ez'omu kibuga kino n'eby'ennyumba za bassekabaka ba Yuda ezaabizibwa okulwana ne nkomera n'ekitala, nti
5 Bajja okulwana n'Abakaludaaya, naye kuzijjuza bujjuza mirambo gya bantu be nzise n'obusungu bwange n'ekiruyi kyange, obubi bwabwe bwonna bwe bunkisizisizza amaaso gange ekibuga kino:
6 Laba, ndikireetera obulamu a'okuwoayezebwa, nange ndibawonya; era ndibabikkulira emirembe n'amazima bingi nnyo nnyini.
7 Era ndikomyawo obusibe bwa Yuda n'obusibe bwa Isiraeri, era ndibazimba ng'olubereberye.
8 Era ndibanaazaako obutali butuukirivu bwabwe bwotma bwe bannyonoona; era ndisonyiwa obutali butuukirivu bwabwe bwonna bwe bannyonooaa era bwe bansobya.
9 N'ekibuga kino kiriba gye ndi erinnya ery'essanyu, n'ettendo n'ekitiibwa, mu maaso g'amawanga gonna ag'oku nsi agaliwulira obulungi bwonna bwe mbakola, ne batya ne bakankana olw'obulungi bwonna n'olw'emirembe gyonna bye nkifunira.
10 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oliboolyawo ne muwulirwa mu kifa kino kye mwogerako nti Kizise, temuli muntu newakubadde ensolo, mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi ezizise nga temuli muntu newakubadde azibeeramu, era nga temuli nsolo,
11 eddoboozi ery'okusanyuka n'eddoboozi ery'okujaguza, eddoboozi ly'awasa omugole n'eddoboozi ly'omugole, eddoboozi ly'abo aboogera nti Mumwebaze Mukama w'eggye kubanga Mukama mulungi, kubanga okusaasira kwe kwa lubeerera: n'ery'abo abaleeta ssaddaaka ez'okwebaza mu nnyumba ya Mukama. Kubanga ndikomyawo obusibe obw'ensi ng'olubereberye, bw'ayogera Mukama w'eggye.
12 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ne mubeera mu kifo kino ekizise, nga temuli muntu era nga temuli nsolo, ne mu bibuga byakyo byonna, olusiisira olw'abasumba abagalamiza ebisibo byabwe.
13 Ebisibo biriyita nate wansi w'emikono gy'oyo abibala mu bibuga eby'omu nsi ey'ensozi ne mu bibuga eby'omu nsi ey'ensenyi ne mu bibuga eby'obukiika obwa ddyo ne mu nsi ya Benyamini ne mu bifo ebiriraanye Y erusaalemi ne mu bibuga bya Yuda, bw'ayogera Mukama.
14 Laba, ennaku zijja, bw'ayogera Mukama, lwe ndituukiriza ekigambo ekyo ekirungi kye nnayogera ku nnyumba ya Isiraeri ne ku nnyumba ya Yuda.
15 Mu nnaku ezo ne mu biro ebyo ndimereza Dawudi Ettabi ery'oburuukirivu; era oyo alituukiriza eby'obutuukirivu n'eby'ensonga mu nsi.
16 Mu nnaku ezo Yuda alirokoka ne Yerusaalemi kirituula mirembe: na lino lye linnya lye kirituumibwa, nti Mukama bwe butuukirivu bwaffe.
17 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti Dawudi taabulwenga musajja wa kutuula ku ntebe ey'ennyumba ya Isiraeri emirembe gyonna;
18 so ne bakabona, Abaleevi, tebaabulwenga musajja mu maaso gange ow'okuwangayo ebiweebwayo ebyokebwa n'okwokya ebitone n'okusalanga ssaddaaka olutata.
19 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kyogera nti
20 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oba nga muyinza okumenya endagaano yange ey'emisana n'endagaano yange ey'ekiro, waleme okubaawo emisana n'ekiro mu ntuuko zaabyo;
21 kale n’endagaano eyinzika okumenyeka eri Dawudi omuddu wange, aleme okuba a'omwana okufugira ku ntebe ye; n'eri Abaleevi, bakabona, abaweereza bange.
22 Ng'eggye ery'omu ggulu bwe litayinzika kubalibwa, so n'omusenyu ogw'ennyanja okugerebwa; bwe ntyo bwe ndyaza ezzadde lya Dawudi omuddu wange n'Abaleevi abampeereza.
23 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nga kyogera nti
24 Tolowooza abantu bano bye boogedde! nti Enda zombi Mukama ze yalonda azisudde? bwe batyo bwe banyooma abantu bange baleme okuba nate eggwanga mu maaso gaabwe.
25 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Endagaano yange ey'emisana n'ekiro oba nga tenywera, oba nga sassaawo biragiro by'eggulu n'ensi;
26 kale ndisuula n'ezzadde lya Yakobo n'erya Dawudi omuddu wange, nneme okutwala ku zzadde lye okufugaaga ezzadde lya Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo: kubanga ndikomyawo obusibe bwabwe, era ndibasaasira.
   

Essuula 34

[Ddayo waggulu]
1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n'eggye lye lyonna n'ensi zonna eza bakabaka ez'oku nsi zaatwala n'amawanga gonna bwe baalwana ne Yerusaalemi n'ebibuga byakyo byonna, nga kyogera nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Genda ogambe Zeddekiya kabaka wa Yuda omubuulire nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndigabula ekibuga kino mu mukono gwa kabaka We Babulooni, era alikyokya omuliro:
3 so naawe toliwona mu mukono gwe, naye tolirema kuwambibwa n'oweebwayo mu mukono gwe; n'amaaso go galiraba amaaso ga kabaka w'e Babulooni, era alyogera naawe akamwa n'akamwa, era oligenda e Babulooni.
4 Era naye wulira ekigambo kya Mukama, ai Zeddekiya kabaka wa Yuda; bw'ati bw'ayogera Mukama ku ggwe nti Tolifa na kitala;
5 olifa mirembe; era ng'okwokya bwe kwabanga okwa bajjajjaabo bassekabaka ab'edda abaakusooka, bwe batyo bwe balikukolera okwokya; era balikukungubagira nga boogera nti Woowe, Mukama waffe! kubanga njogedde ekigambo ekyo, bw'ayogera Mukama.
6 Awo Yeremiya nnabbi n'agamba Zeddekiya kabaka wa Yuda ebigambo ebyo byonna mu Yerusaalemi,
7 eggye lya kabaka w’e Babulooni bwe lyali nga lirwana ne Yerusaalemi n'ebibuga byonna ebya Yuda ebyali bisigaddewo, Lakisi ne Azeka; kubanga ebyo byokka bye byasigalawo ku bibuga bya Yuda nga biriko enkomera.
8 Ekigambo ekyajjira Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yali ng'amaze okulagaana endagaano n'abantu bonna abaali mu Yerusaalemi, okubalangira eddembe;
9 buli muntu ate omuddu we na buli muntu ate omuzaana we, oba nga Omwebbulaniya, musajja oba mukazi, okuba ow'eddembe; waleme okubaawo abafuula abaddu, Omuyudaaya muganda we:
10 awo abakungu bonna n'abantu bonna ne bagonda, abaali balagaanye endagaano buli muntu okuta omuddu we na buli muntu okuta omuzaana we okuba ow'eddembe, baleme kufuulibwa abaddu nate; ne bagonda ne babata:
11 naye oluvannyuma ne bakyuka, ne bakomyawo abaddu n'abazaana be baali batadde, ne babafuga okuba abaddu n'abazaana:
12 ekigambo kya Mukama kyekyava kijjira Yeremiya okuva eri Mukama nga kyogera nti
13 Bw'ati bw'ayogera Mukama Katonda wa Isiraeri nti Nalagaana endagaano ne bajjajjammwe ku lunaku kwe nnabaggira mu nsi y'e Misiri mu nnyumba ey'obuddu, nga njogera nti
14 Emyaka musanvu bwe giggwangako, mutanga buli muntu muganda we Omwebbulaniya gwe baakuguza era eyakuweerereza emyaka mukaaga, omutanga okuba ow'eddembe okuva w'oli: naye bajjajjammwe ne batampulira, so tebaatega kutu kwabwe.
15 Nammwe kaakano mwali mukyuse era nga mukoze ekiri mu maaso gange ekirungi, nga mulangirira eddembe buli muntu eri munne; era mwali mulagaanidde endagaano mu maaso gange mu nnyumba etuumiddwa erinnya lyange:
16 Naye ne mukyuka ne muvumisa erinnya lyange, ne mukomyawo buli muntu omuddu we na buli muntu omuzaana we, be mwali mutadde okuba ab'eddembe nga bwe baagala; ne mubafuga okuba gye muli abaddu n'abazaana.
17 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Temumpulidde okulangira eddembe buli muntu eri muganda we na buli muntu eri munne: laba, nze mbalangira mmwe eddembe, bw'ayogera Mukama, eri ekitala n'eri kawumpuli n'eri enjala; era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu nsi zonna eza bakabaka ez'oku ttaka.
18 Era ndiwaayo abasajja abaasobya endagaano yange abatakoze bigambo byandagaano gye baalagaanira mu maaso gange, bwe baasala mu nnyana ebitundu ebibiri ne bayita wakati w'ebitundu byayo;
19 okuvaayo ndibawaayo mu mukono rtv'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwawe: n'emirambo gyabwe giriba nmere eri ennyonyi ez'omu ggulu n’eri ensolo ez'omu nsi. okuvaayo ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwawe: n'emirambo gyabwe giriba nmere eri ennyonyi ez'omu ggulu n’eri ensolo ez'omu nsi.
20 okuvaayo ndibawaayo mu mukono gw'abalabe baabwe ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwawe: n'emirambo gyabwe giriba nmere eri ennyonyi ez'omu ggulu n’eri ensolo ez'omu nsi.
21 Era Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abamngu be ndibawaayo mu mukono w'abalabe baabwe, ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe, ne mu mukono gw'eggye lya kabaka w’e Babulooni ababavuddeko abambuse.
22 Laba, ndiragira, bw'ayogera Mukama, ne mbakomyawo ku kibuga kino; era balirwana nakyo ne bakimenya ne bakyokya omuliro: era ndifuula ebibuga bya Yuda amatongo nga temuli abibeeramu.
   

Essuula 35

[Ddayo waggulu]
1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama mu mirembe gya Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda nga kyogera nti
2 Genda eri ekika eky'Abalekabu oyogere nabo obayingize mu nnyumba. ya Mukama, mu kisenge ekimu, obawe omwenge okunywa.
3 Kale ne ntwala Yaazaniya mutabani wa Yeremiya mutabani wa Kabazziniya ne baganda be ne batabani be bonna n'ekika kyonna eky'Abalekabu;
4 ne mbayingiza mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya batabani ba Kanani mutabani wa Igudaliya omusajja wa Katonda, ekyaliraana ekisenge eky'abakungu, ekyali waggulu w'ekisenge kya Maaseya mutabani wa Sallumu omuggazi:
5 ne nteeka ebita ebijjudde omwenge n'ebikompe mu maaso g'abaana b'ekika eky'Abalekabu, ne mbagamba nti Munywe omwenge.
6 Naye bo ne boogera nti Tetuunywe ku mwenge: kubanga Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe yatulagira ng'ayogera nti Temunywanga ku mwenge, mmwe newakubadde batabani bammwe, emirembe gyonna:
7 so temuzimbanga nnyumba so temusnganga nsigo, so temusimbanga lusuku lwa mizabbibu so temubanga nazo: naye munaamalanga ennaku zammwe zonna mu weema; muwangaale ennaku nnyingi mu nzi gye mutuulamu.
8 Era twagondera eddoboozi lya Yonadaabu mutabani wa Lekabu jjajjaffe mu byonna bye yatukuutira, obutanywanga ku menge ennaku zaffe zonna, ffe ne bakazi baffe ne batabani baffe ne bawala baffe;
9 newakubadde okwezimbira ennyumba okutuulamu: so tetulina lusuku lwa mizabbibu newakubadde ennimiro newakubadde ensigo.
10 naye twabanga mu weema ne tugonda ne tukola nga byonna bwe byali Yonadaabu jjajjaffe bye yatulagira.
11 Naye olwatuuka Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni bwe yatabaala ensi, ne twogera nti Mujje tugende e Yerusaalemi olw'okutya eggye ery'Abakaludaaya n'olw'okutya eggye ery'Abasuuli; kyetuva tubeera e Yerusaalemi.
12 Awo ekigambo kya Mukama ne kiryoka kijjira Yeremiya nga kyogera nti
13 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Genda obagambe abasajja ba Yuda n'abali mu Yerusaalemi nti Temukkirize kuyigirizibwa okuwuliriza ebigambo byange? bw'ayogera Mukama.
14 Ebigambo bya Yonadaabu mutabani wa Lekabu bye yalagira batabani be, obutanywanga ku mwenge, byatuukirizibwa, so tebanywako na guno gujwa, kubanga bagondera ekiragiro kya jjajjaabwe: naye nze nayogera nammwe, aga ngolokoka mu makya ne njogera; so temumpulirizanga.
15 N'okutuma mbatumidde abaddu bange bonna bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma, nga njogera nti Mudde nno buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi, mulongoose ebikolwa byammwe, so temugobereranga bakatonda abalala okubaweerezanga, kale mulituula mu nsi gye nnawa mmwe ne bajjajjammwe; naye temuteganga kutu kwammwe so temumpulirizanga.
16 Kubanga batabani ba Yonadaabu mutabani wa Lekabu batuukirizza ekiragiro kya jjajjaabwe kye yabalagira, naye abantu bano tebampulirizza;
17 Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Laba, ndireeta ku Yuda ne ku abo bonna abali mu Yerusaalenu obubi bwonna bwe nnaakaboogerako: kubanga nayogera nabo, naye ne batawulira; era mbayise, naye ne batayitaba.
18 Awo Yeremiya n'agamba ekika eky'Abalekabu nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Kubanga mugondedde ekiragiro kya Yonadaabu jjajjajjammwe ne mukwata byonna bye yakuutira ne mukola nga byonna bwe byali bye yabalagira;
19 Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, kyava ayogera bw'ati nti Yonadaabu mutabani wa Lekabu taabulwenga musajja wa kuyimirira mu maaso gange ennaku zonna.
   

Essuula 36

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda ekigambo kino ne kijjira Yeremiya ekyava eri Mukama nga kyogera nti
2 Ddira omuzingo gw'ekitabo, owandiike omwo ebigambo byonna bye nnakubuuliranga eri Isiraeri n'eri Yuda n'eri amawanga gonna, okuva ku lunaku lwe nnayogera naawe, okuva ku mirembe gya Yosiya, ne leero.
3 Mpozzi ennyumba ya Yuda baliwulira obubi bwonna bwe nteesa okubakola; era badde buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi; ndyoke nsonyiwe obutali butuukirivu bwabwe n'ekibi kyabwe.
4 Awo Yeremiya n'ayita Baluki mutabani wa Neriya; Baluki n'awandiika ku muzingo gw'ekitabo ng'aggya mu kamwa ka Yeremiya ebigambo byonna ebya Mukama bye yali amubuulidde.
5 Awo Yeremiya n'alagira Baluki ng'ayogera nti Nsibiddwa; siyinza kuyingira mu nnyumba. ya Mukama:
6 kale genda ggwe osome mu muzingo gw'owandiise ng'oggya mu kamwa kange ebigambo bya Mukama, mu matu g'abantu mu nnyumba. ya Mukama ku lunaku olw'okusiibirako: era obisomanga ne mu matu g'abaYuda bonna abava mu bibuga byabwe.
7 Mpozzi balireeta okwegayirira kwabwe mu maaso ga Mukama, ne badda buli muntu okuleka ekkubo lye ebbi: kubanga obusungu n'ekiruyi Mukama by'ayogedde eri abantu bano binene.
8 Awo Baluki mutabani wa Neriya n'akola nga byonna bwe byali Yeremiya nnabbi bye yamulagira, ng'asoma mu kitabo ebigambo bya Mukama mu nnyumba ya Mukama.
9 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okutaano ogwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'omwenda, abantu bonna abaali mu Yerusaalemi n'abantu bonna abaava mu bibuga bya Yuda ne bajja e Yerusaalemi ne balangira okusiiba mu maaso ga Mukama.
10 Awo Baluki n'asoma mu kitabo ebigambo bya Yeremiya mu nnyumba ya Mukama, mu kisenge kya Gemaliya mutabani wa Safani omuwandiisi, mu luggya olw'engulu awayingirirwa mu mulyango omuggya ogw'ennyumba ya Mukama, mu matu g'abantu bonna.
11 Awo Mikaaya mutabani wa Gemaliya mutabani wa Safani bwe yawulira mu kitabo ebigambo byonna ebya Mukama,
12 n'aserengeta mu nnyumba ya kabaka mu kisenge eky'omuwandiisi: kale, laba, abakungu bonna nga batudde omwo, Erisaama omuwandiisi ne Deraya mutabani wa Semaaya ne Erunasani mutabani wa Akubooli ne Gemaliya mutabani wa Safani ne Zeddekiya mutabani wa Kananiya n'abakungu bonna.
13 Awo Mikaaya n'alyoka ababuulira ebigambo byonna bye yali awulidde, Baluki bw'asomye ekitabo mu matu g'abantu.
14 Abakungu bonna kyebaava batuma Yekudi. mutabani wa Nesaniya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki nga boogera nti Ddira omuzingo gw'ekitabo mw'osomye mu matu g'abantu mu mukono gwo, ojje. Awo Baluki mutabani wa Neriya n'addira omuzingo mu mukono gwe n'ajja gye baali.
15 Ne bamugamba nti Tuula nno obisome mu matu gaffe. Kale Baluki n'abisoma mu matu gaabwe.
16 Awo olwatuuka bwe baamala okuwulira ebigambo byonna, ne batunulaganako nga batya, ne bagamba Baluki nti Tetuuleme kubuulira kabaka ebigambo ebyo byonna.
17 Ne babuuza Baluki nga boogera nti Tubuulire nno, wawandiika otya ebigambo ebyo byonna ng'oggya mu kamwa ke?
18 Awo Baluki n'abaddamu nti Ye yambuulira ebigambo ebyo byonna n'akamwa ke, nange ne mbiwandiika ne buyino.
19 Awo abakungu ne bagamba Baluki nti Genda weekweke, ggwe ne Yeremiya; so omuntu yenna aleme okumanya gye muli.
20 Awo ne bayingira eri kabaka mu luggya; naye nga bamaze okutereka omuzingo mu kisenge kya Erisaasna omuwandiisi; ne babvulira ebigambo byonna mu matu ga kabaka.
21 Awo kabaka n'atuma Yekudi okukima omuzingo: n'aguggya mu kisenge kya Erisaama omuwandiisi. Awo Yekudi n'agusoma mu matu ga kabaka ne mu matu g'abakungu bonna abaayimirira okuliraana kabaka.
22 Awo kabaka yali atudde mu nnytuaba ey'ebiro by'obutiti mu mwezi ogw'omwenda: era omuliro nga guli mu lubumbiro nga gwaka mu maaso ge.
23 Awo olwatuuka Yekudi bwe yamala okusoma empapula ssatu oba nnya, kabaka n'agusala n'akambe ak'omuwandiisi n'agusuula mu muliro ogwali mu lubumbiro, omuzingo ne guggiira mu muliro ogwali mu lubumbiro.
24 So tebaatya so tebaayuza byambalo byabwe, kabaka newakubadde abaddu be n'omu abaawulira ebigambo ebyo byonna.
25 Era nate Erunasani ne Deraya ne Gemaliya baali bamwegayiridde kabaka obutayokya muzingo; naye n'atakkiriza kubawulira.
26 Awo kabaka n'alagira Yerameeri omwana wa kabaka ne Seraya mutabani wa Azuliyeeri ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne Yeremiya nnabbi: naye Mukama n'abakweka.
27 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya, kabaka ng'amaze okwokya omuzingo n'ebigambo Baluki bye yawandiika ng'abiggya mu kamwa ka Yeremiya, nga kyogera nti
28 Ddira nate omuzingo omulala, owandiike omwo ebigambo byonna ebyasooka ebyali mu muzingo ogw'olubereberye Yekoyakimu kabaka wa Yuda gw'ayokezza.
29 Era ebya Yekoyakimu kabaka wa Yuda olyogera nti Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Oyokezza omuzingo guno ng'oyogera nti Kiki ekikuwandiisizza omwo ng'oyogera nti Kabaka w'e Babulooni talirema kujja n'azikiriza easi eno, era alimalawo omwo omuntu n'ensolo?
30 Mukama kyava ayogera bw'ati ebya Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti Taliba na wa kutuula ku ntebe ya Dawudi n'omu: n'omulambo gwe gulisuulibwa eri olubugumu emisana n'eri empewo ekiro.
31 Era ndimubonereza n'ezzadde lye n'abaddu be olw'obutali butuukiriw bwabwe; era ndibaleetako ne ku abo abali mu Yerusaalemi ne ku basajja ba Yuda obubi bwonna bwe nnaakaboogerako, naye ne batawulira.
32 Awo Yeremiya n'addira omuzingo ogw'okubiri, n'agumuwa Baluki omuwandiisi mutabani wa Neriya; ye n'awandiika omwo ng'aggya mu kamwa ka Yeremiya ebigambo byonna eby'omu kitaba Yekoyakimu kabaka wa Yuda kye yayokya mu muliro: era ne byongerwako ebigambo bingi ebibifaanana.
   

Essuula 37

[Ddayo waggulu]
1 Awo Zeddekiya mutabaai wa Yosiya n'afuga nga ye kabaka mu kifo kya Koniya mutabani wa Yekoyakimu Nebukadduleeza kabaka We Babulooni gwe yafuula kabaka mu nsi ya Yuda.
2 Naye teyawuliranga bigambo bya Mukama bye yayogerera mu nnabbi Yeremiya, ye newakubadde abaddu be newakubadde abantu ab'omu nsi.
3 Awo Zeddekiya kabaka n'atuma Yekukaali mutabani wa Seremiya ne Zeffaniya mutabani wa Maaseya kabona eri nnabbi Yeremiya, ng'ayogera nti Tusabire nno eri Mukama Katonda waffe.
4 Era Yeremiya yayingiranga n'afulumanga mu bantu: kubanga baali tebaanamuteeka mu kkomera.
5 Era eggye lya Falaawo lyali livudde mu Misiri; awo Abakaludaaya abaali bazingizza Yerusaalemi bwe baawulira ebigambo byabwe, ne basaasaana okuva ku Yerusaalemi.
6 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Yeremiya nga kyogera nti
7 Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti Bwe muti bwe muba mugamba kabaka wa Yuda eyabatuma gye ndi okumbuuza; nti Laba, eggye lya Falaawo eritabadde okubayamba liridda mu Misiri mu nsi yaabalyo.
8 Era Abakaludaaya balikomawo ne balwanyisa ekibuga kino; era baIikimenya ne bakyokya omuliro.
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temwerimba nga mwogera nti Abakaludaaya tebalirema kutuvaako: kubanga tebalibavaako.
10 Kuba newakubadde nga mwandigobye eggye lyonna ery'Abakaludaaya abalwana nammwe ne musigala mu bo ab'ebiwundu bokka, era naye bandigolokose buli muntu mu weema ye ne bookya ekibuga kino omuliro:
11 Awo olwatuuka eggye ery'Abakaludaaya bwe lyamala okusaasaana okuva ku Yerusaalemi olw'okutya eggye lya Falaawo,
12 kale Yeremiya n’afuluma mu Yentsaalemi okugenda mu nsi ya Benyamini okuweebwa omugabo gwe eyo wakati mu bantu.
13 Awo bwe yali mu mulyango gwa Benyamini, omukulu w'abambowa yali ali eyo, erinnya lye Iriya mutabani wa Seremiya mutabani wa Kananiya; n'akwata Yeremiya nnabbi ng'ayogera nti Osenga Abakaludaaya.
14 Awo Yeremiya n'ayogera nti Olimba; sisenga Bakaludaaya; naye n'atamuwulira: kale Iriya n'akwata Yeremiya n'amuleeta eri abakungu.
15 Awo abakangu ne basunguwaiira Yeremiya ne bamukuba ne bamuteeka mu kkomera mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi; kubanga gye baali bafudde ekkonera.
16 Awo Yeremiya bwe yatuuka mu nnyumba ey'obunnya ne mu buyu, era Yeremiya bwe yali ng'amaze ennaku nnyingi omwo;
17 awo Zeddekiya kabaka n'atuma n'amukima: kabaka n'amubuuza kyama mu nnyumba ye n'ayogera nti Waliwo ekigambo kyonna ekivudde eri Mukama? Awo Yeremiya n'ayogera nti Weekiri. Era n'ayogera nti Oliweebwayo mu mukono gwa kabaka w’e Babulooni.
18 Era nate Yeremiya n'agamba kabaka Zeddekiya nti Nali nkwoonye mu ki oba abaddu bo oba bantu bano, n'okuteeka ne muteeka mu kkomera?
19 Bannabbi bammwe nno bali ludda wa abaabalagulanga nga boogera nti Kabaka w'e Babulooni talibatabaala, newakubadde ensi eno?
20 Kale nno wulira, nkwegayiridde, ai mukama wange kabaka: okwegayirira kwange kkirizibwe mu maaso go, nkwegayiridde; oleme okunziza mu nnyumba ya Yonasaani omuwandiisi, nneme okufiira omwo.
21 Kale Zeddekiya kabaka n'alagira ne bateeka Yeremiya mu luggya olw'abambowa, ne bamuwa buli lunaku omugaati okuva ku luguudo abafumbi b'emigaati kwe baabeeranga, okutuusa emigaati gyonna egy'omu kibuga lwe gyaggwaawo. Awo Yeremiya n'abeera bw'atyo mu luggya olw'abambowa.
   

Essuula 38

[Ddayo waggulu]
1 Awo Sefatiya mutabani wa Mallani ne Gedaliya mutabani wa Pasukuli ne Yukali mutabani wa Seremiya ne Pasukuli mutabani wa Malukiya ne bawulira ebigambo Yeremiya bye yabuulira abantu bonna ng'ayogera nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Asigala mu kibuga muno alifa ekitala n'enjala ne kawumpuli naye oyo afiiluma n'agenda eri Abakaludaaya aliba mulamu, n'obulamu bwe buliba munyago gy'ali, era aliba mulamu.
3 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ekibuga kino tekirirema kuweebwayo mu mukono gw'eggye lya kabaka We Babulooni, naye alikimenya.
4 Awo abakungu ne bagamba kabaka nti Tukwegayiridde, omusajja ono attibwe; kubanga anafuya emikono gy'abasajja abalwanyi, abasigadde mu kibuga muno, n'emikono gy'abantu bonna, ng'abagamba ebigambo ebifaanana bwe bityo: kubanga omusajja ono tayagaliza mirembe bantu bano wabula obubi.
5 Awo Zeddekiya kabaka n'ayogera nti Laba, ali mu mukono gwammwe: kubanga kabaka si ye ayinza okukola ekigambo kyonna okubaziyiza.
6 Awo ne batwala Yeremiya ne bamusuula mu anyumba ey'obunnya eya Malukiya omwana wa kabaka eyali mu luggya olw'abambowa: ne bassa Yeremiya n'emigwa. So mu bunnya nga temuli mazzi wabula ebitosi: Yeremiya n'atubira mu bitosi.
7 Awo Ebedumereki Omuwesiyopya omulaawe eyali mu nnyumba ya kabaka bwe yawulira nga batadde Yeremiya mu bunnya; kabaka ng'atudde mu mu lyango gwa Benyamini;
8 awo Ebedumereki n'ava mu nnyumba ya kabaka n'agamba kabaka nti
9 Mukama wange kabaka, abasajja bano bakoze bubi mu byonna bye bakoze Yeremiya nnabbi gwe basudde mu bunnya; era ayagala kufiira mu kifo mw'ali olw'enjala: kubanga tewakyali mmere mu kibuga:
10 Awo kabaka n'alyoka alagira Ebedumereki Omuwesiyopya ng'ayogera nti Ggya wano abasajja amakumi asatu obatwale ogende nabo, olinnyise Yeremiya nnabbi ng'omuggya mu bunnya nga tannafa.
11 Awo Ebedumereki n'atwala abasajja abo n'agenda nabo, n'ayingira mu nnyumba ya kabaka wansi w'eggwanika, n’aggyayo ebiwero ebikadde ebyasuulibwa n’enziina eavundu n'azissiza ku migwa mu bunnya eri Yeremiya.
12 Awo Ebedumereki Omuwesiyopya n'agamba Yeremiya nti Teeka nno ebiwero bino ebikadde ebyasuulibwa n'euziina envundu mu nkwawa zo wansi w'emigwa. Awo Yeremiya n'akola bw'atyo.
13 Awo ne baggya Yeremiya mu bunnya nga bamuwalula n'emigwa egyo: awo Yeremiya n'abeera mu luggya olw'abambowa.
14 Awo Zeddekiya kabaka n'atuma n'aleeta Yeremiya nnabbi gy'ali mu mulyango ogw'okusatu oguli mu nnyumba ya Mukama: awo kabaka n'agamba Yeremiya nti Naakubuuza ekigambo; tonkisa kigambo kyonna.
15 Awo Yeremiya n'agamba Zeddekiya nti Bwe nnaakubuulira, tonzite? era bwe nnaakuweerera amagezi, tompulirize.
16 Awo Zeddekiya kabaka n'alayirira kyama Yeremiya ng'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyatukolera emmeeme eno, sirikutta, so sirikuwaayo mu mukono gw'abantu bano abanoonya obulamu bwo.
17 Awo Yeremiya n'alyoka agamba Zeddekiya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Bw'onoofuluma n'ogenda eri abakungu ba kabaka w'e Babulooni, kale emmeeme yo eriba nnamu n'ekibuga kino tekiryokebwa muliro;
18 naawe oliba mulamu n'ennyumba yo: naye bw'otokkirize kufuluma n'ogenda eri abakungu ba kabaka w'e Babulooni, kale ekibuga kino kiriweebwayo mu mukono gw'Abakaludaaya, era balikyokya omuliro, so naawe tolawona mu mukono gwabwe.
19 Awo Zeddekiya kabaka n'agamba Yeremiya nti ntidde Abayudaaya abasenze Abakaludaaya baleme okumpaayo mu mukono gwabwe, ne banduulira.
20 Naye Yeremiya n'ayogera nti Tebalikuwaayo, nkwegayiridde, gondera eddoboozi lya Mukama mu ekyo kye nkugamba: kale lw'oliba obulungi, n'emmeeme yo eriba nnamu.
21 Naye bw'onoogana okufuluma, kino kye kigambo Mukama ky'andaze:
22 Laba, abakazi bonna abasigadde mu nnyumba ya kabaka wa Yuda balifulumizibwa eri abakungu ba kabaka w’e Babulooni, era abakazi abo balyogera nti Mikwano gyo ennyo be baakuwaana, n'okusobola bakusobodde: ebigere byo nga bimaze okutubira mu bitosi, bazze ennyuma.
23 Era balifulumya bakazi bo bonna n'abaana bo eri Abakaludaaya: so toliwona mu mukono gwabwe, naye oliwambibwa n'omukono gwa kabaka We Babulooni: era olyokesa omuliro ekibuga kino.
24 Awo Zeddekiya n'alyoka agamba Yeremiya nti Omuntu yenna aleme okumanya ebigambo ebyo, kale tolifa.
25 Naye abakungu bwe baliwulira nga njogedde naawe ne bajja ne bakugamba nti Tubuulire nno bye wagamba kabaka; tokitukisa, naffe tetuukutte; era n'ebyo kabaka bye yakubuulira;
26 kale n'olyoka obagamba nti Naleeta okwegayirira kwange mu maaso ga kabaka aleme okunzizaayo mu nnyumba ya Yonasaani okufiira omwo.
27 Awo abakungu bonna ne bajja eri Yeremiya ne bamubuuza: n'ababuulira ng'ebigambo ebyo byonna bwe byali kabaka bye yali alagidde. Awo ne balekayo okwogera naye; kubanga ekigambo ekyo tekyategeerebwa.
28 Awo Yeremiya n'abeera mu luggya olw'abambowa okutuusa ku lunaku Yerusaalemi lwe kyamenyebwa.
   

Essuula 39

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka Yerusaalemi bwe kyamenyebwa, (mu mwaka ogw'omwenda ogwa Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mwezi ogw'ekkumi Nebukadduneeza kabaka We Babulooni mwe yajjira n'eggye lye lyonna okutabaala Yerusaalemi n'akizingiza;
2 mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu ogwa Zeddekiya mu mwezi ogw'okuna ku lunaku olw'omwezi olw'omwenda mwe baawagulira ekituli mu kibuga:)
3 abakungu bonna aba kabaka w’e Babulooni ne bayingira ne batuula mu mulyango ogwa wakati, Nerugalusalezeeri, Samugaluneebo, Salusekimu, Labusalisi, Nerugalusalezeeri, Labumagi, wamu n'abakungu bonna abalala aba kabaka w'e Babulooni.
4 Awo olwatuuka Zeddekiya kabaka wa Yuda n'abasajja bonna abalwanyi bwe baabalaba, kale ne badduka ne bava mu kibuga kiro mu kkubo ery'olusuku lwa kabaka, mu mulyango oguli wakati wa babbugwe ababiri: n'afuluma mu kkubo erya Alaba.
5 Naye eggye ery'Abakaludaaya ne libagoberera ne bayisiriza Zeddekiya mu nsenyi ez'e Yeriko: awo bwe baamala okumuwamba, ne bamuleeta eri Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni e Libula mu nsi ey'e Kamasi, n'amusalira omusango.
6 Awo kabaka w'e Babulooni n'attira batabani ba Zeddekiya e Libula ye ng'alaba: era kabaka w’e Babulooni n'atta n'abakungu bonna aba Yuda.
7 Era n'aggyamu Zeddekiya amaaso, n'amusiba n'amasamba okumutwala e Babulooni.
8 Abakaludaaya ne bookya ennyumba ya kabaka n'ennyumba ez'abantu omuliro, ne bamenyaamenya bbugwe wa Yerusaalemi.
9 Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala e Babulooni nga basibe abantu abafisseewo abaali basigadde mu kibuga, era n'abasenze abaamusenga, n'abantu abafisseewo abaali basigaddewo.
10 Naye Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'aleka ku baavu ab'omu bantu abaali batalina kintu mu nsi ya Yuda, n'abawa ensuku ez'emizabbibu n'ennimiro mu biro ebyo.
11 Awo Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni n'alagira Nebuzaladaani omukulu w'abambowa ebya Yeremiya ng'ayogera nti
12 Mutwale omukuume nnyo, so tomukola kabi; naye omukolanga era nga ye bw'anaakugambanga.
13 Awo Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atuma, ne Nebusazubaani, Labusalisi, ne Nerugalusalezeeri, Labumagi, n'abaami bonna abakulu aba kabaka w'e Babulooni;
14 ne batuma ne baggya Yeremiya mu luggya olw'abambowa ne bamukwasa Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani wa Safani amutwale eka: awo n'abeera mu bantu.
15 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya bwe yali ng'asibiddwa mu luggya olw'abambowa; nga kyogera nti
16 Genda ogambe Ebedumereki Omuwesiyopya nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isirarei nti Laba; ndireeta ebigambo byange ku kibuga kino olw'obubi so si lwa bulungi; era birituukirizibwa mu maaso go ku lunaku luli.
17 Naye ndikuwonyeza ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama: so toliweebwayo mt mukono gw'abasajja b'otya.
18 Kubanga Sirirema kukulokola so toligwa n'ekitala, naye obulami bwo buliba munyago gy'oli: kubanga weesize nze, bw'ayogera Mukama.
   

Essuula 40

[Ddayo waggulu]
1 Ekigambo ekyajjira Yeremiya ekyava eri Mukama, Nebuza ladaani omukulu w'abambowa bw yamala okumuteera mu Laama, bwe yamutwala ng'asibiddwa mu masamba mu basibe bonna ab'e Yerusaalemi ne Yuda abaatwalibwa Babulooni nga basibe.
2 Omukulu w'abambowa n'atwala Yeremiya n'amugamba nti Mukama Katonda wo yayogera obubi buno ku kifo kino
3 n'okuleeta Mukama abuleese, era akoze nga bwe yayogera; kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lye, ekigambo kir kyekivudde kibatuukako.
4 Ka nno, laba, nkusumulula leero mu masamba agali ku mukono gwo. Oba ng'osiima okujja nange okugenda e Babulooni, jjangu, nange naakukuumanga bulungi; naye oba ng'okiyita kibi okujja nange okugenda e Babulooni, lekayo: laba, ensi yonna eri mu maaso go gy'osiima okugenda era gy'osinga okwagala, gy'oba ogenda.
5 Awo bwe yali nga tannaddayo, n'ayogera nti Ddayo nno eri Gedaliya mutabani wa Akikamu mutabani Safani, kabaka w’e Babulooni gw’awadde okufuga ebibuga bya Yuda, obeere ewuwe mu bantu: oba genda yonna gy'osiima okugenda. Awo omukulu w'abambowa n'amuwa byokulya n'ekirabo n'amuta.
6 Awo Yeremiya n'agenda eri Gelaliya mutabani wa Akikamu e Mizupa, n'abeera ewuwe mu bantu, baali basigadde mu nsi.
7 Awo abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo, bo n'abaajja baabwe, bwe baawulira nga abaka w’e Babulooni awadde Gelaliya mutabani wa Akikamu okuuga ensi, era ng'amukwasizza abaajja n'abakazi n'abaana abato ne mu abo abasinga obwavu mu nsi, ku bo abataatwalibwa e Babulooni nga basibe;
8 awo ne bajja eri Gedaliya Mizupa, Isiraeri mutabani wa lesaniya ne Yokanani ne Yonasaani batabani ba Kaleya ne Seraya mutaiani wa Tanukumesi ne batabani ba Efayi Omunetofa, ne Yezaniya omwana w'omu Maakasi, bo n'abasajja baabwe.
9 Awo Gedaliya nutabani wa Akikamu mutabani wa Safani n'abalayirira bo n'abasajja baabwe ng'ayogera nti Temutya kuweereza Abakaludaaya: mubeere au nsi, muweerezenga kabaka w'e Sabulooni, era munaabanga bulungi.
10 Nze, laba, naabeeranga e Mizupa okuyimiriranga mu maaso Abakaludaaya abalijja gye tuli: naye mmwe mukuŋŋaanye omwenge n'ebibala eby'omu kyeya n'amafuta, mubiteeke mu bintu byammwe, mubeerenga mu bibuga byammwe ye mulidde.
11 Era bwe batyo Abayudaaya bonna abaali mu Mowaabu ne mu baana ba Amoni ne mu Edomu n'abo abaali mu nsi zonna bwe baawulira nga kabaka w'e Babulooni afissizzaawo ku Yuda ra ng'akuzizza ku bo Gedaliya mutabani wa Akikaamu mutabani wa Safani;
12 kale Abayudaaya bonna ne bakomawo nga bava mu bifo byonna gye baali babagobedde ne bajja mu nsi ya Yuda eri Gedaliya e Mizupa, ne bakuŋŋaanya mwenge n'ebibala eby'omu kyeya bingi nnyo nnyini.
13 Era nate Yokanani mutabani wa Kaleya n'abaami bonna ab'ebitongole abaali mu byalo ne bajja eri Gedaliya e Mizupa
14 ne bamugamba nti Omanyi nga Baalisi kabaka w'abaana ba Amoni atumye Isimaeri mutabani wa Nesaniya okukutta? Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'atabakkiriza.
15 Awo Yokanani mutabani wa Kaleya n'ayogera ne Gedaliya e Mizupa kyama ng'agamba nti Ka ŋŋende, nkwegayiridde, nzite Isimaeri mutabani wa Nesaniya, so tewaliba muntu alikimanya: yandikuttidde ki, Abayudaaya bonna abakuŋŋaanye gy'oli n'okusaasaana ne basaasaana, n'ekitundu kya Yuda ekifisseewo ne kizikirira?
16 Naye Gedaliya mutabani wa Akikamu n'agamba Yokanani mutabani wa Kaleya nti TokoIa kigambo ekyo: kubanga omuwaayiriza Isimaeri.
   

Next
Back