| |
|
|
| 1 |
Awo Yobu n'addamu n'ayogera nti |
| 2 |
Mazima mmanyi nga bwe kiri bwe kityo: Naye omuntu ayinza atya okuba n'obutuukirivu eri Katonda? |
| 3 |
Bw'aba nga ayagadde okuwakana naye Tayinza kumuddamu kigambo na kimu mu lukumi. |
| 4 |
Omutima gwe gwa magezi, era amaanyi ge mangi:. Ani eyali yeekakanyazizza eri ye n'alaba omukisa? |
| 5 |
Ajjulula ensozi ne zitamanya, Bw'azivuunisa obusungu bwe. |
| 6 |
Anyeenya ensi okuva mu kifo kyaya, Empagi zaayo ne zikankana. |
| 7 |
Alagira enjuba n'etevaayo; Era ateekako akabonero ku mmunyeenye. |
| 8 |
Abamba eggulu yekka, Era alinnyirira amayengo ag'ennyanja. |
| 9 |
Akola Nabaliyo, Enttmgalugoye, ne Kakaaga, N'ebisenge eby'obukiika obwa ddyo. |
| 10 |
Akola ebikulu ebitanoonyezeka; Weewaawo, eby'ekitalo ebitabalika. |
| 11 |
Laba, ampitako, ne ssimulaba: Era yeeyongerayo mu maaso, naye ne ssimutegeera. |
| 12 |
Laba, akwata omuyiggo, ani ayinza okumuziyiza? Ani anaamugamba nti Okola ki? |
| 13 |
Katonda taggyengawo busungu bwe; Ababeezi ba Lakabu bakutama wansi we. |
| 14 |
Nze sirisinga nnyo obutamuddamu, Ne nneerobaza ebigambo byange mpakane naye? |
| 15 |
Gwe sandizeemu newakubadde nga ndi mutuukirivu; Nandyegayidde omulabe wange. |
| 16 |
Singa ukoowodde naye ng'ajitabye; Era naye sandikkirizza ng'awulidde eddaboozi lyange. |
| 17 |
Kubanga ammenya ne kibuyaga, Era ayongera ebiwundu byange okunnanga obwereere |
| 18 |
Taŋŋaayenga kussa mukka, Naye anjijuza obubalagaze. |
| 19 |
Bwe twogera ku maanyi ag'omuyinza, laba, nga waali! Bwe twogera ku kusala omusango, ani arjanteekerawo ekiseera? |
| 20 |
Newakubadde nga ndi mutuukirivu, akamwa kange nze ke kanansalira omusango okunsinga: Newakubadde nga natuuhirira, kanantegeeza okuba omukyamu. |
| 21 |
Nze ndi muntu eyatuukirira; seerowooza nzekka; Nnyooma obulamu bwange. |
| 22 |
Bwonna bwe bumu; kyenva njogera nti Azikiriza oyo eyatuukirira n'omubi. |
| 23 |
Ekibonyoobonyo bwe kitta amangu ago, Alikudaalira okusalirwa omusango okw'abataliiko kabi. |
| 24 |
Ensi eweereddwayo mu mukono gw'omubi : Abikka ku maaso g'abalamuzi baayo; Oba nga si ye, kale ye ani? |
| 25 |
Ennaku zange nno ziwulukuka mangu okusinga omubaka: Zidduka, teziriiko bulungi bwe ziraba. |
| 26 |
Ziyise ng'amaato agatambula embiro Ng'empungu ekka ku muyiggo. |
| 27 |
Bwe njogera nti Nneerabira okwemulugunya kwange, Naasanyusa amaaso gange aganakuwadde ne ŋŋumya omwoyo: |
| 28 |
Awo nga ntidde obuyinike bwaage bwonna, Mmanyi nga tolimpita ataliiko musango. |
| 29 |
Omusango gulinsinga; Kale kiki ekinteganyisa obwereere? |
| 30 |
Bwe nnaaba amazzi ag'omuzira, Engalo zange newakubadde nga nzitukuza ntya; |
| 31 |
Era naye olinsuula mu lusalosalo, N'engoye zange nze zirintamwa. |
| 32 |
Kubanga ye si muntu nga nze bwe ndi, nze okumuddamu, Ffe okulabagana okuwoza omusango. |
| 33 |
Tewali mulamuzi ali wakati waffe, Eyandiyinzizza okuteeka omukono gwe ku ffe fembi. |
| 34 |
Anziyeeko omuggo gwe, So entiisa ye ereme okunkanga: |
| 35 |
Kale bwe nnandyogedde ne simutya: Kubanga si bwe ntyo bwe ndi nze nzekka. |
| |
|