| |
|
|
| 1 |
Awo Erifaazi Omutemani n’addamu n’ayogera nti |
| 2 |
Ow'amagezi yandizzeemu n'okumanya okutaliimu, N'ajjuza olubuto lwe n'embuyaga ez'ebuvanjuba? |
| 3 |
Yandiwakanye n'ebigambo ebitaliiko kye bigasa, Oba ng'ayogera ebitaliiko kye biyinza? |
| 4 |
Weewaawo, omalawo okutya, Era oziyiza okwagala Katonda mu maaso ge. |
| 5 |
Kubanga obutali butuukirivu bwo bwe buyigiriza akamwa ko, Era weeroboza olulimi lw'abagerengetanya. |
| 6 |
Akamwa ko ggwe ke kakusalira omusango okukusiaga so si nze; Weewaawo, emimwa gyo ggwe ye mujulirwa eri ggwe. |
| 7 |
Ggwe wasooka abaatu bonna okuzaalibwa? Oba ggwe baakuzaala ensozi nga tezinnabaawo? |
| 8 |
Wali owulidde okuteesa kwa Katonda okw'omu kyama? Era weeyita wa magezi wekka omu? |
| 9 |
Kiki ky'omaayi ffe kye tutamanyi? Kiki ky'otegeera ekitali mu ffe? |
| 10 |
Abameze envi n'abakadde ennyo bali wamu naffe, Abasinga ennyo kitaawo obukadde. |
| 11 |
Okusanyusa kwa Katonda kutono, tekukumala, N'ekigambo ekyogera naawe empola? |
| 12 |
Omutima gwo gukutwalira ki? N'amaaso go gatemeza ki? |
| 13 |
N'okukyusa omwoyo gwo okulwana ne Katonda, N'oleka ebigambo ebiri bwe bityo okuva mu kamwa ko. |
| 14 |
Omuntu kye kiki abeere omulongoofu? N'oyo azaalibwa omukazi abeere omutuukirivu? |
| 15 |
Laba, teyeesiga batukuvu be; Weewaawo, eggulu si ddongoofu mu maaso ge. |
| 16 |
Omugwagwa era omuvundu si ye asinga nnyo obutaba mulongoofu, Omuntu anywa obutali butuukirivu ng'amazzi! |
| 17 |
Naakwolesa, mpulira; N'ekyo kye ndabye kye nnaabuulira: |
| 18 |
(Ab'amagezi kye baabuuliranga Okuva ku bajjajjaabwe, ne batakikweka; |
| 19 |
Abaaweebwa ensi bokka, So tewali munnaggwanga eyayita mu bo:) |
| 20 |
Omubi aba lubuto lwa buyinike ennaku ze zonna, Gwe muwendo gw'emyaka egyamuterekerwa omujoozi. |
| 21 |
Eddoboozi ery'entiisa liba mu matu ge; Bw'aba ng'alabye omukisa omunyazi alimugwako: |
| 22 |
Takkiriza ng'alidda okuva mu kizikiza, Era ekitala kimulindirira: |
| 23 |
Atambuliratambulira ekyokulya ng'ayogera nti Kiri ludda wa? Amanyi ng'olunaku olw'ekizikiza lweteeseteese, luli ku mukono gwe. |
| 24 |
Okweraliikirira n'obubalagaze bimutiisa; Bimuwangula nga kabaka eyeeteeseteese okulwana: |
| 25 |
Kubanga agolodde omukono gwe eri Katonda, N'agirira Omuyinza w'ebintu byonna eby'ekyejo; |
| 26 |
Amufubutukirako ng'akakanyazizza ensingo ye, N'amakundi amanene ag'oku ngabo ze: |
| 27 |
Kubanga abisse ku maaso ge obugevvu bwe, Era aleese ebifi by'amasavu ku mbiriizi ze; |
| 28 |
Era yabeeranga mu bibuga eby'amatongo, Mu nnyumba omutali muntu, Ezaali zaaggla okufuuka ebifunvu. |
| 29 |
Taagaggawalenga so n'ebintu bye tebiibenga bya lubeerera, So n'ebibala byabwe tebiikutamenga okutuuka ku ttaka. |
| 30 |
Taavenga mu kizikiza; Omuliro gunaakazanga amatabi ge, Era anaavangawo olw'omukka ogw'omu kamwa ke. |
| 31 |
Aleme okwesiga ebitaliimu nga yeerimbalimba: Kubanga ebitaliimu bye binaabanga empeera ye. |
| 32 |
Eneekomekkerezebwanga ebiro bye nga tebinnatuukirira, N'ettabi lye teriggumizenga. |
| 33 |
Anaakunkumulanga ezabbibu ze ezitannaba kwengera ng'omuzabbibu, Era anaasinsimulanga ekimuli kye ng'omuzeyituuni. |
| 34 |
Kubanga ekibiina ky'abatatya Katonda kinaabanga kigumba, Era omuliro gunaayokyanga eweema ezinaalwangamu enguzi. |
| 35 |
Baba mbuto za bubi, ne bazaala obutali butuukirivu, N'olubuto lwabwe luteekateeka bukuusa. |
| |
|