| |
|
|
| 1 |
Nalagaana endagaano n’amaaso gange; Kale nandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala? |
| 2 |
Kubanga omugabo gwa Katonda oguva waggulu kye kiki, N'obusika obw'Omuyinza w'ebintu byonna obuva engulu? |
| 3 |
Si buyinike eri atali mutuukirivu, N'okulaba ennaku eri abakola eby'obujeemu? |
| 4 |
Talaba makubo gange, N'abala ebigere byange byonna? |
| 5 |
Oba nga nali ntambudde n'obutaliimu, Oba nga ekigere kyange kyanguye okukuusakuusa; |
| 6 |
(Mpimibwe mu minzaani eyenkanankana, Katonda alyoke amanye obutayonoona bwange;) |
| 7 |
Oba nga ekigere kyange kyali kikyamye mu kkubo, N'omutima gwange oba nga gwali gugoberedde amaaso gange, Era oba nga ebbala lyonna lyali lyegasse n'engalo zange: |
| 8 |
Kale nze nsige, omulala alye; Weewaawo, emmere ey'omu nnimiro yange esimbulibwe. |
| 9 |
Omutima gwange oba nga gwali gusendeddwa eri omukazi, Ne nteegera ku mulyango gwa munnange: |
| 10 |
Kale mukazi wange aseere omulala, Era abalala bakutame ku ye. |
| 11 |
Kubanga ekyo kyandibadde kya kiwe; Weewaawo, kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza: |
| 12 |
Kubanga muliro ogwokya ne guzikiriza, Era ogwagala okusimbula emmere yange yonna. |
| 13 |
Oba nga nali nnyoomye ensonga ey'omuddu wange oba omuzaana wange, Bwe bampawaabira: |
| 14 |
Kale ndikola ntya, Katonda bw'aligolokoka? Era bw'alinjijira, ndimuddamu ntya? |
| 15 |
Eyankola nze mu lubuto si ye yamukola ye? Eyatubumba mu lubuto fembi si omu? |
| 16 |
Oba nga nali nnyimye abaavu kye beegomba, Oba nali mazizzaawo amaaso ga nnamwandu; |
| 17 |
Oba nali ndidde akamere kange nzekka; So atalina kitaawe taliddeeko. |
| 18 |
(Nedda, okuva mu buto bwange yakulira wamu nange nga kitaawe, Ne nnamwandu n'abanga mulezi we okuva mu lubuto lwa mmange;) |
| 19 |
Oba nga nali ndabye n'omu ng'afa olw'okubulwa ebyambalo, Oba eyeetaaga nga talina kye yeebikka: |
| 20 |
Ekiwato kye oba nga tekyanneebaza, Era oba nga tabugumye na byoya bya ndiga zange; |
| 21 |
Oba nga nali nnyimusizza omukono gwange eri atalina kitaawe, Kubanga nalaba anannyamba mu mulyango: |
| 22 |
Kale ekibegabega kyange kive ku nkwakwa, N'omukono gwange gukutuke okuva ku ggumba. |
| 23 |
Kubanga bbuyinike obuva eri Katonda bwabanga ntiisa gye ndi, Era olw'obukulu bwe ne ssibaako kye nnyinza kukola. |
| 24 |
Oba nga nali nfudde zaabu okuba essuubi lyange, Era oba nga nali nnambye zaabu ennungi nti Ggwe bwesige bwange; |
| 25 |
Oba nga nali nsanyuse kubanga obugagga bwange bwali bungi, Era kubanga omukono gwange gwali gufunye bingi; |
| 26 |
Oba nga nali ntunuulidde enjuba, Oba omwezi nga gutambulira mu kumasamasa; |
| 27 |
Omutima gwange ne gusendebwa kyama, Akamwa kange ne kanywegera omukono gwange: |
| 28 |
Era n'ekyo kyandibadde kibi ekigwana abalamuzi okukibonereza: Kubanga nandirimbye Katonda ali waggulu. |
| 29 |
Oba nga nali nsanyukidde oyo eyankyawa ng'azikiridde, Oba nali neeyimusizza obubi bwe bwamulaba; |
| 30 |
(Weewaawo, saaganya kamwa kange kwonoona Nga nsaba obulamu bwe nga nkolima;) |
| 31 |
Abasajja ab'omu weema yange oba nga tebaayogera nti Ani ayinza okulaba omuntu atakkuse nnyama ye? |
| 32 |
Omugenyi teyasulanga mu luguudo; Naye n'aggulirangawo enzigi zange omutambuze; |
| 33 |
Oba nga nali mbisse ku kusobya kwange nga Adamu, Nga nkisa obutali butuukirivu bwange mu kifuba kyange; |
| 34 |
Kubanga nali ntidde ekibiina ekinene, N'okunyoomebwa ebika ne ku nkanga, N'okusirika ne nsirika ne ssiva mu mulyango. |
| 35 |
Singa wabaddewo anampulira! (Laba, kano ke kabonero kange Omuyinza w'ebintu byonna anziremu;) Era mba kuba n'ekyo omulabe wange ky'ampawaabidde ky'awandiise! |
| 36 |
Mazima nandikisitulidde ku kibegabega kyange; Nandikyesibye nga kiremba. |
| 37 |
Nandimubuulidde ebigere byange bwe byenkana omuwendo; Nandimusemberedde ng'omukungu. |
| 38 |
Ensi yange bw'enempawaabira, N'ebibibi byayo ne bikaabira wamu amaziga; |
| 39 |
Oba nga nali ndidde ebibala byamu awatali ffeeza, Oba nali nfiisizza bannyini yo: |
| 40 |
Omwennyango gudde mu kifo ky'eŋŋaano. Ne ssere mu kifo kya sayiri. Ebigambo bya Yobu biwedde. |
| |
|