Yokaana  

Essuula 1

Kigambo eyava mu ggulu
1 Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda.
2 Ku lubereberye waaliwo Kigambo, Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda.
3 Ebintu byonna byakolebwa ku bw'oyo; era awataali ye tewaakolebwa kintu na kimu ekyakolebwa.
4 Obulamu bwali mu ye; obulamu ne buba omusana gw'abantu.
5 Omusana ne gwaka mu kizikiza, so ekizikiza tekyagutegeera.
Yokaana awa obujulizi ku musana
6 Waalabika omuntu, Katonda, gwe yatuma, erinnya lye Yokaana.
7 Oyo yajja olw'okutegeeza ategeeze eby'omusana, bonna bakkirize ku bubwe.
8 Oyo si ye musana, wabula okutegeeza eby'o musana.
9 Waliwo omusana ogw'amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi.
10 Yali mu nsi, ensi yakolebwa ku bubwe, era ensi teyamutegeera.
11 Yajja mu matwale ge, naye abaali mu matwale ge tebaamusembeza.
12 Naye bonna abaamusembeza yabawa obuyinza okufuuka abaana ba Katonda, be bakkiriza erinnya lye:
13 abataazaalibwa musaayi, newakubadde okwagala kw'omubiri, newakubadde okwagala kw'omuntu, naye abaazaalibwa Katonda.
Kigambo abeera wamu naffe
14 Kigambo n'afuuka omubiri, n'abeerako gye tuli (ne tulaba ekitiibwa kye, ekitiibwa ng'ekyoyo eyazaalibwa omu yekka Kitaffe), ng'ajjudde ekisa n'amazima.
15 Yokaana n'amutegeeza n'ayogerera waggulu ng'ayogera nti Oyo gwe nnagamba nti Ajja ennyuma wange ansinga nze: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.
16 Kubanga ku kujjula kwe ffe fenna kwe twaweebwa, n'ekisa mu kifo ky'ekisa.
17 Kubanga amateeka gaaweebwa ku bwa Musa; ekisa n'amazima byabaawo ku bwa Yesu Kristo.
18 Tewali eyali alabye ku Katonda wonna wonna; Omwana eyazaalibwa omu yekka, aba mu kifuba kya Kitaffe, oyo yamutegeeza.
19 Kuno kwe kutegeeza kwa Yokaana, Abayudaaya abaava e Yerusaalemi bwe baamutumira bakabona n'Abaleevi okumubuuza nti Ggwe ani?
20 N'ayatula, n'ateegaana; n'ayatula nti Si nze Kristo.
21 Ne bamubuuza nti Kale lw'oli ani? oli Eriya? N'agamba nti Si nze ye. Ggwe nnabbi oli? N'addamu nti Nedda.
22 Awo ne bamugamba nti Lw'oli ani? tubaddemu abatutumye. Weeyita ani?
23 N'agamba nti Nze ndi ddoboozi ly'omuntu ayogerera waggulu mu ddungu nti Muluŋŋamye oluguudo lwa Mukama, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.
24 Abaatumibwa baali ba mu Bafalisaayo.
25 Ne bamubuuza, ne bamugamba nti Oba ggwe toli Kristo, oba Eriya, oba nnabbi oli, kale kiki ekikubatizisa?
26 Yokaana n'abaddamu, ng'agamba nti Nze mbatiza n'amazzi: wakati mu mmwe ayimiridde omuntu gwe mutamanyi,
27 ajja ennyuma wange, so nange sisaanira kusumulula lukoba lwa ngatto ye.
28 Ebyo byakolerwa Bessaniya, emitala wa Yoludaani, Yokaana gye yabatirizanga.
29 Olunaku olw'okubiri n'alaba Yesu ng'ajja gy'ali, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda, aggyawo ebibi by'ensi!
30 oyo gwe nnagamba nti Ennyuma wange ejjayo omuntu ansinga: kubanga ye yali ow'olubereberye ku nze.
31 Nange saamumanya: naye ayolesebwe Isiraeri, kyennava njija nga mbatiza n'amazzi.
32 Yokaana n'ategeeza ng'agamba nti Nnalaba Omwoyo ng'ava mu ggulu ng'ejjiba; n'abeera ku ye.
33 Nange saamumanya: naye eyantuma okubatiza n'amazzi, ye yaggamba nti Ggwe oliraba Omwoyo ng'akka ng'abeera ku ye, oyo ye abatiza n'Omwoyo Omutukuvu.
34 Nange ne ndaba, ne ntegeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda.
35 Olunaku olwaddirira nate Yokaana yali ayimiridde n'ab'okubayigirizwa be babiri;
36 n'atunuulira Yesu ng'atambula, n'agamba nti Laba, Omwana gw'endiga gwa Katonda!
37 Abayigirizwa abo ababiri ne bawulira ng'ayogera, ne bagoberera Yesu.
38 Yesu n'akyuka n'abalaba nga bamugoberera, n'abagamba nti Munoonya ki? Ne bamugamba nti Labbi (amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Omuyigiriza), osula wa?
39 N'abagamba nti Mujje, munaalabawo. Ne bajja ne balaba w'asula; ne basula ewuwe olunaku olwo: obudde bwali nga ssaawa ya kkumi.
40 Andereya, muganda wa Sirnooni Peetero, ye omu ku bali ababiri abaawulira Yokaana ng'ayogera, ne bamugoberera.
41 Ye n'asooka okulaba muganda we ye Simooni, n'amugamba nti Tulabye Kristo, amakulu gaakyo bwe kitegeezebwa nti Eyafukibwako amafuta.
42 N'amuleeta eri Yesu. Yesu n'amutunuulira, n'agamba nti Ggwe Simooni omwana wa Yokaana: onooyitibwanga Keefa, (amakulu gaalyo bwe litegeezebwa nti Peetero).
43 Olunaku olwaddako yayagala okuvaayo okugenda e Ggaliraaya, n'alaba Firipo: Yesu n'amugamba nti Ngoberera.
44 Naye Firipo yali w'e Besusayida, mu kibuga kya Andereya ne Peetero.
45 Firipo n'alaba Nassanayiri n'amugamba nti Tulabye oyo Musa gwe yawandiikako mu mateeka ne bannabbi, Yesu, omwana wa Yusufu, ow'e Nazaaleesi.
46 Nassanayiri n'amugamba nti Mu Nazaaleesi muyinza okuvaamu ekintu ekirungi? Firipo n'amugamba nti Jjangu olabe.
47 Yesu n'alaba Nassanayiri ng'ajja gy'ali, n'amwogerako nti Laba Omuisiraeri wawu, ataliimu bukuusa!
48 Nassanayiri n'amugamba nti Wantegeerera wa? Yesu n'addamu n'amugamba nti Firipo bw'abadde tannakuyita, bw'obadde mu mutiini, ne nkulaba.
49 Nassanayiri n'amuddamu nti Labbi, ggwe Mwana wa Katonda: ggwe Kabaka wa Isiraeri.
50 Yesu n'addamu n'amugamba nti Kubanga nkugambye nti nkulabye mu mutiini okkirizza? oliraba ebikulu okukira ebyo.
51 N'amugamba nti Ddala ddala mbagamba nti Muliraba eggulu nga libikkuse, ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w'omuntu.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
Amazzi gafuuka omwenge
1 Olunaku olw'okusatu, ne waba embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Ggaliraaya; ne nnyina Yesu yaliwo;
2 Yesu ne bamuyita n'abayigirizwa be ku mbaga.
3 Naye omwenge bwe gwaggwaawo, nnyina Yesu n'amugamba nti Tebalina nvinnyo.
4 Yesu n'amugamba nti Omukyala, Onvunaana ki? ekiseera kyange tekinnaba kutuuka.
5 Nnyina n'agamba abaweereza nti Ky'anaabagamba kyonna, kye mukola.
6 Waaliwo amasuwa ag'amayinja mukaaga, agaateekebwawo olw'empisa ey'okutukiiza kw'Abayudaaya, buli limu nga livaamu ensuwa nga bbiri oba ssatu.
7 Yesu n'abagamba nti Amasuwa mugajjuze amazzi. Ne bagajjuza okutuusa ku migo.
8 N'abagamba nti Musene kaakano, mutwalire omugabuzi w'embaga. Ne bamutwalira.
9 Awo omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse envinnyo, n'atamanya gy'evudde (naye abaweereza abaasena amazzi baamanya), omugabuzi w'embaga n'ayita awasizza omugole,
10 n'amugamba nti Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta, n'alyoka assaawo embi: naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano
11 Kano ke kabonero Yesu ke yasookerako okukola mu Kaana eky'e Ggaliraaya, n'alabisa ekitiibwa kye; abayigirizwa be ne bamukkiriza.
12 Awo oluvannyuma lw'ekyo n'aserengeta e Kaperunawumu, ye ne nnyina ne baganda be n'abayigirizwa be: ne bamalayo ennaku si nnyingi.
13 Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yelusaalemi.
14 N'asanga mu yeekaalu abatunda ente n'endiga n'amayiba, n'abawaanyisa effeeza nga batudde:
15 n'afuula emigwa olukoba, n'abagoba bonna mu yeekaalu, n'endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika embaawo zaabwe;
16 n'agamba abaali batunda amayiba nti Muggyeewo ebintu bino: muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya buguzi.
17 Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti Obuggya bw'ennyumba yo bulindya.
18 Awo Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti Kabonero ki k'otwolesa akakukoza bino?
19 Yesu n'addamu n'abagamba nti Mumenye yeekaalu eno, nange ndigizimbira ennaku ssatu.
20 Awo Abayudaaya ne boogera nti Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga, naawe oligizimbira ennaku ssatu?
21 Naye yayogera ku yeekaalu ya mubiri gwe.
22 Awo bwe yazuukizibwa mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nti yayogera ekyo; ne bakkiriza ebyawandiikibwa, n'ekigambo Yesu kye yayogera.
23 Awo bwe yali mu Yerusaalemi ku Kuyitako, ku mbaga, bangi ne bakkiriza erinnya lye, bwe baalaba obubonero bwe bwe yakola.
24 Naye Yesu n'atabeeyabizaamu kubanga yategeera bonna,
25 era teyeetaaga muntu yenna okutegeeza eby'abantu; kubanga ye yennyini yategeera ebyali mu bantu.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Awo waaliwo omuntu ow'omu Bafalisaayo, erinnya lye Nikoodemo, mwami mu Bayudaaya:
2 oyo n'ajja gy'ali ekiro, n'amugamba nti Labbi, tumanyi nti oli muyigiriza eyava eri Katonda: kubanga tewali muntu ayinza okukola obubonero buno bw'okola ggwe, wabula Katonda ng'ali naye.
3 Yesu n'addamu n'amugamba nti Ddala ddala nkugamba nti Omuntu bw'atazaalibwa mulundi gwa kubiri tayinza kulaba bwakabaka bwa Katonda.
4 Nikoodemo n'amugamba nti Omuntu ayinza atya okuzaalibwa bw'aba nga mukadde? ayinza okuyingira mu lubuto lwa nnyina omulundi ogw'okubiri, n'azaalibwa?
5 Yesu n'addamu nti Ddala ddala nkugamba nti omuntu bw'atazaalibwa mazzi na Mwoyo, tayinza kuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.
6 Ekizaalibwa omubiri kiba mubiri; n'ekizaalibwa Omwoyo kiba mwoyo.
7 Teweewuunya kubanga nkugambye nti Kibagwanira okuzaalibwa omulundi ogw'okubiri.
8 Empewo ekuntira gy'eyagala, n'owulira okuwuuma kw'ayo, naye tomanyi gy'eva, newakubadde gy'egenda: bw'atyo bw'abeera buli muntu yenna azaalibwa Omwoyo.
9 Nikoodemo n'addamu n'amugamba nti Ebyo biyinza bitya okubaawo?
10 Yesu n'addamu n'amugamba nti Ggwe omuyigiriza wa Isiraeri, n'ototegeera ebyo?
11 Ddala ddala nkugamba nti Twogera kye tumanyi, tutegeeza kye twalaba; so temukkiriza kutegeeza kwaffe.
12 Bwe mbabuulidde eby'ensi, ne mutakkiriza, mulikkiriza mutya bwe nnaababuulira eby'omu ggulu?
13 Tewali muntu eyali alinnye mu ggulu, wabula eyava mu ggulu, ye Mwana w'omuntu ali mu ggulu.
14 Nga Musa bwe yawanika omusota mu ddungu, bwe kityo n'Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa:
15 buli muntu yenna amukkiriza abeere n'obulamu obutaggwaawo mu ye.
16 Kubanga Katonda bwe yayagala, ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka buli muntu yenna amukkiriza aleme.okubula, naye abeere n'obulamu obutaggwaawo.
17 Kubanga Katonda. teyatuma Mwana we mu nsi, okusalira ensi omusango; naye ensi erokokere ku ye.
18 Amukkiriza tegumusinga: atamukkiriza gumaze okumusinga, kubanga takkirizza linnya lya Mwana eyazaalibwa omu yekka owa Katonda.
19 Guno gwe musango kubanga omusana guzze mu nsi, abantu ne baagala enzikiza okukira omusana; kubanga ebikolwa byabwe byali bibi.
20 Kubanga buli muntu yenna akola ebitasaana akyawa omusana, so tajja eri omusana, ebikolwa bye bireme okunenyezebwa.
21 Naye akola amazima ajja eri omusana ebikolwa bye birabike nga byakolerwa mu Katonda.
22 Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'ajja n'abayigirizwa be mu nsi y'e Buyudaaya; n'alwayo nabo, n'abatiza.
23 Naye Yokaana yali ng'abatiriza mu Enoni kumpi n'e Salimu, kubanga ye eri amazzi amaangi: ne bajjanga, ne babatizibwanga.
24 Kubanga Yokaana yali nga tannateekebwa mu kkomera.
25 Abayigirizwa ba Yokaana n'Omuyudaaya ne baba n'empaka, mu bigambo eby'okutukuza.
26 Ne bajja eri Yokaana, ne bamugamba nti Labbi, oli eyali naawe emitala wa Yoludaani, gwe wategeeza, laba, oyo abatiza; n'abantu bonna bajja gy'ali.
27 Yokaana n'addamu n'agamba nti Omuntu tayinza kuganya kigambo kyonna wabula ng'akiweereddwa okuva mu ggulu.
28 Mmwe bennyini muli bajulirwa bange nga nnayogera nti Si nze Kristo, naye nga nnatumibwa kumukulembera.
29 Alina omugole ye awasa: naye mukwano gw'oyo awasa, ayimirira ng'amuwulira, asanyukira nnyo eddoboozi ly'oyo awasizza: kale essanyu lyange eryo lituukiridde.
30 Ye kimugwanira okukula, naye nze okutoowala.
31 Ava mu ggulu ye afuga byonna; ow'omu nsi aba wa mu nsi, ayogera bya mu nsi: ava mu ggulu ye afuga byonna.
32 Kye yalaba era kye yawulira ky'ategeeza; so tewali muntu akkiriza kutegeeza kwe.
33 Akkiriza okutegeeza kwe, ng'ataddeko akabonero ke nti Katonda wa mazima.
34 Kubanga Katonda gwe yatuma ayogera bigambo bya Katonda: kubanga, bw'agaba Omwoyo, tamutegeera.
35 Kitaffe ayagala Omwana, era yamuwa byotma mu mukono gwe.
36 Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
Omukazi Omusamaliya asisinkana Omulokozi
1 Awo Mukama waffe bwe yategeera nga Abafalisaayo bawulidde nti Yesu ayigiriza era nti abatiza bangi okukira Yokaana,
2 (naye Yesu yennyini teyabatiza, wabula. abayigirizwa be),
3 n'ava mu Buyudaaya, n'agenda e Ggaliraaya nate.
4 Era kyamugwanira okuyita mu Samaliya.
5 Awo n'atuuka mu kibuga eky'e Samaliya, kye bayita Sukali, ekiriraanye olusuku Yakobo lwe yawa omwana we Yusufu:
6 era mwalimu oluzzi lwa Yakobo. Awo Yesu yali akooye olugendo, n'amala gatuulirawo ku luzzi, obudde nga ssaawa mukaaga.
7 Omukazi Omusamaliya n'ajja okusena amazzi: Yesu n'amugamba nti Mpa nnywe.
8 Kubanga abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugula emmere.
9 Awo omukazi Omusamaliya n'amugamba nti Ggwe Omuyudaaya, kiki ekikusabya okunywa eri nze omukazi Omusamaliya? (Kubanga Abayudaaya nga tebatabagana na Basamaliya.)
10 Yesu n'addamu n'amugamba nti Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda n'oyo akugamba nti Mpa nnywe bw'ali, ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.
11 Omukazi n'amugamba nti Ssebo, tolina kya kusenya, n'oluzzi luwanvu: kale oggya wa amazzi ago amalamu?
12 Ggwe oli mukulu okukira jjajjaffe Yakobo, eyatuwa oluzzi luno, eyaaywangamu ye n'abaana be n'ensolo ze?
13 Yesu n'addamu n'amugamba nti Buli muntu yenna anywa amazzi gano ennyonta erimuluma nate:
14 naye anywa amazzi ago nze ge ndimuwa ennyonta terimulumira ddala emirembe gyonna; naye amazzi ge ndimuwa ganaafuukanga munda mu ye ensulo y'amazzi nga gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.
15 Omukazi n'amugamba nti Ssebo, mpa amazzi ago, ennyonta ereme oktmnumanga, n'okukoma nkome okutambula olugendo luno lwonna okusenanga.
16 Yesu n'amugamba nti Genda oyite balo, okomewo wano.
17 Omukazi n'addamu n'amugamba nti Sirina baze. Yesu n'amugamba nti Oyogedde bulungi nti Sirina baze;
18 kubanga walina babalo bataano, naye gw'olina kaakano si balo: ekyo ky'oyogedde mazima.
19 Omukazi n'amugamba nti Ssebo, ndaba nti oli nnabbi.
20 Bajjajjaffe liaasinzizanga ku lusozi luno; nammwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.
21 Yesu n'amugamba nti Omukyala, nzikiriza, ekiseera kijja kye batalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno newakubadde mu Yerusaalemi.
22 Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi; kubanga obttlokozi buva mu Buyudaaya.
23 Naye ekiseera kijja, era kituuse, abasinza amazima lwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo n'amazima: kubanga Kitaffe anoonya abali ng'abo okubeera ab'okumusinzanga.
24 Katonda gwe Mwoyo: n'abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n'amazima.
25 Omukazi n'amugamba nti Mmanyi nga Kristo ajja (gwe bayita Eyafukibwako amafuta): ye bw'alijja alitubuulira ebigambo byonna.
26 Yesu n'amugamba nti Nze nzuuno ayogera naawe.
27 Amaugu ago abayigirizwa be ne bajja; ne beewuunya kubanga abadde ayogera n'omukazi : naye tewali muntu eyagamba nti Onoonya ki? oba nti Kiki ekikwogeza naye?
28 Awo omukazi n'aleka ensuwa ye, n'agenda mu kibuga, n'abuulira abautu nti
29 Mujje mulabe omuntu aŋŋambye bye nnakolanga byonna: ayinza okuba nga ye Kristo?
30 Ne bava mu kibuga, ne bajja gy'ali.
31 Mu kiseera ekyo abayigirizwa baali nga bamwegayirira nga bagamba nti Labbi, lya.
32 Naye n'abagamba nti Nnina ekyokulya kye ndya kye mutamanyi.
33 Awo abayigirizwa ne boogera bokka na bokka nti Waliwo omuntu amuleetedde ekyokulya?
34 Yesu n'abagamba nti Ekyokulya kyange, kwe kukolanga eyantuma by'ayagala n'okutuukiriza omulimu gwe.
35 Mmwe temwogera nti Esigaddeyo emyezi ena okukungula kulyoke kutuuke? Laba, mbagamba nti Muyimuse amaaso mulabe ennimiro nga zimaze oku tukula okukungulibwa.
36 Akungula aweebwa empeera, n'akuŋŋaanya ebibala olw'obulamu obutaggwaawo; asiga n'akungula basanyukire wamu.
37 Kubanga ekigambo kino bwe kiri bwe kityo eky'amazima nti Asiga mulala, n'akungula mulala.
38 Nze nnabatuma okukungula kye mutaatengejjera: abalala baakola emirimu, nammwe muyingidde emirimu gyabwe.
39 Ab'omu kibuga omwo Abssamaliya bangi ku bo abaamukkiriza olw'ekigambo ky'omukazi, eyategeeza nti Aŋŋambye bye nnakolanga byonna.
40 Awo Abasamaliya bwe baatuuka w'ali ne bamwegayirira abeere nabo: n'asulayo ennaku bbiri.
41 Bangi nnyo ne beeyongera okukkiriza olw'ekigambo kye,
42 ne bagamba omukazi nti Kaakano tukkiriza, si lwa kwogera kwo kwokka: kubanga twewuliridde fekka, n'okutegeera tutegedde nga mazima ono ye Mulokozi w'ensi.
43 Ennaku ezo ebbiri bwe zaayitawo, n'avaayo n'agenda e Ggaliraaya.
44 Kubanga Yesu yennyini yategeeza nti Nnabbi mu nsi y'ewaabwe tebamussaamu kitiibwa.
45 Awo bwe yatuuka e Ggaliraaya, Abagaliraaya ne bamusembeza, bwe baalaba byonna bye yakolera e Yerusaalemi ku mbaga: kubanga nabo baagenda ku mbaga.
46 Awo n'ajja nate ku Kaana eky'e Ggaliraaya, mwe yafuulira amazzi envinnyo. Era yaliyo omukungu wa kabaka, eyalina omwana we omulenzi yali alwalidde mu Kaperunawumu.
47 Oyo bwe yawulira nti Yesu avudde e Buyudaaya ng'atuuse e Ggaliraaya, n'ajja gy'ali, n'amwegayirira aserengete awonye omwana we; kubanga yali ng'agenda kufa.
48 Awo Yesu n'amugamba nti Bwe mutaliraba bubonero n'eby'amagero temulikkiriza n'akatono.
49 Omukungu n'amugamba nti Ssebo, serengeta akaana kange nga tekannaba kufa.
50 Yesu n'amugamba nti Genda; omwana wo mulamu. Omuntu oyo n'akkiriza ekigambo Yesu ky'amugambye, n'agenda.
51 Bwe yali ng'akyaserengeta, abaddu be ne bamusisinkana ne boogera nti omwana we mulamu.
52 Awo n'ababuuliriza essaawa mwe yassuukidde. Awo ne bamugamba nti Jjo obudde nga ssaawa ya musanvu omusujja ne gumuwonako.
53 Awo kitaawe n'ategeera nti mu ssaawa eyo Yesu mwe yamugambira nti Omwana wo mulamu: ye n'akkiriza n'ennyumba ye yonna.
54 Kano ke kabonero ak'okubiri nate Yesu ke yakola bwe yava e Buyudaaya okujja e Ggaliraaya.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
Akoozimbye awonyezebwa
1 Oluvannyuma lw'ebyo ne waba embaga y'Abayudaaya; Yesu n'ayambuka ku Yerusaalemi.
2 Naye mu Yerusaalemi awali omulyango gw'endiga waaliwo ekidiba, kye baayita mu Lwebbulaniya Besesuda, nga kiriko ebigango bitaano.
3 Mu ebyo mwagalamirangamu ekibiina ky'abalwadde, abazibe b'amaaso, abalema, abakoozimbye, [nga balindirira amazzi okubimba:
4 kubanga malayika yakkanga mu kidiba mu biseera ebimu n'abimbisa amazzi: oyo eyasookanga okugendamu, ng'amazzi gamaze okubimba, yawonanga obulwadde bwe bwe yabanga nabwo.]
5 Ne wabaawo omuntu eyali n'endwadde nga yaakamala emyaka amakumi asatu mu munaana.
6 Yesu bwe yalaba oyo ng'agalamidde, n'ategeera nga yaakamala ennaku nnyingi, n'amugamba nti Oyagala okuba omulamu?
7 Omulwadde n'amuddamu nti Ssebo, sirina muutu ansuula mu kidiba amazzi we geeserera: nze we njijira, omulala ng'ansoose okukkamu.
8 Yesu n'amugamba nti Golokoka, weetikke ekitanda kyo, otambule.
9 Amangu ago omuntu n'aba mulamu ne yeetikka ekitanda kye, n'atambula. Naye olunaku olwo lwali lwa ssabbiiti.
10 Awo Abayudaaya ne bamugamba oyo awonyezebbwa nti Leero ssabbiiti, muzizo ggwe okwetikka ekitanda kyo.
11 Naye n'abaddamu nti Oli amponyezza ye yaŋŋambye nti Weetikke ekitanda kyo otambule.
12 Ne bamubuuza nti Omuntu oyo ye ani eyakugambye nti Weetikke otambule?
13 Naye eyawonye nga tamanyi bw'ali: kubanga Yesu yali amaze okugenda, abantu abaali mu kifo kiri nga bangi.
14 Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'amulaba mu yeekaalu, n'amugamba nti Laba, oli mulamu: toyonoonanga nate, ekigambo ekisinga obubi kireme okukubaako.
15 Omuntu oyo n'agenda n'abuulira Abayudaaya nti Yesu ye yamponya.
16 Awo Abayudaaya kyebaava bayigganya Yesu kubanga yakolera ebyo ku ssabbiiti.
17 Naye Yesu n'abaddamu nti Kitange akola okutuusa kaakano, nange nkola.
18 Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe ye, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda.
19 Awo Yesu n'addamu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Omwana tayinza yekka kukola kintu, bw'atalabira ku Kitaawe ng'akola: kubanga ye by'akola byonna, n'Omwana by'akola bw'atyo.
20 Kubanga Kitange ayagala Omwana, amulaga byonna by'akola yennyini; era alimulaga emirimu eminene egisinga egyo mmwe mwe wuunye.
21 Kubanga Kitange bw'azuukiza abafu n'abawa obulamu, bw'atyo n'Omwana abawa obulamu bonna b'ayagala okuwa.
22 Kubanga Kitange n'okusala tasalira muntu musango, naye yawa Omwana okusala omusango gwonna;
23 bonna bassengamu Omwana ekitiibwa, nga bwe bassaamu Kitange ekitiibwa. Atassaamu Mwana kitiibwa, nga tassaamu kitiibwa Kitaawe eyamutuma.
24 Ddala ddala mbaganiba nti Awulira ekigambo kyange, n'akkiriza oyo eyantuma, alina obulamu obutaggwaawo, so talijja mu musango, naye ng'avudde mu kufa okutuuka mu bulamu.
25 Ddala ddala mbagamba nti Ekiseera kijja era weekiri kaakano abafu 1we baliwulira eddoboozi ly'Omwana wa Katoada, n'abo abaliwulira baliba balamu.
26 Kubanga Kitange bw'alina obulamu mu ye, bw'atyo bwe yawa Omwana okuba n'obulamu mu ye;
27 era yamuwa obuyinza okusala omusango, kubanga ye Mwana w'omuntu.
28 Temwewuunya ekyo: kubanga ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi lye,
29 ne bavaamu; abo abaakolanga ebirungi balizuukirira obulamu; n'abo abaakolanga ebitasaana balizuukirira omusango.
30 Nze siyinza kukola kintu ku bwange: nga bwe mpulira, bwe nsala: n'omusango gwe nsala gwa nsonga; kubanga sinoonya bye njagala nze, wabula eyantuma by'ayagala.
31 Bwe nneetegeeza ebyange nze, okutegeeza kwange si kwa mazima.
32 Waliwo omulala ategeeza ebyange; nange mmanyi nti ebyange by'ategeeza bya mazima.
33 Mmwe mwatumira Yokaana naye n'ategeeza amazima.
34 Naye okutegeeza kw'omuntu sikukkiriza nze: naye njogera ebyo mmwe mulokoke.
35 Oyo yali ttabaaza eyaka, emasamasa, nammwe mwayagala ekiseera kitono okusanyukira okutangaala kwe.
36 Naye okutegeeza kwe nnina kwe kukulu okusinga okwa Yokaana: kubanga emirimu Kitange gye yampa okutuukiriza, emirimu gyennyini gye nkola, gye gitegeeza ebyange nga Kitange ye yantuma.
37 Era Kitange eyantuma oyo ye yategeeza ebyange. Temwawulira ddoboozi lye n'akatono, newakubadde okulaba ekifaananyi kye.
38 So temulina kigambo kye nga kibeera mu mmwe: kubanga oyo gwe yatuma temumukkiriza.
39 Munoonya mu byawandiikibwa, kubanga mmwe mulowooza nti mu byo mulina obulamu obutaggwaawo; n'ebyo bye bitegeeza ebyange;
40 era temwagala kujja gye ndi okubeera n'obulamu.
41 Siweebwa bantu kitiibwa.
42 Naye mbategedde mmwe ng'okwagala kwa Katonda tekubaliimu.
43 Nze najja mu linnya lya Kitange, naye temunsembezza; omulala bw'alijja mu linnya lye ku bubwe muli musembeza.
44 Mmwe muyinza mutya okukkiriza bwe mwagala okuweebwa '-ekitiibwa mwekka na mwekka ne mutanoonya kitiibwa ekiva eri Katonda ali omu yekka?
45 Temulowooza nti nze ndibaloopa eri Kitange: gyali abaloopa, ye Musa gwe musuubira.
46 Kuba sings mukkiriza Musa, nange mwandinzikirizza; kubanga yampandiikako nze.
47 Naye bwe mutakkiriza oyo bye yawandiika, mulikkiriza mutya ebigambo byange?
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
Yesu aliisa enkumi ettaano
1 Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'agenda emitala, w'ennyanja ey'e Ggaliraaya ey'e Tiberiya.
2 Ekibiina ekinene ne kimugoberera kubanga baalaba obubonero bwe yakola ku balwadde.
3 Yesu n'alinnya ku lusozi n'atuula eyo n'abayigirizwa be.
4 N'Okuyitako, embaga y'Abayudaaya, kwali kunaatera okutuuka.
5 Awo Yesu n'ayimusa amaaso, n'alaba ekibiina ekinene nga kijja gy'ali, n'agamba Firipo nti Tunaagula wa emmere, bano gye banaalya?
6 Yayogera atyo kumukema, ng'amanyi yekka ky'agenda okukola.
7 Firipo n'amuddamu nti Emmere egulibwa dinaali ebikumi ebibiri teebabune, buli muntu okulyako akatono.
8 Omu ku bayigirizwa be, ye Andereya muganda wa Simooni Peetero, n'amugamba nti
9 Waliwo omulenzi wano alina emigaati etaano egya sayiri n'ebyennyanja bibiri; naye bino binaabagasa ki abenkanidde awo obungi?
10 Yesu n'agamba nti Mutuuze abantu. Era waaliwo omuddo mungi mu kifo ekyo. Awo abasajja ne batuula, omuwendo ng'enkumi ttaano.
11 Awo Yesu n'atoola emigaati; ne yeebaza; n'agabira bali abatudde; n'ebyennyanja bw'atyo nga bwe baayagala.
12 Bwe bakkuta n'agamba abayigirizwa be nti Mukuŋŋaanye obukunkumuka obusigaddewo, waleme okubula ekintu.
13 Awo ne babukuŋŋaanya ne bajjuza ebibbo kkumi na bibiri n'obukunkumuka obw'emigaati etaano egya sayiri, bali abaalya 'owe baalemwa.
14 Awo abantu bwe baalaba akabonero ke yakola, ne bagamba nti Mazima ono ye nnabbi oyo ajja mu nsi.
15 Awo Yesu bwe yategeera nga bagenda okujja okumukwata, bamufuule kabaka, n'addayo nate ku lusozi yekka.
16 Naye obudde bwe bwawungeera, abayigirizwa be ne baserengeta ku nnyanja;
17 ne basaabala mu lyato, baali bawunguka ennyanja okugenda e Kaperunawumu. N'obudde bwali buzibye nga ne Yesu tannaba kutuuka gye bali.
18 Ennyanja n'esiikuuka, omuyaga mungi nga gukunta.
19 Awo bwe baamala okuvuga esutadyo ng'amakumi abiri mu ttaano, oba makumi asatu, ne balaba Yesu ng'atambulira ku nnyanja, ng'asemberera eryato; ne batya.
20 Naye n'abagamba nti Nze nzuu no, temutya.
21 Awo ne bakkiriza okumuyingiza mu lyato; amangu ago eryato ne ligoba ku ttale gye baali bagenda.
22 Olunaku olw'okubiri, ekibiina ekyali kiyimiridde emitala w'ennyanja bwe baalaba nga teriiyo lyato ddala, wabula erimu, era nga ne Yesu tasaabadde wamu mu lyato n'abayigirizwa be, naye abayigirizwa be nga bagenda bokka,
23 (naye amaato amalala gaava e Tiberiya nga gagoba kumpi ne gye baaliira emigaati Mukama waffe bwe yamala okwebaza):
24 awo ekibiina bwe baalaba nga Yesu taliiyo, newakubadde abayigirizwa be, bo bennyini ne basaabala mu maato gali ne bajja e Kaperunawumu, nga banoonya Yesu.
25 Bwe baamulabira emitala w'ennyanja ne bamugamba nti Labbi, ozze ddi wano?
26 Yesu n'abaddamu n'agamba nti Ddala ddala mbagamba nti Munnoonya si kubanga mwalaba obubonero naye kubanga mwalya ku migaati ne mukkuta.
27 Temukolerera kyakulya ekiggwaawo, naye ekyokulya ekirwawo okutuuka ku bulamu obutaggwaawo, Omwana w'omuntu ky'alibawa: kubanga KitafFe ye Katonda amussizzaako oyo akabonero.
28 Awo ne bamugamba nti Tugire tutya okukola emirimu gya Katonda?
29 Yesu n'addamu n'abagamba nti Guno gwe mulimu gwa Katonda, okukkiriza oyo gwe yatuma.
30 Awo ne bamugamba nti Kale kabonero ki ggwe k'okola, tulabe, tukukkirize? okola mulimu ki?
31 Bajjajjaffe baaliiranga emmaanu mu ddungu; nga bwe kyawandiikibwa nti Yabawa emmere okulya eyava mu ggulu.
32 Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Musa si ye yabawa emmere eyava mu ggulu; naye Kitange ye yabawa emmere ey'amazima eva mu ggulu.
33 Kubanga emmere ya Katonda ye eyo eva mu ggulu ereetera ensi obulamu.
34 Awo ne bamugamba nti Mukama waffe, tuwenga bulijjo emmere eyo.
35 Yesu n'abagamba nti Nze mmere ey'obulamu: ajja gye ndi enjala terimuluma, anzikiriza ennyonta terimuluma n'akatono.
36 Naye n'abagamba nti mundabye, era temukkirizza.
37 Bud Kitange gw'ampa, alijja gye ndi: ajja gye ndi sirimugobera bweru n'akatono.
38 Kubanga saava mu ggulu kukola kye njagala nze, wabula oli eyantuma ky'ayagala.
39 Eyantuma ky'ayagala kino mu bonna be yampa aleme okumbula n'omu naye mmuzuukirize ku lunaku olw'enkomerero.
40 Kubanga Kitange ky'ayagala kye kino buli muntu yenna alaba Omwana n'amukkiriza abe n'obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiza ku lunaku olw'enkomerero.
41 Awo Abayudaaya ne bamwemulugunyira kubanga yagamba nti Nze mmere eyava mu ggulu.
42 Ne bagamba nti Ono si ye Yesu omwana wa Yusufu, gwe tumanyiiko kitaawe ne nnyina? kaakano agamba atya nti Nnava mu ggulu?
43 Yesu n'addamu n'abagamba nti Temwemulugunya mwekka na mwekka.
44 Tewali ayinza kujja gye ndi Kitange eyantuma bw'atamuwalula; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero.
45 Kyawandiikibwa mu bannabbi nti Ne bonna baliyigirizibwa Katonda. Buli eyawulira Kitange n'ayiga, ajja gye ndi.
46 Si kubanga waliwo omuntu eyali alabye ku Kitange, wabula eyava eri Katonda, oyo ye yalaba Kitange.
47 Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza alina obulamu obutaggwaawo.
48 Nze mmere ey'obulamu.
49 Bajjajja bammwe baaliiranga emmaanu mu ddungu, ne bafa.
50 Eno ye mmere eva mu ggulu, omuntu agiryeko, aleme okufa.
51 Nze mmere ennamu eyava mu ggulu: omuntu bw'alya ku mmere eno aliba mulamu emirembe n'emirembe: era emmere gye ndigaba gwe mubiri gwange, olw'obulamu bw'ensi.
52 Awo Abayudaaya ne bawakana bokka na bokka, nga bagamba nti Ono ayinza atya okutuwa omubiri gwe okugulya?
53 Awo Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Bwe mutalya mubiri gwa Mwana wa muntu ne muntunywa omusaayi gwe, temulina bulamu mu mmwe.
54 Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, alina obulamu obutaggwaawo; nange ndimuzuukiriza ku lunaku olw'enkomerero.
55 Kubanga omubiri gwange kye kyokulya ddala, n'omusaayi gwange kye kyokunywa ddala.
56 Alya omubiri gwange, era anywa omusaayi gwange, abeera mu nze, nange mu ye.
57 Nga Kitange omulamu bwe yantuma, nange bwe ndi omul,amu ku bwa Kitange; bw'atyo andya ye aliba omulamu ku bwange.
58 Eno ye mmere eyava mu ggulu: si nga bajjajja bwe baalya ne bafa: alya emmere eno alibamulamuemirembe n'emirembe.
59 Ebyo yabyogerera mu kkuŋŋaaniro ng'ayigiriza mu Kaperunawumu.
60 Awo bangi ab'omu bayigirizwa be bwe baawulira ne bagamba nti Ekigambo ekyo kizibu; ani ayinza okukiwuliriza?
61 Naye Yesu bwe yamanya munda mu ye nti abayigirizwa be beemulugunyira kino, n'abagamba nti Kino kibeesittaza?
62 kale kiriba kitya bwe muliraba Omwana w'omuntu ng'alinnya gye yali olubereberye?
63 Omwoyo gwe guleeta obulamu; omubiri teguliiko kye gugasa: ebigambo bye mbagambye gwe mwoyo, bwe bulamu.
64 Naye waliwo abalala mu mmwe abatakkiriza. Kubanga Yesu yamanya okuva ku lubereberye abatakkiriza bwe baali, era n'agenda okumulyamu olukwe bw'ali.
65 N'agamba nti Kyenvudde mbagamba nti Tewali ayinza kujja gye ndi bw'atakiweebwa Kitange.
66 Ab'oku bayigirizwa be bangi kyebaava baddirira, ne bataddayo kutambulira wamu naye nate.
67 Awo Yew n'agamba ekkumi n'ababiri nti Era nammwe mwagala okugenda?
68 Simooni Peetero n'amuddamu nti Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby'obularnu obutaggwaawo.
69 Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.
70 Yesu n'abaddamu nti Si nze nnabalonda mmwe ekkumi n'ababiri, era omu ku mmwe ye setaani?
71 Yayogera ku Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti, kubanga ye yali agenda kumulyamu olukwe, ye omu ku kkumi n'ababiri.
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]
Obutakkiriza bw'abaganda ba Yesu
1 Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'atambula mu Ggaliraaya: kubanga teyayagala kutambula mu Buyudaaya kubanga Abayudaaya baali basala amagezi okumutta.
2 Naye embaga y'Abayudaaya yali enaatera okutuuka, ye y'ensiisira.
3 Awo baganda be ne bamugamba nti Va wano, ogende e Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe emirirnu gyo gy'okola.
4 Kubanga tewali akolera kigambo mu kyama wabula nga naye yennyini ayagala amanyike mu lwatu. Bw'okola ebyo, weeyoleke eri ensi.
5 Kubanga ne baganda be tebaamukkiriza.
6 Awo Yesu n'abagamba nti Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka; naye ekiseera kyammwe ennaku zonna kibeerawo nga kyeteeseteese.
7 Ensi teyinza kukyawa mmwe; naye ekyawa nze, kubanga nze ntegeeza ebyayo nti emirimu gyayo mibi.
8 Mmwe mwambuke ku mbaga: nze sinnaba kwambuka ku mbaga eno; kubanga ekiseera kyange tekinnaba kutuukirizibwa.
9 Bwe yamala okubagamba ebyo n'asigala e Ggaliraaya.
10 Naye baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga, naye n'ayambuka, si lwatu, naye nga mu kyama.
11 Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga, ne bagamba nti Ali ludda wa?
12 Ne waba okumuunyamuunya kungi mu bibiina. Abalala ne bagamba ku ye nti Mulungi; abalala ne bagamba nti Nedda, naye akyamya ekibiina.
13 Naye tewaali yamwogerako watu kubanga baatya Abayudaaya.
14 Awo mu mbaga wakati Yesu n'ayambuka ku yeekaalu, n'ayigiriza.
15 Abayudaaya ne beewuunya ne bagamba nti Ono amanya atya okusoma nga tayigirizibwangako?
16 Awo Yesu n'abaddamu n'agamba nti Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw'oli eyantuma.
17 Omuntu bw'ayagala okukola oli by'ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno oba nga kwava eri Katonda, oba nga nze njogera bya magezi gange.
18 Ayogera eby'amagezi ge, anoonya ekitiibwa kye ye: naye anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, oyo wa mazima, so obutali butuukirivu tebuli mu ye.
19 Musa teyabawa mateeka, so mu mmwe tewali akwata amateeka? Musalira ki amagezi okrmzita?
20 Ekibiina ne baddamu nti Oliko dayimooni: ani asala amagezi okukutta?
21 Yesu n'addamu n'agamba nti Nnakola omulimu gumu, nammwe mwenna mwewuunya.
22 Musa kyeyava abawa okukomola (si kubanga kwa Musa naye kwa bajjajja); ne ku ssabbiiti mukomola omuntu.
23 Omuntu bw'akomolebwa ku ssabbiiti, amateeka ga Musa galeme okusoba; munsunguwalira kubanga nnafuula omuntu omulamu ddala ku ssabbiiti?
24 Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw'ensonga.
25 Awo abamu ab'omu Yerusaalemi ne bagamba nti Gwe banoonya okutta si ye wuuno?
26 Naye, laba, ayogera Iwatu, so tebaliiko kye bamugamba. Abakulu bamanyidde ddala ng'ono ye Kristo?
27 Naye ono tumanyi gy'ava: naye Kristo bw'ajja, tewali ategeera gy'ava.
28 Awo Yesu n'ayogerera waggulu mu yeekaalu ng'ayigiriza n'agamba nti Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo; nange sajja ku bwange nzekka, naye oli eyantuma ye wa mazima, gwe mutamanyi mmwe.
29 Nze mummanyi; kubanga nava gy'ali, era ye yantuma.
30 Awo bali ne basala amagezi okumukwata, naye tewaali eyamuteekako omukono, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka:
31 Naye bangi ab'omu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti Kristo bw'alijja, alikola obubonero bungi okusinga ono bwe yakola?
32 Abafalisaayo ne bawulira ekibiina nga bamwemuunyamuunyaamu batyo; bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne batuma abambowa okumukwata.
33 Awo Yesu n'agamba nti Esigaddeyo ebbanga ttono nga nkyali nammwe, ndyoke ŋŋende gy'ali eyantuma.
34 Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo.
35 Awo Abayudaaya ne boogeragana bokka na bokka nti Ono ayagala kugenda wa, ffe gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Bayonaani, ayigirize Abayonaani?
36 Kigambo ki ekyo ky'agamba nti Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo?
37 Naye ku lunaku olw'enkomerero, lwe lukulu olw'embaga, Yesu yayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Omuntu bw'alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe.
38 Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu lubuto lwe.
39 Ekyo yakyogera ku Mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza; kubanga Omwoyo yali tannaba kugabibwa; kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
40 Awo ab'omu kibiina bwe baawulira ebigambo ebyo ne bagamba nti Mazima, ono ye nnabbi oli.
41 Abalala ne bagamba nti Ono ye Kristo. Naye abalala ne bagamba nti Nedda, Kristo ava mu Ggaliraaya?
42 Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo ava mu zzadde lya Dawudi, mu Besirekemu, embuga Dawudi mwe yali?
43 Bwe kityo ne wabaawo okwawukana mu kibiina ku lulwe.
44 Abalala ne baagala okumukwata, naye tewali eyamussaako emikono.
45 Awo abambowa ne baddayo eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo; nabo ne babagamba nti Ekibalobedde ki okumuleeta?
46 Abambowa ne baddamu nti Tewali muntu eyali ayogedde bw'atyo.
47 Awo Abafalisaayo ne babaddamu nti Era nammwe abakyamizza?
48 Aluwa mu bakulu eyamukkiriza, oba mu Bafalisaayo?
49 Naye ekibiina kino abatategeera mateeka bakolimiddwa.
50 Nikoodemo (ye Yajja gy'ali edda, ye munnaabwe; n'abagamba nti
51 Ye mpisa yaffe okusalira omuntu omusango nga tebannawulira bigambo bye n'okutegeera ky'akoze?
52 Ne baddamu ne bamugamba nti Naawe wava GSaluaaYa? Noonya, olabe, nnabbi tava mu Ggaliraaya,
53 (Buli muntu n'addayo eka:
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]
Omukazi omwenzi aleetebwa eri Yesu
1 NayeYesun'agendakulusoziolwa Zeyituuni.
2 N'akeera mu makya n'ajja nate mu yeekaalu, abantu bonna ne bajja gy'ali; n'atuula, n'abayigiriza.
3 Abawandiisi n'Abafalisaayo ne baleeta omukazf gwe bakutte ng'ayenda; ne bamussa wakati,
4 ne bamugamba nti Omuyigiriza, omukazi ono bamukutte ng'ayenda bamusisinkanirizza.
5 Naye mu mateeka Musa yatulagira okubakubanga amayinja abakola bwe baryo: kale ggwe oyogera otya ku ye?
6 Baayogera bati nga bamukema, babe n'ekigambo kye banaamuloopa. Naye Yesu n'akutama, n'awandiika n'engalo ku ttaka.
7 Naye bwe baayongera okumubuuza, ne yeegolola n'abagamba nti Mu mmwe atayonoonangako, asooke okumukuba ejjinja.
8 N'akutama nate, n'awandiika n'engalo ku ttaka.
9 Nabo bwe baawulira ne bafuluma ebweru musoolesoole, abakadde be baasooka, okutuusa ku b'enkomerero: Yesu n'asigalawo yekka, n'omukazi we yali wakati.
10 Yesu ne yeegolola, n'amugamba nti Omukyala, bazze wa? tewali asaze kukusinga?
11 Naye n'agamba nti Mpaawo muntu, Mukama wange. Yesu n'agamba nti Nange sisala kukusinga: genda; okusooka leero toyonoonanga lwa kubiri.]
12 Awo Yesu n'ayogera nabo nate, n'agamba nti Nze mttsana gw'ensi: angoberera taatambulirenga mu kizikiza, naye anaabanga n'omusana ogw'obulamu.
13 Awo Abafalisaayo ne bamugamba nti Ggwe weetegeeza wekka; okutegeeza kwo si kwa mazima.
14 Yesu n'addamu n'abagamba nti Newakubadde nga nneetegeeza nzekka, okutegeeza kwange kwa mazima; kubanga mmanyi gye nnava, ne gye ŋŋenda; naye mmwe temumanyi gye nva, newakubadde gye ŋŋenda.
15 Mmwe musala omusango ng'omubiri bwe guli; nze sisalira muntu musango.
16 Naye newakubadde nga nze nsala omusango, okusala kwange kwa mazima; kubanga nze siri omu, naye nze ne Kitange eyantuma.
17 Era naye ne mu mateeka gammwe kyawandiikibwa nti okutegeeza kw'abantu ababiri kwa mazima.
18 Nze nneetegeeza nzekka, ne Kitange eyantuma ategeeza ebyange.
19 Awo ne bamugamba nti Kitaawo ali ludda wa? Yesu n'addamu nti Nze temummanyi, newakubadde Kitange. Singa mummanyi nze, ne Kitange mwandimumanye.
20 Ebigambo ebyo yabyogerera mu ggwanika, bwe yali ng'ayigiriza mu yeekaalu: so tewaali eyamukwata, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka.
21 Awo n'abagamba nate nti Nze ŋŋenda, nammwe mulinnoonya, mulifiira mu kibi kyammwe: nze gye ŋŋenda, mmwe temuyinza kujjayo.
22 Awo Abayudaaya ne bagamba nti Anetta, kubanga agamba nti Nze gye ŋŋenda mmwe temuyinza kujjayo?
23 N'abagamba nti Mmwe muli ba wansi; nze ndi wa waggulu mmwe muli ba mu nsi muno; nze siri wa mu nsi muno.
24 Kyennava mbagamba nti Mulifiira mu bibi byammwe. Kubanga bwe mutakkiriza nga nze wuuyo, mulifiira mu bibi byammwe.
25 Awo ne bamugamba nti Ggwe ani? Yesu n'abagamba nti Nga bwe nnabagambanga okuva ku lubereberye.
26 Nnina bingi eby'okuboogerako n'okubasalira omusango; naye oli eyantuma ye wa mazima; nange bye nnawulira gy'ali bye biibyo bye njogera eri ensi.
27 Tebaategeera ng'abagambye ku Kitaffe.
28 Awo Yesu n'agamba nti Bwe mulimala okuwanika Omwana w'omuutu ne mulyoka mutegeera nga nze wuuyo, so nze siriiko kye nkola ku bwange, naye nga Kitange bwe yanjigiriza, bwe njogera bwe ntyo.
29 N'oli eyantuma ali nange; Kitange tandekanga nzekka; kubanga nkola bulijjo by'asiima.
30 Bwe yayogera ebigambo ebyo, abantu bangi ne bamukkiriza,
31 Awo Yesu n'agamba Abayudaaya bali abaamukkiriza nti Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala;
32 era mulitegeera amazima, n'amazima galibafuula ba ddembe.
33 Ne bamuddamu nti Ffe tuli zzadde lya Ibulayimu, so tetufugibwanga muntu yenna: oyogera otya ggwe nti Mulifuuka ba ddembe?
34 Yesu n'abaddamu nti Ddala ddala mbagamba nti Buli muntu yenna akola ebibi, ye muddu w'ekibi.
35 Omuddu tabeerera mu nnyumba mirembe na mirembe: omwana abeerera emirembe n'emirembe.
36 Kale Omwana bw'alibafuula ab'eddembe, muliba ba ddembe ddala.
37 Mmanyi nti muli zzadde lya Ibulayimu: naye musala amagezi okunzita, kubanga ekigambo kyange tekyeyabya mu mmwe.
38 Nze njogera bye nnlIaba eri Kitange: kale nammwe mukola bye mwawulira eri kitammwe.
39 Ne baddamu ne bamugamba nti Ibulayimu ye kitaffe. Yesu n'abagamba nti Singa mubadde baana ba Ibulayimu, mwandikoze ebikolwa bya Ibulayimu.
40 Naye kaakano musala amagezi okunzita omuntu ababuulidde eby'amazima, bye nnawulira eri Katonda: Ibulayimu teyakola bw'atyo.
41 Mmwe mukola emirimu gya kitammwe. Ne bamugamba nti Ffe tetuli baana beebolereze; tulina Kitaffe omu, ye Katonda.
42 Yesu n'abagamba nti Singa Katonda ye Kitammwe, mwandinjagadde nze: kubanga nnava eri Katonda, ne njija, so sajja ku lwange nzekka, naye oyo ye yantuma.
43 Kiki ekibalobedde okutegeera enjogera yange? Kubanga temuyinza kuwulira kigambo kyange.
44 Mmwe muli ba kitamrnwe Setaani, era mwagala okukola okwegomba kwa kitammwe. Oyo okuva ku lubereberye ye mussi, so teyanywerera mu mazima, kubanga amazima tegaali mu ye. Bw'ayogera obulimba, ayogera ekiva mu bibye; kubanga ye mulimba era kitaawe w'obulimba.
45 Naye kubanga njogera amazima, temunzikiriza.
46 Ani ku mmwe annumiriza ekibi? Bwe njogera amazima kiki ekibalobedde okunzikiriza?
47 Owa Katonda awuiira ebigambo bya Katonda; mmwe kyemuva mulema okuwulira, kubanga temuli ba Katonda.
48 Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti Tetwogera bulungi ffe nti Ggwe oli Musamaliya, era oliko dayimooni?
49 Yesu n'addamu nti Siriiko dayimooni; naye nze nzisaamu ekitiibwa Kitange, nammwe temunzisaamu kitiibwa.
50 Naye nze sinoonya kitiibwa kyange; w'ali anoonya era asala omusango.
51 Ddala ddala mbagamba nti Omuntu bw'akwata ekigambo kyange taliraba kufa emirembe n'emirembe.
52 Abayudaaya ne bamugamba nti Kaakano tutegedde ng'oliko dayimooni. Ibulayimu yafa ne bannabbi; naawe ogamba nti Omuntu bw'akwata ekigambo kyange, talirega ku kufa emirembe n'emirembe.
53 Ggwe mukulu okukira jjajjaffe Ibulayimu eyafa? ne bannabbi baafa: weeyita ani?
54 Yesu n'addamu nti Bwe nneegulumiza nzekka, okugulumira kwange kuba kwa busa: angulumiza ye Kitange: mmwe gwe mwogerako nti ye Katonda wammwe:
55 so temumutegeeranga: naye nze mmumanyi; bwe nnaagamba nti Simumanyi, nnaafaanana nga mmwe, mulimba: naye mmumanyi, era nkwata ekigambo kye.
56 Ibulayimu jjajjammwe yasanyuka okulaba olunaku lwange; n'alulaba n'asanyuka.
57 Awo Abayudaaya ne bamugamba nti Tonnaba kuweza myaka makumi ataano, naye Ibulayimu wamulaba?
58 Yesu n'abagamba nti Ddala ddala mbagamba nti Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, Nze nga wendi.
59 Awo ne baddira amayinja okumukuba: naye Yesu ne yeekweka, n'afuluma mu yeekaalu.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
Eyazaalibwa nga mulema awonyezebwa
1 (1 Bwe yali ng'ayita, n'alaba omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso.
2 Abayigirizwa be ne bamubuuza, nga bagamba nti Labbi, ani eyayonoona, ono oba abazadde be, kye kyamuzaaza nga muzibe wa maaso?
3 Yesu n'addamu nti Ono teyayonoona, newakubadde abazadde be, naye emirimu gya Katonda girabikire ku ye.
4 He kitugwanira okukola emirimu gy'oyo eyantuma, obudde nga misana. Ekiro kijja omuntu mw'atayinziza kukolera.
5 Bwe mba mu nsi, ndi musana gwa nsi.
6 Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'awanda amalusu ku ttaka, n'atabula ettaka n'amalusu, n'amusiiga ettaka ku maaso,
7 n'amugamba nti Genda, onaabe mu kidiba kya Sirowamu (okutegeezebwa kwakyo nti Eyatumibwa). Awo n'agenda, n'anaaba, n'akomawo ng'alaba.
8 Awo baliraanwa be n'abaamulabanga edda ng'atudde ng'asabiriza, ne bagamba nti Si ye wuuno eyatuulanga ng'asabiriza?
9 Abalala ne bagamba nti Ye wuuyo: abalala ne bagamba nti Nedda, naye afaanana naye. Ye n'agamba nti Nze nzuuno.
10 Awo ne bamugamba nti Kale amaaso go gaazibuka gatya?
11 Ye n'addamu nti Omuntu ayitibwa Yesu yatabula ettaka, n'ansiiga ku maaso, n'aŋŋamba nti Genda ku Sirowamu, onaabe: awo ne ŋŋenda, ne nnaaba, ne nzibula.
12 Ne bamugamba nti Ali ludda wa oyo? N'agamba nti Simanyi.
13 Ne bamutwala eri Abafalisaayo oli eyali edda omuzibe w'amaaso.
14 Naye lwali lwa ssabbiiti olunaku olwo Yesu lwe yatabulirako ettaka, n'amuzibula amaaso.
15 Awo Abafalisaayo ate ne bamubuuza bwe yazibula. N'abagamba nti Yansiiga ttaka ku maaso, ne nnaaba, ne nzibula.
16 Awo Abafalisaayo abamu ne bagamba nti Omuntu oyo si wa Katonda, kubanga takwata ssabbiiti. Naye abalala ne bagamba nti Omuntu alina ebibi ayinza atya okukola obubonero obwenkanidde wano? Ne wabaawo okwawukana mu bo.
17 Awo ne bamugamba nate omuzibe w'amaaso nti Ggwe omuyita otya, kubanga yakuzibula amaaso? Naye n'agamba nti Ye nnabbi.
18 Kale Abayudaaya tebakkiriza bigambo bye, nga yali muzibe w'amaaso n'azibula, okutuusa lwe baamala okuyita abazadde b'eyazibula
19 ne bababuuza nga bagamba nti Ono ye mwana wammwe mmwe gwe mugamba nti yazaalibwa nga muzibe w'amaaso? kale kaakano alaba atya?
20 Abazadde be ne baddamu ne bagamba nti Tumanyi ng'ono ye mwana waffe, era nga yazaalibwa nga muzibe wa maaso:
21 naye bw'alaba kaakano tetumanyi: so n'eyamuzibula amaaso ffe tetumanyi bw'ali: mumubuuze; musajja mukulu; aneeyogerera yekka.
22 Abazadde ekyaboogeza bwe batyo kubanga baali batya Abayudaaya; kubanga Abayudaaya baali nga bamaze okulagaana buli muntu anaamwatulanga okuba Kristo, agobebwenga mu kkuŋŋaaniro.
23 Abazadde be kyebaava boogera nti Musajja mukulu; mumubuuze ye.
24 Awo ne bayita omulundi ogw'okubiri oli omuntu eyali omuzibe w'amaaso, ne bamugamba nti Gulumiza Katonda: ffe tumanyi ng'omuntu oyo alina ebibi.
25 Ye n'addamu nti Oba ng'alina ebibi simanyi; ekigambo kimu kye mmanyi nti Nnali muzibe wa maaso, naye kaakano ndaba.
26 Awo ne bamugamba nti Yakukola atya? yakuzibula atya amaaso go?
27 N'abaddamu nti Mmaze okubabuulira naye temuwulidde: ekibaagaza okuwulira omulundi ogw'okubiri kiki? era nammwe mwagala okufuuka abayigirizwa be?
28 Ne bamuvuma, ne bagamba nti Ggwe oli muyigirizwa we: naye ffe tuli bayigirizwa ba Musa.
29 Ff tumanyi nga Katonda yayogera ne Musa: naye omuntu oyo tetumumanyi gy'ava.
30 Omuntu n'addamu n'abagamba nti Kino kitalo! mmwe obutamanya gyava, omuntu eyasobola okunzibula amaaso!
31 Tumanyi nga Katonda tawulira balina bibi; naye buli muntu atya Katonda, ng'akola ky'ayagala, oyo amuwulira.
32 Okuva edda n'edda tewawulirwanga nga waaliwo omuntu eyazibula amaaso g'omuntu eyazaalibwa nga muzibe wa maaso.
33 Omuntu oyo singa teyava wa Katonda, teyandiyinzizza kukola kigambo.
34 Ne baddamu ne bamugamba nti Ggwe wazaalibwa mu bibi byereere, naawe otuyigiriza ffe? Ne bamusindikira ebweru.
35 Yesu n'awulira nga bamusindikidde ebweru; n'amulaba n'agamba nti Ggwe okkiriza Omwana wa Katonda?
36 Ye n'addamu, n'agamba nti Mukama wange, ye ani, mmukkirize?
37 Yesu n'amugamba nti Omulabye, era ayogera naawe ye wuuyo.
38 Ye n'agamba nti Mukama wange, nzikirizza. N'amusinza.
39 Yesu n'agamba nti Omusango gwe gwandeeta mu nsi muno, abatalaba balabe, n'abo abalaba babe bazibe ba maaso.
40 Abafalisaayo abalala abaali naye ne bawulira bwe batyo, ne bamugamba nti Naffe tuli bazibe ba maaso?
41 Yesu n'abagamba nti Singa mubadde bazibe ba maaso, temwandibadde na kibi; naye kaakano mugamba nti Tulaba: ekibi kyammwe kibeerera awo.
   

Essuula 10

[Ddayo waggulu]
Yesu omusumba omulungi
1 Ddala ddala mbagamba nti Atayita mu mulyango ng'ayingira mu kisibo ky'endiga, naye n'alinnyira awalala, oyo ye mubbi era omunyazi.
2 Naye ayita mu mulyango, ye musumba w'endiga.
3 Oyo omuggazi amuggulirawo; n'endiga zimuwulira eddoboozi: aziyita endiga ze amannya; azifulumya ebweru.
4 Bw'amala okufulumya ezize zonna, azikulembera, n'endiga zimugoberera: kubanga zimumanyi eddoboozi.
5 Omulala tezirimugoberera, naye zirimudduka buddusi: kubanga tezimanyi ddoboozi lya balala.
6 Yesu n'abagerera olugero luno, naye bo tebaategeera bigambo bwe biri bye yabagamba.
7 Awo Yesu n'abagamba nate nti Ddala ddala mbagamba nti Nze mulyango gw'endiga.
8 Bonna abansooka baali babbi era abanyazi: naye endiga tezaabawulira.
9 Nze mulyango: omuntu bw'ayingirira mu nze alirokoka, aliyingira, alifuluma, aliraba eddundiro.
10 Omubbi tajja wabula okubba, n'okutta, n'okuzikiriza. Nze najja zibe n'obulamu, era zibe nabwo obungi.
11 Nze musumba omulungi: omusumba omulungi awaayo obulamu bwe olw'endiga.
12 Alundirira empeera, atali musumba, endiga nga si zize ye, bw'alaba omusege nga gujja, aleka endiga n'adduka, n'omusege guzisikula guzisaasaanya.
13 Adduka kubanga wa mpeera, so endiga tazissaako mwoyo.
14 Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n'ezange zintegeera
15 nga Kitange bw'antegeera, nange mpaayo obulamu bwange olw'endiga.
16 Era nnina n'endiga endala ezitali za mu kisibo kino: nazo kiŋŋwanira okuzireeta, ziriwulira eddoboozi lyange; era ziriba ekisibo kimu, omusumba omu.
17 Kitange kyava anjagala, kubanga nze mpaayo obulamu bwange, ndyoke mbutwale ate.
18 Tewali abunziyako, naye nze nzekka mbuwaayo. Nnina obuyinza obw'okubuwaayo, era nnina obuyinza obw'okubutwala nate. Ekiragiro ekyo nakiweebwa Kitange.
19 Ne wabaawo nate okwawukana mu Bayudaaya olw'ebigambo ebyo.
20 Abamu ku bo bangi ne bagamba nti Aliko dayimooni era alaluse; mumuwulirira ki?
21 Abalala ne bagamba nti Ebigambo bino si bya muntu aliko dayimooni. Dayimooni ayinza okuzibula amaaso ga bamuzibe?
22 Yali mbaga ey'okutukuza mu Yerusaalemi; byali biro bya mpewo;
23 Yesu n'atambulira mu yeekaalu mu kisasi kya Sulemaani.
24 Awo Abayudaaya ne bamwetooloola, ne bamugamba nti Olituusa wa okutubuusisabuusisa? Oba nga ggwe Kristo, tubuulitire ddala.
25 Yesu n'abaddamu nti Nnabagamba, naye temukkiriza: emirimu gye nkola mu linnya lya Kitange, gye gintegeeza nze.
26 Naye mmwe temukkiriza kubanga temuli ba mu ndiga zange.
27 Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nange nzitegeera, era zingoberera;
28 nange nziwa obulamu obutaggwaawo; so teziribula emirembe n'emirembe, so tewali alizisikula mu mukono gwange.
29 Kitange eyazimpa ye mukulu okusinga bonna, so tewali ayinza okuzisikula mu mukono gwa Kitange.
30 Nze ne Kitange tuli omu.
31 Abayudaaya ne baddira nate amayinja okumukuba.
32 Yesu n'abaddamu nti Emirimu mingi emirungi egyava eri Kitange nagibalaga mmwe; mulimu guluwa mu egyo ogubankubya amayinja?
33 Abayudaaya ne bamuddamu nti Olw'omulimu omulungi tetukukuba mayinja, naye olw'okuwoola; era kubanga ggwe oli muntu ne weefuula Katonda.
34 Yesu n'abaddamu nti Tekyawandiikibwa mu mateeka gammwe nti Nze nnagamba nti Muli bakatonda?
35 Oba nga yabayita abo bakatonda, abajjirwa ekigambo kya Katonda, (so n'ebyawandiikibwa tebiyinza kudiba),
36 mwe mumugambira ki ye, Kitaawe gwe yaiukuza, n'amutuma mu nsi, nti Owodde; kubanga ambye nti Ndi Mwana wa Katonda?
37 Bwe sikola mirimu gya Kitange, temunzikiriza.
38 Naye bwe ngikola, newakubadde nga temunzikiriza nze, naye mukkirize emirimu: mumanye mutegeere nga Kitange ali mu nze nange mu Kitange.
39 Ne basala amagezi nate okumukwata: n'ava mu mikono gyabwe.
40 N'agenda nate emitala wa Yoludaani mu kifo Yokaana gye yali olubereberye ng'abatiza; n'abeera eyo.
41 Abantu bangi ne bajja gy'ali; ne bagamba nti Yokaana teyakola kabonero: naye byonna Yokaana bye yayogera ku ono byali bya mazima.
42 Ne bamukkiririza eyo bangi.
   

Next
Back