Yokaana  

Essuula 11

Okufa kwa Lazaaro
1 Awo waaliwo omuntu eyali omulwadde, Lazaalo ow'e Bessaniya, mu mbuga Malyamu ne Maliza muganda we mwe baali;
2 Malyamu oyo eyasiiga Mukama waffe amafuta n'amuttaanya ebigere n'enviiri ze ye yalina mwannyina Lazaalo eyali alwadde.
3 Awo bannyina abo ne bamutumira, nga bagamba nti Mukama waffe, laba, gw'oyagala alwadde.
4 Naye Yesu bwe yawulira, n'agamba nti Obulwadde buno si bwa kufa wabula olw'ekitiibwa kya Katonda, Omwana wa Katonda abe n'ekitiibwa olw'obwo.
5 Naye Yesu yayagala Maliza ne muganda we ne Lazaalo.
6 Awo bwe yawulira ng'alwadde, n'ayosaawo ate ennaku bbiri mu kifo kye yalimu.
7 Ate n'alyoka agamba abayigirizwa nti Tuddeyo e Buyudaaya. Abayigirizwa ne bamugamba ati Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda?
8 Abayigirizwa ne bamugamba ati Labbi, kaakano Abayudaaya baali basala amagezi okukukuba amayinja, ate gy'oba odda?
9 Yesu n'addamu nti Essaawa ez'emisana si kkumi na bbiri? Omuutu bw'atambula emisana teyeesittala, kubanga alaba omusana ogw'ensi eno.
10 Naye omuntu bw'atambula ekiro, yeesittala, kubanga omusana teguli mu ye.
11 Yayogera bw'ati, n'alyoka abagamba ati Mukwano gwaffe Lazaalo yeebase; naye ŋŋenda okumuzuukusa.
12 Awo abayigirizwa ne bamugamba nti Mukama waffe, oba yeebase, anaazuukuka.
13 Naye Yesu yayogera ku kufa kwe: naye bo ne balowooza nti ayogera ku kwebaka kwa tulo.
14 Awo Yesu n'alyoka ababuulira lwatu nti Lazaalo afudde.
15 Nange nneesiimye ku lwammwe kubanga saaliyo, mulyoke mukkirize; naye tugende gy'ali.
16 Awo Tomasi ayitibwa Didumo n'agamba lxayigirizwa banne nti Naffe tugende tufiire wamu naye.
17 Awo Yesu bwe yatuuka, n'asanga nga yaakamala ennaku nnya mu ntaana.
18 Naye Bessaniya yali kumpi ne Yerusaalemi nga sutadyo kkumi na ttaano;
19 Abayudaaya bangi baali bazze eri Maliza ne Malyamu okubakubagiza olwamwannyinaabwe.
20 Awo Maliza bwe yawulira nga Yesu ajja, n'agenda okumusisinkana: naye Malyamu n'asigala mu nju.
21 Awo Maliza n'agamba Yesu nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.
22 Era kaakano mmanyi nga byonna by'onoosaba Katonda, Katonda anaabikuwa.
23 Yesu n'amugamba nti Mwannyoko ajja kuzuukira.
24 Maliza n'amugamba nti Mmanyi nti alizuukirira ku kuzuukira kw'olunaku olw'enkomerero.
25 Yesu n'amugamba nti Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu:
26 Nze kuzuukira, n'obulamu: akkiriza nze, newakubadde ng'afudde, aliba mulamu:
27 N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange: nze nzikirizza nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda, ajja mu nsi.
28 Bwe yamala okwogera bw'ati, n'agenda, n'ayita muganda we Malyamu kyama, ng'agamba nti Omuyigiriza azze, akuyita.
29 Naye bwe yawulira, n'agolokoka mangu, n'ajja gy'ali.
30 Yesu yali tannatuuka mu mbuga, naye ng'akyali mu kifo Maliza kye yamusa ngamu.
31 Awo Abayudaaya abaali naye mu nnyumba, nga bamukubagiza, bwe baalaba Malyamu ng'ayimiridde mangu okufuluma, ne bamugoberera, nga balowooza nti agenda ku ntaana okukaabira eyo.
32 Awo Malyamu bwe yatuuka Yesu gy'ali n'amulaba, n'agwa ku bigere bye, n'amugamba nti Mukama wange, singa wali wano, mwannyinaze teyandifudde.
33 Awo Yesu bwe yamulaba ng'akaaba, n'Abayudaaya abazze naye nga bakaaba, n'asinda mu mwoyo, ne yeeraliikirira,
34 n'agamba nti Mwamuteeka wa? Ne bamugamba nti Mukama waffe, jjangu olabe.
35 Yesu n'akaaba amaziga.
36 Awo Abayudaaya ne boogera nti Laba bw'abadde amwagala.
37 Naye abamu ku bo ne boogera nti Omuntu ono, eyazibula amaaso ga muzibe w'amaaso teyayinza kulobera ono okufa?
38 Awo Yesu bwe yasinda ate mu nda ye, n'atuuka ku ntaana. Yali mpuku, ng'eteekeddwako ejjinja kungulu.
39 Yesu n'agamba nti Muggyeewo ejjinja. Maliza, mwannyina w'oli eyafa, n'amugamba nti Mukama wange, kaakano awunya: kubanga yaakamala ennaku nnya.
40 Yesu n'amugamba nti Sikugambye nti Bw'onokkiriza, onoolaba ekitiibwa kya Katonda?
41 Awo ne baggyawo ejjinja. Yesu n'ayimusa amaaso waggulu, n'ayogera nti Kitange, nkwebaza kubanga wampulira.
42 Nange nnamanya ng'ompulira bulijjo: naye njogedde ku lw'ekibiina ekinneetoolodde, bakkirize nga ggwe wantuma.
43 Bwe yamala okwogera bw'ati, n'ayogerera waggulu n'eddoboozi ddene nti Lazaalo, fuluma ojje.
44 Eyali afudde n'afuluma, ng'azingiddwa mu mabugo amagulu n'emikono; n'ekiremba nga kisibiddwa mu maaso ge. Yesu n'abagamba nti Mumusumulule, mumuleke agende.
45 Awo bangi ab'omu Bayudaaya, abajja ewa Malyamu, bwe baalaba ky'akoze, ne bamukkiriza.
46 Naye abamu ku bo ne bagenda eri Abafalisaayo, ne bababuulira Yesu by'akoze.
47 Awo bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne bakuŋŋanya olukiiko, ne bagamba nti Tukole tutya? kubanga omuntu oyo akola obubonero bungi.
48 Bwe tunaamuleka bwe tutyo, bonna banaamukkiriza: n'Abaruumi balijja, balitunyagako ensi yaffe n'eggwanga lyaffe.
49 Naye omu ku bo, Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, n'abagamba nti Mmwe temuliiko kye mumanyi,
50 so temulowooza nga kibagwanidde omuntu omu afiirire abantu, n'eggwanga lyonna lireme okubula.
51 Ekyo teyakyogera mu magezi ge yekka; naye kubanga yali kabona asinga obukulu mu mwaka ogwo, yalagula nti Yeus agenda okufiirira eggwanga eryo;
52 so si lwa ggwanga eryo lyokka, naye akuŋŋaanyize wamu abaana ba Katonda abaasaasaana.
53 Awo okuva ku lunaku olwo ne bateesa okumutta.
54 Awo Yesu n'atatambula nate mu Buyudaaya mu lwatu, naye n'avaayo n'agenda mu kifo ekiri okumpi n'eddungu, mu kibuga ekiyitibwa Efulayimu; n'abeera eyo n'abayigirizwa.
55 Naye Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka: bangi abaava mu byalo ne balinnya e Yerusaalemi Okuyitako nga kukyali, beerongoose.
56 Awo Yesu ne bamunoonya, ne boogera bokka na bokka, nga bayimiridde mu yeekaalu, nti Mulowooza mutya? Tajje ku mbaga?
57 Naye bakabona abakulu n'Abafalisaayo baali balagidde nti Omuntu bw'ategeera w'ali, ababuulire balyoke bamukwate.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
Yesu Anaaza ebigere by'abayigirizwa be
1 Awo bwe zaali nga zisigaddeyo ennaku omukaaga okutuuka ku Kuyitako, Yesu n'ajja e Bessaniya, eyali Lazaalo, Yesu gwe yazuukiza mu bafu.
2 Awo ne bamufumbirayo emmere ey'ekyeggulo: ne Maliza n'aweereza; naye Lazaalo n'aba omu ku bo abaali batudde naye ku mmere.
3 Awo Malyamu n'addira laatiri ey'amafuta ag'omugavu, ag'omuwendo omungi ennyo, n'agisiiga ku bigere bya Yesu, n'attaanya ebigere bye n'enviiri ze: ennyumba n'ejjula akaloosa ak'amafuta.
4 Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa be, agenda okumulyamu olukwe, n'agamba nti
5 Kiki ekirobedde okutunda amafuta gano okugaggyamu eddinaali ebikumi bisatu, okugabira abaavu?
6 Kale yayogera bw'atyo, si lwa kujjukira abaavu; naye kubanga yali mubbi, ye yayambaliranga ensawo, n'atwalanga bye baateekangamu.
7 Awo Yesu n'agamba nti Mumuleke agaterekere olunaku lw'okuziikibwa kwange.
8 Kubanga abaavu be muli nabo ennaku zonna; naye nze temuli nange ennaku zonna.
9 Awo abakopi ab'omu Bayudaaya ne bategeera nti gyali: ne bajja si ku lwa Yesu yekka, era naye balabe ne Lazaalo, gwe yazuukiza mu bafu.
10 Naye bakabona abakulu ne basala amagezi bamutte ne Lazaalo;
11 kubanga ku lulwe bangi ku Bayudaaya abaagenda, ne bakkiriza Yesu.
12 Olunaku olw'okubiri ekibiina kinene abaali bazze ku mbaga, bwe baawulira nga Yesu ajja e Yerusaalemi,
13 ne batwala ensansa ez'enkindu ne bagenda okumusisinkana, ne boogerera waggulu nti Ozaana: aweereddwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama, ye Kabaka wa Isiraeri.
14 Naye Yesu bwe yalaba ennyana y'endogoyi, n'agyebereka; nga bwe kyawandiikibwa nti
15 Totya, muwala wa Sayuuni: laba, Kabaka wo ajja, nga yeeberese omwana gw'endogoyi.
16 Ebyo abayigirizwa be tebaabitegeera olubereberye: naye Yesu bwe yamala okugulumizibwa, ne balyoka bajjukira ng'ebyo byamuwandiikwako, era nga baamukola bwe batyo.
17 Awo ekibiina ekyali naye bwe yayita Lazaalo okuva mu ntaana n'amuzuukiza mu bafu, ne kitegeeza.
18 Era ekibiina kyekyava kigenda okumusisinkana, kubanga baawulira nti yakola akabonero ako.
19 Awo Abafalisaayo ne boogeragana nti Mulabe bwe mutalina kye mugasizza; laba, ensi zonna zimusenze.
20 Naye waaliwo Abayonaani abalala mu abo abajja ku mbaga okusinza:
21 awo bali ne bajja eri Firipo, eyava e Besusayida eky'omu Ggaliraaya, ne bamubuuza, nga bamugamba nti Ssebo, twagala okulaba Yesu.
22 Firipo n'ajja n'abuulira Andereya; Andereya n'ajja, ne Firipo, ne babuulira Yesu.
23 Yesu n'abaddamu, n'agamba nti Obudde butuuse, Omwana w'omuntu agulumizibwe.
24 Ddala ddala mbagamba nti Empeke y'eŋŋaano bw'etegwa mu ttaka n'efa, ebeerera awo yokka; naye bw'efa, ebala emmere nnyingi.
25 Ayagala obulamu bwe bumubula; naye akyawa obulamu bwe mu nsi eno alibusigaza okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.
26 Omuntu bw'ampeereza, angobererenga; nange gye ndi, eyo omuweereza wange naye gy'anaabanga: omuntu bw'ampeereza, Kitange alimussaamu ekitiibwa.
27 Kaakano omwoyo gwange gweraliikiridde; era njogere ntya? Kitange, ndokola okunziya mu kiseera kino. Naye kyennava ntuuka mu kiseera kino.
Yesu ayogera ku kufa kwe ku musaalaba
28 Kitange, gulumiza erinnya lyo. Awo eddoboozi ne liva mu ggulu, nti Nnaligulumiza, era ndirigulumiza nate:
29 Awo ekibiina ekyali kiyimiridewo, bwe kyaliwulira, ne kigamba nti Kubadde kubwatuka: abalala ne bagamba nti Malayika ayogedde.
30 Yesu n'addamu n'agamba nti Eddoboozi lino terizze ku bwange, naye ku bwammwe.
31 Kaakano ensi eno esalirwa omusango; kaakano omukulu w'ensi eno anaagoberwa ebweru.
32 Nange bwe ndiwanikibwa ku nsi ndiwalulira gye ndi bonna.
33 Naye yayogera atyo, ng'alaga oktifa bwe kuli kw'agenda okufa.
34 Awo ekibiina ne kimuddamu nti Tetwawulira mu mateeka nti Kristo abeerera awo emirembe n'emirembe: naawe kiki ekikugambya nti Omwana w'omuntu kimugwanira okuwanikibwa? Ono Omwana w'omuntu ye ani?
35 Awo Yesu n'abagamba nti Esigaddeyo ebiro bitono ng'omusana gukyali gye muli. Mutambule nga mukyalina omusana, ekizikiza kireme okubakwatira mu kkubo: atambulira mu kizikiza tamanya gy'agenda.
36 Bwe mukyalina omusana mukkirize omusana, mufuuke abaana b'omusana. Yesu bwe yamala okwogera ebyo, n'agenda, n'abeekweka.
37 Naye newakubadde nga yakola obubonaro bungi obwenkanidde awo mu maaso gaabwe, tebaamukkiriza:
38 ekigambo kya nnabbi Isaaya kituukirire, kye yayogera nti Mukama, ani eyakkiriza ebigambo byaffe? Era omukono gwa Mukama gubikkuliddwa ani?
39 Kyebaava balema okuyinza okukkiriza, kubanga Isaaya yayogera nate nti
40 Yabaziba amaaso, n'abakakanyaza omutima; Baleme okulaba n'amaaso n'okutegeera n'omutima, Bakyuke, Ndyoke mbawonye.
41 Ebyo bye yayogera Isaaya, kubanga yalaba ekitiibwa kye: n'ayogera ku ye.
42 Naye mu bakulu bangi abaamukkiriza, naye olw'Abafalisaayo tebaayatula, baleme okugobebwa mu kkuŋŋaaniro:
43 kubanga baayagala ekitiibwa ky'abantu okukira ekitiibwa kya Katonda.
44 Yesu n'ayogerera waggulu n'agamba nti Anzikiriza, takkiriza nze, wabula oli eyantuma.
45 Era alaba nze ng'alabye oli eyantuma.
46 Nze nzize kuba musana mu nsi, buli muntu anzikiriza aleme okutuulanga mu kizikiza.
47 Naye awulira ebigambo byange, n'atabikwata, nze simusalira musango: kubanga sajja kusalira nsi musango, wabula okulokola ensi.
48 Agaana nze, n'atakkiriza bigambo byange, alina amusaiira emusango: ekigambo kye nnayogera kye kirimusalira ornusango ku lunaku olw'enkomerero.
49 Kubanga saayogeranga nze ku bwarage; naye Kitange eyantuma, ye yandagira bwe ŋŋamba, era bwe njogera.
50 Nange mmanyi n'ekiragiro kye bwe bulamu obutaggwaawo: kale nze bye njogera, nga Kitange bwe yaŋŋamba, bwe ntyo bwe njogera:
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
Yesu afuuka omuweereza
1 Naye embaga ey'Okuyitako yali nga tennatuuka, Yesu bwe yamanya ng'ekiseera kye kituuse okuva mu nsi muno okugenda eri Kitaawe, bwe yayagala ababe abali mu nsi, yabaagala okutuusa enkomerero.
2 Bwe baali balya emmere ey'ekyeggulo Setaani nga yamaze dda okuweerera Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni mu mutima gwe okumulyamu olukwe,
3 Yesu bwe yamanya nga Kitaawe amuwadde byonna mu mukono gwe, era nga yava wa Katonda, ate ng'adda wa Katonda,
4 n'ava ku mmere, n'ayambulamu engoye ze; n'addira ekiremba, ne yeesiba ekimyu.
5 N'alyoka afuka amazzi mu kibya, n'atanula okunaaza abayigirizwa ebigere n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye.
6 Awo n'ajja eri Simooni Peetero. Naye n'amugamba nti Mukama wange, ggwe onnaaza ebigere?
7 Yesu n'addamu n'amugamba ntiKye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma.
8 Peetero n'amugamba nti Tonnaazenga bigere byange emirembe gyonna. Yesu n'amuddamu nti Bwe ssiikunaaze tossa kimu nange.
9 Simooni Peetero n'amugamba nti Mukama wange, si bigere byange byokka, naye n'emikono n'omutwe.
10 Yesu n'amugamba nti Anaazibwa omubiri taliiko kye yeetaaga wabula okunaaba ebigere byokka, naye yenna nga mulongoofu: nammwe muli balongoofu naye si mwenna.
11 Kubanga yamumanya anaamulyamu olukwe; kyeyava ayogera nti Mwenna temuli balongoofu.
12 Awo bwe yamala okubanaaza ebigere, n'ayambala engoye ze, n'atuula nate, n'abagamba nti Mutegedde kye mbakoze?
13 Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe: era mwogera bulungi; kubanga bwe ndi.
14 Kale oba nga nze Mukama wammwe era Omuyigiriza mbanaazizza ebigere, era nammwe kibagwanira okunaazagananga ebigere.
15 Kubanga mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo.
16 Ddala ddala mbagamba nti Omuddu tasinga bukulu mukama we; so omutume tasmga bukulu oli eyamutuma.
17 Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola.
18 Soogedde ku mmwe mwenna: nze mmanyi be nnalondamu: naye ekyawandiikibwa kituukirire nti Alya ku mmere yange ye annyimusiza ekisinziiro kye.
19 Okusooka leero mbabuulira nga tekinnaba kubaawo, era ne bwe kiriba, mulyoke mukkirize nga nze nzuuyo.
20 Ddala ddala mbagamba nti Asembeza buli gwe ntuma, ng'asembezza nze: era asembeza nze, ng'asembezezza oli eyantuma.
21 Yesu bwe yamala okwogera bw'atyo, ne yeeraliikirira mu mwoyo, n'ategeeza, n'ayogera nti Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.
22 Abayigirizwa ne batunulaganako, nga babuusabuusa gw'ayogeddeko bw'ali.
23 Waaliwo omu ku bayigirizwa be eyali agalamidde mu kifuba kya Yesu ku rnmere, Yesu gwe yayagalanga.
24 Awo Simooni Peetero n'awenya oyo, n'amugamba riti Tubuulire gw'ayogeddeko bw'ali.
25 Ye bwe yagalamira mu kifuba kya Yesu, nga bwe yali, n'amugamba nti Mukama wange, ye ani?
26 Awo Yesu n'addamu nti Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa ye wuuyo. Awo bwe yakoza ekitole, n'akitwala, n'akiwa Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti.
27 Bwe yamala okuweebwa ekitole, Setaani n'alyoka amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti Ky'okola, kola mangu.
28 Naye ekigambo ekyo tewali muntu ku bo abaali batudde ku mmere eyakitegeera ekikimwogezza.
29 Kubanga abalala baateerera nti kubanga Yuda ye yali akwata ensawo, Yesu kyeyava amugamba nti Gula bye twetaaga eby'oku mbaga; oba awe abaavu ekintu.
30 Awo bwe yamala okuweebwa ekitole, amangu ago n'afuluma ebweru; bwali nga buzibye.
31 Awo bwe yamala okufuluma, Yesu n'agamba nti Kaakano Omwana w'omuntu agulumizibwa, ne Katonda agulumizibwa mu ye;
32 era Katonda alimugulumiza mu ye yennyini, era amangu ago anaamugulumiza.
33 Baana bange, ekiseera kitono nga nkyali nammwe. Mulinnoonya: era nga bwe nnagamba Abayudaaya nti Gye ŋŋenda nze mmwe temuyinza kujja, era nammwe bwe mbagamba kaakano.
34 Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga.
35 Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n'okwagalana mwekka na mwekka.
36 Simooni Peetero n'amugamba nti Mukama wange, ogenda wa? Yesu n'addamu nti Gye ŋŋenda, toyinza kungoberera kaakano; naye olingoberera gye bujja.
37 Peetero n'amugamba nti Mukama wange, kiki ekindobera okukugoberera kaakano? N'awaayo obulamu bwange ku lulwo.
38 Yesu n'addamu nti Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti Enkoko teekookolime okutuusa lw'ononneegaana emirundi esatu.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
Yesu ye kkubo, amazima n'obulamu
1 Omutima gwammwe tegweraliikiriranga: mukkirize Katonda, era nange munzikirize.
2 Mu nnyumba ya Kitange mulimu ebifo bingi eby'okubeeramu. Singa tekiri bwe kityo, nandibagambye; kubanga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo.
3 Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi, nammwe mubeere eyo.
4 Era gye ŋŋenda, ekkubo mulimanyi.
5 Tomasi n'amugamba nti Mukama waffe, tetumanyi gy'ogenda; ekkubo tutimanyi tutya?
6 Yesu n'amugamba nti Nze kkubo, n'amazima n'obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng'ayita mu nze.
7 Singa muntegedde, ne Kitange mwandimumanye: okusooka kaakano mumutegeera era mumulabye.
8 Firipo n'amugamba nti Mukama waffe, tulage Kitaffe, kale kinaatumala.
9 Yesu n'amugamba nti Kasookedde mbeera nammwe, ebiro ebingi bwe bityo, era tontegeeranga, Firipo? Alabye ku nze, ng'alabye ku Kitange; kiki ekikwogeza ggwe nti Tulage Kitaffe?
10 Tokkiriza nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange ali mu nze? Ebigambo bye mbagamba nze, sibyogera ku bwange nzekka; naye Kitange bw'abeera mu nze akola emirimu gye.
11 Munzikirize nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange mu nze: oba munzikirize olw'emirimu gyokka.
12 Ddala ddala mbagamba nti Akkiriza nze emirimu gye nkola nze, naye aligikola; era alikola egisinga egyo obunene; kubanga nze ŋŋenda eri Kitange.
13 Na buli kye munaasabanga mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga, Kitange agulumirizibwenga mu Mwana.
14 Bwe munansabanga ekigambo mu linnya lyange, ekyo nnaakikolanga.
15 Oba nga munjagala, munaakwatanga ebiragiro byange.
16 Nange ndisaba Kitange, naye alibawa Omubeezi omulala, abeerenga nammwe emirembe n'emirembe.
17 Omwoyo ow'amazima: ensi gw'eteyinza kukkiriza; kubanga temulaba, so temutegeera: mmwe mumutegeera; kubanga abeera gye muli, era anaabanga mu mmwe.
18 Siribaleka bamulekwa; nkoma wo gye muli.
19 Esigadde ekiseera kitono, ensi obutandaba nate; naye mmwe mundaba: kubanga nze ndi mulamu nammwe muliba balamu.
20 Ku lunaku olwo mulitegeera mmwe nga nze ndi mu Kitange, nammwe mu nze, nange mu mmwe.
21 Alina ebiragiro byange, n'abikwata, oyo nga ye anjagala: anjagala anaayagalibwanga Kitange, nange nnaamwagalanga, nnaamulabikiranga.
22 Yuda (atali Isukalyoti; n'amugamba nti Mukama waffe; kibadde kitya ggwe okugenda okutulabikita ffe, so si eri ensi?
23 Yesu n'addamu n'amugamba nti Omuntu bw'anjagala, anaakwatanga ekigambo kyange: ne Kitange anaamwagalanga, era tunajjanga gy'ali, tmaatuulanga gy'ali.
24 Atanjagala takwata bigambo byange: n'ekigambo kye muwulira si kyange, naye kya Kitange eyantuma.
25 Ebigambo ebyo mbabuulidde nga nkyali nammwe.
26 Naye Omubeezi, Omwoyo Omutukuvu, Kitange gw'alituma mu linnya lyange, oyo alibayigiriza byonna, alibajjukiza byonna bye nnabagamba.
27 Emirembe mbalekera; emirembe gyange ngibawa: si ng'ensi bw'ewa, nze bwe mbawa. Omutima gwammwe tegweraliikiriranga so tegutyanga.
28 Muwulidde bwe mbagambye nti Ŋŋenda, era nkomawo gye muli. Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu.
29 Kaakano mbagambye nga tekinnaba kubaawo, lwe kiribaawo mulyoke mukkirize.
30 Sikyayogera nnyo nate nammwe; kubanga afuga ensi ajja: naye tandiiko kigambo;
31 naye ensi etegeere nga njagala Kitange, era Kitange bwe yandagira, bwe ntyo bwe nkola. Mugolokoke, tuve wano.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]
Omuzabbibu ogwamazima
1 Nze muzabbibu ogw'amazima, ne Kitange ye mulimi.
2 Buli ttabi eriri mu nze eritabala bibala, aliggyawo: na buli eribala ebibala alirongoosa, lyeyongerenga okubala.
3 Mmwe kaakano mumaze okuba abalongoofu olw'ekigambo kye mbagambye.
4 Mubeere mu nze, nange mu mmwe. Ng'ettabi bwe litayinza kubala bibala lyokka, bwe litabeera mu muzabbibu, bwe kityo nammwe temuyinza, bwe mutabeera mu nze.
5 Nze muzabbibu, mmwe matabi: abeera mu nze, nange mu ye, oyo abala ebibala bingi: kubanga awatali nze temuliiko kye muyinza kukola.
6 Omuntu bw'atabeera mu nze, asuulibwa ebweru ng'ettabi, akala; bagakuŋŋaainya, bagasuula mu muliro, ne gaggya.
7 Bwe mubeera mu nze, n'ebigambo byange bwe bibeera mu mmwe, musabenga kye mwagala kyonna, munaakikolerwanga.
8 Mu kino Kitange agulumizibwa, mubalenga ebibala bingi; era munaabanga abayigirizwa bange.
9 Nga Kitange bwe yanjagala, nange mbaagadde mAmwe: mubeerenga mu kwagala kwange.
10 Bwe mukwata ebiragiro byange, z:iunaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya Kitange, ne mbeera mu kwagala kwe.
11 Ebyo mbibagambye, essanyu lyange libeerenga mumwe, era essanyu lyammwe lituukirire.
12 Kino kye kiragiro kyange, mwagalanenga, nga bwe nnabaagala mmwe.
13 Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.
14 Mmwe muli mikwano gyange, bwe mukola bye mbalagira.
15 Sikyabayita baddu; kubanga omuddu tamanyi mukama we by'akola; naye mbayise ba mukwano; kubanga byonna bye nnawulira eri Kitange mbibabuulidde mmwe.
16 Si mmwe mwannonda nze, naye nze nnabalonda mmwe, ne mbateekawo, mugende mubalenga ebibala, n'ebibala byammwe bibeerengawo: kyonna kye munaasabanga Kitange mu linnya lyange, akibawenga.
17 Mbalagidde bino, mwagalanenga.
18 Ensi bw'ebakyawanga mumanyi nga yasooka kukyawa nze nga tennaba kukyawa mmwe.
19 Singa mubadde ba nsi, ensi yandyagadde ekyayo; naye kubanga temuli ba nsi, naye nze nnabalonda mu nsi, ensi kyeva ebakyawa.
20 Mujjukire ekigambo kye nnabagamba nti Omuddu tasinga mukama we. Oba nga banjigganya nze, nammwe banaabayigganyanga; oba nga baakwata ekigambo kyange, n'ekyammwe ba naakikwatanga.
21 Naye ebyo byonna banaabibakolanga olw'erinnya lyange, kubanga tebamumanyi eyantuma.
22 Singa sajja ne njogera nabo, tebandibadde na kibi; naye kaakano tebalina kya kuwoza olw'ekibi kyabwe.
23 Ankyawa nze akyawa ne Kitange.
24 Singa saakolera mu bo mirimu egitakolebwanga mulala, tebandibadde na kibi; naye kaakano balabye ne bankyawa ne Kitange.
25 Naye ekigambo kituukirire ekyawandiikibwa mu mateeka gaabwe nti Bankyayira bwereere.
26 Naye Omubeezi bw'alijja, gwe ndibatumira ava eri Kitange, Omwoyo ow'amazima, ava eri Kitange, oyo alitegeeza ebyange:
27 era nammwe mutegeeza ebyange kubanga okuva ku lubereberye mwali nange.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]
1 Ebyo, mbibabuulidde muleme okusittazibwanga.
2 Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro; weewaawo, ekiseera kijja, buli anaabattanga anaalowoozanga ng'aweerezza Katonda.
3 N'ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamutegeera newakubadde nze.
4 Naye ebyo mbibabuulidde, era ekiseera kyabyo bwe kituukanga mujjukire nga nze nnababuulira. N'ebyo okuva ku lubereberye saabibabuulira, kubanga nnali wamu nammwe.
5 Naye kaakano ŋŋenda eri oli eyantuma; era tewali ku mmwe ambuuza nti Ogenda wa?
6 Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku.
7 Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli.
8 Ye bw'alijja, alirumiriza ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'omusango;
9 olw'ekibi, kubanga tebanzikiriza nze;
10 olw'obutuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, so nammwe temukyandaba nate;
11 olw'omusango, kubanga omukulu w'ensi eno asaliddwa omusango.
12 Nkyalina bingi okubabuulira, naye temuyinza kubigumiikiriza kaakano.
13 Naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by'anaawuliranga by'anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja.
14 Oyo anangulumizanga nze: kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe.
15 Byonna byonna Kitange by'ali nabyo bye byange: kyenvudde ŋŋamba nti Anaatoolanga ku byange n'abuulira mmwe.
16 Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba nate; era nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba.
17 Abayigirizwa be abamu kyebaava boogera bokka na bokka nti Kiki kino ky'atugamba nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba; nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba; era nti Kubanga ŋŋenda eri Kitange?
18 Kyebaava bagamba nti Kiki kino ky'agamba nti Ekiseera kitono? Tetumanyi ky'agamba.
19 Yesu n'ategeera nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti Mwebuuzaganya mwekka olw'ekyo kye mbagambye nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba, era nate walibaawo ekiseera kitono ne mundaba?
20 Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku zammwe zirifuuka ssanyu.
21 Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi.
22 Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n'emitima gyammw'e girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu alibaggyako.
23 Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange.
24 Okutuusa leero temusabanga kigambo mu linnya lyange: musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.
25 Ebyo mbibabuuliridde mu ngero: naye obudde bugenda okujja, mwe siryogerera nammwe mu ngero, naye ndibibabuulira ebya Kitange mu lwatu.
26 Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange: so sibagamba nti ndibasabira eri Kitange;
27 kubanga Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagadde nze, rnukkirizza nga nnava eri Kitange.
28 Nnava eri Kitange, ne njija mu nsi: nate ensi ngireka, ŋŋenda eri Kitange.
29 Abayigirizwa be ne bamugamba nti Laba, kaakano oyogera lwatu, toyogera lugero.
30 Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, so teweetaaga muntu yenna okukubuuza; kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.
31 Yesu n'abaddamu nti Kaakano mukkirizza?
32 Laba, ekiseera kijja, era kituuse, mwe munaasaasaanira, buli muntu mu bibye, munandeka nze nzekka: so si nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.
33 Ebyo mbibabuulidde, mube n'emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi.
   

Essuula 17

[Ddayo waggulu]
Yesu yeesabira
1 Yesu yayogera ebyo; n'ayimusa amaaso ge mu ggulu n'agamba nti Kitange, ekiseera kituuse; gulumiza Omwana wo, Omwana wo akugulumize:
2 nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, era bonna be wamuwa, abawe obulamu obutaggwaawo.
3 Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo.
4 Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukome kkerezza.
5 Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng'ensi tennabaawo.
6 Njolesezza erinnya lyo abantu be wampa okubaggya mu nsi: baali babo, n'obampa nze; nabo bakutte ekigambo kyo.
7 Kaakano bategedde nga byonna bye wampa biva mu ggwe:
8 kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde; ne babiganya, ne bategeera mazima nga miava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wanttuna.
9 Nze mbasabira abo; sisabira nsi, wabula bo be wampa; kubanga babo:
10 era ebyange byonna bibyo, n'ebibyo byange: nange ngulumizibwa mu bo.
11 Siri mu nsi nate, naye bano bali mu nsi, nange njija gy'oli. Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe.
12 Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo: era nembazibira, tekubulanga muuntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire.
13 Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo.
14 Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi.
15 Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi.
16 Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.
17 Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima,
18 Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe nnabatuma mu nsi.
19 Era nze nneetukuza ku bwabwe, nabo bennyini batukuzibwe mu mazima.
20 So sibasabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'ekigambo kyabwe;
21 bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw'oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma.
22 Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu;
23 nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n'obaagala bo, nga bwe wanjagala nze.
24 Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa.
25 Kitange Omutuukirivu ensi teyakutegeera, naye nze nnakutegeera; na bano baategeera nga ggwe wantuma;
26 era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.
   

Essuula 18

[Ddayo waggulu]
Yesu mu Gesusemani
1 Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n'afuluma n'abayigirizwa be ne basomoka akagga Kidulooni, eyali olusuku, n'agenda omwo ye n'abayigirizwa be.
2 Era ne Yuda amulyamu olukwe, yali amanyi ekifo ekyo: kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi n'abayigirizwa be.
3 Awo Yuda, bwe yamala okuweebwa ekitongole ky'abaserikale n'abaami okuva eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo, n'ajjayo ng'alina ettabaaza, n'emimuli, n'amafumu.
4 Awo Yesu bwe yamanya ebigambo byonna ebinaamujjira, n'avaayo n'abagamba nti Munoonya ani?
5 Ne bamuddamu nti Yesu Omunazaaleesi. Yesu n'abagamba nti Nze nzuuno. Era ne Yuda, amulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo.
6 Awo bwe yabagamba nti Nze nzuuno, ne badda ennyuma ne bagwa wansi.
7 Ate n'ababuuza omulundi ogw'okubiri nti Munoonya ani? Ne bagamba nti Yesu Omunazaaleesi.
8 Yesu n'addamu nti Mbabuulidde nti nze nzuuno: kale oba nga munoonya nze, muleke bano bagende:
9 ekigambo kye yayogera kituukirizibwe nti Ku abo be wampa saabuzaako n'omu.
10 Awo Simooni Peetero eyalina ekitala n'akisowola n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo. N'erinnya ly'omuddu Maluko.
11 Awo Yesu n'agamba Peetero nti Zzaamu ekitala mu kiraato kyakyo: ekikompe Kitange ky'ampadde, siikinywe?
12 Awo ekitongole ky'abaserikale, n'omwami waabwe omukulu, n'abaweereza b'Abayudaaya ne bakwata Yesu ne bamusiba,
13 ne basooka okumutwala eri Ana; kubanga yali mukoddomi wa Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka guli.
14 Era Kayaafa oyo ye yawa Abayudaaya amagezi nti kisaana omuntu omu okufiirira abantu.
15 Simooni Peetero n'omuyigirizwa omulala ne bagoberera Yesu. Awo omuyigirizwa oli yali amanyiddwa kabona asinga obukulu, n'ayingira ne Yesu ran luggya lwa kabona asinga obukulu;
16 naye Peetero yali ayimiridde ebweru ku luggi. Awo omuyigirizwa oyo omulala eyali amanyiddwa kabona asinga obukulu n'afuluma n'ayogera n'omuwala omuggazi w'oluggi, n'ayingiza Peetero.
17 Awo omuwala oyo omuggazi w'oluggi n'agamba Peetero nti Naawe oli wa mu bayigirizwa ba muntu ono? N'agamba nti Siri waamu.
18 Abaddu n'abaweereza baali bayimiridde awo nga bakumye omuliro gw'amanda; kuhanga yali mpewo; ne boota omuliro: ne Peetero naye yali nabo ng'ayimiridde ng'ayota omuliro.
19 Awo kabona asinga obukulu n'abuuza Yesu ebigambo by'abayigirizwa be, n'eby'okuyigiriza kwe.
20 Yesu n'amuddamu nti nnabuuliranga lwatu ensi; bulijjo nnayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu yeekaalu, mwe bakuŋŋaanira Abayudaaya bonna; soogeranga mu kyama kigambo na kimu.
21 Ombuuliza ki? buuza abampuliranga, bye nnabagamba: laba, abo bamanyi nze bye nnayogera.
22 Bwe yayogera ebyo omu ku baweereza eyali amuyimiridde okumpi n'akuba Yesu oluyi n'agamba nti Oddamu oti kabona asinga obukulu?
23 Yesu n'amuddamu nti Oba Oba njogedde bubi, kinnumirize ekibi: naye oba kirungi, onkubira ki?
24 Awo Ana n'amuweereza nga musibe eri Kayaafa kabona asinga obukulu.
25 Ne Simooni Peetero yali ayimiridde ng'ayota omuliro. Awo ne bamugamba nti Naawe oli wa mu bayigirizwa be? Ye ne yeegaana n'agamba nti Siri waamu.
26 Omu ku baddu ba kabona asinga obukulu ow'ekika ky'oyo Peetero gwe yasalako okutu, n'agamba nti Nze saakulabye naye mu lusuku muli?
27 Peetero ne yeegaana nate: amangu ago enkoko n'ekookolima.
28 Ne baggya Yesu eri Kayaafa, ne bamutwala mu kigango: era bwali bukya; bo bennyini ne batayingira mu kigango, baleme okweyonoona, naye bamale okulya Okuyitako.
29 Awo Piraato n'afuluma n'agenda gye baali, n'agamba nti Musango ki gwe mulanze omuntu ono?
30 Ne baddamu ne bamugamba nti Omuntu ono singa abadde takoze bubi, tetwandimuleese gy'oli.
31 Awo Piraato n'abagamba nti Kale mumutwale mmwe mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali. Abayudaaya ne bamugamba nti Tekyatulagirwa kutta muntu yenna;
32 ekigambo kya Yesu kituukirizibwe, kye yayogera, ng'alaga okufa kw'agenda okufa bwe kuli.
33 Awo Piraato n'ayingira nate mu kigango, n'ayita Yesu n'amugamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?
34 Yesu n'addamu nti Kino okyogedde ku bubwo nantiki balala be bakubuulidde ebigambo byange?
35 Piraato n'addamu nti Nze ndi Muyudaaya? Ab'eggwanga lyammwe ne bakabona abakulu be bakundeetedde: okoze ki?
36 Yesu n'addamu nti Obwakabaka Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye, ne ssiweebwayo mu Bayudaaya: naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano.
37 Awo Piraato n'amugamba nti Kale ggwe kabaka? Yesu n'addamu nti Oyogedde, kubanga nze kabaka. Nze nnazaalirwa ekyo, n'ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow'amazima awulira eddoboozi lyange.
38 Piraato n'amugamba nti Amazima kye ki? Bwe yamala okwogera ekyo, n'afuluma nate n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti Siraba musango ku ye.
39 Naye mulina empisa, nze okubateeranga omu ku Kuyitako: kale mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?
40 Awo ne bakaayana, ne bagamba nti Si ono, wabula Balaba. N'oyo Balaba yali munyazi.
   

Essuula 19

[Ddayo waggulu]
1 Awo Piraato n'alyoka atwala Yesu n'amukuba emiggo.
2 Basserikale ne baluka engule y'amaggwa, ne bamutikkira ku mutwe, ne bamwambaza olugoye olw'effulungu;
3 ne bajja w'ali ne bagamba nti Mirembe, Kabaka w'Abayudaaya! ne bamukuba empi.
4 Piraato n'afuIuma nate ebweru, n'abagamba nti Laba mmufulumya ebweru we muli, mutegeere nga siraba musango ku ye.
5 Awo Yesu n'afuluma, ng'ayambadde engute y'amaggwa n'olugoye olw'effulungu. Piraato n'abagamba nti Laba omuntu oyo!
6 Awo bakabona abakulu n'abaweereza bwe baamulaba, ne boogerera waggulu nga bagamba nti Komerera, komerera: Piraato n'abagamba nti Mumutwale mmwe mumukomerere: kubanga nze siraba musango ku ye.
7 Abayudaaya ne bamuddamu nti Ffe tulina etteeka n'olw'etteeka eryo agwanidde okufa, kubanga yeefuula Omwana wa Katonda.
8 Awo Piraato bwe yawulira ekigambo ekyo, ne yeeyongera okutya;
9 n'ayingira nate mu kigango, n'agamba Yesu nti Oli wa wa? Naye Yesu n'atamuddamu.
10 Awo Piraato n'amugamba nti Toyogera nange? tomanyi nga nnina obuyinza obw'okukuta, era nnina obuyinza obw'okukukomerera?
11 Yesu n'amuddamu nti Tewandibadde na buyinza bwonna ku nze, singa tebwakuweebwa okuva waggulu; ampaddeyo gy'oli kyavudde abeera n'ekibi ekisinga.
12 Okusookera awo Piraato n'asala amagezi okumuta: naye Abayudaaya ne boogerera waggulu nga bagamba nti Bw'onoomuta oyo nga toli mukwano gwa Kayisaali: buli muntu yenna eyeefuula kabaka awakanya Kayisaali.
13 Awo Piraato bwe yawulira ebigambo ebyo h'afulumya Yesu ebweru, n'atuula ku ntebe ey'emisango mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, naye mu Lwebbulaniya Gabbasa.
14 Lwali lunaku lwa kuteekateeka Okuyitako: zaali nga ziri essaawa mukaaga. N'agamba Abayudaaya nti Laba Kabaka wammwe!
15 Awo bo ne boogerera waggulu nti Muggyeewo, muggyeewo mukomerere. Piraato n'abagamba nti Nnaakomerera Kabaka wammwe? Bakabona abakulu ne baddamu nti Tetulina kabaka wabula Kayisaali.
16 Awo n'alyoka amubawa okukomererwa. Awo ne batwala Yesu:
17 n'afuluma, nga yeetisse yekka omusalaba gwe, n'atuuka mu kifo ekiyitibwa Ekyekiwanga, ekiyitibwa mu Lwebbulaniya Gologoosa:
18 ne bamukomererera awo, era n'abalala babiri wamu naye, eruuyi n'eruuyi, ne Yesu wakati.
19 Ne Piraato n'awandiika ebbaluwa n'agissa ku musalaba, ng'ewandiikiddwa nti YESU OMUNAZAALEESI KABAKA W'ABAYUDAAYA.
20 Awo ebbaluwa eyo bangi ku Bayudaaya ne bagisoma: kubanga ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n'ekibuga: era yawandiikibwa mu Lwebbulaniya, ne mu Luyonaani, ne mu Luruumi.
21 Awo bakabona abakulu b'Abayudaaya ne bamugamba Piraato nti Towandiika nti Kabaka w'Abayudaaya; naye nti oyo eyayogera nti Nze Kabaka w'Abayudaaya.
22 Piraato n'addamu nti Kye mpandiise kye mpandiise.
23 Awo basserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne batwala ebyambalo bye, ne bateeka emiteeko ena, buli sserikale muteeko; n'ekkanzu ye: n'ekkanzu ye teyatungwa, yalukibwa bulukibwa yonna okuva waggulu.
24 Ne bagamba bokka na bokka nti Tuleme okugiyuzaamu, naye tugikubire akalulu, tulabe anaaba nnyiniyo: ekyawandiikibwa kituukirire, ekyogera nti Baagabana ebyambalo byange, Era baakubira akalulu eky'okwambala kyange. Awo basserikale ne bakola ebyo.
25 Naye awo awali omusalaba gwa Yesu waali wayimiridde nnyina, ne muganda wa nnyina, Malyamu muka Kuloopa, ne Malyamu Magudaleene.
26 Awo Yesu bwe yalaba nnyina, n'omuyigirizwa gwe yali ayagala ng'ayimiridde kumpi, n'agamba nnyina nti Omukyala, laba, omwana wo!
27 Oluvannyuma n'agamba omuyigirizwa nti Laba nnyoko! Awo okuva mu ssaawa eyo omuyigirizwa oyo n'amutwala eka ewuwe.
28 Oluvannyuma lw'ebyo, Yesu bwe yamanya nti kaakano ebigambo byonna bimaze okutuukirira, ekyawandiikibwa kituukirizibwe, n'agamba nti Nnina ennyonta.
29 Waali wateekeddwawo ekibya ekkijjudde omwenge omukaatuufu: awo ne bassa ku ezobu ekisuumwa ekijjudde omwenge omukaatuufu, ne bakitwala ku mumwa gwe.
30 Awo Yesu bwe yamala okuweebwa omwenge, n'agamba nti Kiwedde: n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe.
31 Kiwedde: n'akutamya omutwe gwe, n'awaayo omwoyo gwe.
32 Awo basserikale ne bajja, ne basookera ku omu ne bamumenya amagulu, n'omulala eyakomererwa naye:
33 naye bwe bajja eri Yesu, ne balaba ng'amaze okufa, ne batamumenya magulu:
34 naye sserikale omu n'amufumita mu mbiriizi ze n'effumu, amangu ago ne muvaamu omusaayi n'amazzi.
35 Naye eyalaba n'ategeeza n'okutegeeza kwe kwa mazima: era oyo amanyi ng'ayogera amazima, nammwe mulyoke mukkirize.
36 Kubanga ebyo byabaawo, ekyawandiikibwa kituukirire nti Talimenyebwa ggumba.
37 Era nate ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti Balimulaba gwe baafumita.
38 Awo oluvannyuma lw'ebyo Yusufu ow'e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu, naye mu kyama olw'okutya Abayudaaya, ne yeegayirira Piraato okuggyako omulambo gwa Yesu: awo Piraato n'akkiriza. N'ajja, n'aggyako omulambo gwe.
39 Ne Nikoodemo n'ajja (eyasooka okujja gy'ali ekiro), ng'aleese ebitabule eby'envumbo ne akaloosi, obuzito bw'abyo laateri nga kikumi.
40 Awo ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye z'ekitaani wamu n'eby'akaloosa ebyo, nga Abayudaaya bwe bayisa okuziika.
41 Awo mu kifo we yakomererwa waaliwo olusuku; ne mu lusuku mwalimu entaana empya etannaba kuteekebwamu muntu.
42 Awo kubanga lwali lunaku lwa Kuteekateeka okw'Abayudaaya (era kubanga entaana yali kumpi) ne bassa omwo Yesu.
   

Essuula 20

[Ddayo waggulu]
Entaana enjereere
1 Awo ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, Malyamu Magudaleene n'ajja mu matulutulu, nga tebunnalaba, eri entaana, n'alaba ng'ejjinja liggiddwa ku ntaana.
2 Awo n'addukana, n'ajja eri Simooni Peetero, n'eri omuyigirizwa oli omulala Yesu gwe yayagalanga, n'abagamba nti Baggyeemu Mukama waffe mu ntaana, so tetumanyi gye bamutadde.
3 Awo Peetero n'afuluma, n'omuyigirizwa oyo omulala, ne bagenda ku ntaana.
4 Ne baddukana bombi wamu; n'omuyigirizwa oyo omulala n'ayisa Peetero, n'asooka okutuuka ku ntaana:
5 n'akutama n'alingizaamu, n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo; nave n'atayingira.
6 Awo ne Simooni Peetero n'ajja ng'amugoberera, n'ayingira mu ntaana; n'alaba engoye z'ekitaani nga ziteekeddwa awo.
7 n'ekiremba ekyali ku mutwe gwe nga tekiteekeddwa wamu na ngoye z'ekitaani, nave nga kizingiddwa nga kiri kyokka ku bbali.
8 Awo n'omuyigirizwa oyo omulala eyasooka okujja ku ntaana, n'ayingira, n'alaba n'akkiriza.
9 Kubanga baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti kimugwanira okuznukira mu bafu.
10 Awo nate abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.
11 Naye Afalyamu yali ayftniridde ebweru awaali entaana ng'akaaba: awo bwe yali ng'akaaba, n'akutama n'alingiza mu ntaana;
12 n'alaba bamalayika babiri nga bambadde enjeru, nga batudde, omu emitwetwe omulala mirannamiro, omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa.
13 Abo ne bamugamba nti Omukyala, okaabira ki? N'abagamba nti Kubanga baggyeemu Mukama wange, nange simanyi gye bamutadde.
14 Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'akyuka ennyuma, n'alaba Yesu ng'ayimiridde, n'atamanya nga ye Yesu.
15 Yesu n'amugamba nti Omukyala, okaabira ki? onoonya ani? Ye ng'alowooza nti ye mukuumi w'olusuku, n'amugamba nti Ssebo, oba nga ggwe omututte awalala, mbuulira gy'omutadde, nange nnaamuggyayo.
16 Yesu n'amugamba nti Malyamu. N'akyuka n'amugamba mu Lwebbulaniya nti Labooni; amakulu gaakyo Muyigiriza.
17 Yesu n'amugamba nti Tonkwatako; kubanga sinnaba kulinnya mu ggulu eri Kitange: naye genda eri baganda bange, obabuulire nti Nninnya mu ggulu eri Kitange, era Kitammwe, eri Katonda wange, era Katonda wammwe.
18 Malyamu Magudaleene n'ajja n'abuulira abayigirizwa nti Ndabye Mukama waffe; era bw'amugambye ebigambo bino.
19 Awo ku lunaku luli akawugeezi, ku lunaku olusooka mu nnaku omusanvu, enzigi bwe zaali nga ziggaddwawo abayigirizwa mwe baali, olw'okutya Abayudaaya, Yesu n'ajja, n'ayimirira wakati mu bo, n'abagamba nti Emirembe gibe mu mmwe.
20 Awo bwe yamala okwogera bw'atyo, n'abalaga engalo ze n'embiriizi ze. Abayigirizwa ne basanyuka, bwe baalaba Mukama waabwe.
21 Awo Yesu n'abagamba nate nti Emirembe gibe mu mmwe: nga Kitange bwe yantuma nze, nange bwe ntyo mbasindika mmwe.
22 Bwe yamala okwogera ekyo, n'abassiza omukka, n'abagamba nti Mutoole Omwoyo Omutukuvu:
23 be munaggyangako ebibi bonna, baggibwako; be munaasibiranga ebibi bonna, basibirwa.
24 Naye Tomasi omu ku kkunu n'ababiri, eyayitibwanga Didumo, teyali nabo Yesu bwe yajja.
25 Awo abayigirizwa abalala ne bamubuulira nti Tulabye Mukama waffe. Nave n'abagamba nti Bwe ssiriraba mu bibatu bye enkovu z'enninga, ne nzisa olunwe lwange ku nkovu z'enninga, ne nsonseka omukono gwange mu mbiriizi ze, sirikkiriza n'akatono.
26 Oluvannyuma nga wayiseewo ennaku munaana, ate abayigirizwa be baali munda, ne Tomasi ng'ali nabo, Yesu n'ajja, enzigi nga ziggaddwawo, n'ayimirira wakati mu bo n'agamba nti Emirembe gibe mu mmwe.
27 Awo n'agamba Tomasi nti Leeta wano olunwe lwo olabe ebibatu byange; era oleete n'omukono gwo, ogusse mu mbiriizi zange; oleme okuba atakkiriza nave akkiriza.
28 Tomasi n'addamu n'amugamba nti Ggwe Mukama wange, era Katonda wange.
29 Yesu n'amugamba nti Kubanga ondabye, kyovudde okkiriza; balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.
30 Waliwo obubonero obulala bungi Yesu bwe yakolera mu maaso g'abayigirizwa, obutawandiikiddwa mu kitabo kino;
31 naye buno bwawandiikibwa, mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo, Omwana wa Katonda; era bwe mukkiriza mube n'obulamu mu linnya lye.
   

Essuula 21

[Ddayo waggulu]
Ekyenkya ku nnyanja
1 Oluvannyuma lw'ebyo Yesu ne yeeraga nate mu bayigirizwa be ku nnyanja eye Tiberiya; ne yeeraga bw'ati.
2 Baali bali wamu Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow'e Kaana eky'e Ggaliraaya, n'abaana ba Zebbedaayo, n'abagigirizwa be abalala babiri.
3 Simooni Peetero n'abagamba nti ŋŋenda kuvuba. Ne bamugamba nti Naffe tugenda naawe. Ne bagenda, ne basaabala mu lyato; ekiro ekyo ne batakwasa kintu.
4 Naye bwali bukya Yesu n'ayimirira ku ttale: nave abayigirizwa ne batamanya nga ye Yesu.
5 Awo Yesu n'abagamba nti Abaana, mulina ekyokuliira? Ne bamuddamu nti Tetulina.
6 N'abagamba nti Musuule omugonjo ku luuyi olwa ddyo olw'eryato, munaakwasa. Awo ne basuula, kale nga tebakyayinza kuguwalula olw'ebyennyanja ebingi,
7 Awo omuyigirizwa oyo Yesu gwe yayagalanga n'agamba Peetera nti Ye Mukama waffe. Awo Simooni Peetero bwe yawulira nga ye Mukama waffe ne yeesiba olugoye (kubanga yali bwereere) ne yeesuula mu nnyanja.
8 Naye abayigirizwa abalala ne bajjira mu lyato ettono (kubanga baali tebali wala n'ettale, naye emikono nga bikumi bibiri,) nga bawalula omugonjo ogulimu ebyennyanja.
9 Awo bwe baavaamu ne batuuka ku ttale, ne balaba omuliro ogw'amanda nga guli awo n'ebyennyanja nga biteekeddwako, n'omugaati.
10 Yesu n'abagamba nti Muleete ku byennyanja bye mukwasizza kaakano.
11 Awo Simooni Peetero n'asaabala, n'awalulira omugonjo ku ttale, nga gujjudde ebyennyanja ebinene, kikumi mu ataano mu bisatu: naye newakubadde nga byali bingi bwe bityo, omugonjo ne gutakutuka.
12 Yesu n'abagamba nti Mujje mulye. So mu bayigirizwa ne mutaba muntu eyayannanga okumubuuza nti Ggwe ani, nga bamanyi nga ye Mukama waffe.
13 Yesu n'ajja, n'addira omugaati, n'abawa, n'ebyennyanja bw'atyo.
14 Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti
15 Awo bwe baamala okulya, Yesu n'agamba Simooni Peetero nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala okukira bano? N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N'amugamba nti Liisanga abaana b'endiga bange.
16 N'amugamba nate omulundi ogw'okubiri nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala? N'amugamba nti Weewaawo, Mukama wange; ggwe omanyi nga nkwagala. N'amugamba nti Lundanga endiga zange.
17 N'amugamba omulundi ogw'okusatu nti Simooni, omwana wa Yokaana, onjagala? Peetero n'anakuwala kubanga amugambye omulundi ogw'okusatu nti Onjagala? N'amugamba nti Mukama wange, ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala. Yesu n'amugamba nti Liisanga endiga zange.
18 Ddala ddala nkugamba nti Bwe wali omuvubuka, weesibanga n'ogenda gy'oyagala yonna: naye bw'olikaddiwa, oligolola emikono gyo, omulala alikusiba, alikutwala gy'otoyagala.
19 Yayogera bw'atyo, ng'alaga okufa kw'alifa okugulumiza Katonda. Bwe yamala okwogera bw'atyo, n'amugamba nti Ngoberera.
20 Peetero bwe yakyuka, n'alaba omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ng'agoberera; era oyo ye yagalamira mu kifuba kye ku mmere ey'ekyeggulo, n'agamba nti Mukama wange, ani anaakulyamu olukwe?
21 Awo Peetero bwe yalaba oyo n'agamba Yesu nti Mukama wange, n'ono aliba ki?
22 Yesu n'amugamba nti Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki? ggwe goberera nze.
23 Awo ekigambo ekyo ne kibuna mu b'oluganda nti omuyigirizwa oyo talifa: so nga Yesu teyamugamba nga talifa; naye nti Bwe njagala abeerewo okutuusa we ndijjira, ofaayo ki?
24 Oyo ye muyigirizwa eyategeeza bino, n'awandiika bino; naffe tumanyi ng'okutegeeza kwe kwa mazima.
25 Nate waliwo ebirala bingi Yesu bye yakola, nabyo bwe biwandiikibwa kinnakimu ndowooza nti n'ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.
   

Next
Back