|
|
| 1 |
Awo ekigambo kya Mukama kyajja eri Yona, omwana wa Amittayi, nga kyogera nti |
| 2 |
Golokoka, ogende e Nineeve ekibuga ekyo ekinene okirangirire; kubanga obubi bwabwe bulinnye butuuse mu maaso gange. |
| 3 |
Naye Yona n'agolokoka okuddukira e Talusiisi okuva mu maaso ga Mukama; n'aserengeta e Yopa n'alaba ekyombo nga kigenda e Talusiisi; awo n'abawa empooza yaakyo n'asaabala omwo agende nabo e Talusiisi ave mu maaso ga Mukama. |
| 4 |
Naye Mukama n'asindika empewo ennyingi ku nnyanja, omuyaga omungi ne guba ku nnyanja ekyombo ne kyagala okumenyeka. |
| 5 |
N'abo abaavuga ne batya ne bakaabirira buli muntu katonda we; ne basuula mu nnyanja ebintu ebyali mu kyombo bakiwewule. Naye Yona yali ng'asse mu kisenge eky'omu kyombo, ng'agalamidde, yeebase otulo. |
| 6 |
Awo omugoba w'ekyombo n'ajja gy'ali n'amugamba nti Obadde otya, ggwe omwebasi? golokoka, osabe Katonda wo, era mpozzi Katonda anaatujjukira tuleme okuzikirira. |
| 7 |
Ne boogera buli muntu ne muganda we nti Jjangu tukube akalulu tulyoke tutegeere gwe tulangibwa akabi kano okutubaako. Awo ne bakuba akalulu, akalulu ne kagwa ku Yona. |
| 8 |
Awo ne bamugamba nti Kale tubuulire gwe tulangibwa akabi kano okutubaako; omulimu gwo mulimu ki? ova wa? ensi yammwe nsi ki? ekika kyammwe kika ki? |
| 9 |
N'abagamba nti Ndi Mwebbulaniya; ntya Mukama, Katonda ow'omu ggulu eyakola ennyanja n'olukalu. |
| 10 |
Awo abantu ne batya nnyo ne bamugamba nti Kino kiki ky'okoze ggwe? Kubanga abantu baamanya nti adduse mu maaso ga Mukama, kubanga yali ng'aba buulidde. |
| 11 |
Awo ne bamugamba nti Tunaakukola rurya ennyanja etuteekere? kubanga ennyanja yali ng'egenda yeeyongera okufuukuuka ennyo. |
| 12 |
N'abagamba nti Munsitule munsuule mu nnyanja; kale ennyanja eneebateekera; kubanga mmanyi nti omuyaga guno omungi gubakutte okubalanga nze. |
| 13 |
Naye abantu ne bavuga nnyo okuddayo okugoba ettale; naye ne batayinza; kubanga ennyanja yagenda yeeyongera bweyongezi okufuukuuka okubaziyiza. |
| 14 |
Kyebaava bakaabirira Mukama ne boogera nti Tukwegayiridde, ai Mukama, tukwegayiridde tuleme okuzikirira ku lw'obulamu obw'omuntu ono; so torussaako musaayi ogutaliiko musango; kubanga ggwe, ai Mukama, ggwe okoze ky'oyagala. |
| 15 |
Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja; awo omuyaga ogwali ku nnyanja ne gufa. |
| 16 |
Awo abantu ne batya nnyo Mukama; ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama ne beeyama obweyamo. |
| 17 |
Mukama n'ateekateeka ekyennyanja ekinene kimire Yona; Yona n'amala mu lubuto olw'ekyennyanja ennakn ssatu emisana n'ekiro. |
| |
|