Yoswa  

Essuula 1

1 Awo olwatuuka Musa omuweereza wa Mukama; bwe yamala okufa, Mukama n’agamba Yoswa, omwana wa Nuni, omuweereza wa Musa, ng'ayogera nti
2 Musa, omuweereza wange, afudde; kale kaakano golokoka, osomoke omugga guno Yoludaani, ggwe, n'abantu bano bonna, muyingire mu nsi gye mbawa bo, abaana ba Isiraeri.
3 Buli kifo kye mulirinnyamu ekigere kyammwe, nkibawadde mmwe, nga bwe nnagamba Musa.
4 Okuva mu ddungu n'olusozi luno Lebanooni, okutuuka ku mugga omunene, gwe mugga Fulaati, ensi yonna ey'Abakiiti, era n'okutuuka ku nnyanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba, we waliba ensalo yammwe.
5 Tewalibeera muntu yenna aliyinza okuyimirira mu maaso go ennaku zonna ez'obulamu bwo: nga bwe nnabeeranga ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe; siikwabulirenga so siikulekenga.
6 Ddamu amaanyi guma omwoyo: kubanga ggwe olibasikiriza abantu bano ensi eno gye nnalayirira bajjabba baabwe okugibawa.
7 Naye mala okuddamu amaanyi n'okuguma ennyo omwoyo, okwekuumanga okukola ng'amateeka gonna bwe gali, Musa, omuweereza wange; ge yakulagira: tokyamanga okugaleka ku mukono ogwa ddyo newakubadde ogwa kkono, olyoke oweebwenga omukisa buli gy'onoogendanga yonna.
8 Ekitabo kino eky'amateeka tekiivenga mu kamwa ko, naye onookirowoozangamu emisana n'ekiro, olyoke weekuumenga okukola nga byonna bwe biri ebiwandiikiddwamu: kubanga bw'onooterezanga bw'otyo ekkubo lyo, era bw'onooweebwanga omukisa bw'otyo.
9 Si nze nkulagidde? Ddamu amaanyi, guma omwoyo; totyanga, so teweekanganga kubanga Mukama Katonda wo ali naawe buli gy'onoogendanga yonna.
10 Yoswa n'alyoka alagira abaami b'abantu, ng'ayogera nti
11 Muyite wakati mu lusiisira, mulagire abantu, nga mwogera nti Mweteekereteekere emmere; kubanga ennaku essatu nga tezinnayita mugenda, okusomoka omugga guno Yoludaani, okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wammwe gy'abawa okugirya.
12 Era Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase Yoswa n'abagamba, ng'ayogera nti
13 Mujjukire ekigambo Musa omuweereza wa Mukama kye yabalagira, ng'ayogera nti Mukama Katonda wammwe abawa ekiwummulo, era alibawa ensi eno.
14 Bakazi bammwe, n'abaana bammwe abato, n'ebisibo byammwe, balituula mu nsi Musa gye yabawa emitala wa Yoludaani; naye mmwe mulisomoka mu maaso ga baganda bammwe nga mulina ebyokulwanyisa, abazira mwenna ab'amaanyi, mulibabeera;
15 okutuusa Mukama lw'alimala: okubawa baganda bammwe ekiwummulo, nga bw'awadde mmwe, era nabo lwe balimala okulya ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa bo: ne mulyoka muddayo mu nsi gye mwalya, mugirye, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba:
16 Ne bamuddamu Yoswa, nga boogera nti Byonna by'otulagidde tulibikola, era buli gy'onootutumanga tunaagendanga.
17 Nga bwe twawuliranga Musa mu bigambo byonna, naawe tunaakuwuliranga bwe tutyo: kyokka Mukama Katonda wo abe naawe, nga bwe yali ne Musa.
18 Buli muntu yenna anaajeemeranga ekiragiro kyo, era ataawulirenga bigambo byo mu byonna by'onoomulagiranga, anattibwanga: naye ddamu amaanyi, guma omwoyo.
   


Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Yoswa omwana wa Nuni n'atuma abantu babiri nkiso okuva mu Sittimu okuketta, ng'ayogera nti Mugende, mukebere ensi ne Yeriko. Ne bagenda, ne bayingira mu anyumba ey'omwenzi, erinnya lye Lakabu, ne basulayo.
2 Kabaka w'e Yeriko ne bamubuulira, nga boogera nti Laba, wayingidde muno ekiro ku baana ba Isiraeri okuketta ensi:
3 Kabaka w'e Yeriko n'atumira Lakabu, ng'ayogera nti Goba abantu abazze gy'oli, abaayingidde mu nnyumba yo: kubanga bazze okuketta ensi yonna.
4 Omukazi n'abatwala bombi, n'abakisa; n'ayogera nti Weewaawo, abantu baze gye ndi, naye nabadde simanyi gye bavudde:
5 awo obudde bwe bwaruuse okuggalawo wankaaki, ng'enzikiza ekutte, abantu ne bagenda: abantu gye bazze simanyi: mubagoberere mangu; kubanga munaabatuukako.
6 Naye yali abalinnyisizza ku kasolya, n'ababikkako emiti egy'obugoogwa, gye yali ateeseteese obulungi ku kasolya.
7 Abantu ne babagoberera mu kkubo erya Yoludaani okutuuka ku musomoko: abaabagoberera bwe baamala okuvaayo, ne balyoka baggalawo wankaaki.
8 Bo nga tebanneebaka; n'alinnya gye bali ku kasolya;
9 n'agamba abantu nti Mmanyi nga Mukama abawadde ensi, era ng'entiisa yammwe etukutte, era ng'abali mu nsi bonna basaanuuka mu maaso gammwe.
10 Kubanga twawulira Mukama bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe, bwe mwava mu Misiri; era kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abamoli; abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni ne Ogi; be mwazikiri riza ddala.
11 Naffe bwe twakiwulira; emitima gyaffe ne giryoka gisaanuuka; so tewali muntu asigalamu omwoyo gwonna ku lwammwe: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo ye Katonda waggulu mu ggulu, era wansi ku nsi.
12 Kale kaakati, mbeegayiridde, mundayirire Mukama, kubanga mbakoze bulungi nammwe okugikola obulungi ennyumba ya kitange, era mumpe akabonero ak'amazima:
13 era n'okuwonya kitange ne mmange ne bannyinaze ne baganda bange ne byonna bye balina, n'okulokola obulamu bwaffe mu kufa.
14 Abantu ne bamugamba nti Obulamu bwaffe buligatta obulamu bwammwe, bwe mutalibuulira bigambo byaffe bino awo Mukama bw'alituwa ensi, ne tulyoka tukukolera ekisa n'amazima.
15 Awo n'abassa n'omugwa ng'abayisa mu ddirisa; kubanga ennyumba ye yali ekwatanye ku bbugwe ow'ekibuga, naye yabeera ku bbugwe.
16 N'abagamba nti Mugende ku lusozi, abaabagoberedde baleme okubasanga: era mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagobereddelwe balikomawo; oluvannyuma muliyinza okugenda.
17 Abantu ne bamugamba nti Tetulina musango ku kisayiro kyo kino ky'otulayizizza.
18 Laba, bwe tulijja mu nsi, olisiba akagwa kano akamyufu mu ddirisa ly'otuyisizzaamu: era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba gy'oli kitaawo ne nnyoko ne baganda bo, n'ennyumba yonna eya kitaawo.
19 Bwe kityo, omuntu yenna aliva mu miryango egy'ennyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango: era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwaffe, bw'alikwatibwa omukono gwonna:
20 Naye bw'olibuulira ebigambo byaffe bino; tetulizza musango olw'ekirayiro kyo ky'otulayizizza.
21 N'ayogera nti Wabe ng'ebigambo byammwe bwe biri. N'abasindika, ne bagenda n'asiba akagwa akamyufu mu ddirisa.
22 Ne bagenda ne batuuka ku lusozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberera lwe baamala okukomawo abaabagoberera baabanoonya mu kkubo lyonna, ne batabalaba:
23 Awo abantu ababiri ne bakomawo, ne baserengeta ku lusozi, ne basomoka, ne bajja eri Yoswa omwana wa Nuni; ne bamubuulira byonna ebyababaako.
24 Ne bamugamba Yoswa nti Mazima Mukama atuwadde mu mikono gyaffe ensi yonna; era nate abali mu nsi bonna basaanuukira ddala mu maaso gaffe.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka; ne bava mu Sittimu, ne batuuka ku Yoludaani, ye n'abaana ba Isiraeri bonna; ne basulawo nga tebannasomoka.
2 Awo ennaku ssatu bwe zaayita abaami ne bayita wakati mu lusiisira;
3 ne balagira abantu, nga boogera nti Bwe munaalaba essanduuko ey'endagaano ya Mukama Katonda wammwe; ne bakabona Abaleevi nga bagyetisse, ne mulyoka muva mu kifo kyammwe, ne mugigoberera.
4 Naye wanaabaawo ebbanga wakati wammwe nayo; ng'emikono enkumi bbiri gigerebwa: temugisemberera, muyoke mumanye ekkubo eribagwanidde okuyitamu; kubanga okuuuka kaakano temunnayita mu kkubo lino.
5 Yoswa n'agamba abantu nti Mwetukuze kubanga enkya Mukama anaakola eby'amagero mu mmwe.
6 Yoswa n'agamba bakabona, ng'ayogera nti musitule essanduuko ey'endagaano, nusomoke mukulembere abantu. Ne basitula essanduuko ey'endagaano n'ebakulembera abantu.
7 Mukama n'agamba Yoswa nti Leero naatanula okukugulumiza mu maaso ga Baisiraeri bonna, bamanye nti, nga bwe nnali ne Musa, bwe ntyo bwe nnaabeeranga naawe.
8 Era onoolagira bakabona abasitula essanduuko ey'endagaano, ng'oyogera nti Bwe munaatuuka ku mabbali g'amazzi aga Yoludaani, munaayimirira mu Yoludaani.
9 Yoswa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Mujje wano, muwulire ebigambo bya Mukama Katonda wammwe.
10 Yoswa n'ayogera nti Ku kino kwe munaamanyira nga Katonda omulamu ali mu mmwe, era nga talirema kugoba mu maaso gammwe Abakanani, n'Abakiiti, n'Abakiivi, n'Abaperizi, n'Abagirugaasi, n'Abamoli, n'Abayebusi.
11 Laba, essanduuko ey'endagaano ya Mukama w'ensi zonna, ebakulembera okusomoka Yoludaani.
12 Kale kaakano mwerondere abasajja kkumi na babiri mu bika bya Isiraeri, buli kika omu.
13 Owo, ebigere bya bakabona: abasitula essanduuko ya Mukama, Mukama w'ensi zonna bwe biribeera mu mazzi ga Yoludaani, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gaggwaawo, ge mazzi agava engulu; ne gayimirira entuumu wamu.
14 Awo, abantu bwe baava mu weema zaabwe, okusomoka Yoludaani, bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano nga bakutembedde abantu;
15 era abaasitula essanduuko bwe baatuuka ku Yoludaani, ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ne byennyika ku mabbali g'amazzi (kubanga Yoludaani gwanjaala ku ttale lyagwo lyonna mu biro byonna eby'amakungula,)
16 amazzi agaava engulu ne galyoka gayimirira ne geekuma entuumu wamu, wala nnyo, ku Adamu, ekibuga ekiriraanye e Zalesani: n'ago agakka ku nnyanja eye Alaba, ye nnyanja ey'omunnyo, ne gaggweerawo ddala: abantu ne basomokera awaliraanye e Yeriko.
17 Bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama ne bayimirira ne banywera ku lukalu wakati mu Yoludaani, n'Abaisiraeri bonaa ne bayita awakalu, okutuusa eggwanga lyonna lwe lyayitira ddala mu Yoludaani.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Awo eggwanga lyonna bwe lyamala okuyitira ddala mu Yoludaani, Mukama n'agamba Yoswa, ng'ayogera nti
2 Mwerondere abasajja kkumi na babiri mu bantu, mu buli: kika omu,
3 era mubalagire, nga mwogera nti Mulonde wano wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona mwe byanyweredde, amayinja kkumi n'abiri, mugasomose, mugasse mu kisulo, kye munaasulamu ekiro kino.
4 Awo Yoswa n’ayita abasajja kkumi na babiri, be yateekateeka mu baana ba Isiraeri, mu buli kika omu:
5 Yoswa n'abagamba nti Mukulembere essanduuko ya Mukama Katonda wammwe wakati mu Yoludaani, musitule buli muntu mu mmwe ejjinja ku kibegabega kye, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli:
6 ako kabe akabonero mu mmwe, abaana bammwe bwe banaabuuzanga mu biro ebigenda okujja, nga boogera nti Amayinja gano amakulu gaago ki?
7 mulyoke mubagambe nti Kubanga amazzi ga Yoludaani gaggwaawo mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama; bwe yayita mu Yoludaani, amazzi ne gaggwaawo: era amayinja gano galibeera ekijjuukizo eri abaana ba Isiraeri emirembe egitaggwaawo.
8 Abaana ba Isiraeri ne bakola nga Yoswa bw'abalagidde, ne balonda amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, nga Mukama bwe yagamba Yoswa, ng'omuwendo ogw'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe guli; ne bagasomosa ne bagatuusa mu kifo mwe baasula, ne bagassaawo.
9 Yoswa n'asimba amayinja kkumi n'abiri wakati mu Yoludaani, mu kifo ebigere bya bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano mwe byayimirira: era weegali ne kaakano.
10 Kubanga bakabona abaasitula essanduuko baayimirira wakati mu Yoludaani, ne kituukirira buli kigambo Mukama kye yalagira Yoswa okubuulira abantu, nga byonna bwe byali Musa bye yalagira: Yoswa: abantu ne banguwa ne bayita.
11 Awo, abantu bonna bwe baamala okuyita, essanduuko ya Mukama n'eryoka eyita, ne bakabona mu maaso g'abantu.
12 N'abaana ba Lewubeeni; n'abaana ba Gaadi, n'ekitundu eky'ekika kya Manase, ne bakulembera abaana ba Isiraeri ne bayita nga balina ekyokulwanyisa, nga Musa bwe yabagamba:
13 abantu ng'obukumi buna abeeteeseteese okulwana ne bayita mu maaso ga Mukama eri olutalo, mu lusenyi olw'e Yeriko:
14 Ku lunaku olwo Mukama n'akuza Yoswa mu maaso ga Baisiraeri bonna: ne bamutya, nga bwe baatyanga Musa; ennaku zonna ez'obulamu bwe.
15 Mukama n'agamba Yoswa ng'ayogera nti
16 Lagira bakabona abasitula essanduuko ey'obujulirwa okulinnya okuva mu Yoludaani:
17 Awo Yoswa n'alagira bakabona ng'ayogera nti Mulinnye muve mu Yoludaani:
18 Awo bakabona abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama bwe baamala okulinnya okuva wakati mu Yoludaani, n'ebigere bya bakabona ne birinnyibwa ku lukalu, amazzi ga Yoludaani ne galyoka gadda mu kifo kyago, ne gayanjaala ku ttale lyagwo lyonna, ng'edda:
19 Abantu ne balinnya ne bava mu Yoludaani kn lunaku olw'ekkumi mu mwezi ogw'olubereberye ne basula mu Girugaali, mu nsalo ey'ebuvanjuba ey'e Yeriko.
20 N'amayinja gali ekkumi n'abiri ge baggya mu Yoludaani, Yoswa n'agasimba mu Girugaali:
21 N'agamba abaana ba Isiraeri ng'ayogera nti Abaana bammwe bwe banaabuuzanga bakitaabwe mu biro ebigenda okujja, nga boogera nti Amakulu g'amayinja gano ki?
22 ne mulyoka mutegeezanga abaana bammwe; nga mwogera nti Abaisiraeri baayita mu Yoludaani muno nga lukalu:
23 Kubanga Mukama Katonda wammwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso gammwe, okutuuka bwe mwamala okuyita; nga Mukama Katonda wammwe bwe yakola Ennyanja Emmyufu, gye yakaliza mu maaso gaffe; okutuuka bwe twamala okuyita:
24 amawanga gonna ag'ensi galyoke gamanye omukono gwa Mukama nga gwa maanyi; batyenga Mukama Katonda wammwe emirembe egitaggwaawo.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Awo bakabaka bonna ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba; ne bakabona ab'Abakanani, abaali ku nnyanja, bwe baawulira Mukama bwe yakaliza amazzi ga Yoludaani mu maaso g'abaana ba Isiraeri, okutuuka bwe twamala okusomoka, omutima gwabwe ne gusaanuuka, so nga tewakyali alina omwoyo mu bo; olw'abaana ba Isiraeri.
2 Mu biro ebyo Mukama n'agamba Yoswa nti Weekolere obwambe obw'amayinja, okomole nate abaana ba Isiraeri omulundi ogw'okubiri.
3 Yoswa ne yeekolera obwambe obw'amayinja, n'akomolera abaana ba Isiraeri ku lusozi olw'ebikuta.
4 Era eno ye nsonga eyabakomoza Yoswa: abasajja bonna abaava mu Misiri, abalwanyi bonna, ne bafiira mu ddungu mu kkubo, bwe baamala okuva mu Misiri:
5 Kubanga abantu bonna abaavaayo ne bakomolwa: naye abantu bonna abaazaalirwa mu ddungu mu kkubo nga bava mu Misiri nga tebakomo lwanga.
6 Kubanga abaana ba Isiraeri baatambulira emyaka amakumi ana mu ddungu, okutuusa eggwanga lyonna, be balwanyi abaava mu Misiri; lwe lyaggwaawo, kubanga tebaawulira ddoboozi lya Mukama: Mukama be yalayirira obutabaganya kulaba nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baabwe okutuwa, ensi ekulukuta amata n'omubisi. gw'enjuki.
7 N'abaana baabwe be yazza mu kifo kyabwe, abo Yoswa be yakomola: kubanga baali si bakomole, kubanga tebaabakomolera mu kkubo:
8 Awo, bwe baamala okukomola eggwanga lyonna, ne babeera mu bifo byabwe mu lusiisira ne bamala okuwona.
9 Mukama n'agamba Yoswa nti Leero njiringisizza ekivume eky'e Misiri okukibaggyako. Erinnya ery'ekifo kiri kyeryava liyitibwa Girugaali ne kaakano.
10 Abaana ba Isiraeri ne basula mu Girugaali; ne balya Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'oinwezi olweggulo mu lusenyi olw'e Yeriko.
11 Okuyitako ng'eweddeko ku lunaku olw'enkya ne balya emmere enkalu ey'omwaka ogwaggwaako, emigaati egitazimbulukuswa ne kasooli omusiike, ku lunaku olwo.
12 N'emmaanu n'eggwaawo enkya, bwe baamala okulya emmere ey'ensi ey'omwaka ogwaggwaako; abaana ba Isiraeri nebataba na mmaanu nate; naye ne balya ku mmere ey'ensi eya Kanani omwaka ogwo.
13 Awo, Yoswa bwe yali ng'asembedde e Yeriko, n'ayimusa amaaso ge n'atunula, era, laba, nga wayimiridde omuntu okumwolekera eyalina ekitala ekisowole mu mukono gwe; Yoswa n'amusemberera, n'amugamba nti Oli ku lwaffe, oba oli ku lwa balabe baffe?
14 N'ayogera nti Nedda; naye omukulu ow'eggye lya Mukama ntuuse kaakano. Yoswa n'amufukaamirira mu maaso ge, n'asinza, n'amugamba nti Mukama wange agamba atya omuddu we?
15 Omukulu ow'eggye lya Mukama n'agamba Yoswa nti Yambula engatto yo mu kigere kyo; kubanga ekifo mw'oyimiridde kitukuvu. Yoswa n'akola bw'atyo.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 (Era Yeriko kyali kiggaliddwawo ddala olw'abaana ba Isiraeri tewaali afuluma, newakubadde ayingira.)
2 Mukama n'agamba Yoswa nti Laba, nkukiwadde mu mukono gwo Yeriko, ne kabaka waamu, n'abazira ab'amaanyi.
3 Era mulikyetooloola ekibuga, abalwanyi mwenna, nga mukyetooloola omulundi gumu. Bw'onookolanga bw'otyo ennaku omukaaga.
4 Ne bakabona omusanvu balisitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja nga bazikulembeza essanduuko: ne ku lunaku olw'omusanvu mulikyetooloola ekibuga emirundi musanvu; ne bakabona balifuuwa eŋŋombe.
5 Awo, bwe balifuuwa eŋŋombe ez'amayembe ag'endiga ensajja era bwe muliwulira eddoboozi ery'eŋŋombe; abantu bonna ne balyoka boogerera waggulu n'eddoboozi. ddene; bbugwe ow'ekibuga n'alyoka agwira ddala wansi, abantu ne balinnya buli muntu mu maaso ge.
6 Yoswa, omwana wa Nuni, n'ayita bakabona, n'abagamba nti Musitule essanduuko ey'endagaano, era bakabona musanvu basitule eŋŋombe musanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja bazikulembeze essanduuko ya Mukama:
7 Ne bagamba abantu nti Muyite, mwetooloole ekibuga, n'abalina ebyokulwanyisa bakulembere essanduuko ya Mukama.
8 Awo Yoswa bwe yamala okwogera n'abantu, bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusanvu ez'amayembe ag'endiga ensajja mu maaso ga Mukama ne bayita, ne bafuuwa eŋŋombe: essanduuko ey'endagaano ya Mukama ng'ebavaako ennyuma.
9 Abalina ebyokulwanyisa ne bakulembera bakabona abaafuuwa eŋŋombe, ab'ennyuma ne bagoberera essanduuko, nga bafuuwa eŋŋombe nga batambula.
10 Yoswa n'alagira abantu, ng'ayogera nti Temwogerera waggulu, n'eddoboozi lyammwe lireme okuwulirwa, n'ekigambo kyonna kireme okuva mu kamwa kammwe, okutuusa ku lunaku lwe ndibalagira okwogerera waggulu; ne mulyoka mwogerera waggulu.
11 Bw'atyo yagyetoolooza ekibuga essanduuko ya Mukama, nga bakyetooloodde omulundi gumu ne bayingira mu lusiisira, ne basula mu lusiisira.
12 Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka, ne bakabona ne basitula essanduuko ya Mukama
13 Ne bakabona omusanvu abaasitula eŋŋombe omusaavu ez'amayembe ag'endiga ensajja nga bazikulembeza essanduuko ya Mukama ne bagenda obutalinda, ne bafuuwa eŋŋombe: n'abalina ebyokulwanyisa nga babakulembedde: n'ab'ennyuma ne bagoberera essanduuko ya Mukama nga bafuuwa eŋŋombe nga batambula.
14 Ne ku lunaku olw'okubiri ne beetooloola ekibuga omulundi gumu, ne baddayo mu lusiisira: bwe baakola bwe batyo ennaku mukaaga.
15 Awo ku lunaku olw'omusanvu ne bakeera enkya mu matulutulu, ne beetooloola ekibuga emirundi musanvu bwe batyo: naye ku lunaku olwo beetooloola ekibuga emirundi musanvu.
16 Awo ku mulundi ogw'omusanvu, bakabona bwe baafuuwa eŋŋombe, Yoswa n'agamba abantu nti Muleekaane; kubanga Mukama abawadde ekibuga.
17 N'ekibuga kiriterekerwa Mukama, ekibuga ne byonna ebirimu: Lakabu omwenzi y'aliwona yekka, ye ne bonna abali awamu naye mu nnyumba, kubanga yakweka abatume, be twatuma.
18 Nammwe mwewalire ddala mu biterekeddwa Mukama, muleme okutwala ku biterekeddwa, nga mumaze okubitereka; bwe mutyo mwandifudde olusiisira lwa Isiraeri olukolimiddwa, era mwandirweraliikirizza;
19 Naye effeeza yonna n’ezaabu n'ebintu eby'ebikomo n'eby’ebyuma bye bitukuvu eri Mukama; birijja mu ggwanika lya Mukama.
20 Awo abantune baleekaana, ne bafuuwa eŋŋombe; awo, abantu bwe baawulira eddoboozi ery'eŋŋombe abantu ne balyoka boogerera waggulu n'eddoboozi ddene, bbugwe n'agwira ddala wansi, abantu ne balinnya mu kibuga, buli muntu mu maaso ge, ne bamenya ekibuga.
21 Ne bazikiririza ddala ebyali -mu kibuga byonna, abasajja n'abakazi; abato n'abakulu; n'ente, n'endiga, n'endogoyi, ne babitta n'ekitala.
22 Yoswa n'agamba abasajja ababiri abaaketta ensi nti Mugende mu nnyumba ey'omwenzi, mumufulumye omukazi, ne by'alina byonna, nga bwe mwamulayirira.
23 Abavubuka abakessi ne bayingira, ne bamufulumya Lakabu, ne kitaawe, ne nnyina; ne baganda be, ne byonna by'alina, era n'ekika kye kyonna ne babafulumya; ne babateeka ebweru ku lusiisira lwa Isiraeri:
24 Ekibuga ne bakyokya omulimu n’ebyalimu byonna: naye effeeza n'ezaabu n'ebintu eby'ebikomo n'eby'ebyuma byokka baabissa mu ggwanika ery'ennyumba ya Mukama.
25 Naye Lakabu omwenzi, n'ab'ennyumba ya kitaawe ne byonna bye yalina, Yoswa n'abawonya; n'abeera wakati mu Isiraeri, ne kaakano; kubanga yakweka abatume, Yoswa be yatuma okuketta Yeriko.
26 Yoswa n'abalayiza ekirayiro mu biro ebyo, ng'ayogera nti Akolimirwe mu maaso ga Mukama oyo aliyimirira n'azimba ekibuga kino Yeriko: mu kufiirwa omwana we omubereberye mw'alissizaawo emisingi, gyakyo, era mu kufiirwa omwana we omuto alisimba enzigi zaakyo.
27 Bw'atyo Mukama yabeeranga ne Yoswa; n'ebigambo bye ne byatiikirira mu nsi yonna.
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]
1 Naye abaana ba Isiraeri ne bauga Akani, omwana wa Kalumi, omwana wa Zabudi, omwana wa Zeera, ow'ekika kya Yuda, n'atwala ku biterekeddwa: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku baana ba Isiraeri.
2 Yoswa n'atuma abantu okuva mu Yeriko okugenda e Ayi ekiriraanye Besaveni, ku luuyi olw'ebuvanjuba olwa Beseri, n'abagamba nti Mulinnye mukette ensi. Abantu, ne balinnya, ne baketta Ayi.
3 Ne bakomawo eri Yoswa, ne bamugamba nti Abantu bonna tebagendayo; naye abantu ng'enkumi bbiri oba ssatu balinnye bakube Ayi; toteganya abantu bonna okugendayo; kubanga abaayo batono.
4 Awo ne balinnyayo ku bantu abasajja ag'enkumi ssatu; ne badduka mu maaso g'ab'e Ayi.
5 N'ab'e Ayi ne bakuba mu bo abantu ng'amakumi asatu mu mukaaga: ne babagoba okubaggya ku wankaaki okubatuusa ku Sebalimu, ne babakubira awaserengeterwa: emitima, gy'abantu ne gisaanuuka, ne giba ng'amazzi.
6 Yoswa n'ayuza engoye ze, n'agwa ne yeevuunika awali essanduuko ya Mukama n'atuusa olweggulo, ye n’abakadde ba Isiraeri; ne beesiiga enfuufu ku mitwe gyabwe:
7 Yoswa n'ayogera nti Woowe, ai Mukama Katonda, okusomosa kiki ekyakusomosa abantu bano Yoludaani, okutuwaayo mu mikono egy'Abamoli, okutuzikiriza? singa twakkiriza okutuula emitala wa Yoludaani
8 Ai Mukama, naayogera ntya, Abaisiraeri bwe bamaze okubakuba amabega abalabe baabwe?
9 Kubanga Abakanani n'abali mu nsi boana baliwulira, balituzingiza baliggya erinnya lyaffe ku nsi: naawe olirokola otya.erinnya lyo ekkulu?
10 Mukama n'agamba Yoswa nti Golokoka; kiki ekikugwisizza bw'otyo okwevuunika?
11 Abaisiraeri hoonoonye; era bamenye endagaano yange gye nnabalagira; era n'okutwala batutte ku biterekeddwa; era babbye, era bakusizza, era babiyingizizza mu bintu byabwe.
12 Ekyo kye kibalobera abaana ba Isiraeri okuyimirira mu maaso g'abalabe baabwe, ne bakuba amabega abalabe baabwe, kubanga bafuuse abakolimiddwa, sijja kuddayo kubeera nammwe wabula nga muzikirizza ekyo kye mugugubiddeko.
13 Mukale, mutukuze abantu, mwogere nti Mwetukulize olunaku olw'enkya: kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogera bw'ati nti Waliwo ekiterekeddwa wakati mu ggwe; Isiraeri: toyinza kuyimirira mu maaso g'abalabe bo; nga temunnakiggyawo ekiterekeddwa mu mmwe.
14 Kale enkya munaasemberezebwa mu bika byammwe: awo, ekika Mukama ky'anaalondamu kinaasembera ng'enda zaakyo bwe ziri; n'enda Mukama gy'anaalondamu eneesembera mu nnyumba zaayo; n'ennyumba Mukama gy'anaalondamu eneesembera buli muntu buli muntu
15 Awo olunaatuuka anaalondebwa ng'alina ekiterekeddwa anaayokebwa omuliro, ne by'alina byonna; kubanga amenye endagaano ya Mukama, era kubanga akoze obusirusiru mu Isiraeri.
16 Awo Yoswa n'akeera enkya, n'agolokoka, n'asembeza Isiraeri ng'ebika byabwe bwe byali; n'ekika kya Yuda ne kirondebwa:
17 n'asembeza enda ya Yuda; n'alonda enda eya Bazera: n’asembeza enda eya Bazera buli muntu buli muntu; Zabudi n'alondebwa:
18 n'asembeza ennyumba ye buli muntu buli mnntu; Akani; omwana wa Kalumi, omwana wa Zabudi, omwana wa Zeera, ow'ekika kya Yuda, n'alondebwa.
19 Yoswa n’agamba Akani nti Mwana wange, nkwegayiridde, omuwe ekitiibwa Mukama, Katonda wa Isiraeri; omwatulire; era oŋŋambe kaakano ky'okoze; tokinkisa.
20 Akani n'addamu Yoswa n'ayogera nti Mazima nnyonoonye eri Mukama, Katonda wa Isiraeri, ne nkola bwe nti ne bwe nti
21 bwe nnalaba mu munyago ekyambalo ekirungi ekya Sinaali, n'esekeri ez'effeeza ebikumi bibiri, n'olulimi olwa zaabu ekigero kyalwo esekeri amakumi ataano, ne ndyoka mbiyaayaanira, ne mbitwala; era, laba, bikwekeddwa mu ttaka wakati mu weema yange, ne ffeeza wansi waakyo:
22 Awo Yoswa n'atuma ababaka, ne bagenda mbiro mu weema ye; era, laba; nga kikwekeddwa mu weema ye, n'effeeza wansi waakyo.
23 Nabo ne babiggya wakati mu weema; ne babireetera Yoswa n'abaana ba Isiraeri bonna; ne babissa wansi mu maaso ga Mukama.
24 Ne Yoswa; n'Abaisiraeri bonna awamu naye; ne batwala Akani, omwana wa Zeera, n'effeeza, ne ekyambalo, n'olulimu olwa zaabu; n'abaana be ab'obulenzi n'ab'obuwala, n'ente ze, n'endogoyi ze; n'endiga ze, n'eweema ye ne byonna bye yalina: ne babalinnyisa mu kiwonvu Akoli:
25 Yoswa n'ayogela nti Kiki ekyakutweraliikirizisa? Mukama anaakweraliikiiiza ggwe leero, Abaisiraeri bonna ne bamukuba amayinja; ne babookya omuliro, ne babakuba amayinja.
26 Ne bamutuumako entuumu ennene ey’amayinja ne kaakano; Mukama n'akyuka okuleka obusungu bwe obukabwe. Erinnya ery'ekiwonvu kiri kyeryava liyitibwa ekiwonvu Akoli, ne leero.
   

Essuula 8

[Ddayo waggulu]
1 Mukama n'agamba Yoswa nti Totyanga, so tokankananga: twala abantu bonna abalwanyi naawe, ogolokoke olinnye ku Ayi: laba; nkuwadde mu mukono gwo: kabaka wa Ayi, n'abantu be, n'ekibuga kye, n'ensi ye;
2 era olikola Ayi ne kabaka waamu nga bwe wakola Yeriko ne kabaka waamu: naye omunyago gwakyo n'ente zaakyo mulibyetwatira okuba ebinyage byammwe: muteegere ekibuga ennyuma waakyo.
3 Awo Yoswa n'agolokoka, n'abantu bonna abalwanyi, okulinnya ku Ayi; Yoswa n'alonda abantu obukumi busatu, abazira ab'amaanyi, n'abasindika ekiro.
4 N'abalagira ng'ayogera nti Laba, munaateegera ekibuga ennyuma w’e kibuga: temukiba wala nnyo ekibuga naye mwenna mweteeketeeke:
5 nange n'abantu bonna abali nange tunaasemberera ekibuga: awo, bwe banajja okutulumba, ng'olubereberye; ne tulyoka tudduka: mu maaso gaabwe;
6 nabo banajja okutugoberera, okutuusa lwe tunaabasendasenda okuva mu kibuga ewala; kubanga banaayogera nti Badduse mu maaso gaffe ng olubereberye; kyetunaava tudduka mu maaso gaabwe:
7 nammwe munaagolokoka we muteegedde, ne mukwata ekibuga: kubanga Mukama Katonda wammwe anaakiwaayo mu mukono gwammwe.
8 Awo, bwe munaamala okukwata ekibuga, ne mukyokya omuliro okugoberera ekigambo kya Mukama bwe munaakola: laba, nze mbalagidde.
9 Yoswa n'abasindika: ne bagenda we banaateegera, ne babeera wakati wa Neseri ne Ayi, ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'e Ayi: naye Yoswa n'asula ekiro ekyo'mu bantu.
10 Yoswa n'akeera enkya n'agolokoka; n'akuŋŋaanya abantu, n'alinnya, ye n'abakadde ba Isiraeri, mu maaso g'abantu ne bagenda e Ayi.
11 Abantu bonna, abalwanyi abaali naye, ne balinnya ne basembera ne batuuka ekibuga we kiraba, ne basimba olusiisira ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'e Ayi: era waaliwo ekiwonvu wakati we ne Ayi.
12 N'atwala abantu ng'enkumi ttaano, n'abateekateeka okuteega wakati wa: Beseri ne Ayi, ku luuyi olw'ebugwanjuba olw'ekibuga
13 Ewe batyo bwe baateekateeka abantu, eggye lyonna eryali ku bukiika obwa kkono obw'ekibuga, era n'abateezi baabwe abaali ebugwanjuba obw'ekibuga; Yoswa n'agenda ekiro ekyo wakati mu kiwonvu.
14 Awo olwatuuka kabaka we Ayi bwe yakiraba, ne banguwa ne bagolokoka, enkya, n'abantu ab'omn kibuga ne bajja ku Baisiraeri okulwana, ye n'abantu be.bonna, ku kiseera ekiragiddwa, mwmaaso ga Alaba; naye teyamanya nga waliwo abamuteeze ennyuma w'ekibuga.
15 Yoswa n'Abaisiraeri bonna ne beefuula ng'abagobeddwa mu maaso gaabwe, ne baddukira mu kkubo ery'eddungu.
16 N'abantu bonna abaali mu kibuga ne bakuŋŋaanyizibwa okuba goberera: ne bagoba Yoswa, ne basendebwasendebwa okuva mu kibuga ewala.
17 Ne mutasigala muntu mu Ayi newakubadde mu Beseri, atazze kugoba Isiraeri: ne baleka ekibuga nga kigguliddwawo ne bagoba Isiraeri.
18 Mukama n'agamba: Yoswa nti Galula omuwunda oguli mu mukono gwo ku Ayi; kubanga naakikuwa mu mukono gwo. Yoswa n'agalula omuwunda ogwali mu mukono gwe eri ekibuga.
19 N'abateezi ne bagolokoka mangu mu kifo kyabwe, ne baddukana mbiro bwe yamala okugolola omukono, ne bayingira mu kibuga, ne bakimenya; ne banguwa ne bookya ekibuga omuliro:
20 Ab'e Ayi bwe baalaba ennyuma waabwe, ne batunula, era, laba, omukka ogw'ekibuga nga gunyookera mu ggulu, ne bataba na maanyi ga kudduka okugenda eri newakubadde okudda eno: n'abantu abaali baddukidde mu ddungu ne babakyukirako abaabagoba.
21 Yoswa n'Abaisiraeri bonna bwe baalaba ng'abateezi bamenye ekibuga, n'omukka ogw'ekibuga nga gunyooka, awo ne bakyuka nate, ne batta ab'e Ayi.
22 N'abalala bannaabwe ne bava mu kibuga okubalumba; ne babeera wakati mu Baisiraeri, abalala eruuyi n'abalala eruuyi: ne babakuba, obutaganya muntu kusigalawo newakubadde okudduka:
23 Ne kabaka we Ayi ne bamukwata nga mulamu, ne bamuleeta eri Yoswa.
24 Awo; Abaisiraeri bwe baamala okuttira ddala abaali mu Ayi bonna mu lusenyi, mu ddungu lye baabagoberamu, bonna ne bagwa n'obwogi bw'ekitala ne baggwaawo, Abaisiraeri bonna ne balyoka bakomawo e Ayi, ne bakikuba n'obwogi bw'ekitala
25 Awo bonna abattibwa ku lunaku olwo, abasajja n'abakazi, baali kakumi mu enkumi bbiri, be bantu bonna abaali mu Ayi.
26 Kubanga Yoswa teyazza mukono gwe, gwe yagaluza omuwunda, okutuusa lwe yamala okubazikiririza ddala abaali mu Ayi bonna.
27 Wabula ente n'omunyago ogw'ekibuga ekyo Abaisiraeri ne babyetwalira, okuba ebinyage byabwe, ng'ekigambo kya Mukama kye yalagira Yoswa.
28 Yoswa n'ayokya Ayi bw'atyo, n'akifuula ekifunvu emirembe gyonna, era ekyazika, ne kaakano.
29 Ne kabaka we Ayi n'amuwanika ku muti okutuusa olweggulo: enjuba bwe yagwa Yoswa n'alagira, ne baggya omulambo gwe ku muti, ne bagusuula ku muzigo: ku wankaaki ow'ekibuga, ne bagutuumako entuumu ennene ey'amayinja, ne kaakano.
30 Awo Yoswa n'alyoka azimbira Mukama ekyoto, Katonda wa Isiraeri, ku lusozi Ebali,
31 nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabalagira abaana ba Isiraeri; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, ekyoto eky'amayinja amalamba, omuntu g'atassaako kyuma kyonna: ne bakiweerako ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama ne bamuleetera ebiweebwayo olw'emirembe.
32 N'awandiika awo ku mayinja amateeka ga Musa, ge yaawandiika, mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
33 N'Abaisiraeri bonna, n'abakadde baabwe, n'abaami, n’abalamuzi baabwe, ne bayimirira eruuyi n'eruuyi ez'essanduuko mu maaso ga bakabona Abaleevi, abaasitula essanduuko ey'endagaano ya Mukama, si nzaalwa bokka, naye ne bannaggwanga ekitundu kyabwe kumi olusozi Gerizimu gye lusimba, n’ekitundu kyabwe ekirala olusozi Ebali gye lusimba; nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yalagira, basookenga okusabira omukisa abantu ba Isiraeri.
34 Oluvannyuma n'asoma ebigambo byonna eby'amateeka, omukisa n'okukolimira, nga byonna bwe biri ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka.
35 Tewali kigambo mu byonna Musa bye yalagira, Yoswa ky'ataasoma mu maaso ag'ekkuŋŋaaniro lyonna erya Isiraeri, n'abakazi, n’abaana abato, ne banna ggwanga abaatambulanga mu bo.
   

Next

PROCEED TO....   Bible Quiz Vault
BACK....   Home Page