Yoswa  

Essuula 17

1 Ne kano ke kaali akalulu ak'ekika kya Manase kubanga oyo ye yali omubereberye wa Yusufu. Makiri, omubereberye wa Manase, era jjajja wa Gireyaadi, kubanga yali mulwanyi, kyeyava alya Gireyaadi ne Basani:
2 N'akalulu ak'abaana ba Manase abalala kaali ng'enda zaabwe bwe zaali; ak'abaana ba Abiezeri, n'ak'abaana ba Kereki, n'ak'abaana ba Asuliyeri, n'ak'abaana ba Sekemu, n'ak'abaana ba Keferi, n'ak'abaana ba Semida: abo be baana ab'obulenzi aba Manase omwana wa Yusufu ng'enda zaabwe bwe zaali.
3 Naye Zerofekadi, omwana wa Keferi, omwana wa Gireyaadi, omwana wa Makiri, omwana wa Manase, teyazaala ba bulenzi, wabula ab'obuwala: na gano ge mannya ag'abaana be ab'obuwala, Maala, ne Noowa, Kogula, Mirika, ne Tiruza
4 Ne basemberera Eriyazaali kabona; ne Yoswa omwana wa Nuni, n'abakulu; nga boogera nti Mukama yalagira Musa okutuwa obusika mu baganda baffe: kyeyava abawa, nga Mukama bwe yalagira, obusika mu baganda ba kitaabwe.
5 Ebitundu kkumi ne bituuka ku Manase, obutassaako nsi ya Gireyaadi ne Basani, eri emitala wa Yoludaani;
6 kutianga abaana ba Manase abawala baalya obusika mu baana be ab'obulenai: n'ensi ya Gireyaadi abaana abalala aba Manase ne bagirya.
7 N'ensalo ya Manase yava mu Aseri n'etuuka ku Mikumesasi, Sekemu gye kiraba; ensalo n'eyita ku mukono ogwa ddyo, n'etuuka ku abo abaali mu Entappua.
8 Ensi ya Tappua Manase n'agirya: naye Tappua (ekyali) mu nsalo ya Manase abaana ba Efulayimu ne bakirya.
9 Ensalo n'ekka n'etuuka ku mugga Kana, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'omugga: ebibuga ebyo Efulayimu n'abirya mu bibuga bya Manase: n'ensalo ya Manase yali ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'omugga, n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja:
10 oluuyi olw'obukiika obwa ddyo Efulayimu n'alulya, n'oluuyi olw'obukiika obwa kkono Manase n'alulya, n'ennyanja yali nsalo ye; ne batuuka ku Aseri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, ne ku Isakaali ku luuyi olw'ebuvanjuba.
11 Manase n'alya mu (nsi) ya Isakaali n'eya Aseri, Besuseani 'n'ebibuga byakyo, ne Ibuleamu n'ebibuga byakyo, n'abali mu Doli n'ebibuga byakyo, n'abali mu Endoli n'ebibuga byakyo, n'abali mu Taanaki n'ebibuga byakyo, n'abali mu Megiddo n'ebibuga byakyo, ze nsozi essatu.
12 Naye abaana ba Manase ne batayinza kugobamu (abaali mu) bibuga ebyo; naye Abakanani ne baagala okubeera mu nsi eyo.
13 Awo, abaana ba Isiiraeri bwe baafuna amaanyi, ne bakoza Abakanani emirimu emiragire, ne batabagobera ddala.
14 Abaana ba Yiisufu ne bagamba Yoswa, nga boogera nti Kiki ekikumpeesezza akalulu akamu kokka n'ekitundu ekimu okuba obusika, kuba ndi ggwanga ddene, kuba okutuuka leero Mukama yampanga omukisa?
15 Yoswa n'abagamba nti Oba oli ggwanga ddene, golokoka ogende mu kibira, weesaayire omwo mu nsi ey'Abaperizi n'ey'Abalefa; kubanga ensi ey'ensozi ya Efulayimu ekufunza.
16 Abaana ba Yusufu ne boogera nti Ensi ey'ensozi tetumala: n'Abakanani bonna abali mu nsi ey'ekiwonvu balina amagaali ag'ebyuma, abo abali mu Besuseani n'ebibuga byakyo era n'abo abali mu kiwonvu eky'e Yezureeri.
17 Yoswa n'agamba ennyumba ya Yusufu, ye Efulayimu ne Manase, ng'ayogera nti Oli ggwanga ddene, era olina n'amaanyi mangi: toliba na kalulu kamu kokka:
18 naye ensi ey'ensozi eribeera yiyo; kuba newakubadde nga kibira, olikisaawa, n'amakubo agavaamu galiba gago: kubanga Abakanani olibagobamu, newakubadde nga balina amagaali ag'ebyuma, era newakubadde nga ba maanyi.
   

Essuula 18

[Ddayo waggulu]
1 N'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaanira mu Siiro, ne basimba eyo eweema ey'okusisinkanirangamu: ensi n'ejeemulukuka mu maaso gaabwe.
2 Era waasigalawo mu baana ba Isiraeri ebika musanvu, ebitannagabana busika bwabyo.
3 Yoswa n'agamba abaana ba Isiraeri nti Mulituusa wa okugayaala okuyingira okulya ensi, Mukama Katonda wa bajjajjammwe gye yabawa?
4 Mwerondere abantu basaru buli kika: nange ndibatuma, nabo baligolokoka ne batambula mu nsi yonaa, ne bagiwandiika bw'efaanana ng'obusika bwabwe bwe buli; ne balyoka bajja gye ndi.
5 Era baligigaba ebitundu musanvu; Yuda alibeera mu nsalo ye ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ennyumba ya Yusufu eribeera mu nsalo yaabwe ku luuyi olw'obukiika obwa kkono.
6 Era muliwandiika ensi mu bitundu musanvu, ne muleeta gye ndi (bye muwandiise): nange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama Katonda waffe.
7 Kubanga Abaleevi tebalina mugabo mu mmwe; kubanga obwakabona bwa Mukama bwe busika bwabwe: ne Gaadi ne Lewubeeni n'ekitundu eky'ekika kya Manase baamala okuweebwa obusika bwabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa.
8 Abantu ne bagolokoka ne bagenda: Yoswa n'alagira abo abaagenda okuwandiika ensi, ng'ayogera nti Mugende mutambule mu nsi yonna, mugiwandiike, mukomewo gye ndi, aange ndibakubira obululu wano mu maaso ga Mukama mu Siiro:
9 Abantu ne bagenda ne bayita mu nsi, lie bagiwandiika buli kibuga mu bitundu musanvu mu kitabo, ne bajja eri Yoswa mu lusiisira mu Siiro.
10 Yoswa n'abakubira obululu mu Siiro mu maaso ga Mukama: Yoswa n'abagabira eyo ensi abaana ba Isiraeri ng'emigabo gyabwe bwe gyali.
11 Akalulu ak'ekika eky'abaana ba Benyanini ne kajja ng'enda zaabwe bwe, zaali; n'ensalo ey'akalulu kaabwe ne kasookera wakati mu baana ba Yuda n'abaana ba Yusufu.
12 N'ensalo yaabwe ey'obukiika obwa kkono yava ku Yoludaani: ensalo n'erinnya ku muyegooyego ogw'e Yeriko ku luuyi oiw'obukiika obwa kkono, n'erinnya mu nsi ey'ensozi ku luuyi olw'ebugwanjuba; n'enkomerero zaayo zaali ku lukoola olw'e Besaveni.
13 Ensalo n'eva eyo n'eyita n'etuuka ku Luzi, ku muyegooyego ogw'e Luzi (ye Beseri), ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo; ensalo n'ekka ku Atalosuaddali kumpi n'olusozi oluli ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Besukolooni eky'emmanga.
14 Ensalo n'ereetebwa ne yeetooloola ku luuyi olw'ebugwanjuba (n'egenda) obukiika obwa ddyo ng'eva ku lusozi Besukolooni gye kiraba obukiika obwa ddyo; n'enkomerero zaayo zaali ku Kiriasubaali (ye Kiriyasuyalimu), ekibuga eky'abaana ba Yuda olwo luuyi olw'ebugwanjuba.
15 N'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo lwava Kiriyasuyalimu gye kikoma, ensalo n'ebuna ebugavanjuba, n'ebuna oluzzi olw'amazzi ga Nefutoa:
16 ensalo n'ekka olusozi gye lusimba oluliraanye ekiwonvu eky'omwana wa Kinomu, ekyali mu kiwonvu kya Lefa ku luuyi olw'obukiika obwa kkono; n'ekka mu kiwonvu kya Kinomu, ku bbalama ery'omu Yebusi ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ekka ku Enerogeri;
17 n'ereetebwa ku bukiika obwa kkono, n'ekoma mu Ensemesi, n'ebuna Gerirosi, ekiri emitala w'ekkubo eririnnya okugenda Adummimu; n'eyita n'etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni;
18 n'eyita ku bbali okwolekera Alaba ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'ekka mu Alaba:
19 ensalo n'eyita n'etuuka ku mabbali ag'e Besukogula ku luuyi olw'obukiika obwa- kkono : n'enkomerero z'ensalo zaali ku kikono eky'obukiika obwa kkono eky'ennyanja ey'omunnyo, Yoludaani we gnfukira: eyo ye nsalo ey'obukiika obwa ddyo.
20 Ne Yoludaani gwali nsalo yaayo ku luuyi olw'ebuvanjuba. Obwo bwe bwali obusika obw'abaana ba Benyamini, mu nsalo zaabwo ezeetoolodde ng'enda zaabwe bwe zaali.
21 Era ebibuga eby'ekika eky'abaana ba Benyamini ag'enda zaabwe bwe zaali byali Yeriko, ne Besukogula, ne Emekkezizi;
22 ne Besualaba, ne Zemalaimu, ne Beseri;
23 ne Avvimu; ne Pala, ne Ofula;
24 ne Kefalamoni, ne Ofuni, ne Geba; ebibuga kkumi na bibiri n’ebyalo byabyo;
25 Gibyoni, ne Laama, ne Beerosi;
26 ne Mizupe, ne Kefira, ne Moza;
27 ne Lekemu, ne Irupeeri, ne Talala;
28 ne Zeera, Erefu, n'Omuyebusi (ye Yerusaalemi), Gibeasi, (ne) Kiriasi; ebibuga kkumi na bina n'ebyalo liyabyo. Obwo bwe busika obw'abaana ba Benyamini ng'enda zaabwe bwe zaali.
   

Essuula 19

[Ddayo waggulu]
1 N'akalulu ak'okubiri ne kagwira Simyoni kye kika eky'abaana ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali: n'obusika bwabwe bwali wakati mu busika obw'abaana ba Yuda.
2 Ne balya obusika bwabwe, Beeruseba, oba Seba, ne Molada;
3 ne Kazalusuali, ne Bala; ne Ezemu;
4 ne Erutoladi, ne Besuli, ne Koluma;
5 ne Zikulagi, ne Besumalukabosi ne Kazalususa;
6 ne Besulebaosi, ne Salukeni; ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo byabyo.
7 Ayini, Limmoni, ne Eseri, ne Asani; ebibuga bina n'ebyalo byabyo:
8 n'ebyalo byonna ebyetoolodde ebibuga ebyo okutuuka ku Baalasubeeri, Laama eky'obukiika obwa ddyo. Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Simyoni ng'enda zaabwe bwe zaali:
9 Mu kitundu eky'abaana ba Yuda mwe mwava obusika obw'abaana ba Simyoni: kubanga omugabo ogw'abaana ba Yuda gwabalema okubuna: abaana ba Simyoni kyebaava balya obusika wakati mu busika bwabwe:
10 N'akalulu ak'okusatu ne kajja ku baana ba Zebbulooni ng'enda zaabwe bwe zaali: n'ensalo ey'obusika bwabwe yatuuka ku Salidi:
11 n'ensalo yaabwe n'erinnya ku luuyi olw'ebugwanjuba, n'etuuka ku Malala, n'etuuka ku Dabbesesi; n'etuuka ku mugga Yokuneamu we kiraba;
12 n'eva ku Salidi n'ekyamira ku luuyi olw'ebuvanjuba okutuuka ku nsalo ey'e Kisulosutaboli; n'ebuna ku Daberasi, n'erinnya ku Yafiya;
13 n'eva eyo n'eyita ku luuyi olw'ebavanjuba n'etuuka ku Gasukeferi, ku Esukazini; n'ekoma ku Limmoni ekituuka ku Nea.
14 ensalo ne yeetooloola ku luuyi olw'obukiika obwa kkono n'etuuka ku Kannasonit n'enkomerero zaayo zaali ku kiwonvu Ifutakeri;
15 ne Kattasi, ne Nakalali, ne Simuloni, ne Idala, n'e Besirekemu: ebibuga kkumi na bibiri n'ebyalo byabyo.
16 Obwo bwe busika obw'abaana ba Zebbulooni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
17 Akalulu ak'okuna ne kakwata Isakaali, be baana ba Isakaali ng'enda zaabwe bwe zaali.
18 N'ensalo yaabwe n'etuuka ku Yezuleeri, ne Kesulosi, ne Sunemu;
19 ne Kafalaimu, ne Sioni, ne Anakalasi;
20 ne Labbisi, ne Kisioni, ne Ebezi:
21 ne Lemesi, ne Engannimu, ne Enkadda, ne Besupazzezi;
22 ensalo n'etuuka ku Taboli, ne Sakazuma, ne Besusemesi; n'enkomerero z'ensalo yaabwe zaali ku Yoludaani: ebibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo.
23 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Isakaali: ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo.
24 N'akalulu ak'okutaano ne kakwata ekika eky'abaana ba Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali.
25 N'ensalo yaabwe yali Kerukasi, ne Kali, ne Beteni, ne Akusafu;
26 ne Alammereki, ne Amadi, ne Misali; n'etuuka ku Kalumeeri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne ku Sikolulibunasi;
27 n'ekyamira ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku Besudagoni, n'etuuka ku Zebbulooni, ne ku kiwonvu Ifutakeri ku luuyi olw'obukiika obwa kkono okutuuka ku Besuemeki ne Neyeri; n'ebuna ku Kabuli ku mukono ogwa kkono,
28 ne Ebuloni, ne Lekobu, ne Kammoni, ne Kana, okutuuka ku Sidoni ekinene;
29 ensalo n'ekyamira ku Laama, ne ku kibuga ekiriko ekigo Tuulo; ensalo n'ekyamira ku Kosa; n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja mu nsi eriraanye Akuzibu:
30 era ne Uma, ne Afiki, ne Lekobu: ebibuga amakumi abiri mu bibiri n'ebyalo byabyo:
31 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Aseri ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo.
32 Akalulu ak'omukaaga ne kagwira abaana ba Nafataali, be baana ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali.
33 N'ensalo yaabwe yava ku Kerefu, okuva ku mwera oguli mu Zaanannimu, ne Adaminekebu, ne Yabuneeri, okutuuka ku Lakkumu; n'enkomerero zaayo zaali ku Yoludaani:
34 ensalo n’ekyamira ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku Azunosutaboli, n’eva eyo n'ebuna ku Kukkoki; n'etuuka ku Zebbulooni ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'etuuka ku Aseri ku luuyi olw'ebugwanjuba, ne ku Yuda ku Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
35 N'ebibuga ebiriko ebigo byali Ziddimu, Zeri, ne Kammasi, Lakkasi, ne Kinneresi;
36 ne Adama, ne Laama, ne Kazoli;
37 ne Kesedi, ne Ederei, ne Enkazoli;
38 ne Ironi, ne Migudaleri, Kolemu, ne Besuanasi, ne Besusemesi; ebibuga kkumi na mwenda n'ebyalo byabyo.
39 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Nafutaali ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byabyo.
40 Akalulu ak'omusanvu ne kagwira ekika ky'abaana ba Daani ng'enda zaabwe bwe zaali.
41 N'ensalo ey'obusika bwabwe yali Zola, ne Esutaoli, ne Irusemesi;
42 ne Saalabbini, ne Ayalooni, ne Isula;
43 ne Eroni, ne Timuna, ne Ekuloni;
44 ne Eruteke, ne Gibbesoni, ne Baalasi;
45 ne Yekudi, ne Beneberaki, ne Gasulimmoni;
46 ne Meyalakoni, ne Lakoni, n'ensalo Yafo gye kiraba.
47 Ensalo ey'abaana ba Ddaani n'ebuna ensi etali yaabwe: kubanga abaana ba Ddaani baalinnya ne balwanyisa Lesemu, ne bakimenya, ne bakitta n'ekitala ne bakirya, ne bakibeeramu, ne bakituuma Lesemu Ddaani, lye linnya lya Ddaani jjajjaabwe.
48 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Ddaani ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga ebyo n'ebyalo byabyo
49 Bwe batyo bwe baamalira ddala okugaba ensi okuba obusika mu nsalo zaayo; n'abaana ba Isiraeri ne bawa Yoswa omwana wa Nuni obusika wakati waabwe:
50 nga Mukama bwe yalagira ne bamuwa ekibuga kye yasaba, ye Timunasusera mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'azimba ekibuga n'abeera omwo.
51 Obwo bwe busika, Eriyazaali kabona ne Yoswa omwana wa Nuni n'emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baagabanira n'obululu okuba obusika mu Siiro mu maaso ga Mukama mu mulyango ogw'eweema gye baakuŋŋaanirangamu. Bwe batyo bwe baamalira ddala okugabana ensi.
   

Essuula 20

[Ddayo aggulu]
1 Mukama n'agamba Yoswa nti
2 Ogambe abaana ba Isiraeri nti Mweterekere ebibuga eby'okuddukirangamu, bye nnabagambako mu mukono gwa Musa:
3 omussi atta omuntu yenna nga tayagadde aga talabye alyoke abiddukirengamu: n'ebyo binaabanga ekiddukiro kyammwe eri omuwalanyi w'omusaayi.
4 Era anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, anaayimiriranga ku muzigo gwa wankaaki ow'ekibuga, anaabuuliranga ensonga ye mu matu g'abakadde ab'ekibuga ekyo; nabo banaamutwalanga mu kibuga gye bali, banaamuwanga ekifo, alyoke ababeeremu.
5 Era oba ng'omuwalaayi w'omusaayi anaamugobereranga, tebaawengayo mussi mu mukono gwe: kubanga yakuba muntu munne nga talabye, nga tamukyawanga.
6 Naye anaabeeranga mu kibuga omwo, okutuusa lw'anaayimiriranga mu maaso g'ekibiina okusalirwa omusango, okutuusa kabona asinga obukulu anaabeerangawo mu nnaku ezo lw'alifa: omussi n'alyoka addayo n'ajja mu kibuga kye, ne; mu nnyumba ye, mu kibuga mwe yava okudduka.
7 Ne batereka Kedesi mu Ggaliraaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba (ye Kebbulooni) mu nsi ey'ensozi eya Yuda.
8 N'emitala wa Yoludaani ku Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, baatereka Bezeri mu aukoola mu lusenyi mu kika kya Lewubeeni, ne Lamosi mu Gireyaadi mu kika kya Gaadi, ne Golani mu Basani mu kika kya Manase.
9 Ebyo bye bibuga ebyalagirirwa abaana ba Isiraeri bonna, ne munnaggwanga abalimu, buli attanga omuntu yenna nga talabye addukire omwo, aleme okuttibwa n'omukono gw'omuwalanyi w'omusaayi, okutuusa lw'aliyimirira mu maaso g'ekibiina.
   

Essuula 21

[Ddayo waggulu]
1 Awo emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n'eri Yoswa omwana wa Nuni n'eri emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri:
2 ne babagambira mu Siiro mu nsi ya Kanani nti Mukama yalagira mu mukono gwa Musa okutuwa ebibuga eby'okubeeramu, n'ebyalo ebiriraanye, (ettale ery'okulundiramu) ente zaffe.
3 Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi mu busika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira, ebibuga bino n'ettale lyabyo.
4 N'akalulu ne kavaamu enda ez'Abakokasi: n'abaana ba Alooni kabona, abaali ab'ekika ky'Abaleevi, ne baweebwa akalulu mu kika kya. Yuda, ne mu kika eky'Abasimyoni, ne mu kika kya Benyamini, ebibuga kkumi na bisatu.
5 N'abaana ba Kokasi abalala ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Efulayimu, ne mu kika kya Ddaani, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, ebibuga kkumi.
6 N'abaana ba Gerusoni ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Isakaali, ne mu kika kya Aseri, ne mu kika kya Nafutaali, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase mu Basani; ebibuga kkumi na bisatu.
7 Abaana ba Merali ne baweebwa ng'enda zaabwe bwe zaali mu kika kya Lewubeeni, ne mu kika kya Gaadi, ne mu kika kya Zebbulooni, ebibuga kkumi na bibiri.
8 N'abaana ba Isiraeri ne babawa n'obululu Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyabyo, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa.
9 Ne babawa mu kika eky'abaana ba Yuda, ne mu kika eky'abaana ba Simyoni, ebibuga bino ebigenda okumenyebwa:
10 ne biba bya baana ba Alooni, ab'enda ez'Abakokasi, ab'omu baana ba Leevi: kubanga omugabo gwabwe gwe gwasooka.
11 Ne babawa Kiriasualuba, (Aluba oyo yali) kitaawe wa Anaki, (ye Kebbulooni), mu nsi ey'ensozi eya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde.
12 Naye ennimiro z'ekibuga n'ebyalo byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune okubirya.
13 Ne bawa abaana ba Alooni kabona Kebbulooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Libuna n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
14 ne Yattiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Esutemoa n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
15 ne Koloni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Debiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
16 ne Aini n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Yuta n'ebyalo byakyo ebiriraanye, (ne) Besusemesi n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga mwenda mu bika ebyo ebibiri.
17 Ne mu kika kya Benyamini, Gibyoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Geba n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
18 Anasosi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Alumoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
19 Ebibuga byonna eby'abaana ba Alooni, bakabona, byali ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo, byabyo ebiriraanye.
20 N'enda ez'abaana ba Kokasi, Abaleevi, be baana ba Kokasi abalala, ne balya ebibuga eby'akalulu kaabwe mu kika kya Efulayimu.
21 Ne babawa Sekemu n'ebyalo byakyo ebiriraanye mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Gezeri n’ebyalo byakyo ebiriraanye;
22 ne Kibuzaimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Besukolooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
23 Ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Gibbesoni. n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
24 Ayalooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
25 Ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, Taanaki, n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bibiri.
26 Ebibuga byonna eby'enda ez'abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n'ebyalo byabyo ebiriraanye.
27 (Ne bawa) abaana ba Gerusoni; ab'enda ez'Abaleevi, mu kitundu eky'ekika kya Manase Golani mu Basani n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi; ne Beesutera n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bibiri.
28 Ne mu kika kya Isakaali, Kisioni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Daberasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
29 Yalamusi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Engannimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
30 Ne mu kika kya Aseri, Misali n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Abudoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
31 Kerukasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Lekobu n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
32 Ne mu kika kya Nafutaali, Kedesi mu Ggaliraaya n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Kammasudoli n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Kalutani, n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bisatu.
33 Ebibuga byonna eby'Abagerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali byali ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo byabyo ebiriraanye.
34 (Ne bawa) enda ez'abaana ba Merali, (be) Baleevi abalala, mu kika kya Zebbulooni, Yokuneamu n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Kaluta n'ebyalo byakyo ebiriraanye,
35 Dimuna n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Nakalali n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
36 Ne mu kika kya Lewubeeni, Bezeri n'ebyalo byakyo ebiriraanqe, ne Yakazi n'ebyalo byakyo ebiriraanye,
37 Kedemosi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Mefaasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
38 Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaadi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Makanayimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
39 Kesuboni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Yazeri n'ebyalo byakyo ebiriraanye; byonna ebibuga bina.
40 Ebyo byonna byali bibuga bya baana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali, ze nda endala ez'Abaleevi; n'akalulu kaabwe kaali ebibuga kkumi na bibiri.
41 Ebibuga byonna eby'Abaleevi (ebyali) wakati mu butaka obw'abaana ba Isiraeri byali ebibuga amakumi ana mu munaana n'ebyalo byabyo ebiriraanye.
42 Ebibuga ebyo byonna byalina ebyalo byabyo ebibyetoolodde: bwe byali bwe bityo ebibuga ebyo byonna
43 Mukama bwe yawa bw'atyo Abaisiraeri ensi yonna gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe; ne bagirya, ne bagibeeramu:
44 Mukama n'abawummuza enjuyi zonna, nga byonna bye yalayirira bajjajjaabwe: so tewaali muntu mu balabe baabwe bonna eyayimirira mu maaso gaabwe; Mukama yawaayo abalabe baabwe bonna mu mukono gwabwe.
45 Tewali kigambo ekitaatuuka mu birungi byonna Mukama bye yagamba ennyumba ya Isiraeri; byonna byatuuka.
   

Essuula 22

[Ddayo waggulu]
1 Awo Yoswa n'ayita Abalewubeeni, n'Abagaadi, n'ekitundu leky'ekika kya Manase,
2 n'abagamba nti Mukutte byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira, era muwulidde eddoboozi lyaage mu byonna bye nnabalagira:
3 temulekanga baganda bammwe ennaku ezo ennyingi okutuuka leero, naye mukutte ekiragiro eky'etteeka lya Mukama Katonda wammwe.
4 Ne kaakano Mukama Katonda wammwe awummuzizza baganda bammwe, nga bwe yabagamba: kale kaakano mukyuke: muyingire mu weema zammwe: (mugende) mu nsi ey'obutaka bwammwe, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani.
5 Naye mwekuumenga nnyo okukwatanga ekiragiro n'etteeka, Musa omuweereza wa Mukama lye yabalagira, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okukwatanga amateeka ge, n'okwegattanga naye, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna era n'emmeeme yammwe yonna.
6 Awo Yoswa n'abasabira omukisa, n'abasindika: ne: bayingira mu weema zaabwe.
7 Naye ekitundu ekimu eky'ekika kya Manase Musa yakiwa (obusika) mu Basani: naye ekitundu eky'okubiri Yoswa n'akiwa mu baganda baabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba: Era Yoswa bwe yabasindika mu weema zaabwe, n'abasabira omukisa,
8 n'abagamba nti Mukomeewo n'ebintu bingi mu weema zammwe, n'ente nnyingi nnyo, n'effeeza, ne zaabu, n’ebikomo, n'ebyuma, n'engoye nnyingi nnyo; mugabane omunyago ogw'abalabe bammwe ne baganda bammwe.
9 N'abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddayo nga bava mu baana ba Isiraeri mu Siiro, ekiri mu nsi ya Kanani, okugenda mu nsi ya Gireyaadi, mu nsi ey'obutaka bwabwe, gye baalya, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa.
10 Bwe baatuuka mu nsi eriraanye Yoludaani, eri mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne bazimba awo ekyoto ku Yoludaani, ekyoto ekinene ekitunuulirwa.
11 N'abaana ba Isiraeri ne bawulira nga kyogerwa nti Laba, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase bazimbye ekyoto ku muyegooyego ogw'ensi ya Kanani, mu nsi eriraanye. Yoludaani, ku luuyi olw'abaana ba Isiraeri.
12 Abaana ba Isiraeri bwe baakiwulira, ekibiina kyoana eky'abaana ba Isiraeri ne bakuŋŋaanira mu Siiro, okulinnya okulwana nabo:
13 a ba Isiraeri ne batuma Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ye Gireyaadi;
14 era awamu naye abakulu kkumi, buli kika kya Isiraeri omukulu omu ow'ennyumba ya bakitaabwe; buli omu yali mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe mu nkumi za Isiraeri.
15 Ne bajja eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu: eky'ekika kya Manase, mu nsi ya Gireyaadi, ne babagamba nti
16 Ekibiina kya Mukama kyonna bwe kyogera bwe kiti nti Kyonoono ki kino kye. mwayonoona eri Katonda wa Isiraeri, okukyama leero obutagoberera Mukama kubanga mwezimbira ekyoto, okujeemera Mukama leero?
17 Obubi bwa Peoli tebwatumala, bwe tutanneerongoosa okutuusa leero, newakubadde nga kawumpuli yajja ku kibiina kya Mukama,
18 mmwe okuwalirizibwa okukyama leero obutagoberera Mukama? era kubanga mujeemera Mukama leero, enkya n'alyoka asunguwalira ekibiina kyonaa ekya Isiraeri.
19 Naye era ensi ey'obutaka bwammwe oba aga si nnongoofu, kale musomoke muyingire mu nsi ey'obutaka bwa Mukama omuli eweema ya Mukama, mulye mu ffe: naye temujeemeranga Mukama, naffe temutujeemeranga nga muzimba ekyoto wabula ekyoto kya Mukama Katonda waffe.
20 Akani omwana wa Zeera teyayonoona kyonoono mu kyaterekebwa, obusungu ne bugwa ku kibiina kyonna ekya Isiraeri? omuntu oli n'atazikirira yekka mu bubi bwe.
21 Awo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddamu ae bagamba emitwe gy'enkumi za Isiraeri
22 nti Mukama, Katonda wa bakatonda, Mukama, Katonda wa bakatonda, ye amanyi, era naye Isiraeri alimanya; siaga mu kujeema oba mu kwonoona eri Mukama, (totulokola ffe leero,)
23 mwe twazimbira ekyoto okukyama obutagoberera Mukama; oba singa (twakizimba) okukiweerako ekiweebwayo ekyokebwa oba ekiweebwayo eky'obutta oba okukiweerako ssaddaaka ez'ebiweebwayo olw'emirembe Mukama yenayini akivunaane;
24 era singa tetwakola bwe tutyo olw'okwegeadereza, nga tulowooza, aga twogera nti Mu biro ebigenda okujja abaana bammwe baliyinza okugamba abaana baffe nti Mmwe mulina ki ne Mukama, Katonda wa Isiraeri?
25 kubanga Mukama yafuula Yoludaani ensalo wakati mu ffe nammwe, mmwe abaana ba Lewubeeai n'abaana ba Gaadi; temuliaa mugabo mu Mukama: bwe batyo abaana bammwe bandiresezza abaana baffe okutya Mukama.
26 Kyetwava twogera nti Kale tweteeketeeke okwezimbira ekyoto, si lwa byokye, so si lwa ssaddaaka:
27 naye kiribeera mujulirwa wakati mu ffe nammwe, ne mu mirembe gyaffe egirituddirira, tulyoke tuweereze Mukama mu maaso ge n'ebyokye byaffe ne ssaddaaka zaffe n'ebyaffe ebiweebwayo olw'emirembe; abaana bammwe baleme okugamba abaana baffe mu biro ebigenda okujja nti Temulina mugabo mu Mukama.
28 Kyetwava twogera nti Bwe balitugamba bwe batyo ffe oba emirembe gyaffe mu biro ebigenda okujja, ne tulyoka twogera nti Laba ekifaananyi eky'ekyoto kya Mukama, bajjajjaffe kye baakola, si lwa byokye, so si lwa ssaddaaka; naye ye mujulirwa wakati mu ffe nammwe.
29 Kikafuuwe ffe okujeemera Mukama, n'okukyama leero obutagoberera Mukama, okuzimba ekyoto olw'ebiweebwayo ebyokebwa, (oba) ebiweebwayo eby'obutta, oba olwa ssaddaaka, wabula ekyoto kya Mukama Katonda waffe ekiri mu maaso g'eweema ye.
30 Awo Finekaasi kabona n'abakulu b'ekibiina, gye mitwe gy'enkumi za Isiraeri abaali awamu naye, bwe baawulira ebigambo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase bye boogera, ne basanyuka nnyo.
31 Ne Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona n'agamba abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase nti Leero tumanyi nga Mukama ali wakati mu ffe kubanga temwayonoona kyonoono ekyo eri Mukama: kaakano mubawonyezza abaana ba Isiraeri mu mukono gwa Mukama.
32 Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona, n'abakulu, ne bakomawo okuva eri abaana ba Lewubeen n’abaana ba Gaadi, mu nsi ya Gireyaadi, ne bajja mu nsi ya Kanani, eri abaana ba Isiraeri, ne babaddiza ebigambo.
33 Ebigambo ne bisanyusa abaana ba Isiraeri; abaana ba Isiraeri ne batendereza Katonda, ne batayogera nate bigambo bya kulinnya okubalwanyisa, okuzikiriza ensi abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi mwe baali.
34 Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi ne bayita ekyoto Edi: nti Ye mujulirwa wakati mu ffe nga Mukama ye Katonda.
   

Essuula 23

[Ddayo waggulu]
1 Awo ennaku nnyingi bwe zaayita Mukama bwe yawummuza Abaisiraeri mu balabe baabwe bonna abaabeetooloola, era Yoswa ng'akaddiye ng'amaze emyaka mingi;
2 Yoswa n'alyoka abayita Abaisiraeri bonna, abakadde baabwe n'emitwe gyabwe, n'abalamuzi baabwe n'abaami baabwe, n'abagamba nti Nze nkaddiye, mmaze emyaka mingi:
3 nammwe mwalaba byonna Mukama Katonda wammwe bye yabakolera ku mawanga gano gonna ku lwammwe; kubanga Mukama Katonda wammwe oyo ye yabalwanira.
4 Laba, mbagabidde amawanga gano agasigalawo, okuba obusika obw'ebika byammwe, okuva ku Yoludaani, awamu n'amawanga gonna ge nnazikiriza, okutuuka ku nayanja ennene ku luuyi olw'ebugwanjuba.
5 Ne Mukama Katonda wammwe ye alibasindika emberi yammwe n'abagoba mu maaso gammwe; nammwe mulirya ensi yaabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabagamba.
6 Kale mugume nnyo emyoyo okwekuumanga n'okukolanga byonna ebyawandiikibwa mu kitabo eky'amateeka ga Musa, muleme okugakyamirangamu ku mukono ogwa ddyo aewakubadde ogwa kkono;
7 muleme okuyingiranga mn mawanga gaao, agaasigala mu mmwe; newakubadde okwogeranga, ku linnya lya bakatonda baabwe, newakubadde okubalayizanga, newakubadde okubaweerezanga, newakubadde okubafukaamiriranga:
8 naye mwegattenga ne Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakolanga okutuusa leero:
9 Kubanga Mukama yagoba mu maaso gammwe amawanga amanene ag'amaanyi: aaye mmwe, tewali muntu eyayimirira mu maaso gammwe okutuusa leero.
10 Munnammwe omu anaagobanga lukumi: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo yabalwanirira, nga bwe yabagamba.
11 Kale mwekuumenga mwekka mwagalenga Mukama Katonda wammwe.
12 Naye oba nga munaddanga ennyuma n'akatono, ne mwegattanga n'amawanga gano agaasigalawo, ge gaagano agaasigala mu mmwe, ne mufumbiriganwanga nabo, ne muyingiranga gye bali, nabo (ne bayingiranga) gye muli:
13 mutegeerere ddala nga Mukama Katonda wammwe taagobenga nate mawanga gano mu maaso gammwe; naye ganaabanga mutego n'ekyambika gye muli n'oluga ku mbiriizi zammwe n'amaggwa mu maaso gammwe, okutuuka lwe mulizikirira okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa.
14 Era, laba, leero Ogenda olugendo ebintu byonna gye bigenda: nammwe mumaayi mu mitima gya mmwe gyonna ne mu mmeeme zammwe zonna, nga tewali kigambo kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako; byonaa bibatuukidde, tewali na kimu mu ebyo kitatuuse.
15 Awo olulituuka, ng'ebirungi byonna bwe byabajjira Mukama Katonda wammwe bye yabagamba, bw'atyo Mukama anaabaleeteranga ebibi byonna, okutuuka lw'alibazikiriza okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gye yabawa.
16 Bwe munaasobyanga endagaano ya Mukama Katonda wammwe, gye yabalagira, ne mugenda ne muweereza bakatonda abalala, ne mubafukaamirira; obusungu bwa Mukama ne bulyoka bubuubuuka ku mmwe ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi gye yabawa.
   

Essuula 24

[Ddayo waggulu]
1 Yoswa n'akuŋŋaanyiza ebika byonna ebya Isiraeri mu Sekemu, n'ayita abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyabwe n'abalamuzi baabwe, n'abaami baabwe; ne beeraga mu maaso ga Katonda.
2 Yoswa n'agamba abantu bonna nti Mukama, Katonda wa Isiraeri, bw'ayogula bw'ati nti Bajjajjammwe baabeera mu biro eby'edda emitala w'Omugga, Teera, kitaawe wa Ibulayimu era kitaawe wa Nakoli: me baweereza bakatonda abalala.
3 Ne ntwala jjajjammwe Ibulayimu ne mmuggya emitala w'Omugga, ne mmuleeta mu nsi yonna eya Kanani, ne nayongera ezzadde lye, ne mmuwa Isaaka.
4 Ne mpa Isaaka Yakobo ne Esawu: ne mpa Esawu olusozi Seyiri, okululya; Yakobo n’abaana be ne baserengeta mu Misiri. Ne ntuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Misiri, ng'ebyo bwe byali bye nnakola wakati: waayo: oluvannyuma ne mbaggyamu.
5 Ne ntuma Musa ne Alooni, ne mbonyaabonya Misiri, ng'ebyo bwe byali bye nnakola wakati: waayo: oluvannyuma ne mbaggyamu.
6 Ne bajjajjammwe ne mbaggya mu Misiri: ne mutuuka ku nnyanja; n'Abamisiri ne- bagoberera bajjajjammwe n'amagaali n'abeebagadde embalaasi ku Nnyanja Emmyufu.
7 Bwe baamukoowoola Mukama, n'assaawo ekizikiza wakati wammwe n'Abamisiri, n'abaleetako ennyanja, n’abasaanikira; n'amaaso gammwe gaalaba bye naakola mu Misiri: nammwe ne mumala ennaku nayingi mu ddungu.
8 Ne mbaleeta mu nsi ey'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani; ne balwana nammwe: ne mbawa mu mukono gwammwe, n'ensi yaabwe ne mugirya; ne mbazikiriza mu maaso gammwe:
9 Awo Balaki omwana wa Zipoli, kabaka wa Moabu, n'agolokoka n'alwana ne Isiraeri; n'atuma n’ayita Balamu omwana wa Byoli okubakolimira:
10 naye ne ŋŋaana okuwulira Balamu; kyeyava abasabira omukisa nate: bwe ntyo ne mbawonya mu mukono gwe.
11 Ne musomoka Yoludaani, ne mutuuka ku Yeriko: n'ab'e Yeriko ne balwana nammwe, Omwamoli, n'Omuperizi, n'Omukanani, n'Omukiiti, n'Omugirugaasi, n'Omukiivi, n'Omuyebusi; ne mbawa mu mukono gwammwe.
12 Ne ntuma ennumba mu maaso gammwe„ n'ebagoba mu maaso gammwe bakabaka bombi ab'Abamoli; si na kitala kyo newa kubadde omutego gwo.
13 Ne mbawa ensi gy'otaakolera mirimu, n'ebibuga bye mutaazimba, ne mubibeeramu; ensuku ez'emizabbibu n'ez'emizeyituuni ze mutaasimba ze mulyako.
14 Kale kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezanga mu mazima awatali bukuusa: era muggyeewo bakatonda bajjajjammwe be baaweerezanga emitala w'Omugga, ne mu Misiri; muweerezenga Mukama.
15 Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mulonde leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w'Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab'Abamoli, bannanayini nsi mwe muli: naye nze n'ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.
16 Abantu ne baddamu ne bagamba nti Kikafuuwe ffe okuleka Mukama okuweerezanga bakatonda abalala;
17 kubanga Mukama Katonda waffe, oyo ye yatulinnyisa ffe ne bajjajjaffe okutuggya mu nsi ey'e Misiri, mu nnyumba ey'obuddu, era ye yakola obubonero buli obunene mu maaso gaffe, n'atukuuma mu kkubo lyonna lye twayitamu, ne mu mawanga gonna ge twayitangamu wakati:
18 Mukama n'agobamu amawanga gonna mu maaso gaffe, Abamoli abaali mu nsi: era naffe kyetunaava tuweereza Mukama; kubanga ye Katonda waffe.
19 Yoswa n'agamba abantu nti Temuyinza kuweerezanga Mukama; kubanga ye Katonda omutuukuvu; ye Katonda ow'obuggya; taasonyiwenga. kwonoona kwammwe newakubadde ebibi byammwe.
20 Oba nga munaalekanga Mukama, ne muweerezanga bakatonda abaggya, n'alyoka akyuka n'abakola obubi, n'abazikiriza, ng'amaze okubakola obulungi.
21 Abantu ne bagamba Yoswa nti Nedda; naye tunaaweerezanga Mukama.
22 Yoswa n'agamba abantu nti Muli bajulirwa bammwe mwekka nga mulonze Mukama okumuweerezanga. Ne boogera nti Tuli bajulirwa.
23 Kale kaakano muggyeewo bakatonda abaggya abali mu mtuwe, mukyuse omutima gwammwe eri Mukama, Katonda wa Isiraeri.
24 Abantu ne bagamba Yoswa nti Mukama Katonda waffe tunaamuweerezanga, n’eddoboozi lye tunaaliwuliranga.
25 Bw'atyo Yoswa n'alagaana endagaano n'abantu ku lunaku olwo, n'abateekera etteeka n'ekiragiro mu Sekemu.
26 Yoswa n'awandiika ebigambo ebyo mu kitabo eky'amateeka ga Katonda; n'atwala ejjinja eddene, n'alisimba awo wansi w'omwera ogwali ku kifo ekitukuvu ekya Mukama.
27 Yoswa n'agamba abantu bonna nti Laba, ejjinja lino linaabanga mujulirwa gye tuli; kubanga liwulidde ebigambo byonna ebya Mukama by'atugambye: kyelinaavanga libeera mujulirwa gye tuli, muleme okwegaana Katonda wammwe.
28 Awo Yoswa n'asiibula abantu, buli muntu agende mu butaka bwe.
29 Awo oluvannyuma lw'ebyo Yoswa omwana wa Nuni, omuweereza wa Mukama, n'alyoka afa, ng'amaze emyaka kikumi mu kkumi.
30 Ne bamuziika mu nsalo ey'obutaka bwe mu Timunasusera, ekiri ran nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olw'olusozi Gaasi.
31 Abaisiraeri ne baweereza Mukama ennaku zonna eza Yoswa, n'ennaku zonna ez'abakadde abaasigalawo Yoswa ng'amaze okufa, era abaamanya emirimu gyonna egya Mukama, gye yakolera Isiraeri.
32 N'amagumba ga Yusufu, abaana ba Isiraeri ge baggya mu Misiri ne bajja nago, ne bagaziika mu Sekemu, mu kitundu eky'ensi, Yakobo kye yagula eri batabani ba Kamoli kitaawe wa Sekemu ebitundu ebya ffeeza kikumi: ne gaba obusika obw'abaana ba Yusufu.
33 Eriyazaali omwana wa Alooni n'afa; ne bamuziika ku lusozi lwa Finekaasi omwana we, lwe yaweebwa mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu.
   

Next
Back