Yoswa  

Essuula 9

1 Awo, bakabaka bonna abaali emitala wa Yoludaani, mu nsi ey'ensozi, ne mu nsenyi, ne ku ttale lyonna ery'ennyanja ennene Lebanooni gye lusimba, Abakiti, n'Abamoli, n'Abakanani, n'Abaperizi n'Abakiivi, Abayebusi, bwe baakiwulira;
2 ne balyoka. bakuŋŋaanira wamu, okulwanyisa Yoswa n'Abaisiraeri, n'omwoyo gumu.
3 Naye abaali mu Gibyoni bwe baawulira Yoswa bye yakola ku yeriko ne Ayi,
4 ne basala amagezi, ne bagenda ne beefuula ng'ababaka, ne batwala ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'amaliba ag'omwenge amakadde agaayulika agaatungirirwa;
5 n'engatto enkadde ezibotose mu bigere byabwe, era nga bambadde ebyambalo ebikadde; nemmere yonna ey'entanda yaabwe ng'ekaliridde ng'ekutte obukuku.
6 Ne bajja eri Yoswa mu lusiisira Girugaali, ne bamugamba ye Tabantu ba Isiraeri nti Tuvudde mu nsi wala: kale kaakano mulagaane naffe:
7 N'abantu ba Isiraeri ne bagamba Abakiivi nti Wozzi ewammwe muli wakati wansi yaffe; naffe tunaalagaana tutya nammwe?
8 Ne bagamba Yoswa nti Tuli baddu bo. Yoswa n'abagamba nti Muli baani? era muva wa?
9 Ne bamugamba nti Abaddu bo bavudde mu nsi wala nnyo okujja wano olw'erinnya lya Mukama Katonda wo: kubanga twawulira okwatiikirira kwe, ne byonna bye yakola mu Misiri,
10 ne byonna bye yakola bakabaka ababiri ab'Abamoli, abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni kabaka w'e Kesuboni, ne Ogi kabaka w'e Basani, eyali mu Asutaloosi.
11 N'abakadde baffe ne bonna abaali mu nsi yaffe ne batugamba nti Mutwalire olugendo olwo entanda mu mikono gyammwe mugende mubasisinkane, mubagambe nti Tuli baddu bammwe: kale kaakano mulagaane naffe.
12 Emmere yaffe eno twagisibirira entanda yaffe mu nnyumba zaffe ng'ekyabuguma ku lunaku lwe twavaayo okujja gye muli; naye kaakano, laba, ekaliridde, era ekutte n'obukuku:
13 n'amaliba gano agomwenge, ge twajjuza, gaali maggya; era, laba, gayuliseyulise: n'ebyambalo byaffe bino engatto zaffe bikaddiye olw'olugendo olunene ennyo,
14 Abantu ne batwala ku ntanda zaabwe, ne batabuuza bigambo eri akamwa ka Mukama.
15 Yoswa n'alagaana nabo emirembe, n'alagaana nabo obutabatta: nabakulu b'elubiina ne babalayirira.
16 Awo mu nnaku essatu, nga bamaze okulagaana nabo, ne bawulira nga baliraanwa baabwe, era nga baali wakati waabwe.
17 Abaana ba Isiraeri ne batambula ne batuuka mu bibuga byabwe ku lunaku olw'okusatu: Ebibuga byabwe byali Gibyoni, ne Kefira, ne Beerosi, ne Kiriyasuyalimu.
18 N'abaana ba Isiraeri ne bataba kuba, kubanga abakulu b'ekibiina baabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri: N'ekibiina kyonna ne kyemulugunyiza abakulu.
19 Naye abakulu bonna ne bagamba ekibiina kyonna nti Twabalayirira Mukama Katonda wa Isiraeri: kale kaakano tetuuyinze kubakwatako.
20 Bwe tunaabakola bwe tutyo, okubaleka nga balamu; obusungu buleme okutubaako, olw'ekirayiro kye twabalayirira.
21 Abakulu ne bagamba nti Mubaleke nga balamu: ne babeera abaasi b'enku era abasenyi b'amazzi eri ekibiina kyonna; ng'abakulu bwe baabagamba.
22 Yoswa n'abayita n'abagamba nti Kiki ekyabatuiimbya, nga mwogera nti Tuli wala nammwe: nga muli muffe?
23 Kale kaakano mukolimiddwa, so tewalibula kubeera mu mmwe abaddu ennaku zonna, abaasi b'enku era abasenyi b'amazzi eri ennyumba ya Katonda wange.
24 Ne bamuddamu Yoswa ne boogera nti Kubanga abaddu bo baategeezebwa ddala nga Mukama Katonda wo yalagira Musa omuweereza we okubawa: ensi yonna, n'okuzikiriza bonna abali mu nsi mu maaso gammwe; kyetwava tutya ennyo olw'obulamu bwaffe ku lwammwe, ne tukola bwe tutyo.
25 Ne kaakano, laba, tuli mu mukono gwo: bw'olowooza nga kirungi era kituukirivu okutukola, kola bw'otyo.
26 Era bw'atyo bwe yabakola, n'abawonya mu mukono gw'abaana ba Isiraeri okubatta:
27 Ku lunaku luli Yoswa n'abafuula abaasi b'enku era abasenyi b'amazzi eri ekibiina n'eri ekyoto kya Mukama, ne kaakano, mu kifo ky'anaalagiranga.
   

Essuula 10

[Ddayo waggulu]
1 Awo, Adonizedeki kabaka we Yerusaalemi bwe yawulira Yoswa bwe yamenya Ayi n'akizikiririza ddala; nti, bwe yakola Yeriko ne kabaka waamu, bw'atyo bwe yakola Ayi ne kabaka waamu; era ng'ab'omu Gibyoni baalagaana emirembe n'Abaisiraeri, era nga bali mu bo;
2 ne balyoka batya nnyo, kubanga Gibyoni kyali kibuga kinene, ng'ebibuga bya bakabaka bwe byali, era kubanga kyali kisinga Ayi obunene, n'abantu baayo bonna bazira:
3 Adonizedeki, kabaka w'e Yerusaalemi, kyeyava atuma eri Kokamu, kabaka w'e Kebbulooni, n'eri Piramu, kabaka w'e Yalamusi; neri, Yafiya, kabaka w'e Lakisi, n'eri Debiri, kabaka w'e Eguloni, ng'ayogera nti
4 Mulinnye gye ndi mumbeere, tukube Gibyoni: kubanga baalagaana emirembe ne Yoswa n'abaana ba Isiraeri.
5 Awo bakabaka abataano ab'Abamoli, kabaka w'e Yerusaalemi, kabaka w'e Kebbulooni, kabaka w'e Yalamusi, kabaka w'e Lakisi, kabaka we Eguloni, ne bakuŋŋaanira wamu, ne balinnya, bo n'eggye lyabwe lyonna, ne basimba olusiisira ku Gibyoni, ne bakirwanyisa.
6 N'ab'e Gibyoni ne batumira Yoswa ku lusiisira ku Girugaali nga boogera nti Toddiriza mukono gwo ku baddu bo; olinnye gye tuli mangu, otuwonye, otubeere: kubanga bakabaka bonna ab'Abamoli abatuula mu nsi ey'ensozi bakuŋŋaanidde ku ffe.
7 Awo Yoswa n'ava mu Girugaali n'alinnya, ye n'abalwanyi bonna awamu naye, n'abazira: bonna ab'amaanyi.
8 Mukama n'agamba Yoswa nti Tobatya: kubanga mbakuwadde mu mikono gyo: tewaabe muntu mu bo anaayimirira mumaaso go.
9 Awo Yoswa n'abajjirira mangu nga tebamanyi; kubanga yava Girugaali n'alinnya ekiro n'akeesa obudde.
10 Mukama n'abaswaza mu maaso ga Isiraeri, n'abattira ddala bangi mu Gibyoni, n'abagoba mu kkubo eririnnya e Besukolooni, n'abakuba okubatuusa ku Azeka ne.ku Makkeda.
11 Awo, bwe badduka mu maaso ga Isiraeri, ne baserengeta e Besukolooni, Mukama n'asuula amayinja amanene nga gava mu ggulu n'abakuba mu Azeka; ne bafa: abaafa amayinja ag'omuzira ne basinga bali abaana ba Isiraeri be batta n'ekitala.
12 Awo Yoswa n'agamba Mukama ku lunaku Mukama lwe yawaayo Abamoli mu maaso g'abaana ba Isiraeri; n'ayogera mu maaso ga Isiraeri nti Enjuba, yimirira ggwe ku Gibyoni; Naawe, omwezi, mu kiwonvu Ayalooni.
13 Enjuba n'eyimirira, omwezi ne gulinda, Okutuusa eggwanga bwe lyamala okuwalana eggwanga ku balabe baabwe. Ekyo tekyawandiikibwa mu kitabo kya Yasali? Enjuba n'erinda wakati mu ggulu, n'eteyanguwa kugwa ng'olunaku olulamba.
14 So tewali lunaku olwenkana olwo oba olwalusooka oba oluvannyuma iwalwo Mukama okuwulira eddoboozi ly'omuntu: kubanga Mukama yalwanirira Isiraeri.
15 Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, mu lusiisira mu Girugaali.
16 Ne bakabaka abo abataano ne badduka, ne beekweka mu mpuku mu Makkeda.
17 Ne babuulira Yoswa nti Bakabaka abataano tubalabye, nga beekwese mu mpuku mu Makkeda.
18 Yoswa n'ayogera nti Muyiringisirize amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, mugiteekeko abantu babakuume;
19 naye mmwe temulinda; mugoberere abalabe bammwe, mubakube ab'ennytuna mu bo; temubaganya knyingira mu bibuga byabwe; kubanga Mukama Katonda wammwe ababawadde mu mukono gwammwe:
20 Awo Yoswa n'abaana ba Isiraeri bwe baamalira ddala okutta abantu abangi ennyo, ne baggweerawo ddala, n'abasigalawo mu bo ne bayingira mu bibuga ebiriko ebigo,
21 abantu bonna ne balyoka bakomawo mu lusiisira eri Yoswa mu Makkeda n'emirembe: tewaali muntu eyagezaako okwogera okuvuma n'omu ku baana ba Isiraeri.
22 Yoswa n'alyoka ayogera nti Mugguleewo omulyango gw'empuku, muggyemu bakabaka bali abataano mu mpuku.
23 Ne bakola bwe batyo, ne baggyamu bakabaka bali abataano mu mpuku ne babamuleetera, kabaka w'e Yerusaalemi, kabaka we Kebbulooni, kabaka we Yalamusi, kabaka w'e Lakisi, kabaka w'e Eguloni.
24 Awo, bwe baggyamu bakabaka bali ne babaleetera Yoswa, Yoswa n'ayita abasajja bonna aba Isiraeri, n'agamba abaami ab'abalwanyi abaagenda naye nti Mujje, musse ebigere byammwe mu bulago bwa bakabaka bano. Ne bajja, ne bassa ebigere byabwe mu bulago bwabwe.
25 Yoswa n'abagamba nti Temutya, so temukankana: muddeemu amaanyi, mugume emyoyo: kubanga Mukama bw'alibakola bw'atyo abalabe bammwe bonna be mulirwana nabo.
26 Oluvannyuma Yoswa n'abafumita, n'abatta, n'abawanika ku miti etaano: ne bawanikibwa ku miti okutuusa olweggulo.
27 Awo enjuba bwe yali egwa, Yoswa n'alagira, ne babaggya ku miti, ne babasuula mu mpuku mwe baali beekwese, ne bateeka amayinja amanene mu mulyango gw'empuku, ne kaakano.
28 Yoswa n'amenya Makkeda ku lunaku olwo; n'akikuba n'obwogi bw'ekitala, ne kabaka waamu; n'abazikiririza ddala bo n'emyoyo gyonna egyalimu, n'atasigazaako n'omu: n'akola kabaka we Makkeda aga bwe yakola kabaka we Yeriko.
29 Yoswa n'ava mu Makkeda; n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Libuna, ne balwana n'ab'e Libuna:
30 Mukama nakyo n'akiwaayo, ne kabaka waamu, mu mukono gwa Isiraeri; n'akikuba n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu; n'atasigazaamu n'omu; n'akola kabaka waamu nga bwe yakola kabaka w'e Yeriko.
31 Yoswa n'ava mu Libuna n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Lakisi, n'akisimbako olusiisira; n'akirwanyisa.
32 Mukama n'akiwaayo Lakisi mu mukono gwa Isiraeri; n'akimenya ku lunaku olwokubiri, n'akitta n'obwogi bw'e, kitala, n'emyoyo gyonna egyalimu, nga byonna bye yakola Libuna.
33 Kolamu kabaka w'e Gezeri n'alyoka alinnya okuyamba Lakisi; Yoswa n'amukuba ye n'abantu be, n'atasigazaako n'omu.
34 Yoswa n'ava mu Lakisi, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Eguloni; ne bakisimbako olusiisira, ne bakirwanyisa;
35 ne bakimenya ku lunaku olwo, ne bakitta n'obwogi bw'ekitala, n'emyoyo gyonna egyalimu n'agizikiririza ddala ku lunaku olwo; nga byonna bye yakola Lakisi:
36 Yoswa n'ava mu Eguloni, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Kebbulooni; ne bakirwanyisa:
37 ne bakimenya ne bakitta n'obwogi bw'ekitala, ne kabaka waamu, n'ebibuga byakyo byonna, n'emyoyo gyonna egyalimu; n'atasigazaako n'omu, nga byonna bye yakola Eguloni; naye n'akizikiririza ddala, n'emyoyo gyonna egyalimu.
38 Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, n'agenda e Debiri; n'akirwanyisa:
39 n'akimenya nevkabaka waamu, n'ebibuga byskyo byonna; ne babitta n'obwogi bw'ekitala, ne bazikiririza ddala emyoyo gyonna egyalimu; n'atasigazaako n'omu: nga bwe yakola Kebbulooni, bwe yakola bw'atyo Debiri, ne kabaka waamu; era nga bwe yakola Libuna, ne kabaka waamu.
40 Bw'atyo Yoswa bwe yakuba ensi yonna, ensi ey'ensozi; n'oluuyi olw'obukiika obwa ddyo, n'ensenyi, n'ebiwonvu, ne bakabaka baamu bonna; n'atasigazaako n'omu: naye n'azikiririza ddala bonna abassa omukka, nga Mukama Katonda wa Isiraeri bwe yalagira.
41 Yoswa n'abakuba okuva ku Kadesubanea okutuuka ku Gaza; n'ensi yonna eya Goseni, okutuuka ku Gibyoni.
42 Ne bakabaka abo bonna n'ensi yaabwe Yoswa n'abamenya mulundi gumu; kubanga Mukama, Katonda wa Isiraeri, yalwanirira Isiraeri.
43 Yoswa n'akomawo, n'Abaisiraeri bonna awamu naye, mu lusiisira mu Girugaali.
   

Essuula 11

[Ddayo waggulu]
1 Awo, Yabini kabaka w'e Kazoli bwe yakiwulira; n'atumira Yobabu kabaka we Madoni, ne kabaka we Simuloni, ne kabaka we Akusafu
2 ne takabaka abaali ku luuyi nlw'obukiika obwa kkono, mu nsi ey'ensozi, ne mu Alaba ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'e Kinnerosi, ne mu nsenyi, ne mu nsozi ez'e Doli ku luuyi olw'ebugwanjuba,
3 eri Omukanani ku buvanjuba ne ku bugwanjuba; n'eri Omwamoli, n'eri Omukiiti, n'eri Omuperizi; n'eri Omuyebusi mu nsi ey'ensozi; neri Omukiivi Kerumooni gye lusimba mu nsi ey'e Mizupa.
4 Ne bajja, bo n'eggye lyabwe lyonna awamu nabo; abantu bangi, era ng'omusenyu oguli ku ttale, ly'ennyanja bwe guli omungi, n'embalaasi n'amagaali bingi nnyo.
5 Awo, bakabaka abo bonna ne bakuŋŋaana; ne bajja ne basimba olusiisira awamu ku mazzi ag'e Meromu, okulwana ne Isiraeri.
6 Mukama n'agamba Yoswa nti Totya olw'abo: kubanga jjo nga kaakano ndibawaayo bonna nga battiddwa mu maaso ga Isiraeri: embalaasi zaabwe olizitema enteega, n'amagaali gaabwe oligookya omuliro.
7 Awo Yoswa n'ajja, n'abalwanyi bonna awamu naye, ne babalumba ku mazzi ag'e Meromu nga tebamanyi, ne babagwako.
8 Mukama n'abawaayo mu mukono gwa Isiraeri, ne babakuba, ne babagoba okutuuka ku Sidoni ekinene, ne ku Misurefosumayimu, ne ku kiwonvu Mizupe ku buvanjuba; ne babakuba; obutasigazaako n'omu.
9 Yoswa n'abakola nga Mukama bwe yamulagidde: n'azitema enteega embalaasi zaabwe, n'ayokya omuliro amagaali gaabwe.
10 Yoswa n'adda ennyuma mu biro ebpo, n'amenya Kazoli, ne kabaka waamu n'amutta n'ekitala; kubanga. Kazoli edda liri kye kyali ekibuga ekikulu eky'obwakabaka obwo bwonna.
11 N'emyoyo gyonna egyalimu ne bagitta n'obwogi bw'ekitala, ne bagizikiririza ddala: tewaasigalawo assa mukka: ne Kazoli n'akyokya omuliro.
12 N'ebibuga byonna ebya bakabaka bali, ne: bakabaka baamu bonna, Yoswa n'abamenya n'abatta n'obwogi bw'ekitala, n'abazikiririza ddala; nga Musa omuweereza wa Mukama, bwe yalagira.
13 Naye ebibuga ebyayimirira ku bifunvu byabyo, Abaisiraeri ne batayokyako n'ekimu, wabula Kazoli kyokka; ekyo Yoswa n'akyokya.
14 N'omunyago gwonna ogw'ebibuga ebyo n'ente, abaana ba Isiraeri ne babyetwalira okuba ebinyage byabwe; naye buli muntu ne bamutta n'obwogi bw'ekitala, ne babazikiriza; ne batasigazaako muntu assa mukka.
15 Nga Mukama bwe yalagira Musa omuweereza we, Musa bwe yalagira bw'atyo Yoswa: ne Yoswa bwe yakola bw'atyo; teyaleka kintu obutakikola mu byonna Mukama: bye yalagira Musa.
16 Bw'atyo Yoswa bwe yatwala ensi eyo yonna ensi ey'ensozi, n'ey'obukiika obwa ddyo yonna, n'ensi yonna eya Goseni, n'ensi ey'ensenyi, ne Alaba, n'ensi ey'ensozi eya Isiraeri n'ensi ey'ensenyi yaayo;
17 okuva ku lusozi Kalaki, olulinnya e Seyiri, okutuuka ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni ekiri wansi w'olusozi Kerumooni: ne bakabaka baayo bonna n'abawamba, n'abafumita, nabatta.
18 Yoswa n'alwawo ng'alwana ne bakabaka abo bonna.
19 Tewali kibuga ekyalagaana emirembe n'abaana ba Isiraeri, wabula Abakiivi abaali mu Gibyoni: baabimenya byonna mu kulwana.
20 Kubanga kyava eri Mukama okukakanyaza emitima gyabwe, okujja okulwana ne Isiraeri, alyoke abazikiririze ddala, baleme okulaba ekisa, naye abazikirize, nga Mukama bwe yalagira Musa.
21 Yoswa n'ajja mu biro ebyo, n'amalamu Abanaki mu nsi ey'ensozi, mu Kebbulooni, mu Debiri, mu Anabi, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Yuda, ne mu nsi yonna ey'ensozi eya Isiraeri: Yoswa n'abazikiririza ddala, wamu n'ebibuga byabwe.
22 Tewaali Banaki abaasigalawo mu nsi ey'abaana ba Isiraeri: wabula mu Gaza, mu Gaasi, ne mu Asudodi, mwe mwasigala abamu.
23 Yoswa bw'atyo bwe yalya ensi yonna; nga byonna Mukama bye yagamba Musa: Yoswa n'agiwa Isiraeri okuba obusika nga bwe baayawulibwa mu bika byabwe. N'ensi n'ewummula okulwana.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
1 Bano be bakabaka ab'ensi abaana ba Isiraeri be baakuba, ne balya ensi yaabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni; ne Alaba yonna ku luuyi olw'ebuvanjuba:
2 Sikoni kabaka w'Abamoli, eyabeera mu Kesuboni, era eyafuga okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu ekya Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'ekitundu kya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yabboki, ye nsalo ey'abaana ba Amoni;
3 ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw'ebuvanjuba, ne ku nnyanja ya Alaba, ye nnyanja ey'omunayo, ku luuyi olw'ebuvanjuba, mu kkubo ery'e' Besuyesimosi; ne ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, wansi wa Pisuga:
4 n'ensalo ya Ogi kabaka w'e Basani, ow'omu Balefa abaasigalawo, eyabeera mu Asutaloosi ne mu Ederei,
5 era eyafugira ku lusozi Kerumooni, ne mu Saleka, ne mu Basani yonna, okutuuka ku nsalo ey'Abagesuli n'Abamaakasi, n'ekitundu kya Gireyaadi; ensalo ya Sikoni kabaka w'e Kesuboni.
6 Musa omuweereza wa Mukama n'abaana ba Isiraeri baabakuba; ne Musa omuweereza wa Mukama n'agiwa okugirya eri Abalewubeeni, n'Abagaasi, n'ekitundu; eky'ekika kya Manase.
7 Era ne bano be bakabaka ab'ensi Yoswa n'abaana ba Isiraeri be baakuba emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki, olulinnya e Seyiri; Yoswa n'agiwa ebika bya Isiraeri okugirya nga bwe baayawulibwa;
8 mu nsi ey'ensozi, ne mu nsi ey'ensenyi, ne mu Alaba, ne ku nsozi awakkirwa, ne mu ddungu, ne mu nsi ey'obukiika obwa ddyo; Omukiiti, Omwamoli, n'Omukanani, Omuperizi, Omukiivi; n'Omuyebusi;
9 kabaka w'e Yeriko, omu; kabaka we. Ayi, ekiriraanye Beseri, omu;
10 kabaka we Yerusaalemi, omu; kabaka we Kebbulooni, omu;
11 kabaka w'e Yalamusi, omu; kabaka w'e Lakisi, omu;
12 kabaka w'e Eguloni, omu; kabaka w'e Gezeri, omu;
13 kabaka w'e Debiri, omu; kabaka w'e Gederi, omu;
14 kabaka w'e Kaluma, omu; kabaka w'e Yaladi, omu;
15 kabaka w'e Libuna, omu, kabaka w'e Adulamu, omu;
16 kabaka w'e Makkeda, omu; kabaka w'e Beseri, omu;
17 kabaka w'e Tappua, omu; kabaka w'e Keferi; omu;
18 kabaka w'e Afeki, omu; kabaka w'e Lasaloni; omu;
19 kabaka we Madoni, omu; kabaka w'e Kazoli; omu;
20 kabaka w'e Simulonimeroni, omu; kabaka w'e Akusafu, omu;
21 kabaka w'e Taanaki, omu; kabaka w'e Megiddo, omu;
22 kabaka w'e Kedesi, omu; kabaka we Yokuneamu ku Kalumeeri, omu;
23 kabaka we Doli ku lusozi Doli, omu; kabaka we Goyiyimu mu Girugaali, omu;
24 kabaka w'e Tiruza, omu: bakabaka bonna amakumi asatu mu omu.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 Yoswa yali ng'akaddiye nga yaakamala emyaka mingi; Mukama n'amugamba nti Okaddiye, waakamala emyaka mingi, naye wasigaddewo ensi nnyingi nnyo okuliibwa.
2 Eno ye nsi esigaddewo: ebifo byonna eby'Abafirisuuti n'Abagesuli bonna;
3 okuva ku Sikoli, oguliraanye e Misiri, okutuuka ku nsalo ey'e Ekuloni ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, ebalirwa Abakanani; abaami abataano ab'Abafirisuuti; Abagaza, n'Abasudodi, n'Abasukuloni, Abagitti, n'Abekuloni;
4 era n'abavi, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo: ensi yonna ey'Abakanani, ne Meala ekyali ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo ey'Abamoli:
5 n'ensi ey'Abagebali, ne Lebanooni yonna, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku Baalugadi wansi w'olusozi Kerumooni okuruuka ku Kamasi awayingirirwa:
6 abali mu nsi ey'ensozi bonna okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayimu, be Basidoni bonna; abo adibagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri; kyokka ogigabire Isiraeri okuba obusika, nga bwe nnakulagira.
7 Kale kaakano ensi eno ogigabe okuba obusika eri ebika omwenda, n'ekitundu eky'ekika kya Manase.
8 Awamu n'oyo Abalewubeeni n'Abagaadi baaweebwa obusika bwabwe, Musa bwe yabawa, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa;
9 okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni;
10 n'ebibuga byonna ebyaSikoni kabaka w'Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo, ey'abaana ba Amoni;
11 ne Gireyaadi, n'ensalo ey'Abagesuli n'Abamaakasi, n'olusozi lwonna Kerumooni, ne Basani yonna okutuuka ku Saleka:
12 obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyafuga mu Asutaloosi ne mu Ederei (oyo ye yasigalawo mu Balefa abaasigalawo); kubanga abo Musa yabakuba, n'abagoba.
13 Naye abaana ba Isiraeri tebaagoba Abagesuli newakubadde Abamaakasi: naye Gesuli ne Maakasi ne babeera wakati mu Isiraeri, ne kaakano.
14 Ekika kya Leevi kyokka teyakiwa busika; ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro eri Mukama, Katonda wa Isiraeri, bwe busika bwe, nga bwe yamugamba.
15 Musa n'akiwa ekika eky'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali.
16 N'ensalo yaabwe yava ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna oluliraanye Medeba;
17 Kesuboni, n'ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi; Diboni, ne Bamosubaali, ne Besubaalumyoni:
18 ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi;
19 ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw'omu kiwonvu;
20 ne Besupyoli, ne Pisuga awakkirwa, ne Besuyesimosi;
21 n'ebibuga byonna eby'olusenyi, n'obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, Musa gwe yakuba awamu n'abaami ab'e Midiyaani Evi, ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, abakungu ba Sikoni, abaabeera mu nsi.
22 Era ne Balamu, omwana wa Byoli, omulaguzi, abaana ba Isiraeri ne bamutta n'ekitala awamu nabalala abattibwa.
23 N'ensalo ey'abaana ba Lewubeeni Yoludaani n'ensalo yaagwo. Obwo bwe bwali obusika bw'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu.
24 Musa n'akiwa ekika kya Gaadi, be baana ba Gaadi, ng'enda zaabwe bwe zaali.
25 N'ensalo yaabwe Yazeri, n'ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n'ekitundu eky'ensi ey'abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri ekyolekedde Labba;
26 era okuva ku Kesuboni okutuuka ku Lamaumizupe, ne Betonimu; era okuva ku Makanayimu okutuuka ku nsalo ey'e Debiri;
27 ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besunimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, elutundu ekyasigalawo eky'obwakabaka bwa Sikoni kabaka ow'e Kesuboni, Yoludaani n'ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
28 Obwo bwe busika bw'abaana ba Gaadi ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu.
29 Musa n'agabira ekitundu eky'ekika kya Manase: n'omugabo gwali gwa kitundu eky'ekika ky'abaana ba Manase ng'enda zaabwe bwe zaali.
30 N'ensalo yaabwe yava ku Makanayimu, e Basani yonna, obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka we Basani, n'ebibuga byonna bya Yayiri, ebiri mu Basani; ebibuga nkaaga:
31 n'ekitundu ekimu eky'e Gireyaadi, ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani, byali bya baana ba Makiri omwana wa Manase, kye kitundu eky'abaana ba Makiri ng'enda zaabwe bwe zaali.
32 Obwo bwe busika Musa bwe yagaba mu nsenyi eza Mowaabu, emitala wa Yoludaani ku Yeriko, ku luuyi olw'ebuvanjuba.
33 Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa busika: Mukama, Katonda wa Isiraeri, bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
1 Ne buno bwe busika abaana ba Isiraeri bwe baalya mu nsi ya Kaaani, Eriyazaali kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuai, n'emitwe gy'ennyumba eza bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baabagabira,
2 mu kalulu ak'obusika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa, eri ebika omwenda n'ekitundu eky'ekika.
3 Kubanga Musa yali ng'agabye obusika obw'ebika bibiri n'ekitundu eky'ekika emitala wa Yoludaani: naye Abaleevi teyabagabira busika mu bo.
4 Kubanga abaana ba Yusufu baali ebika bibiri, Manase ne Efulayimu: ne batabawa mugabo mu nsi Abaleevi, wabula ebibuga eby'okutuulamu, n'ebyalo ebyali biriraanye, ettale ery'okulundiramu ente zaabwe n'ebintu byabwe.
5 Nga Mukama bwe yalagira Musa, abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo, ne bagabana ensi.
6 Abaana ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa mu Girugaali: ne Kalebu, omwana wa Yefune Omukenizi, n'amugamba nti Omanyi ekigambo Mukama kye yagamba Musa ku nze ne ku ggwe mu Kadesubanea.
7 Nali naakamala emyaka amakumi ana. Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva mu Kadesubanea okuketta ensi; ne mmuleetera ebigambo nga bwe kyali mu mutima gwange.
8 Naye baganda bange abaalinnya nange ne basaanuusa omutima gw'abantu: naye nze nagobererera ddala Mu kama Katonda wange:
9 Musa n'alayira ku lunaku luli, ng'ayogera nti Mazima ensi gy'olinnyeemu ekigere kyo eriba busika eri ggwe n'eri abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogobereredde ddala Mukama Katonda wange.
10 Ne kaakano, laba, Mukama ampangaazizza, nga bwe yayogera, emyaka gino amakumi ana mu etaano, okuva ku biro biri Mukama lwe yakigamba Musa ekigambo ekyo, Isiraeri bwe yatambuliranga mu ddungu: ne kaakano, laba, leero naakamala emyaka kinaana mu etaano.
11 Okutuusa kaakano nnina amaanyi leero nga bwe nnalina ku lunaku luli Musa lwe yantuma: ng'amaanyi gange bwe gaali mu biro biri, amaanyi gange bwe gali kaakano bwe gatyo, okulwana n'okufuluma n'okuyingira.
12 Kale kaakano mpa olusozi luno, Mukama Iwe yayogerako ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli nga Abanaki mwe baali, n'ebibuga ebinene ebiriko ebigo: wozzi Mukama alibeera nange, nange ndibagoba, nga Mukama bwe yayogera.
13 Yoswa n'amusabira omukisa; n'amuwa Kalebu omwana wa Yefune Kebbulooni okuba obusika.
14 Kebbulooni kye lwava lubeera obusika bwa Kalebu omwana wa Yefuae Omukenizi, ne kaakano; kubanga yagobererera ddala Mukama, Katonda wa Isiraeri.
15 N'erinnya lya Kebbulooni edda lyali Kiriasualuba; Aluba oyo yali mukulu mu Banaki. Ensi n'ewummula okulwana.
   

Essuula 15

[Ddayo waggulu]
1 N'akalulu ak'ekika eky'abaana ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali kaatuuka ku nsalo ya Edomty ku lukoola lwa Zini, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, ku nkomerero ey'obukiika obwo:
2 N'ensalo yaabwe ey'obukiika obwo yava ennyanja ey'omunnyo gy'eva, ku kikono ekiraba mu bukiika obwa ddyo
3 n'ebuna ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'ekkubo eririnnya ku Akulabbimu, n'eyita n'etuuka ku Zini, n'erinnya ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olwa Kadesubanea, n'eyita kumpi ne Kezulooni, n'erinnya ku Addali, n'ekyamira ku Kaluka:
4 n'eyita ku Azumoni, n'ekoma ku mugga ogw'e Misiri; n'enkomerero ez'ensalo zaali ku nnyanja: eyo y'eribeera ensalo yammwe ey'obukiika obwa ddyo.
5 N'ensalo ey'ebuvanjuba yali nnyanja ya munnyo, okutuuka Yoludaani we gufukira. N'ensalo ey'oluuyi olw'obukiika obwa kkono yava ku kikono eky'ennyanja yoludaani we gufukira:
6 n'ensalo n'erinnya ku Besukogula, n'eyita ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olwa Besualaba; n'ensalo n'erinnya n'etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni:
7 n'ensalo n'erinnya ku Debiri ng'eva mu kiwonvu Akoli, n'egenda ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'eraba e Girugaali, ye mitala w'ekkubo eririnnya ku Adummimu; oluli emitala w'omugga ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo: n'ensalo n'eyita n'etuuka ku mazzi age Ensemesi, n'enkomerero yaayo yali ku Enerogeri:
8 ensalo n'erinnya mu kiwonvu eky'omwana wa Kinomu n'etuuka ku muyegooyego ogw'omu Yebusi ku luuyi olw obukiika obwa ddyo (ye Yerusaalemi): ensalo n'erinnya kn ntikko ku lusozi oluli awakkirwa mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw'ebugwanluba, ekyali mu nkomerero ey'ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw'obukiika obwa kkono:
9 ensalo n'ereetebwa okuva ku ntikko ey'olusozi okutuuka ku luzzi olw'amazzi ga Nefutoa, n'ebuna ebibuga eby'oku lusozi Efuloni; ensalo n'ereetebwa ku Baala (ye Kiriyasuyalimu):
10 ensalo n'ekyama ng'eva e Baala ku luuyi olw'ebugwanjuba eri olusozi Seyiri, n'eyita n'etuuka ku mabbali ag'olusozi Yealimu ku luuyi olw'obukiika obwa kkono awe Kyesaloni), n'ekka ku Besusemesi, n'eyita ku mabbali ag'e Timuna:
11 ensalo n'ebuna amabbali ag'e Ekuloni ku luuyi olw'obukiika obwa kkono: ensalo n'ereetebwa ku Sikkeroni, n'eyita netuuka ku lusozi Baala, n'ekoma ku Yabuneeri; n'enkomerero z'ensalo zaali ku nayanja.
12 N'ensalo ey'ebugwanjuba yatuuka ku nnyanja ennene, nensalo yaayo. Eyo ye nsalo ey'abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng'enda zaabwe bwe zaali.
13 Ne Kalebu omwana wa Yefune n'amuwa omugabo mu baana ba Yuda, nga Mukama bwe yalagira Yoswa, ye Kiriasualuba, Aluba oyo yali kitaawe wa Anaki (ye Kebbulooni).
14 Kalebu n'agobamu abaana abasatu aba Anaki, Sesayi, ne Akimaani, ne Talumaayi, abaana ba Anaki.
15 N'ava eyo, n'alinnya okulwanyisa abaali mu Debiri: n'erinnya lya Debiri edda lyali Kiriasuseferi.
16 Kalebu n'ayogera nti Anaakuba Kiriasuseferi n'akimenya, oyo naamuwa omuwala wange Akusa okumuwasa.
17 Osunieri omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu, nakimenya: n'amuwa Akusa muwala we okumuwasa.
18 Awo, bwe yajja gy'ali, n'asabisa kitaawe olusuku: n'ava ku ndogoyi ye; Kalebu n'amugamba nti Oyagala ki?
19 N'ayogera nti Mpa omukisa; kubanga ontadde mu nsi ey'obukiika obwa ddpo, era mpa n'enzizi ez'amazzi. N'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
20 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali.
21 N'ebibuga eby'enkomerero eby'ekika eky'abaana ba Yuda, eri ensalo ey'e Domu ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, byali Kabuzeeri, ne Ederi, ne Yaguli;
22 ne Kina, ne Dimona, ne Adada;
23 ne Kedesi, ne Kazoli, ne Isunani;
24 Zifu, ne Teremu, ne Bealosi;
25 ne Kazolukadatta, ne Keriosukezulooni (ye Kazoli);
26 Amamu, ne Sema, ne Molada;
27 ne Kazalugadda, ne Kesumoni, ne Besupereti;
28 ne Kazalusuali, ne Beeruseba, ne Biziosia:
29 Baala, ne Yimu, ne Ezemu;
30 ne Erutoladi, ne Kyesiri, ne Koluma;
31 ne Zikulagi, ne Madumanna, ne Samusanna;
32 ne Lebaosi, ne Sirukimu, ne Ayini, ne Limmoni: ebibuga byonna biri amakumi abiri mu mwenda, n'ebyalo byabyo.
33 Mu nsi ey'ensenyi, Esutaoli, ne Zola, ne Asa;
34 ne Zanowa, ne Engannimu, Tappua, ne Enamu;
35 Yalamusi, ne Adulamu, Soko, ne Azeka;
36 ne Saalayimu, ne Adisaimu, ne Gedera, ne Gederosaimu; ebibuga kkumi n'ebina n'ebyalo byabyo.
37 Zenani, ne Kadasa, ne Migudalugadi;
38 ne Dirani, ne Mizupe, ne Yokuseeri;
39 Lalusi, ne Bozukasi, ne Eguloni;
40 ne Kabboni, ne Lamamu, ne Kitulisi;
41 ne Gederosi, Besudagoni, ne Naama, ne Makkeda; ebibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo:
42 Libuna ne Eseri, ne Asani;
43 ne Ifuta, ne Asuna, ne Nezibu;
44 ne Keira, ne Akuzibu, ne Malesa; ebibuga mwenda n'ebyalo byabyo.
45 Ekuloni n'ebibuga byamu n'ebyalo byakyo:
46 okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja, byonna ebiriraanye Asudodi, n'ebyalo byabyo.
47 Asudodi, ebibuga byakyo n'ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n'ebyalo byakyo: okutuuka ku mugga ogw'e Misiri, n'ennyanja ennene, n'ensalo yaayo.
48 Ne mu nsi ey'ensozi, Samiri, ne Yattiri, ne Soko;
49 ne Danna, ne Kiriasusanna (ye Debiri);
50 ne Anabu, ne Esutemo, ne Animu;
51 ne Goseni, ne Koloni, ne Giro; ebibuga kkumi n'ekimu n'ebyalo byabyo.
52 Alabu, ne Duma, ne Esani;
53 ne Yanimu, ne Besutappua, ne Afeka;
54 ne Kumuta, ne Kiriasualuba (ye Kebbulooni), ne Zioli; ebibuga mwenda n'ebyalo byabyo.
55 Mawoni, Kalumeeri, ne Zifu, ne Yuta;
56 ne Yezuleeri, ne Yokudeamu, ne Zanoa;
57 Kaini, Gibea, ne Timuna; ebibuga kkumi n'ebyalo byabyo.
58 Kalukuli, Besuzuli, ne Gedoli;
59 ne Maalasi, ne Besuanosi, ne Erutekoni; ebibuga mukaaga n'ebyalo byabyo.
60 Kiriasubaali (ye Kiriyasuyalimu), ne Labba; ebibuga. bibiri n'ebyalo byabyo.
61 Mu ddungu, Besualaba, Middini, ne Sekaka;
62 ne Nibusani, n'ekibuga eky'Omunnyo, ne Engedi; ebibuga mukaaga n'ebyalo byabyo.
63 Era Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi, abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu: naye Abayebusi ne babeera wamu n'abaana ba Yuda mu Yerusaalemi, ne kaakano.
   

Essuula 16

[Ddayo waggulu]
1 N'akalulu ak'abaana ba Yusufu kaava ku Yoludaani Yeriko we kiri, ku mazzi ag'e Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, lye ddungu eririnnya nga liva ku Yeriko ne liyita mu nsi ey'ensozi ne lituuka ku Beseri;
2 ne kava mu Beseri ne kabuna Eruzi, ne kayita ku nsalo ey'Abaluki mu Atalosi;
3 ne kakka ku luuyi olw'ebugwanjuba ku nsalo ey'Abayafuleu, ku nsalo ey'e Besukolooni eky'emmanga, ku Gezeri; n'enkomerero zaako zaali ku nnyanja.
4 N'abaana ba Yusufu, Manase ne Efulayimu, ne batwala obusika bwabwe:
5 N'ensalo ey'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali yali bw'eti: ensalo ey'obusika bwabwe ku luuyi olw'ebuvanjuba yali Atalosuaddali, okutuuka ku Besukolooni eky'engulu;
6 ensalo n'ekoma ku luuyi olw'ebugwanjuba ku, Mikumesasi ku luuyi olw'obukiika obwa kkono; ensalo ne yeetooloola ku luuyi olw'ebuvanjuba ku Taanasusuro, n'ekiyitako ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Yanoa;
7 n'eva mu Yanoa n'ekka ku Atalosi, ne ku Naala, n'etuuka ku Yeriko, n'ekoma ku Yoludaani:
8 Okuva mu Tappua ensalo n'eyita ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku mugga Kana n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja. guno bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali;
9 wamu n'ebibuga ebyaterekerwa abaana ba Efulayimu wakati mu busika obw'abaana ba Manase, ebibuga byonna n'ebyalo byabyo.
10 Ne batagoba Bakanani abaali mu Gezeri: naye Abakanani ne babeera wakati mu Efulayimu, ne kaakano, ne bafuuka abaddu okukola emirimu emiragire.
   

Next
Back