| |
|
Ya mukulu w'abayimbi. Zabbuli ya Dawudi omuddu wa Mukama, eyagemba Mukama ebigambo eby'oluyimba luno ku lunaku Mukama lwe yemuwonyezaako mu mukono gw'abalabe be bonna, ne mu mukono gwa Sawulo: n'ayogera nti |
| 1 |
Nkwagala ggwe, ai Mukama, amaanyi gange. |
| 2 |
Mukama lwe lwazi lwange, era kye kigo kyange, era ye andokola; Katonda wange, olwazi lwange olunywevu, oyo gwe ŋŋenda okwesiganga; Engabo yange, n'ejjembe ery'obulokozi bwange, ekigo kyange ekigulumivu. |
| 3 |
Naakoowoolanga Mukama, asaanira okutenderezebwa: Bwe nnaalokokanga bwe ntyo mu balabe bange. |
| 4 |
Emigwa egy'okufa gyansiba, N'ebitaba eby'obutatya Katonda byantiisa. |
| 5 |
Emigwa egy'emagombe gyanneetooloola: Emitego egy'olumbe gyankwasa. |
| 6 |
Mu nnaku zange ne nkoowoola Mukama, Ne mpita Katonda wange: N'awulira eddoboozi lyange mu yeekaalu ye, Ne bye nnakaabira mu maaso ge ne bituuka mu matu ge. |
| 7 |
Ensi n'eryoka ekankana n'esagaasagana, Era n'emisingi gy'ensozi ne gikankana ne ginyeenyezebwa, Kubanga asunguwadde. |
| 8 |
Omukka ne gunyooka mu nnyindo ze, N'omuliro ne guva mu kamwa ke ne gulya: Ne gukoleeza amanda. |
| 9 |
Era n'eggulu n'alikutamya, n'akka; N'ekizikiza ekinene ne kiba wansi w'ebigere bye. |
| 10 |
Ne yeebagala kerubi n'abuuka: Era n'abuuka mangu ku biwaawaatiro eby'empewo. |
| 11 |
Ekizikiza n'akifuula . eky'okwekwekamu, eweema ye emwetoolodde; Ekizikiza eky'amazzi, ebire ebikutte eby'omu ggulu. |
| 12 |
Mu kumasamasa okuli mu maaso ge ebire bye ebikutte ne biyita, Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro. |
| 13 |
Era Mukama n'abwatuka mu ggulu N'oyo ali waggulu ennyo n'aleeta eddoboozi lye; Ne waba amayinja ag'omuzira n'amanda ag'omuliro. |
| 14 |
N'alasa obusaale bwe n'abasaasaanya; N'alasa enjota nnyingi n'abeeraliikiriza. |
| 15 |
Ensalosalo ez'amazzi ne ziryoka zirabika, Emisingi gy'ensi. ne gyeruka, Mu kunenya kwo, ai Mukama, Mu kibuyaga ow'omukka ogw'ennyindo zo, |
| 16 |
Yatuma okuva waggulu, n'antwala; N'ampalula mu mazzi amangi. |
| 17 |
Yamponya eri mulabe wange ow'amaanyi, N'eri abo abankyawa, kubanga bansinza amaanyi nze. |
| 18 |
Banjijira ku lunaku olw'akabi kange: Naye Mukama ye yannyweza. |
| 19 |
Era n'aafulumya mu kifo ekigazi; Yamponya, kubanga yansanyukira. |
| 20 |
Mukama yampa empeera ng'obutuukirivu bwange bwe bwali; Ng'emikono gyange bwe giri emirungi, bw'ansasudde. |
| 21 |
Kubanga nakwata amakubo ga Mukama, Ne ssireka Katonda waage n'obubi. |
| 22 |
Kubanga emisango gye gyonna gyali mu maaso gange, So amateeka ge saagaggyaawe gye ndi. |
| 23 |
Era nali eyatuukirira gy'ali. Ne nneekuuma mu bubi bwange. |
| 24 |
Mukama kyavudde ansasula; ng'obutuukirivu bwange bwe buli, Emikono gyange nga bwe giri emirungi mu maaso ge. |
| 25 |
Eri ow'ekisa oneeraga ow'ekisa; Eri eyatuukirira oneeraganga eyatuukirira; |
| 26 |
Eri omulongoofu oneeraganga omulongoofu; N'eri omukakanyavu oneeraganga aziyiza. |
| 27 |
Kubanga onoolokolanga abantu abajoogebwa; Naye amaaso ag'amalala onoo gatoowazanga. |
| 28 |
Kubanga ggwe olikoleeza etta baaza yange. Mukama Katonda wange ali mulisa mu kizikiza kyange. |
| 29 |
Kubanga mu kubeerwa kwo nnumba ekibiina; Era mu kuyamba kwa Katonda wange mbuuka ekigo. |
| 30 |
Katonda, ekkubo lye lyatuukirira: Ekigambo kya Mukama kya kettebwa; Oyo ye ngabo y'abo bonna abamwesiga. |
| 31 |
Kubanga ani Katonda, wabula Mukama? Era ani olwazi, wabula Katonda waffe? |
| 32 |
Katonda ansibya amaanyi, Era atuukiriza ekkubo lyange. |
| 33 |
Afuula ebigere byange ng'eby'empeewo: Era angulumiza mu bifo byange ebya waggulu. |
| 34 |
Anjigiriza engalo zange okulwana; Emikono gyange ne gireega omutego ogw'ekikomo. |
| 35 |
Era ompadde engabo ey'obulokozi bwo: N'omukono gwo ogwa ddyo gumpaniridde, N'obuwombeefu bwo bungulumizizza. |
| 36 |
Ongaziyirizza ekkubo ery'ebigere byange, N'ebisinziiro byange tebiseereranga. |
| 37 |
Ndigoberera abalabe bange, ne mbatuukako: So ssirikomawo nga tebannazikirizibwa. |
| 38 |
Ndibafumitira ddala ne batayinza kuyimuka: Baligwa waasi w'ebigere byange. |
| 39 |
Kubanga onsibye amaanyi ag'okulwana: Obafukamizza mu maaso gange abannyimukirako. |
| 40 |
Era abalabe bange obakyusizza amabega gaabwe gye ndi, Ndyoke nzikirize abankyawa. |
| 41 |
Baakoowoola, waye tewaali mulokozi: Baakoowoola Mukama, naye n'atabaddamu. |
| 42 |
Ne ndyoka mbasekulasekula ng'enfuufu etwalibwa empewo: Ne mbasuula ng'ebitosi eby'omu nguudo. |
| 43 |
Omponyezza mu kuyomba kw'abantu; Onfudde omutwe gw'amawanga; Abantu be ssaamanyanga balimpeereza. |
| 44 |
Bwe baliwulira ebigambo byange, ne balyoka baŋŋondera: Bannaggwanga balinjeemulukukira. |
| 45 |
Bannaggwanga baliggwaawo, Baliva mu bifo byabwe eby'okwekwekamu nga bakankana. |
| 46 |
Mukama mulamu; olwazi Iwange atenderezebwe; Era agulumizibwe Katonda ow'obulokozi bwange : |
| 47 |
Ye Katonda ampalanira eggwanga Era awangula amawanga ngafuge. |
| 48 |
Amponya eri abalabe bange: Weewaawo, ongulumiza ku abo abannyimukirako: Ondokola eri omuntu ow'ekyejo |
| 49 |
Kyennaavanga nkwebaza ggwe, ai Mukama, mu mawanga, Naayimbanga okutendereza erinnya lyo. |
| 50 |
Obulokozi bukulu bw'awa kabaka we; Era amukolera eby'ekisa oyo gwe yasiiga amafuta, Dawudi n'ezzadde lye, emirembe n'emirembe. |
| |
|