Zekkaliya  

Essuula 1

1 Mu mwezi ogw'omunaana, mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja gy'ali Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti
2 Mukama asunguwalidde nnyo bajjajjammwe.
3 Kyova obagamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mudde gye ndi, bw'ayogera Mukama w'eggye, nange ndidda gye muli, bw'ayogera Mukama.
4 Muleme okuba nga bajjajjammwe bannabbi ab'edda be baagambiranga waggulu nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Kale muve mu makubo gammwe amabi ne mu bikolwa byammwe ebibi; so tebaawulira so tebampuliriza, bw'ayogera Mukama.
5 Bajjajjammwe bali ludda wa? ne bannabbi baba balamu emirembe gyonna?
6 Naye ebigambo byange n'amateeka gange, bye nnalagira abaddu bange, bannabbi, tebyabasanga bajjajjammwe? ne bakyuka ne boogera nti Nga Mukama w'eggye bwe yalowooza okutukola ffe, ng'amakubo gaffe bwe gali n'ebikolwa byaffe nga bwe biri, bw'aryo bwe yatukola.
7 Olunaku olw'amakumi abiri mu nnya, olw'omwezi ogw'ekkumi n'ogumu, gwe mwezi Sebati, mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo, ekigambo kya Mukama kyajja eri Zekkaliya, omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo, nnabbi, nga kyogera nti
8 Natunula ekiro; era, laba, omuntu nga yeebagadde embalaasi ya lukunyu, era ng'ayimiridde wakati w'emiti emikadasi egyali mu kiwonvu; n'ennyuma we embalaasi, eza lukunyu n'eza kikuusikuusi n'enjeru.
9 Awo ne njogera nti Ai mukama wange, ebyo biki? Malayika eyali ayogera nange n'aŋŋamba nti Naakwolesa ebyo bwe biri.
10 Omuntu eyali ayimiridde wakati w'emikadasi n'addamu n'ayogera nti Ebyo Mukama by'atumye okutambulatambula ku nsi.
11 Ne biddamu malayika wa Mukama eyali ayimiridde wakati w'emikadasi ne byogera nti Tutambuddetambudde ku nsi, era laba, ensi yonna eteredde ewummudde.
12 Malayika wa Mukama n'addamu n'ayogera nti Ai Mukama w'eggye, olituusa wa obutasaasira Yerusaalemi n'ebibuga bya Yuda, bye waakanyiikaalirira emyaka ensanvu?
13 Mukama n'addamu malayika eyali ayogera nange ebigambo ebirungi, ebigambo eby'essanyu.
14 Malayika eyali ayogera nange n'annamba nti Yogerera waggulu ng'ogamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye; nkwatiddwa Yerusaalemi ne Sayuuni obuggya, obuggya obungi.
15 N'obusungu obungi nsunguwalidde amawanga abawummula; kubanga nze nnanyiigako katono, bo ne bongera ku kubonaabona okwo.
16 Mukama kyava ayogera bw'ati nti Nkomyewo e Yerusaalemi n'ekisa; ennyumba yange erizimbibwa omwo, bw'ayogera Mukama w'eggye, n'omugwa gulireegebwa ku Yerusaalemi.
17 Yogerera waggulu nate ng'ogamba nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo ebibuga byange ne byanjaala olw'okulaba ebirungi; oliboolyawo Mukama n'asanyusa Sayuuni, oliboolyawo ne yeeroboza Yerusaalemi.
18 Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amayembe ana.
19 Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Ago maki? N'anziramu nti Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda ne Isiraeri ne Yerusaalemi.
20 Mukama n'anjo lesa abaweesi bana.
21 Ne njogera nti Abo bajja kukola ki? N'ayogera nti Gano ge mayembe agaasaasaanya Yuda omuntu n'okuyimusa n'atayimusa mutwe gwe; naye bano bazze okugasaggula, okusuula amayembe g'amawanga agaayimusizanga ejjembe lyabwe ku nsi ya Yuda okugisaasaanya.
   

Essuula 2

[Ddayo waggulu]
1 Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuntu ng'alina omugwa ogugera mu ngalo ze.
2 Ne njogera nti Ogenda wa ggwe? N'aŋŋamba nti Okugera Yerusaalemi, ndabe obugazi bwakyo bwe buli n'obuwanvu bwakyo bwe buli.
3 Era, laba, malayika eyali ayogera nange n'avaayo ne malayika omulala n'avaayo okumusisinkana
4 n'amugamba nti Ddukanako; mugambe omuwbuka oyo nti Yerusaalemi kiribaamu abantu balifikka mu bbugwe kubanga abantu bangi n'eby'omu bisibo bingi wakati mu kyo.
5 Kubanga nze ndiba ku kyo bbugwe ow'omuliro enjuyi zonna era ndiba kitiibwa wakati mu kyo, bw'ayogera Mukama.
6 Mukale, mukale, mudduke muve mu nsi ey'obukiika obwa kkbno, bw'ayogera Mukama; kubanga ng'empewo ennya ez'eggulu bwe ziri, bwe mbasaasaanyizza, bw'ayogera Mukama.
7 Kale, Sayuuni, dduka owone, ggwe atuula n'omuwala wa Babulooni.
8 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oluvannyuma lw'ekitiibwa antumye eri amawanga agaabanyaga; kubanga abakomako mmwe akoma ku mmunyi y'eriiso lye.
9 Kubanga, laba, ndibakunkumulirako omukono gwange ne baba mwandu gw'abaddu baabwe; nammwe munaamanya nga Mukama w'eggye ye yantuma.
10 Yimba, sanyuka, ggwe omuwala wa Sayuuni: kubanga, laba, njija nange naabeeranga wakati mu ggwe, bw'ayogera Mukama.
11 Ku lunaku olwo amawanga mangi agalyegatta ne Mukama ne gafuuka bantu bange: nange naabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeeranga nga Mukama w'eggye yantuma gy'oli.
12 Era Mukama alisikira Yuda, okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu, era alyeroboza nate Yerusaalemi.
13 Musirike, abalina omubiri mwenna mu maaso ga Mukama; kubanga azuukuse mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera.
   

Essuula 3

[Ddayo waggulu]
1 N'anjolesa Yosuwa, kabona asinga obukulu, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng'ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo abe omulabe we.
2 Mukama n'agamba Setaani nti Mukama akunenye, ggwe Setaani; weewaawo, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemi akunenye: oyo si kisiriiza ekikwakkulibwa mu muliro?
3 Era Yosuwa yali ayambadde engoye ez'ekko n'ayimirira mu maaso gamalayika.
4 N'addamu n'agamb abo abaali bayimiridde mu maaso ge, n'ayogera nti Mumwambuleko engoye ez'ekko. N'agamba Yosuwa nti Laba, nkuyisizzaako obubi bwo; nange naakwambaza ebyambalo ebitenkanika.
5 Ne njogera nti Bamutikkire ku mutwe gwe ekiremba ekitukula. Awo ne bamu tikkira ku mutwe gwe ekiremba ekitukula ne bamwambaza engoye malayika wa Mukama n'ayimirira awo.
6 Malayika wa Mukama n'a labula nnyo Yosuwa, ng'ayogera nti
7 Bw'ati bw'ayogera Mukam w'eggye nti Bw'onootambuliranga mu makubo gange, era bye nkuutira bw'onoobinywezanga, kale naawe ennyumba yange onoogisaliranga omusango, n'empya zange onoozikuumanga, era ndikuwa ekifo eky'o kusembereramu mu banno abayimiridde.
8 Kale, wulira, Yosuwa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go kubanga be bantu ab'akabonera bano; kubanga, laba, ndireeta omuddu wange Ettabi.
9 Kubanga laba, ejjinja lye nteese mu maaso ga Yosuwa; ku jjinja limu kuliko amaa so musanvu; laba, ndyolako enjola zaalyo, bw'ayogera Mukama w'eggye; ndiggyamu obubi mu nsi eyo ku lunaku lumu.
10 Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye munaayitanga buli muntu munne okujja wansi w'omuzabbibu ne wansi w'omutiini.
   

Essuula 4

[Ddayo waggulu]
1 Malayika eyali ayogera nange n'akomawo, n'anzuukusa ng'omuntu bw'azuukusibwa mu tulo twe.
2 N'aŋŋamba nti Olabye ki Ne njogera nti Ntunudde, era, laba, ekikondo eky'ettabaaza ekya zaabu kyonna n'ekibya kyakyo nga kiri waggulu ku kyo n'ettabaaza zaakyo omusanvu; ettabaza eziri waggulu waakyo, buli ttabaaza ng'eriko em miro musanvu:
3 n'emizeyituui ebiri ku mabbali eruuyi n'eruuy ogumu ku mukono ogwa ddy ogw'ekibya, ogumu ku mukon gwakyo ogwa kkono.
4 Ne nzira mu ne mamba malayika eyali ayogera nange ne njogera nti Ebyo biki mukama wange?
5 Malayika eya ayogera nange n'addamu n'aŋŋamba nti Tomanyi ebyo bwe biri? Ne njogera nti Nedda, mukama wange.
6 N'addamu n'agnamba nti Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi nga kyogera nti Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa mwoyo gwange, bw'ayogera Mukama w'eggye.
7 Olusozi olunene ggwe, weeyita ki? mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi era alireeta ejjinja erya waggulu ne balirangirira nti Liweebwe ekisa, liweebwe ekisa.
8 Nate ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti
9 Emikono gya Zerubbaberi girasizza ennyumba eyo; era n'emikono gye girigimala; era olitegeera nti Mukama w'eggye ye Yantuma gye muli.
10 Kubanga ye ani anyoomye olunaku olw'ebitono? Kubanga balisanyuka era baliraba ejjinja erigera mu ngalo za Zerubbaberi, bano omusanvu, ge maaso ga Mukama; gaddukanaddukana mu nsi zonna.
11 Ne nziramu ne mmugamba nti Emizeyituuni gino ebiri kye ki ku mukono ogwa ddyo ogw'ekikondo eky'ettabaaza ne ku mukono gwakyo ogwa kkono?
12 Ne nziramu omulundi ogw'okubiri ne mmugamba nti Amatabi gano abiri maki ag'emizeyituuni agali ku mabbali g'emimwa ebiri egya zaabu ageemalamu gokka amafuta aga zaabu?
13 N'anziramu n'ayogera nti Tomanyi ago bwe gali? Ne njogera nti Nedda, mukama wange.
14 Awo n'ayogera nti Ago be baana babiri ab'amafuta abayimirira awali Mukama w'ensi zonna.
   

Essuula 5

[Ddayo waggulu]
1 Era nate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuzingo gw'ekitabo ogubuuka.
2 N'aŋŋamba nti Olabye ki ggwe? Ne nziramu nti Ndabye omuzingo gw'ekitabo ogubuuka; obuwanvu bwagwo emikono abiri n'obugazi bwagwo emikono kkumi.
3 N'aŋŋamba nti Ekyo kye kikolimo ekifuluma okubunya ensi yonna: kubanga ng'ekyo bwe kiri, buli abba aligobwamu ku luuyi lwayo olumu; era ng'ekyo bwe kiri, buli alayira aligobwamu ku luuyi lwayo olulala.
4 Ndikifulumya, bw'ayogera Mukama w'eggye; era kiriyingira mu nnyumba y'omubbi ne mu nnyumba y'oyo alayira erinnya lyange obulimba; era kirisula mu nnyumba ye wakati, era kirigizikiriza n'emiti gyayo n'amayinja gaayo.
5 Malayika eyali ayogera nange n'ajja n'aŋŋamba nti Kale yimusa amaaso go, olabe kino ekifuluma bwe kiri.
6 Ne njogera nti Ekyo kiki? N'ayogera nti Ekyo ye efa efuluma. Era n'ayogera nti Amaaso gaabwe bwe gali bwe garyo ku nsi yonna;
7 (era, laba, ettalanta ey'essasi yasitulibwa;) n'oyo ye mukazi ng'atuula mu nda wa efa.
8 N'ayogera nti Ono bwe Bubi; n'amusuula wansi munda mu efa: n'ateeka omusinga gw'essasi ku kamwa kaayo.
9 Awo ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, abakazi ababiri ne bafuluma, empewo nga ziri mu biwaawaatiro byabwe; era baalina ebiwaawaatiro ng'ebiwaawaatiroebya kasida; ne basitula efa mu bbanga ly'ensi n'eggulu.
10 Ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Abo efa bagitwala wa?
11 N'aŋŋamba nti Okumuzimbira ennyumba mu nsi ya Sinaali; nayo bw'eriggwa, aliteekebwa eyo mu kifo kye ye.
   

Essuula 6

[Ddayo waggulu]
1 Era ate ne nnyimusa amaaso gange ne ntunula; era, laba, amagaali ana nga gava wakati w'ensozi ebbiri; n'ensozi nsozi za bikomo.
2 Ku ggaali ery'olubereberye kwaliko embalaasi za lukunyu; ne ku ggaali ery'okubiri kwaliko embalaasi enzirugavu;
3 ne ku ggaali ery'okusatu kwaliko embalaasi enjeru; ne ku ggaali ery'okuna kwaliko embalaasi eza kikuusikuusi ezitobeseemu obwoya obweru.
4 Ne nziramu ne ŋŋamba malayika eyali ayogera nange nti Ebyo biki, mukama wange?
5 Malayika n'addamu n'aŋŋamba nti Ebyo ze mpewo ennya ez'omu ggulu eziva okuyimirira mu maaso ga Mukama w'easi zonna.
6 Liri eririko embalaasi enzirugavu livuddeyo okugenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono; n'enjeru zaavaayo ennyuma waazo; n'ezitobeseemu obwoya obweru zavaayo okugenda mu nsi ey'obukiika obwa ddyo.
7 N'eza kikuusikuusi zaavaayo nga zaagala okugenda zitambuletambule mu nsi; n'ayogera nti Muveeyo, mutambu letambule mu nsi. Awo ne zitambulayambula mu nsi.
8 Awo n'ankoowoola n'aririamba nti Laba, ezo ezigenda mu nsi ey'obukiika obwa kkono banzikakkanyirizza omwoyo mu nsi ey'obukiika obwa kkono.
9 Ekigambo kya Mukama ne kijja gye ndi nga kyogera nti
10 Ggya ku abo abaatwalibwa okufugibwa obuddu, ku Kaludai, ne ku Tobiya ne ku Yedaya; naawe ojje ku lunaku luli oyingire mu nnyumba ya Yosiya, omwana wa Zeffaniya, mwe batuuse nga bavudde e Babulooni;
11 era obaggyeko effeeza n'ezaabu obakolere engule ozitikkire ku mutwe gwa Yosuwa, omwana wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu;
12 omugambe nti Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba omuntu, erinnya lye Ettabi; naye aliroka mu kifo kye ye, era alizimba yeekaalu ya Mukama:
13 oyo ye alizimba yeekaalu ya Mukama; era oyo ye alitwala ekitiibwa, alituula ku ntebe ye alifuga; era aliba kabona ku ntebe ye; n'okuteesa okw'emirembe kulibeera wakati waabwe bombi.
14 N'engule ezo ziribeera za Keremu ne Tobiya ne Yedaya ne Keeni, omwana wa Zeffaniya, ez'okubajjukiza mu yeekaalu ya Mukama.
15 Era abaali ewala balijja balizimba mu yeekaalu ya Mukama, era mulitegeeza nti Mukama w'eggye ye yantuma gye muli. N'ebyo biriba, oba nga mulinyiikira okuwulira eddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.
   

Essuula 7

[Ddayo waggulu]
1 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya ku lunaku olw'okuna olw'omwezi ogw'omwenda, mu Kisuleevu.
2 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okuna ogwa kabaka Daliyo, ekigambo kya Mukama ne kijja eri Zekkaliya ku lunaku olw'okuna olw'omwezi ogw'omwenda, mu Kisuleevu.
3 n'okwogera ne bakabona ab'omu nnyumba ya Mukama w'eggye ne bannabbi, nga boogera nti Nandikaabidde amaziga mu mwezi ogw'okutaano nga neeyawudde nga bwe nnakola mu myaka gino egyenkana wano?
4 Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti
5 Gamba abantu bonna ab'omu nsi ne bakabona ng'oyogera nti Bwe mwasiibanga ne mukubira ebiwoobe mu mwezi ogw'okutaano ne mu gw'omusanvu, mu myaka gino ensanvu, nze mwansiibira nze n'akatono?
6 Era bwe mulya ne bwe munywa, temweriira mwekka, temwenywera mwekka?
7 Tekibagwanidde kuwulira bigambo Mukama bye yalangiriranga mu bannabbi ab'edda, Yerusaalemi bwe kyalimu abantu era nga kiri mirembe, n'ebyalo byakyo ebyali bikiriraanye enjuyi zonna, n'ensi ey'obukiika obwa. ddyo n'ensenyi nga bikyalimu abantu?
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kiija eri Zekkaliya, nga kyogera nti
9 Bw'ati bw'ayogedde Mukama w'eggye, nti Musalenga emisango egy'ensonga, era mukolenga buli muntu muganda we ekisa n'okusaasira;
10 era muleme okujooganga nnamwandu ne bamulekwa, omugenyi n'omwavu; era muleme okulowoozanga obubi omuntu yenna eri munne mu mutima gwammwe.
11 Naye ne bagaana okuwulira ne baggyawo ekibegabega ne basiba amatu gaabwe baleme okuwulira.
12 Weewaawo, ne bakakanyaza emitima gyabwe ng'ejjinja ery'embaalebaale baleme okuwulira amateeka n'ebigambo Mukama w'eggye bye yaweererezanga n'omwoyo gwe mu mukono gwa banaabbi ab'edda; obusungu bungi kyebwava buva eri Mukama w'eggye.
13 Awo olwatuuka bwe yayogerera waggulu, nabo ne bagaana okuwulira; bwe kityo balikaaba, nange ndigaana okuwulira, bwe yayogera Mukama w'eggye;
14 naye ndibasaasaanyiza n'embuyaga ez'akazimu wakati w'amawanga ge batamanyanga. Awo ensi n'eyonooneka er.nyuma waabwe, omuntu yenna alemenga okuyitamu wadde okuddamu; kubanga baagifuula amatongo ensi eyeegombebwa.
   

Next
Back