Zekkaliya  

Essuula 8

1 Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi: nkikwatirwa ebuggya n'ekiruyi ekingi.
3 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Nkiddiddemu Sayuuni, naabeeranga wakati mu Yerusaalemi: era Yerusaalemi kinaayitibwanga nti Kibuga kya mazima; era nti Lusozi lwa Mukama w'eggye, Olusozi olutukuvu.
4 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abakadde, abasajja n'abakazi, balituula ate mu nguudo za Yerusaalemi, buli muntu ng'akutte omuggo mu mukono gwe kubanga akaddiye nnyo.
5 N'enguudo ez'ekibuga zirijjula abalenzi n'abawala nga bazannyira mu nguudo zaakyo.
6 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Era bwe kiriba ekitalo mu maaso g'ekitundu ky'abantu abo ekirisigalawo mu nnaku ziri, kyandibadde kya kitalo ne mu maaso gange? bw'ayogera Mukama w'eggye.
7 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, ndirokola abantu bange okuva mu nsi ey'ebuvanjuba n'okuva mu nsi ey'ebugwanjuba:
8 ndibaggyayo, nabo banaabeeranga wakati mu Yerusaalemi; nabo banaabanga bantu bange, nange naabeeranga Katonda waabwe mu mazima ne mu butuukirivu.
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Emikono gyammwe gibe n'amaanyi, mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku lwe baalasa ennyumba ya Mukama w'eggye, ye yeekaalu, ezimbibwe.
10 Kubanga ennaku ziri nga tezinnatuuka, nga tewaliiwo mpeera ey'ensolo; so nga tewali mirembe eri oyo eyafuluma n'ayo eyaddayo olw'omulabe; kubanga nnakyayaganya abantu bonna buli muntu ne munne.
11 Naye kaakano nze sirikola bwe nnyo ekitundu ky'abantu abo ekyasigalawo, nga mu nnaku ez'edda, bw'ayogera Mukama w'eggye.
12 Kubanga wanaabanga ensigo ez'emirembe; omuzabbibu gunaawanga emmere yaagwo; ettaka linaawanga ekyengera kyalyo; n'eggulu linaawanga omusulo gwalyo; nange ndisisa ekitundu eky'abantu bano ekirisigalawo ebintu ebyo byonna.
13 Awo olulituuka nga bwe mwali ekikolimo wakati w'amawanga, ggwe ennyumba ya Yuda naawe ennyumba ya Isiraeri, bwe kityo ndibalokola, nammwe mulibeera mukisa; temutya; naye emikono gyammwe gibe n'amaanyi.
14 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti Nga bwe nnalowooza okubakola obubi, bajjajjammwe bwe baansunguwaza, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sejjusa;
15 Bwe ntyo ate ndowoozezza mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n'ennyumba ya Yuda; temutya.
16 Ebigambo bye munaakolanga bye bino; mubuuliraganenga eby'amazima buli muntu ne munne; musalenga emisango egy'ensonga n'emisango egy'emirembe mu miryango gyammwe:
17 so omuntu aleme okulowooza obubi ku munne mu mitima gyammwe; so temwagalanga kirayiro kyonna eky'obulimba; kubanga ebyo byonna bye nkyawa, bw'ayogera Mukama.
18 Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti
19 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Okusiiba olw'omu mwezi ogw'okuna n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'okutaano n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'ekkumi kunaabanga eri ennyumba ya Yuda okusanyuka n'okujaguza n'embaga ennungi; kale mwagalenga amazima n'emirembe.
20 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye mi Oliboolyawo amawanga ne gajja n'abo ababeera mu bibuga ebingi;
21 era ababeera mu kibuga ekimu baligenda mu kirala nga boogera nti Tugende mangu okwegayirira ekisa kya Mukama n'okunoonya Mukama w'eggye; era nange ndigenda.
22 Weewaawo, abantu bangi n'amawanga ag'amaanyi balijja okunoonya Mukama w'eggye mu Yerusaalemi n'okwegayirira ekisa kya Mukama.
23 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mu nnaku ziri abantu kkumi balikwata, okuva mu nnimi zonna ez'amawanga balikwata ku lukugiro olw'omunti Omuyudaaya nga boogera nti Tuli genda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.
   

Essuula 9

[Ddayo waggulu]
1 Omugugu gw'ekigambo kya Mukama ku nsi ya Kadulaki, ne Ddamasiko kiriba kiwummula kyagwo; kubanga eriiso ly'abantu n'ery'ebika byonna ebya Isiraeri: eri Mukama;
2 era ne Kamasi ekiriraanye nakyo: Ttuulo ne Sidoni, kubanga kya magezi mangi nnyo. Ne Ttuulo kyezimbira ekigo ne ituuma ffeeza ng'enfuufu n'ezaabu nnungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
3 Ne Ttuulo kyezimbira ekigo ne kituuma ffeeza ng'enfuufu n'ezaabu nnungi ng'ebitoomi eby'omu nguudo.
4 Laba, Mukama alikigoba mu byakyo, alikuba amaanyi gaakyo ku nnyanja; era kiryokebwa omuliro.
5 Asukulooni kiriraba kirirya; era ne Gaza, nakyo kirirumwa nnyo; ne Ekuloni, kubanga okusuubira kwakyo kuliswala; ne kabaka alibula nu Gaza, era ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
6 Omwana omwebolereze alibeera mu Asudodi, era Abafirisuuti ndibaloga amalala.
7 Era ndiggyamu omusaayi mu zamwa ke n'emizizo gye wakati w'amannyo ge; naye anaabanga kitundu ekirisigalawo eri Katonda waffe; naye anaabeeranga ng'omukumgu mu Yuda, ne Ekuloni nga Omuyebusi.
8 Nange naasiisiranga awali ennyumba yange mu maaso g'eggye, omuntu alemenga okuyitawo newakubadde okuddayo; so tewaabenga mujoozi nate aliyita wakati mu bo; kubanga kaakano ndabye n'amaaso gange.
9 Sanyuka nnyo, ggwe omuwala wa Sayuuni: yogerera waggulu, ggwe omuwala wa Yerusaalemi; laba, kabaka wo ajja gy'oli; ye mutuukirivu era alina obulokozi; muwombeefu era nga yeebagadde endogoyi, n'akayana omwana gw'endogoyi.
10 Era Efulayimu ndimuggyako eggaali, ne Yerusaalemi ndikiggyako embalaasi n'omutego ogw'olutalo guliggibwako; era oyo aligabulira amawanga emirembe; n'okufuga kwe kuliva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja, era kuliva ku Mugga okutuuka ku nkomerero z'ensi.
11 Era naawe, olw'omusaayi ogw'endagaano yo, nziyeemu abasibe bo mu bunnya omutali mazzi.
12 Mukyukire ekigo, mmwe abasibe abalina essuubi; ku lunaku lwa leero mbuulira: nti ndikuddiza emirundi ebiri.
13 Kubanga nneewetedde Yuda: omutego ngujjuzizza Efulayimu; nange ndiyina abaana bo, ggwe Sayuuni, n'abaana bo, ggwe Obuyonaani, era ndikufuula ng'ekitala eky'omuzira.
14 Era Mukama alirabika waggulu gye bali, n'akasaale ke kalivaayo ng'enjota; era Mukama Katonda alifuuwa akagombe, era aligenda ne kikuŋŋunta ow'obukiika obwa ddyo.
15 Mukama w'eggye alibazibira; nabo balirya balirinnya ku mayinja ag'envuumuulo; balinywa balikaayana ng'ab'omwenge; era balijjula ng'ebibya, ng'ensonda ez'ekyoto.
16 Era Mukama Katonda waabwe alibalokola ku lunaku luli ng'ekisibo ky'abantu be; kuba baliba ng'amayinja ag'engule, agayimusibwa waggulu ku nsi ye.
17 Kubanga obulungi bwe so nga bungi, okuwooma kwe so nga kungi! Eŋŋaano erinyiriza abavukuba, n'omwenge omusu gulinyiriza abawala.
   

Essuula 10

[Ddayo waggulu]
1 Musabe Mukama enkuba mu biro ebya ddumbi, Mukama akola ebimyansa; naye alibawa empa ndaggirize, buli muntu omuddo mu ttale.
2 Kubanga amayembe googedde ebitaliimu n'abalaguzi balabye obulimba; ne boogera ebirooto eby'obulimba, ne basanyusiza bwereere; kyebava bazuŋŋana ng'endiga; babonaabona kubanga tewali musumba.
3 Obusungu bwange buyimuse ku basumba, era ndibonereza embuzi ennume; kubanga Mukama w'eggye akyalidde ekisibo kye; ye nnyumba ya Yuda, era alibafuula ng'embalaasi ye ennungi ku lutalo.
4 Eri ye erivaayo ejjinja ery'oku nsonda, era eri ye enninga, era eri ye buli mukamuzi waamu.
5 Nabo baliba ng'abazira abalinnyirira abalabe baabwe mu bitoomi eby'omu nguudo ku lutalo; nabo balirwana kubanga Mukama ali wamu nabo: n'abo abeebagala embalaasi baliswala.
6 Nange ndiwa amaanyi ennyumba ya Yusufu, nange ndibakomyawo kubanga mbasaasidde; nabo baliba nga bwe bandibadde singa saabagoba; kubanga nze Mukama Katonda waabwe, nange ndibawulira.
7 N'aba Efulayimu balibeera ng'omuzira, n'omutima gwabwe gulisanyuka ng'asanyukira omwenge weewaawo, abaana baabwe balikiraba balisanyuka; omutima gwabwe gulisanyukira Mukama.
8 Ndibayitiriza ndibakuŋŋaanya; kubanga mbanunudde; era balyala nga bwe baayala.
9 Nange ndibasiga mu mawanga, era balinjijukira nga bayima mu nsi ez'ewala; era baliba balamu n'abaana baabwe, era balikomawo.
10 Nange ndibaggya mu nsi ya Misiri, ndibakuŋŋaanya nga mbaggya mu Bwasuli; era ndibatuusa mu nsi ya Gireyaadi ne Lebanooni; so tewalibalabikira bbanga.
11 Naye aliyita mu nnyanja ey'okubonaabona, alikuba amayengo mu nnyanja, n'obuziba bwonna obwa Kiyira bulikalira; n'ekyejo eky'Obwasuli kirikkakkanyizibwa, n'omuggo gwa kabaka w'e Misiri gulimuggibwako.
12 Nange ndibassaamu amaanyi mu Mukama; nabo balitambulatambula mu linnya lye, bw'ayogera Mukama.
   

Essuula 11

[Ddayo waggulu]
1 Ggulawo enzigi zo, ggwe Lebanooni, omuliro gwokye emivule gyo.
2 Kuba ebiwoobe, ggwe omuberoosi, kubanga omuvule gugudde, kubanga emiti emirungi ennyo gyonoonese: mukube ebiwoobe, mmwe emyera gya Basani, kubanga ekibira ekitatuukikako kigudde.
3 Eddoboozi ery'ebiwoobe eby'abasumba! kubanga obulungi bwabwe bwonoonese: eddoboozi ery'okuwuluguma kw'empologoma ento kubanga amalala ga Yoludaani goonoonese.
4 Bw'ati bwe yayogera Mukama Katonda wange nti Liisa ekisibo eky'okuttibwa;
5 bannyini zo be bazitta ne beeyita abatazzizza musango; n'abo abazitunda bagamba nti Atenderezebwe Mukama, kubanga ngaggawadde: so abasumba baazo zennyini tebazisaasira.
6 Kubanga sirisaasira nate abo ababeera mu nsi, bw'ayogera Mukama: naye, laba, ndiwaayo abantu buli muntu mu mukono gwa munne ne mu mukono gwa kabaka we: nabo balibonyaabonya ensi, so siribalokola mu mukono gwabwe.
7 Awo ne ndiisa ekisibo eky'okuttibwa, weewaawo, ennafu ez'omu kisibo. Ne nneetwalira emiggo ebiri; ogumu ne ngutuuma nti Ekisanyukirwa; omulala ne ngutuuma nti Ebisiba; ne ndiisa ekisibo.
8 Ne nziyawo abasumba abasatu mu mwezi ogumu; kubanga emmeeme yange buali bagikooyezza, n'emmeeme yaabwe nayo n'entamwa nze.
9 Awo ne njogera nti Siribaliisa; ekifa kife bufi; ekigenda okuggibwawo, kiggibwewo; ebisigalawo biryaŋŋane ekimu omubiri gwa kinnaakyo.
10 Ne ntwala omuggo gwange Ekisanyukirwa ne ngusala wakati ndyoke ndibye endagaano yange gye nnalagaana n'amawanga gonna.
11 Ne gumenyeka ku lunaku olwo: bwe kityo abanaku ab'omu kisibo abaali bampulira ne bategeera nga kino kye kigambo kya Mukama.
12 Ne mbagamba nti Oba kirungi mu maaso gammwe, mumpe empeera yange; naye oba si kirungi, mulekeeyo. Awo ne bagera okuba empeera yange ebinmdu asatu eby'effeeza.
13 Mukama n'aŋŋamba nti Bisuulire omubumbi, omuwendo ogutuukidde ddala gwe bannamula. Ne ntwala ebitundu asatu ebya ffeeza ne mbisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.
14 Awo ne nsala wakati omuggo gwange ogw'okubiri Ebisiba, ndibye oluganda eri Yuda ne Isiraeri.
15 Awo Mukama n'annamba nti Weetwalire nate ebintu eby'omusumba omusirusiru.
16 Kubanga, laba, nze ndiyimusa omusumba mu nsi, atalizifaako ziri ezibuze, so talinoonya ziri ezisaasaanye, so taliwonya ziri ezimenyese, so taliriisa ziri eziyimirira, naye ennyama y'ezo eza ssava aligirya, era alityemulatyemula ebinuulo byazo.
17 Zimusanze omusumba ataliiko ky'agasa aleka ekisibo ekitala kiriba ku mukono gwe ne ku liiso lye erya ddyo; omukono gwe gulikalira, n'eriiso lye erya ddyo lirizibira ddala.
   

Essuula 12

[Ddayo waggulu]
1 Omugugu ogw'ekigambo kya Mukama oguli ku Isiraeri. Ayogera Mukama abamba eggulu, era assaawo emisingi gy'ensi, era abumba omwoyo gw'omuntu munda ye, nti
2 Laba, nze ndifuula Yerusaalemi ekikompe eky'okuta gatta, eri amawanga gonna enjuyi zonna, era eriba n'eri Yuda bwe bazingiza Yerusaalemi.
3 Awo olulituuka ku lunaku luli ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna; bonna abaliryebinika balifumitibwa tmyo ebiwundu; era amawanga gonna ag'ensi galikuŋŋaana okukirwanyisa.
4 Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, ndisamaaliriza buli mbalaasi, n'oyo agyebagadde ndimulalusa: ndizibula amaaso gange ku nnyumba ya Yuda, era ndiziba amaaso ga buli mbalaasi y'amawanga.
5 N'abaami ba Yuda balyogera mu mutima gwabwe nti Abali mu Yerusaalemi ge maanyi gange mu Mukama w'eggye Katonda waabwe.
6 Ku lunaku luli ndifuula abaami ba Yuda ng'olubumbiro oluliko omuliro oluli mu nku, era ng'omumuli ogw'omuliro oguli mu binywa by'eŋŋaano; nabo balimalawo amawanga gonna enjuyi zonna, ku mukono ogwa ddyo n'ogwa kkono: oliboolyawo Yerusaalemi kiribaawo nate mu kifo kyakyo, mu Yerusaalemi.
7 Era Mukama alisooka okulokola eweema za Yuda, ekitiibwa ky'ennyumba ya Dawudi n'ekitiibwa ky'abo abali mu Yerusaalemi kireme okugulumira okusinga Yuda.
8 Ku lunaku luli Mukama alizibira abali mu Yerusaalemi; aliba omunafu ku bo ku lunaku luli alibeera nga Dawudi; era etmyumba ya Dawudi eriba nga Katonda, nga malayika wa Mukama ali mu maaso gaabwe.
9 Awo olulituuka ku lunaku luli ndinoonya okuzikiriza amawanga gonna agatabaala Yerusaalemi.
10 Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi ne ku abo abali mu Yerusaalemi omwoyo ogw'ekisa n'ogw'okwegayirira; era balitunuulira nze gwe baafumita: era balimukubira ebiwoobe ng'omuntu bw'akubira ebiwoobe omwana we omu yekka, era balimulumirwa omwoyo ng'omuntu bw'alumirwa omwana we omubereberye.
11 Ku lunaku luli balikuba ebiwoobe bingi mu Yerusaalemi ng'ebiwoobe ebya Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni.
12 Era ensi erikuba ebiwoobe, buli kika kyokka; ekika eky'ennyumba ya Dawudi, kyokka; ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'ennyumba ya Nasani kyokka, ne bakazi baabwe bokka;
13 ekika eky'ennyumba ya Leevi kyokka, ne bakazi baabwe bokka; ekika eky'Abasimeeyi kyokka, ne bakazi baabwe bokka;
14 ebika byonna ebisigalawo, buli kika kyokka, ne bakazi baabwe bokka.
   

Essuula 13

[Ddayo waggulu]
1 Ku lunaku luli oluzzi luliggulirwa ennyumba ya Dawudi n'abo abali mu Yerusaalemi olw'ebibi n'olw'empitambi.
2 Awo olulituuka ku lunaku luli, bw’ayogera Mukama w'eggye, ndiggyamu amannya ag'ebifaananyi mu nsi, so tegalijjukirwa nate: era ate ndiviisa mu nsi bannabbi n'omwoyo ogutali mulongoofu.
3 Awo olulituula omuntu ng'akyagenda okulaguh kale kitaawe ne nnyina abaamuzaala balimugamba nti Tolibeera mula mu; kubanga oyogerera obulimba mu linnya lya Mukama: awo kitaawe ne nnyina abaamuzaala bali mufiunita bw'alagula.
4 Awo olulituuka ku lunaku luli bannabbi balikwatirwa ensonyi buli muntu okwolesebwa kwe ng'alagula; so tebalyambala kyambalo eky'ebyoya balyoke balimbe:
5 naye alyogera nti Siri nnabbi nze, ndi mulimi wa ttaka nze; kubanga bantunda okuva mu buto bwange.
6 N'omu ali mugamba nti Ebiwundu ebiri wa kati w'emikono gyo biki? Awo aliddamu nti Bye nnafumitirwa mu nnyumba ya mikwano gyange.
7 Golokoka, ggwe ekitala, okulwana n'omusumba wange, n'omuntu, ye munnange, bw'ayogera Mukama w'eggye: tema omusumba n'endiga zirisaasaana; nange ndissaako omukono gwange ku bato.
8 Awo olulituuka mu nsi yonna bw'ayogera Mukama, ebitundu bya yo bibiri birizikirira birifa; naye eky'okusatu kirirekebwa omwo.
9 N'ekitundu eky'okusatu ndikiyisa mu muliro, era ndibalongoosa ng'effeeza bw'erongoosebwa, era ndi bakema. nga zaabu bw'ekemebwa balikaabirira erinnya lyange, nange ndibawulira: ndyogera nti Be bantu bange; nabo balyogera nti Mukama ye Katonda wange.
   

Essuula 14

[Ddayo waggulu]
1 Laba, olunaku lwa Mukama lujja, omwandu gwo bwe guli gerekerwa mu ggwe wakati.
2 Kubanga ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna ku Yerusaalemi okulwana era ekibuga kirimenyebwa, n'ennyumba zirinyagibwa, n'abakazi bali kwatibwa lwa maanyi: n'ekitundu ky'ekibuga kiritwalibwa okufugibwa obuddu; n'ekitundu eky'abantu ekirisigalawo tekirimalibwawo mu kibuga.
3 Awo Mukama alitabaala alirwana n'amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw'olutalo.
4 Era aliyimirira n'ebigere bye ku lunaku luli ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde Yerusaalemi ebuvanjuba, n'olusozi olwa Zeyituuni lulyatika wakati waalwo ebuvanjuba n'ebugwanjuba, era walibaawo ekiwonvu ekinene ennyo; ekitundu ekimu eky'olusozi kirijjulukuka okugenda obukiika obwa kkono, n'ekitundu kyalwo ekimu okugenda obukiika obwa ddyo.
5 Nammwe muliddukira mu kkubo ery'omu kiwonvu eky'ensozi zange; kubanga ekiwonvu eky'ensozi kirituuka ku Azeri: weewaawo, mulidduka nga bwe mwadduka okukankana kw'ensi okwali mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda: era Mukama Katonda wange alijja n'abatukuvu bonna wamu naawe.
6 Awo olulituuka ku lunaku luli omusana teguliba na kumasamasa na kizikiza,
7 naye walibeera olunaku lumu olumanyibwa Mukama; si musana so si kiro: naye olulituuka akawungeezi walibeera omusana.
8 Awo olulituuka ku lunaku luli amazzi amalamu galiva e Yerusaalemi; ekitundu kyago kirigenda mu nnyanja ey'ebuvanjuba n'ekitundu kyago mu nnyanja ey'ebugwanjuba; kiriba bwe kityo mu kyeya ne mu ttoggo.
9 Era Mukama aliba kabaka w'ensi zonna: ku lunaku luli Mukama alibeera omu n'erinnya lye limu.
10 Ensi yonna erikyuka eriba nga Alaba, okuva mu Geba okutuuka ku Limmoni ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo obwa Yerusaalemi; era kiriyimuka kiribeera mu kifo kyakyo, okuva ku mulyango gwa Benyamini okutuuka ku kifo eky'omulyango ogw'olubereberye, ku mulyango ogw'ensonda; n'okuva ku kigo kya Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka.
11 Era abantu balibeera mu kyo, so nga tewakyali kikolimo; naye Yerusaalemi kiribeerawo mirembe.
12 Na kino kye kibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga gonna agalwana ne Yerusaalemi: omubiri gwabwe gulivunda nga bakyayimiridde ku bigere byabwe, n'amaaso gaabwe galivundira mu bunnya bwago, n'ennimi zaabwe zirivundira mu kamwa kaabwe.
13 Awo olulituuka ku lunaku luli okuyoogaana okunene okuva eri Mukama kuliba mu bo; era balikwata buli muntu ku mukono gwa munne, n'omukono gwe guliyimuka okukuba omukono gwa munne.
14 Era ne Yuda alirwana ne Yerusaalemi; era obugagga obw'amawanga gonna agaliraanyeewo bulikuŋŋaana, zaabu n'effeeza n'ebyambalo, bingi nnyo nnyini.
15 Era bwe kityo bwe kiriba ekibonoobono eky'embalaasi n'eky'ennyumbu n'eky'eŋŋamira n'eky'endogoyi n'ensolo zonna eziriba mu bisulo biri, ng'ekibonoobono ekyo bwe kiriba.
16 Awo olulituuka buli muntu asigalawo ku mawanga gonna agajja okulwana ne Yerusaalemi anaayambukanga buli mwaka okusinza Kabaka, Mukama w'eggye, n'okukwata embaga ey'ensiisira.
17 Awo olulituuka buli muntu mu bika byonna eby'ensi ataayambukenga Yerusaalemi kusinza Kabaka, Mukama w'eggye, enkuba terimutonnyera.
18 Era ekika kya Misiri bwe kitaayambukenga bwe kitajjenga, nabo teribatonnyera; walibaawo ekibonoobono Mukama ky'alirwaza amawanga agataayambukenga okukwata embaga ey'ensiisira.
19 Ekyo kiriba kibonerezo kya Misiri n'ekibonerezo eky'amawanga gonna agataayambukenga okukwata embaga ey'ebisiisira.
20 Ku lunaku luli ku ndege z'embalaasi kulibaako nti OBUTUKUVU ERI MUKAMA; era n'entamu mu nnyumba ya Mukama ziriba ng'ebibya mu maaso g'ekyoto.
21 Weewaawo, buli ntamu mu Yerusaalemi ne mu Yuda eriba ntukuvu eri Mukama w'eggye; n'abo bonna abawaayo ssaddaaka balijja ne bazitoolangako ne bafumba omwo: era ku lunaku luli nga tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama w'eggye.
   

Next
Back