Bible Stories

ENGERO EZ'OMU BAIBULI EKITUNDU EKISOOKA:


Ekitabo kino kyogera ku Ngero eziri mu Ndagaano Enkadde, nga kitandikira ku kutondebwa kw'ensi, okutuukira ddala ku baana ba Isiraeri nga beesabira kabaka okubafuga. Soma ku Kutondebwa kw'ensi, Amataba ga Nuuwa, Ibulayimu engeri gye yasiimibwa Katonda n'amugya mu nsi y'e Uli n'agenda mu nsi gye yali tamanyi. Soma ku baana ba Isaaka Yakobo ne Isimaeri. Laba Yakobo n'abaana be n'engeri gye bagenda mu nsi y'e Misiri era n'engeri gye bavaayo. Soma ku Musa bye yakolera abaana ba Isiraeri, n'ebyamagero bye yakolera mu Misiri. Soma ne ku mateeka agatukwsibwa Mukama ku lusozi Kolebu. Soma ku lugendo lw'abaana ba Isiraeri olw'abatuusa mu nsi ensuubize, n'ebyabatuukako, nga bakulemberwa Musa olabe n'engeri gye baagabanamu ensi Mukama gye yasuubiza Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo.


OLUGERO OLUSOOKA (Mukitabo kino)
Soma Lub. 1:1 - 3:24

OKUTONDEBWA KW'ENSI


Olubereberye Katonda yakola eggulu n'ensi, ensi eno yali njereere, naye nga Katonda waali, ensi yali yetabuddetabudde ne kizikiza, nga tewali butangaavu, era yali terabika bulungi nga bwe tugiraba bw'efaanana kaakati. Yali teriimu miti, muddo, ebimuli, ennyanja, emigga, ebiwoonvu oba ensozi. Ku nsi kuno tekwaali kintu kyonna ekissa omuka, kuba ku nsi tekwali bulamu.

KU LUNAKU OLWASOOKA:
Katonda n'ayogera nti, "Wabeewo obutangaavu," ne wabaawo obutangaavu. Katonda n'alaba nga kirungi, n'ayawula wakati w'obutangaavu ne kizikiza, obutangaavu n'abuyita emisana n'ekizikiza n'akiyita ekiro. Ne buba akawungeezi ne buba enkya, ekyo ky'ekintu ekyasooka mu okukolebwa ku nsi.

KU LUNAKU LW'OKUBIRI:
Ku lunaku olwokubiri Katonda n'ayogera nti, "Wabeewo ebbanga wakati w'amazzi n'amazzi," ebbanga lyawulenga amazzi agali waggulu mu bbanga n'amazzi agali wansi we bbanga, era bwe kityo bwe kyali. Ne buba akawungeezi ne buba enkya, olwo lwe lunaku olw'okubiri.

KU LUNAKU OLW'OKUSATU:
Katonda n'ayogera nti, "Amazzi agali wansi w'eggulu gakuŋŋaanire mu kifo kimu olukalu lulabike." Era bwe kityo bwe kyali, olukalu n'aluyita ensi, n'ekkuŋaaniro ly'amazzi n'aliyita ennyanja, Katonda n'ayogera nti, "Ensi emere omuddo, n'ebimuli, na buli muti ogw'ebibala mu ngeri yaagwo." Bwe kityo bwe kyali, emiti egy'ebibala ne gimera, n'omuddo ogwakiragala, ensi n'etandika okulabika obulungi ng'erimu n'ebimuli ebirabika obulungi. Katonda n'alaba nga kirungi, ne buba akawungeezi ne buba enkya, olwo lwe lunaku lw'okusatu.

OLUNAKU OLW'OKUNA:
Katonda n'ayogera nti, "Wabeewo ebyaaka mu bbanga ly'eggulu, byawuleenga emisana n'ekiro, biberenga ng'ettabaaza mu bbanga ery'eggulu byaakenga ku nsi." N'ekyo bwe kyali, Katonda n'akola enjuba okufuganga emisana, n'omwezi n'emunnyenye okufuganga ekiro, byawuleenga obutangavu n'ekizikiza, olwo lwe olunaku olw'okuna.

OLUNAKU OLW'OKUTAANO
Katonda n'alagira mazzi gazaale ebyo munnyanja bingi ebirina obulamu, era n'ebibuuka bibuuke ku nsi mu bbanga ery'eggulu." Katonda n'akola balukwata abanene, era na buli kibuuka mu bbanga mu ngeri yaakyo, nga bwebirabika kaakati, olwo lwe lunaku olw'okutaano.

OLUNAKU OLW'OMUKAAGA
Katonda n'ayogera nti, "Ensi ereete buli ekirina obulamu, ensolo ezitambula, ennene ne ntono, n'ezo ezewalula ku nsi, buli emu mu ngeri yaayo. Ensi ne tandika okubeerako ebintu ebirina obulamu, ebinnyonnyi mu miti ne bitandika okuyimba, ne nsolo ne zitandika okutambula mu bibira. Wewaawo ebintu byonna byali bimadde okukolebwa, kyokka ku nsi tekwali muntu n'omu, nga tekuli nnyumba, makubo oba bibuga, nga tewali n'abaana bazannyisa bimuli. Katonda bwe yamala okukola ebyo byonna, n'ayogera nti,

"Tukole omuntu mu ngeri yaffe mu kifaananyi kyaffe," afugenga ensi yonna, ensolo ne by'omunnyanja, n'ebibuuka waggulu, na buli ekyewalula ku nsi. Lwa kuba ebintu byonna by'ali biwedde okukolerwa naye enkuba yali tetonyanga ku nsi, kuba Mukama yali tanatonyesa enkuba ku nsi, era nga tewali na muntu mu nsi. Katonda n'alinyisa olufu okuva mu nsi, ne lutonya amazzi ku nsi yonna. Mukama Katonda n'abuumba omuntu mu nfuufu y'ensi, mu kifaananyi kye, Katonda, mwe yakolera omuntu n'amufuuwamu omuka ogw'obulamu munnyindo. Katonda n'awa omuntu okutegeera okusinga ensolo, n'amuwa okufuga buli kintu ekiri ku nsi, eby'omu nnyanja, n'ebibuuka waggulu n'abuli ekirina obulamu ekitambula ku nsi

OLUSUKU ADENI
Katonda n'asiimba ebuvanjuba olusuku olulungi, nga waliwo n'emigga ena Pesoni, Gikoni, Kedekeri ne Futaali, egilufukirira. Mu lusuku olwo mwali mujjudde emiti egisannyusa amaaso, nga girina ebibala ebirungi okulya, n'ebimuli ebirungi ebisannyusa amaaso, wakati mu lusuku Mukama Katonda n'asimbawo omuti ogw'obulamu, gwe muti ogw'okumannya obulungi n'obubi. Katonda n'atwala omuntu gwe yakola mu kifaananyi kye n'amuteeka mu lusuku alulimenga era alukuumenga. Kyokka Mukama Katonda n'alagira omuntu n'amugamba nti: "Buli muti oguli mu lusuku olyangako nga bw'onooyagalanga naye omuti ogw'okumanya obulungi n'obubi togulyangako, kubanga olunaku lw'oligulyako tolirema kufa." Mukama n'atwalira omuntu buli nsolo ey'omu nsiko, na buli ebibuuka waggulu, okubituuma amannya, n'omuntu buli linnya lye yayita ekitonde kyonna lye linnya na buli kati, naye omuntu yali bw'omu mu lusuku olwo olulungi Katonda lwe yamusiimbira.

OMUKAZI NGA BWE YATONDEBWA
Katonda bwe yamala okukola omuntu (omusajja) n'ayogera nti, "Si kirungi omuntu okubeera yekka." Mukama n'amuletera otulo otungi ne yeebaka, n'amugyamu olubirizi lumu nga yeebase, we yalugya n'azaawo ennyama. Katonda n'akola omukazi mu lubiriizi lw'omusajja, n'amuletera omuntu gwe tumannyi nga Adamu. Adamu n'ayogera nti, "Ono lye ggumba erivudde mu ggumba lyange, ye nnyama evudde mu nnyama yange, naye anayitibwanga mukazi, kubanga aggidwa mu musajja. Katonda n'abawa omukisa, n'abagamba nti, "Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi," n'abagamba nti, "Laba mbawadde omuddo ogubala ensigo oguli ku nsi yonna, na buli muti ogubala ebibala gunaabanga mmere. Katonda n'alaba nga buli ky'akoze kirungi nnyo, olwo lwe lunaku olw'omukaaga.

OLUNAKU OLW'OMUSANVU
Eggulu n'ensi ne bwe byagwa okukolebwa, n'ebintu byonna ebiri mu nsi ne bifuna obulamu, Katonda n'awummula ku lunaku olw'omusanvu era n'aluwa omukisa, kubanga lwe yawummulirako emirimu gye. Katonda bw'atyo bwe yakola eggulu n'ensi, na buli ekiri ku nsi, ensolo n'ennyonyi ez'omu bbanga ne byonna ebyewalula ku lukalu n'ebyomu nnyanja. Adamu ne mukazi we, ne babeera mu lusuku Katonda lwe yabasimbira, nga basanyuka bulijjo. Naye bombi nga baali bwereere, era nga tebaakwatibwa nsonyi. Ebbanga terimannyiddwa Adamu ne mukazi we, lye bamala mu lusuku luno Adeni, nga bakola ebyo Katonda bwe yabalagiranga, kuba mu bbanga lye baamala mu lusuku, Katonda yagendanga ne banyumya naye.

Naye mu nsolo Mukama Katonda zeyakola mwalimu omusota, nga mugezigezi nnyo okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko. Lumu ne gugenda eri omukazi ne gumugamba nti, "Katonda yabagamba atya, temulyanga ku miti gyonna egy'omu lusuku?" Omukazi n'agamba omusota nti, "Nedda ebibala by'emiti egy'omu lusuku tulya, wabula ebibala eby'omuti oguli wakati mu lusuku, Katonda yatulagira obutagulyangako newankubade okugukwatako tuleme okufa!" Omusota ne gugamba omukazi nti, "Okufa temulifa," Katonda amanyi nti, "Olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanya obulungi n'obubi."

Omukazi bwe yategeera ng'ebibala byakusanyusa amaaso, n'omuti gwa kuleeta magezi, n'anoga ku bibala n'alya, n'awa ne musajja we naye n'alya. Bwe baalya ku kibala, amaaso gaabwe ne gazibuka, ne bategeera nga baali bwereere, ne batuunga amakoola g'emiti ne bakolamu eby'okwambala. Baali bakyatuunga ebikoola eby'okwesiba, ne bawulira eddoboozi lya Mukama ng'atambula mu lusuku. Ne bekweka wakati mu miti egy'omu lusuku. Mukama n'ayita omusajja nti, "Oli luuyi wa?" Omusajja n'addamu nti,

"Bwe mpulidde eddobooozi lyo mu lusuku ne ntya ne neekweka kubanga mbadde bwereere." Mukama n'amugamba nti, "Ani yakubulira ng'oli bwereere? Olidde ku muti gwe nnakugaana okulyako?" Omusajja n'agamba Mukama nti, "Omukazi gwe wampa, ye yampadde ku kibala ne ndya." Mukama n'agamba omukazi nti, "Kiki kino kyokoze?" Omukazi n'mugamba nti, "Omusota gwe gwansenzesenze, nange ne dya ku kibala." Mukama n'agamba omusota nti, "Kubanga okoze kino, okolimidwa okusinga ensolo zonna ez'omu nsiko. Onootambuzanga lubuto, onoolyanga nfuufu ennaku zonna ez'obulamu bwo, nange obulabe naabuteekanga wakati wo n'omukazi ne wakati w'ezzadde lyo ne zadde ly'omukazi." Katonda n'agamba omukazi nti,

"Okwongera naakwongerako obulumi bw'okubeera olubuto, mu bulumi mw'onozaalinga abaana, n'okwegoomba kwo kunaabanga eri musajja wo." Katonda n'agamba omusajja nti, "Kubanga owulidde eddoboozi lya mukazi wo n'olya ku muti gwe nnakulagira nga njogera nti, "Togulyangako, ensi ekolimiddwa ku lulwo, mu kutegana mwonogyanga eky'okulya ennaku zonna ez'obulamu bwo, amaggwa n'amatovu ge ganakuzaaliranga, naawe onoolyanga muddo ogw'omu nnimiro. Mu ntuuyozo mw'onogyanga eky'okulya okutuusa lw'olidda mu ttaka, kubanga oli nfuufu ne mu nfuufu mw'olidda."

Omusajja n'atuuma mukazi we erinnya Kaawa, kubanga oyo ye nnyina waabo bonna abalamu. Katonda n'akolera Adamu ne mukazi we ebyambalo. Olw'okuba Adamu ne mukazi we bagaana okuwulira eddoboozi lya Mukama, kyeyava abagoba mu lusuku olulungi olwali lulimu buli kimu, balimenga ettaka omuntu mweyagyibwa. Olw'okuba Adamu ne Kaawa baali bafuuse nga Katonda okumannya bulungi n'obubi, Katonda teyayagala baddemu okugolola omukono nate n'okunoga ku kibala kyo ku muti, okuwangaala emirembe ne mirembe. Mukama mu lusuku n'azzaamu Malayika ng'alina ekitala ekimyamyansa, akuumenga ekkubo erigenda ku muti ogw'obulamu.


**** Ekitabo kino kya ddiba lya lupapula oluweweevu obulungi,era nga lugoonvu.****

ORDER FORM - Print out this .txt file for convenience if ordering by mail.

E-MAIL US - For comments, critis, questions about these Books, or whatever you need to know about Luganda Christian Services, please feel free to drop us a line. Send them to us at ministry@lugandaministry.org


This entire site, including all pages,Copyright 2000-2008 Luganda Christian Services Inc. All rights reserved. Send mail to:Luganda Christian Services Inc. P.O. Box 5213, Glendale, Arizona, USA 85312.

Back
Next