Bible Stories


ENGERO EZ'OMU BAIBULI EKITUNDU EKYOKUBIRI:



Engero ez'omu Baibuli ekitundu ekyokubiri, ekitabo kino kyogera ku bakabaka ba Isiraeri abasooka, okusasika kwa Isiraeri, engeri ebika bya Isiraeri ekkumi gye byatwalibwa mu busibe mu Bwasuli, ne Yuda naye n'atwalibwa mu Babulooni. Oluvannyuma lw'emyaka Mukama gye yayolesa Yeremiya nga baddayo mu nsi yaabwe era ne bazimba Yeekaalu ya Mukama. Soma akitabo kino olabe engeri Mukama gye yayambanga mu abantu be mmu buli kizibu ekyabatuukangako, era nga buli lwe beewangayo ne baweereza Mukama, naye teyabalekanga mu buzibu nga bwe yabasuubiza bwe yayogera n'omuddu we Musa.

Kyokka ate laba engeri gye baava ku Mukama eyabakorera ebirungi ebyo byonna ne bamuleka ne baweereza Babaali, bakatonda abatalina mukka, abalina amaaso naye nga tegalaba, emikono nga tegikwata, n'amagulu nga tegasobola kutambula. Soma olabe olw'okunyiiza ennyo Mukama baatwalibwa mubusibe era ng'ebika ekkumibwe byatwalibwa mu busibe mu Bwasuli nga tebyaddayo kulaba ku nsi yaabwe ennungi Mukama gye yabawa okubeera obusika bwabwe!

Laba ate ne Yuda nga bwe yatwalibwa mu Babulooni, ne yeekaalu ya Mukama kabaka Sulemaani gye yaziimba n'eyokebwa omuliro, kyokka lwakuba nga baali batwaliddwa mu busibe, naye Mukama teyabeerabira. Era ekiseera nga kituuse kye yabategeeza ng'ayita mu muddu we Yeremiya nga baddayo mu nsi yaabwe era ne baziimba ne yeekaalu ya Mukama, era ne bbugwe wa Yerusaalemi eyayokebwa Nekemiya n'abayamba okumuzimba!


Olugero Olw'abiri mw'ennya (Mukitabo kino)
Soma 1 Bassek. 18 : 1 - 46

Nnabbi Eriya ne bannabi Babaali ku lusozi Kolumeeri


Emyaka esatu ne giyaggwaakwo, okuva ku lunaku olwo Eriya lwe yategeerezaako Akabu ekigambo kya Mukama, ne byonna ebigenda okubaawo. Enkuba ne tettonya kuva ku lunaku olwo, newankubadde omusulo ku nsi. Emigga gyonna ne gikalira, ensi yonna ne kala nga tebasiga wadde okukungula. Isiraeri yenna nga tebakyalina mmere. Olw'okuba Akabu yali amanyi nga Eriya asobola okusaba enkuba n'ettonya, n'amunoonya wonna naye nga Eriya tamannyiddwa gy'ali. N'atuma abantu okumunoonya mu nsi zonna naye n'atalabika. N'asaba bakabaka b'ensi ezimuliranye okumuyamba okumunoonyeza Eriya mu nsi zaabwe naye Eriya ne batamulaba. Ekigambo kya Mukama ne kijjira Eriya nate, nga kyogera nti,

"Genda eri Akabu; nange nditonnyesa enkuba ku nsi. Eriya n'agenda nga Mukama bwe yamulagira. Mu kiseera kyekimu ne Akabu bwe yalaba ng'enjala eyitiridde mu nsi ye, n'ayita Obadiya eyali ssabaakaaki, Obadiya ono yali musajja ng'atya nnyo Mukama, lumu Yezeberi mukazi wa Akabu bwe yali ayigganya bannabbi ba Mukama okutta bonna, Obadiya n'akwekako bannabbi kkikumi mu mpuku bbiri, ataano ataano mu buli emu, n'abaliisanga emigaati n'amazzi. Akabu n'agamba Obadiya nti, "Gira tugende tunoonyeze ensolo zaffe amazzi mu nzizi zonna, era n'eri obugga bwonna, mpozzi tuliraba amazzi n'omuddo ne tuwonya embalaasi n'ennyumbu okufa."

Ne baawukana buli omu n'akw„ta ekkubo lye, naye Obadiya bwe yali atambula n'asisinkana Eriya. Olw'okuba Obadiya yali amanyi Eriya, bwe yamulaba n'avuunama amaaso ge, n'amugamba nti, "Ggwe wuuno, mukama wange Eriya?" Eriya n'amuddamu nti, "Nze nzuuno, genda obuulire mukama wo nti, "Eriya ali wano." Obadiya n'agamba Eriya nti, "Nnyonoonye ki, okw„gala okuwaayo omuddu wo mu mukono gwa Akabu okunzita?" Kubanga tewali ggwanga newankubadde obwakabaka mukama wange gy'ataatuma okukunoonya.

Kale bwe n'agenda ne mbuulira mukama wange nti, 'Eriya ali wano,' omwoyo gwa Mukama gunaakutw„la gye simanyi, Akabu bwatalikulaba alinyigira era alinzita. Naye nze omuddu wo ntya Mukama okuva obuto bwange." Eriya n'agamba Obadiya nti, "Nga Mukama ow'eggye bw'ali omulamu, siireme kweraga eri Akabu leero." Obadiya n'agenda n'abuulira Akabu nga Eriya bwe yamugamba, ne Akabu n'agenda okumusisinkana. bwe yalaba Eriya n'amugamba nti, "Ggwe wuuno, ateganya Isiraeri?'

Eriya n'amuddamu nti, "Nze sinnateganya Isiraeri, naye ggwe n'ennyumba ya kitaawo, mwe muteganya Isiraeri. Kubanga mwaleka ebiragiro bya Mukama, ne mugoberera Babaali. Kale nno tuma okunganyize Isiraeri yenna gye ndi ku lusozi Kalumeeri, ne bannabbi Babaali ebikumi bina mu ataano ne bannabbi ba Beaseri ebikumi bina abalya ku mmeeza ya Yezeberi." Akabu n'akola nga Eriya bwe yamugamba, n'akunganya abantu ku lusozi Kalumeeri.

Bwe baakungana Eriya n'abasemberera, n'abagamba nti, "Mulituusa wa okutta aga n'aga nga mulowooza wabiri? Mukama oba ye Katonda, mumugoberere, naye oba Baali, kale mumugoberere." Abantu ne batamuddamu kigambo, Eriya n'ayongera n'agamba abantu nti, "Nze nzekka nze nsigaddewo nnabbi wa Mukama; naye bannabbi Babaali bali abasajja ebikumi bina mu ataano. Kale batuwe ente bbiri; beeroboze ente emu okuba eyaabwe, bagitemeeteme bagiteeke ku nku, so tebateeka muliro wansi, nange nnalogoosa ente ey'okubiri, ne ngiteeka ku nku, ne siteeka muliro wansi. Kale mmwe mukaabirire erinnya lya katonda wammwe, nange nnakaabirira erinnya lya Mukama, Katonda anaddamu n'omuliro eyo abe Katonda wa Isiraeri."

Abantu ne bagamba Eriya nti, "Oyogedde bulungi. Tunakola nga bw'oyogedde tulabe Katonda asaanye okusinzibwa. Eriya n'agamba bannabbi Babaali nti, "Mweroboze ente emu okuba eyammwe, musooke okugirongoosa; kubanga muli bangi, mukaabirire erinnya lya katonda wammwe, naye temuteeka muliro wansi. Bannabbi Babaali ne baddira ente gye baaweebwa, ne bagiroongoosa, ne bagiteeka ku kyoto kyabwe, ne bakaabirira Babaali baabwe okuva ku mankya okutuusa mu ttuntu, nga boogera nti, "Ai Baali, tuwulire."

Naye ne wataba ddoboozi lyonna newankubadde yadde abaddamu. Ne beesala n'obwambe n'amafumu, okutuusa omusaayi lwe gwatandika okubakulukutirako. Bwe bwatuuka awo mu ttuntu Eriya n'abaduulira n'abagamba nti, "Mwogerere waggulu, mpozzi katonda wammwe afumitirirza oba akyamye, oba ali mu lugendo, oba mpozzi yeebase kibagwanidde okumuzuukusa!" Naye katonda waabwe teyatabaddamu, newankubadde okubasaako omwoyo. Eriya n'abagamba nti,

"Munsemberere," abantu bonna ne bamusemberera. N'addaabiriza ekyoto kya Mukama eky'ali kisuuliddwa. N'addira amayinja kkumi n'abiri ng'omuwendo gw'ebika by'abaana ba Isiraeri bwe guli. N'aziimbisa amayinja ago ekyoto mu linnya lya Mukama, n'asima olusalosalo okwetooloola ekyoto. N'atindikira enku, n'atematema ente, n'agiteeka ku nku. Bwe yamala n'agamba abantu nti, "Mujjuze amapippa ana amazzi, mugafuke ku kiweebwayo." Ne bakola nga Eriya bwa balagira, ne basomba amazzi, ne bagafuka ku kiweebwayo, n'abagamba okukola bwe batyo emirundi esatu, amazzi ne gajjuza olusalosalo, ne gakulukuta okwetooloola ekyoto.

Bwe bwatuuka akawungeezi mu kiseera eky'okuwaayo ekitone, nnabbi Eriya n'asembera ku kyoto, n'ayogera nti, "Ai Mukama Katonda wa Ibulayimu, Katonda wa Isaaka ne Isiraeri, kitegerebwe leero nga ggwe Katonda mu Isiraeri, nga nze ndi muddu wo, era nga nkoze bino byonna lwa kigambo kyo. Mpulira, Ai Mukama, mpulira abantu bano bamanye nga ggwe Mukama, ggwe Katonda, era ng'okyusizza emitima gyabwe okudda gy'oli." Omuliro gwa Mukama ne gugwa okuva mu ggulu, ne gwokya ekiweebwayo ekyokebwa n'enku n'amayinja n'enfuufu, ne gukombera ddala n'amazzi agaali mu lusalosalo.

Abantu bonna bwe baakilaba ne bavvuunama amaaso gaabwe, ne boogera nti, "Mukama ye Katonda! Mukama ye Katonda!" Eriya n'agamba abantu nti, "Mukw„te bannabbi Babaali, waleme okuwona n'omu." Abantu ne bakw„ta bannabbi Babaali bonna ebikumi ebina mu ataano, Eriya n'abatw„la ku kagga Kisoni n'abattira eyo, kubanga be baaletera Isiraeri okwonoona. Bino byonna bya kolebwa kabaka Akabu waali, n'abiraba nga bali ku lusozi Kalumeeri. Eriya bwe yamala okukola ebyo n'agamba Akabu agolokoke alye era onywe; kubanga waaliwo okuwuuma kw'enkuba ennyingi."

Akabu n'agolokoka n'alya era n'anywa, ye Eriya n'alinnya ku lusozi Kalumeeri. N'avvuunama ku ttaka, n'ateeka omutwe gwe wakati w'amaviivi ge, n'asaba Mukama atonyese enkuba. Oluvannyuma lw'ekiseera nga kimaze okuyitawo, n'agamba omuddu we agenda alinnye ku ntikko y'olusozi alengere ku nnyanja oba waliyo ekire. Omuddu n'alengera ku nnyanja naye n'atalaba kintu, n'agamba Eriya nti, "Tewali kintu." Eriya n'amutuma okulengera emirundi mukaaga naye ku mulundi ogw'omusanvu omuddu n'amugamba nti,

"Ndaba ekire ekirinnya nga kiva mu nnyanja ekiri ng'omukono gw'omuntu obutono." Eriya n'atuma omuddu we agende agambe Akabu yeetegeke agende enkuba nga tenatankika kuttonya.


**** Ekitabo kino kya ddiba lya lupapula oluweweevu obulungi,era nga lugoonvu.****

ORDER FORM - Print out this .txt file for convenience if ordering by mail.

E-MAIL US - For comments, critis, questions about these Books, or whatever you need to know about Luganda Ministry, please feel free to drop us a line. Send them to us at
ministry@lugandaministry.org


This entire site, including all pages,Copyright 2000-2008 Luganda Christian Services Inc. All rights reserved. Send mail to:Luganda Christian Services Inc. P.O. Box 5213, Glendale, Arizona, USA 85312. or P.O. Box 31602 Kampala Uganda - East Africa

Back
Next