Bible Stories

ENGERO EZ'OMU BAIBULI EKITUNDU EKYOKUSATU:



Engero ez'omu Baibuli ekitundu ekyokusatu, ekitabo kino kitubuulira ku Ngero ez'omu Baibuli okutandikira ku kulangirirwa n'okuzaalibwa kwa Yokaana Omubatiza. Kyogera ku kuzaalibwa kwa Yesu Kristo Mukama waffe, okufa n'okuzuukira, era awamu n'okugenda mu ggulu. Kitubuulira ku batume ekkumi n'ababiri, era n'obulamu bwa Pawulo Omutume Omutukuvu. Kyogera ku kwolesebwa kwa Yokaana Omutukuvu era n'omusango ogugenda okugya. Soma ku lugero luno lwe tukulondedde, bw'oba oyagadde by'osomye tuweerezeyo olunyiriri tumanye nga bw'obirowoozezaako.

Olugero Olw'attaano Mw'omusanvu (Mukitabo kino)

Soma Okubikulirwa 1:120; 4:1-5:14 7:7-17; 21:1-17


OKUBIKULIRWA KWA YOKAANA OMUTUKUVU

Yokaana Omutume, Yesu gwe yayagalanga ennyo, bwe yali ku kizinga ekiyitibwa Patumo gye yali asibiriddwa. N'afuna okwolesebwa, Yesu n'amulaga ebigenda okubeerawo mu biseera oby'oluvannyuma. Yokaana yali mu Mwoyo ku lunaku lwa Mukama, n'awulira ennyuma we, eddoboozi eddene nga liringa ery'akagombe, nga koogera nti, "Ky'olaba wandiika mu kitabo, okiweereze ekkanisa omusanvu, eri Efeso, Sumuna, Perugamo, Suwatira, Saadi, Firaderufiya, n'eri Lawodikiya." Yokaana n'akyuka okulaba eddoboozi eryogera naye gye lyali liva.

Naye bwe yakyuka n'alaba ettabaaza musanvu eza zaabu, ne wakati w'ettabaaza n'alaba omuntu afaanaana ng'Omwana w'Omuntu, ng'ayambadde okutuuka ku bigere, ng'asibiddwa mu kifuba kye, olukoba olwa zaabu. N'enviiri ze, nga zitukula ng'omuzira, n'amaaso ge, ng'ennimi z'omuliro, n'ebigere bye, nga bifaanana ng'ekikomo ekizigule, ekirongooseddwa mu muliro, n'eddoboozi lye nga liri ng'eddoboozi ely'amazzi amangi. Ng'akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu, ne mukamwa ke, ne muvaamu ekitala ekisala eky'obwogi obubiri, n'obwenyi nga buli ng'enjuba bw'eyaka mu maanyi gaayo.

Yokaana bwe yalaba Mukama waffe mu kitiibwa kye, olw'okutya, n'agwa ku bigereebye ng'afudde. Mukama waffe n'amuteekako omukono gwe ogwa ddyo, n'amugamba nti, "Totya, nze w'olubereberye era ow'enkomerero, Omulamu, nali nfudde, laba, ndi mulamu emirembe n'emirembe, nnina ebisumuluzo eby'okufa n'eby'emagombe. Kale wandiika by'olabye n'ebiriwo, n'ebigenda okubaawo oluvannyuma lw'ebyo. Ekyama ky'emmunyeenye omusanvu z'olabye mu mukono gwange ogwa ddyo, be bamalayika b'ekkanisa omusaanvu, n'ettabaaza omusanvu eza zaabu, ze kkanisa omusanvu."

Mukama n'alagira Yokaana okuwandiika ebbaluwa eri ekkanisa omusaanvu, nga buli kkanisa agiwandiikira ebbaluwa yanjawulo ezitendereza ebirungi bye baali bakoze, naye ate nga era ng'abanenya, yasookera ku kkanisa ey'Aefeso, n'amalira ku y'omu Lawodikiya, n'amaliriza ng'agamba nti, "Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe ey'obwakabaka, nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye. Alina okutu awulire Omwoyo ky'agamba ekkanisa." Yokaana bwe yamala okuweereza abaluwa eri ekkanisa omusaanvu, n'alaba oluggi nga luggulibwaawo mu ggulu, n'awulira n'eddoboozi ng'elyakagoombe, nga limugamba nti, "Linnya okutuuka wano, nange n'akulaga obigwanira okubeerawo oluvannyuma."

Amangu ago n'atwalibwa mu ggulu n'alaba entebe ey'obwakabaka bwa Katonda, nga waliwo eyali atudde ku ntebe, naye olw'okumasamasa kw'Oyo eyali atudde ku ntebe nga tasobola ku mwetegereza, era nga ne musoke nga yeetoolodde entebe ye. Entebe ey'obwakabaka, yali yeetooloddwa entebe ez'obwakabaka amakumi abiri mu nnya, nga mutuddemu abakadde amakumi abiri mu bana, nga bambadde engoye enjeru, ne ku mitwe gyabwe engule eza zaabu. Mu ntebe nga muvaamu okumyansa n'amaloboozi n'okubwatuka. N'ettabaaza musaanvu ez'omuliro nga zaaka mu maaso g'entebe, gy'emyoyo omusaanvu egya Katonda.

Mu maaso g'entebe, waaliwo ennyanja ey'endabirwaamu, ne wakati w'entebe, n'okwetoloola entebe, ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n'ennyuma. N'ekiramu eky'olubereberye ky'ali kifaanana ng'empologoma, n'ekiramu ekyokubiri ng'ennyana, n'ekiramu eky'okusatu ky'alina amaaso ng'ag'omuntu, n'ekiramu ekyokuna, ky'ali kifaanana ng'empungu. N'ebiramu byonna ebina nga birina ebiwaawaatiro mukaaga, ebijjudde amaaso enjuyi zonna ne munda, nga byogera emisana n'ekiro awatali kuwummula nti,

"Omutukuvu, Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, eyabaawo era abaawo era ajja okubaawo." Abakadde amakumi abiri mw'abana ne bavuunama ne basinza mu maaso g'Oyo atudde ku ntebe, nga basuula engule zaabwe mu maaso g'entebe nga boogera nti, "Osaanidde ggwe Mukama Katonda waffe okuweebwanga ekitiibwa n'ettendo n'obuyinza, kuba ggwe wabitonda byonna" Yokaana n'alaba mu mukono ogwa ddyo ogw'Oyo eyali atudde ku ntebe, ekitabo ekiwandiikiddwa munda ne kungulu, ekisibiddwa n'obubonero musanvu.
Malayika ow'amaanyi n'abuuza n'eddoboozi eddene nti, "Ani asaanidde okwanjuluza ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo omusanvu?" Ne watabaawo mu ggulu newankubadde ku nsi oba wansi w'ensi, eyayinza okwanjuluza ekitabo, newankubadde okukitunuulira.

Yokaana n'akaaba nnyo kubanga tewaali ayasaanira okwanjuluza ekitabo, newankubade okukitunuulira. Naye omu ku bakadde n'amugamba nti, "Tokaaba, laba, Empologoma ow'omu kika kya Yuda, ekikolo kya Dawudi, yawangula okwanjuluza ekitabo n'okubembula obubonero bwakyo omusaanvu." Yokaana n'alaba wakati w'abakadde n'entebe n'ebiramu abina, n'alaba Omwana gw'endiga Yesu, ng'ayimiridde ng'afaanana ng'eyattibwa, ng'alina amayembe musaanvu, n'amaaso musaanvu gy'emyoyo omusaanvu egya Katonda egyatumibwa mu nsi zonna. N'agenda n'aggya ekitabo mu mukono ogwa ddyo ogw'Oyo atudde ku ntebe. Bwe yatoola ekitabo, ebiramu ebina n'abakadde amakumi abiri mw'abana, ne bavuunama mu maaso g'Omwana gw'endiga Yesu, buli muntu ng'alina ennanga n'ebibya ebya zaabu ebijjudde obubaane, kwe kusaba kw'abatukuvu, ne bayimba oluyimba oluggya, nga boogera nti,

"Osaanidde okutoola ekitabo, n'okubembula obubonero bwakyo. Kubanga wattibwa n'otununula eri Katonda olw'omusaayi gwo, buli kika n'olulimi n'abantu n'eggwanga." Na buli kitonde ekiri mu ggulu, ne ku nsi ne wansi w'ensi, ne mu nnyanja, n'ebirimu byonna ne mbiwulira byonna nga byogera nti, "Eri Oyo atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'endiga eyattibwa okuweebwa obuyinza, obugagga, okutegeera, n'amaanyi, n'ekitiibwa, n'ettendo n'omukisa." N'ebiramu ebina ne byogera nti, "Amiina," n'abakadde ne bavuunama ne basinza.

ABAAYOZA EBYAMBALO MU MUSAAYI
Oluvannyuma lw'ebyo, Yokaana n'alaba ekibiina ekinene eky'abantu nga bayimiridde mu maaso g'entebe ne mu maaso g'Omwana gw'endiga, nga bambadde ebyambalo ebyeru, n'amatabi g'enkindu mu mikono gyabwe, ne boogerera waggulu nti, "Obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n'eri Omwana gw'endiga." Ne bamalayika nga bayimiridde okwetoloola entebe, n'abakadde n'ebiramu ebina, ne bavuunama amaaso gaabwe mu maaso g'entebe, ne basinza Katonda, nga boogera nti, "Amiina:

Omukisa n'ekitiibwa n'amagezi n'okwebaza n'amaanyi, n'ettendo n'obuyinza, biberenga eri Katonda emirembe n'emirembe Amiina."

Omu ku bakadde n'abuuza Yokaana nti, "Bano obamanyi abambadde ebyambalo ebyo ebyeru, era ne gye bava?" Yokaana n'amugamba nti, "Mukama wange, gw'omanyi." Omukadde n'amugamba nti, "Bano bebaava mu ku bonabona kuli okungi, ne bayoza ebyambalo byabwe, ne babitukuza mu musaayi gw'Omwana gw'endiga. Kye bavudde babeera mu maaso g'entebe ya Katonda, ne bamuweerezanga emisana n'ekiro mu yekaalu ye, n'Oyo atudde ku ntebe alitimba eweema ye ku bo. Tebalirumwa njala na nnyonta, n'omusana tegulibookya, newankubadde okwokya kwonna. Kubanga Omwana gw'endiga ali wakati w'entebe y'anaabalundanga, era alibaleeta eri enzizi ez'amazzi ag'obulamu, era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe."

EGGULU ERIGGYA
Oluvannyuma ku nkomerero Yokaana n'alaba eggulu eriggya, n'ensi empya, kubanga eggulu ery'olubereberye n'ensi ey'olubereberye nga biweddewo, n'ennyanja nga tekyaliwo. N'alaba ekibuga nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kitegekeddwa ng'omugole ayonjeddwa bba. N'awulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti, "Laba, eweema ya Katonda awamu n'abantu, era anaabeeranga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye alisangula buli zziga mu maaso gaabwe, era okufa tekulibaawo nate, era tewaabengawo nnaku newankubadde okukaaba, newankubadde okulumwa, eby'olubereberye biriba biweddewo."

N'Oyo eyali atudde ku ntebe n'ayogera nti, "Laba, byonna mbizzizza buggya." Era n'amugamba nti, "Wandiika, kubanga ebigambo ebyo byamazima era bya bwesigwa." N'ayongera n'amugamba nti, "Bituukiridde! Nze Alufa ne Omega, okusooka n'enkomerero. Ndimuwa buwa alina ennyonta okunywa mu luzzi olw'amazzi ag'obulamu, awangula; alisikira ebyo."

YERUSAALEMI EKIGGYA
Omu ku bamalayika omusaanvu, abaalina ebibya omusaanvu, ebijjude ebibonyoobonyo omusaanvu eby'enkomerero n'ayogera ne Yokaana, n'amugamba nti, "Jjangu, nnakulaga omugole omukazi w'Omwana gw'endiga." Omwoyo n'amutwala ku lusozi olunene oluwanvu, n'amulaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi, nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda, nga kirina ekitiibwa kya Katonda, okumasamasa kwakyo ng'ejjinja ery'omuwendo omungi ennyo eritangalijja, nga kirina bbuggwe omunene omuwanvu, nga kiriko emiryango kkumi n'ebiri, ne ku miryango bamalayika kkumi na babiri, n'amannya ag'ebika ekkumi n'ebibiri eby'abaana ba Isiraeri nga gawandiikiddwaako. Ebuvanjuba emiryango esatu, n'obukiika obwa kkono n'obwa ddyo emiryango esatu esatu. N'ekibuga nga kizimbiddwa zaabu ennugi eringa endabirwaamu ennungi.

N'emiryango ekkumi n'ebiri luulu kkumi na bbiri, buli gumu ku miryango gw'ali gwa luulu emu, n'oluguudo olw'ekibuga zaabu ennungi, ng'endabirwaamu etangalijja. Naye mu kibuga teyalabamu yekaalu, kubanga Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, n'Omwana gw'endiga, ye yekaalu yaakyo. Ekibuga nga tekyetaaga njuba newankubadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kyekimulisa, n'ettabaaza yaakyo ye Mwana gw'endiga.

N'emiryango gyakyo tegiggalwenga n'akatono emisana kubanga tewaliba kiro. Teribaayo kikolimo, amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo, ne bakabaka b'ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo, era balireeta ekitiibwa n'ettendo ly'amawanga mu kyo. Temuliyingira mu kyo n'akatono ekintu kyonna ekitali kirongoofu newankubadde akola eky'omuzizo n'obulimba, wabula abo bokka abaawandiikibwa mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'endiga. Wakati w'oluguudo lwakyo, Yokaana n'alaba omugga ogw'amazzi og'obulamu ogumasamasa ng'endabirwaamu, nga guva mu ntebe ya Katonda ne y'Omwana gw'endiga. Era eruuyi n'eruuyi w'omugga omuti ogw'obulamu, ogubala ebibala ekkumi n'ebibiri, n'amalagala g'omuti ga kuwonya amawanga.

EKISEERA KIRI KUMPI
Yokaana bwe yalaba ebyo byonna, n'avuunama okusiinza mu maaso g'ebigere bya malayika eyamulaga bino. Naye malayika n'amugamba nti, "Laba, tokola bw'otyo ndi muddu munno era ow'omu bagandabo bannabbi, n'abo abakwaata ebigambo eby'ekitabo kino, siinza Katonda!" Malayika wa Katonda n'amugamba nti, "Toteeka kabonero ku bigambo eby'obunnabbi eby'ekitabo kino, kubanga obudde buli kumpi. Ayonoona abeere ng'akyayonoona, n'omugwaagwa abeerenga omugwaagwa, n'omutuukirivu abeere nga omutukuvu.

Laba, njija mangu, n'empeera yange eri nange, okusasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli. Nze Alufa ne Omega, ow'olubereberye era omukoobezi, okusooka n'enkomerero. Baweereddwa omukisa abayoza ebyambalo byabwe balyoke babeere n'obuyinza ku muti ogw'obulamu balyooke bayingire mu kibuga nga bayita mu mulyango. Nze Yesu, ntumye malayika wange okubategeeza mmwe ebyo olw'ekkanisa. Omwoyo n'omugole boogera nti, 'Jjangu,' N'awulira ayogere nti, 'Jjangu.' N'alina ennyonta ajje, ayagala atwale amazzi ag'obulamu gabuwa. Yokaana ategeeza nti, "Omuntu yenna bw'ayongerangako ku biwandiIkiddwa mu kitabo kino, Katonda alyongerako ku ye ebibonyoobonyo, oba alikendeezako ebiwandiIkiddwa mu kitabo eky'obunnabbi kino, Katonda alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw'obulamu, ne kibuga ekitukuvu.

Ategeeza bino ayogera nti, "Wewaawo: njija mangu, Amiina: jjangu, Mukama waffe Yesu Kristo Omulokozi." Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga n'abatukuvu. Amiina. Balina omukisa abaliyingira mu mulyango gw'ekibuga Sayuuni, abo abakola ebyo Katonda by'ayagala era abagoberera amateekaage. Kubanga balirya ku muti ogw'obulamu era balisikira obulamu obutagwaawo.

Bw'oba oyagala okweyongera okumanya ebisingawo weereza order tujjakukikuweereza.

**** Ekitabo kino kya ddiba lya lupapula oluweweevu obulungi,era nga lugoonvu.****

ORDER FORM - Print out this .txt file for convenience if ordering by mail.

E-MAIL US For any comments, critics, questions about these Books, or whatever you need to know about Luganda Ministry, please feel free to drop us a line. Send them to us at ministry@lugandaministry.org


This entire site, including all pages,Copyright 2000-2008 Luganda Christian Services Inc. All rights reserved. Send mail to:Luganda Christian Services Inc. P.O. Box 5213, Glendale, Arizona, USA 85312. Or P.O. Box 31602 Kampala Uganda East Africa

Back
Next